< Ekyamateeka Olwokubiri 19 >

1 Mukama Katonda wo bw’alimala okuzikiriza amawanga kaakano agali mu nsi gy’akuwa, n’ogyefunira, ne weetwalira ebibuga byabwe, n’amaka gaabwe n’obeera omwo,
כִּֽי־יַכְרִית יְהֹוָה אֱלֹהֶיךָ אֶת־הַגּוֹיִם אֲשֶׁר יְהֹוָה אֱלֹהֶיךָ נֹתֵן לְךָ אֶת־אַרְצָם וִֽירִשְׁתָּם וְיָשַׁבְתָּ בְעָרֵיהֶם וּבְבָתֵּיהֶֽם׃
2 weeyawulirangako ebibuga bisatu nga biri wakati mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugirya.
שָׁלוֹשׁ עָרִים תַּבְדִּיל לָךְ בְּתוֹךְ אַרְצְךָ אֲשֶׁר יְהֹוָה אֱלֹהֶיךָ נֹתֵן לְךָ לְרִשְׁתָּֽהּ׃
3 Okolanga enguudo eziraga mu bibuga ebyo; ensi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ogyawulangamu ebitundu bisatu, kale buli anattanga omuntu anaddukiranga mu kimu ku bibuga eby’omu bitundu ebyo.
תָּכִין לְךָ הַדֶּרֶךְ וְשִׁלַּשְׁתָּ אֶת־גְּבוּל אַרְצְךָ אֲשֶׁר יַנְחִֽילְךָ יְהֹוָה אֱלֹהֶיךָ וְהָיָה לָנוּס שָׁמָּה כׇּל־רֹצֵֽחַ׃
4 Etteeka lino likwata ku muntu anattanga munne nga tagenderedde kubanga anaabanga tamulinