< Ekyamateeka Olwokubiri 20 >

1 Bw’onoobanga ogenze okutabaala abalabe bo, n’olaba embalaasi n’amagaali n’eggye eddene okukira eriryo, tobatyanga; kubanga Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y’e Misiri, anaabanga naawe.
“Düşmanlarınızla savaşmaya gittiğinizde, atlar, savaş arabaları ve sizden daha kalabalık bir ordu görürseniz onlardan korkmayın. Sizi Mısır'dan çıkaran Tanrınız RAB sizinledir.
2 Bwe munaabanga muli kumpi okutandika okulwana, kabona anajjanga n’ayogera eri eggye ly’abaserikale,
Savaşa başlamadan önce kâhin gelip askerlere seslenecek.
3 n’abagamba nti, “Wulira, Ayi Isirayiri! Olwa leero mugenda okutandika okulwana n’abalabe bammwe. Temuggwaamu mutima, so temutiitiira wadde okubatya.
Onlara şöyle diyecek: ‘Ey İsrailliler, dinleyin! Bugün düşmanlarınızla savaşmaya gidiyorsunuz. Cesaretinizi yitirmeyin, korkmayın. Onlardan yılmayın, ürkmeyin.
4 Kubanga Mukama Katonda wammwe y’anaagendanga nammwe okubalwanirira ng’alwanyisanga abalabe bammwe, n’okubawanga mmwe obuwanguzi.”
Çünkü sizi zafere kavuşturmak üzere sizinle birlikte düşmanlarınıza karşı savaşmaya gelen Tanrınız RAB'dir.’
5 Abaami banaayogeranga eri eggye nga bagamba nti, “Waliwo mu mmwe alina ennyumba empya gye yeezimbira naye nga tennatukuzibwa? Kimusanidde addeyo mu nnyumba ye, si kulwa ng’afiira mu lutalo, omulala n’agitukuza.
“Görevliler askerlere şöyle diyecekler: ‘Yeni ev yapıp da içinde oturmayan biri var mı? Evine geri dönsün. Yoksa savaşta ölebilir, evine bir başkası yerleşir.
6 Waliwo mu mmwe eyalima ennimiro y’emizabbibu naye nga tannatandika kulya ku bibala byamu? Kimusaanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ng’afiira mu lutalo, omuntu omulala n’alya ebibala byamu.
Bağ dikip de üzümünü toplamayan var mı? Evine dönsün. Olur ya, savaşta ölür, üzümü bir başkası toplar.
7 Waliwo mu mmwe eyali ayogereza omukazi, naye nga tannamuwasa? Kimugwanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ng’afiira mu lutalo, omuntu omulala n’awasa omukazi oyo.”
Bir kızla nişanlanıp da evlenmeyen var mı? Evine dönsün. Belki savaşta ölür, kızı başka biri alır.’
8 Abaami banaayongeranga okwogera eri eggye nga bagamba nti, “Waliwo mu mmwe omutiitiizi, oba aweddemu amaanyi mu mutima? Kimusaanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ng’aleetera banne omutima omutiitiizi.”
“Görevliler konuşmalarını şöyle sürdürecekler: ‘Aranızda korkan, cesaretini yitiren var mı? Evine dönsün. Öyle ki, kardeşlerinin yürekleri onunki gibi ürpermesin.’
9 Abaami bwe banaamalanga okwogera eri eggye, banaalondanga abakulu mu balwanyi abanaakulemberanga eggye eryo.
Görevliler askerlere seslenmeyi bitirince, orduya komutanlar atayacaklar.
10 Bw’onoosembereranga ekibuga ng’ogenda okukirwanyisa, osookanga kulangirira mirembe eri abantu baamu.
“Bir kente saldırmadan önce, kent halkına barış önerin.
11 Bwe banakkirizanga emirembe, ne bakuggulirawo emiryango gy’ekibuga kyabwe, kale abantu baamu bonna banaafuukanga baweereza bo, okukukoleranga byonna nga bw’onooyagalanga.
Barış önerinizi benimser, kapılarını size açarlarsa, kentte yaşayanların tümü sizin için angaryasına çalışacak, size hizmet edecekler.
12 Naye ekibuga ekyo bwe kinaagaananga okukkiriza emirembe, ne kisalawo okukulwanyisa, onookyebungululanga n’okizingiza.
Ama barış önerinizi geri çevirir, sizinle savaşmak isterlerse, kenti kuşatın.
13 Mukama Katonda wo bw’anaakigabulanga mu mukono gwo, onottanga n’ekitala buli musajja yenna.
Tanrınız RAB kenti elinize teslim edince, orada yaşayan bütün erkekleri kılıçtan geçirin.
14 Kyokka abakazi n’abaana abato, n’ebisibo by’ensolo, n’ebintu byonna ebinaabanga mu kibuga omwo, onoobyetwaliranga ng’omunyago gwo. Era onookozesanga nga bw’onooyagalanga omunyago gwonna ogunaavanga mu balabe bo Mukama Katonda wo gw’anaabanga akuwadde.
Kadınları, çocukları, hayvanları ve kentteki her şeyi yağmalayabilirsiniz. Tanrınız RAB'bin size verdiği düşman malını kullanabilirsiniz.
15 Bw’otyo bw’onookolanga ebibuga byonna ebinaakubeeranga ewala ennyo, ebitaabenga bibuga bya mawanga gano.
Yakınınızdaki uluslara ait olmayan sizden çok uzak kentlerin tümüne böyle davranacaksınız.
16 Naye mu bibuga bino Mukama Katonda wo by’akuwa okuba obusika bwo obw’enkalakkalira, tewaabeerengawo kintu n’ekimu ky’onoolekangamu nga kissa omukka, byonna onoobizikiririzanga ddala.
“Ancak Tanrınız RAB'bin miras olarak size vereceği bu halkların kentlerinde soluk alan hiçbir canlıyı yaşatmayacaksınız.
17 Abakiiti, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi, onoobamalirangawo ddala, nga Mukama Katonda wo bw’akulagidde,
Tanrınız RAB'bin size buyurduğu gibi, onları –Hitit, Amor, Kenan, Periz, Hiv ve Yevus halklarını– tümüyle yok edeceksiniz.
18 balemenga kubayigiriza bikolobero bye bakola nga basinza bakatonda baabwe, bwe mutyo nammwe ne mwonoonanga eri Mukama Katonda wammwe.
Öyle ki, ilahlarına taparken yaptıkları iğrençliklere uymayı size öğretemesinler, siz de Tanrınız RAB'be karşı günah işlemeyesiniz.
19 Bw’onoozingizanga ekibuga, ng’olwana nakyo, okumala ebbanga eddene olyoke okiwangule, toddiranga mbazzi n’ozikiriza emiti gyakyo gyonna, kubanga ojjanga kwetaaga okulyanga ku bibala byagyo. Togitemanga. Emiti egy’omu nnimiro nagyo bantu olyoke ogizingize?
“Bir kentle savaşırken, kenti ele geçirmek için kuşatma uzun sürerse, ağaçlarına balta vurup yok etmeyeceksiniz. Ağaçların ürünlerini yiyebilirsiniz, ama onları kesmeyeceksiniz. Çünkü kırdaki ağaçlar insan değil ki kuşatma altına alasınız.
20 Naye emiti gy’omanyi nga si gya bibala, egyo onoogitemanga olyoke ogikozesenga okuzimba ekisenge kw’onoosinziiranga okulwananga n’ekibuga ky’onoobanga ozingizza, okutuusa lwe kinaagwanga.
Yalnız ürün vermediğini bildiğiniz ağaçları kesip yok edebilirsiniz. Sizinle savaşan kenti ele geçirene dek kesilen ağaçları kuşatma işinde kullanabilirsiniz.”

< Ekyamateeka Olwokubiri 20 >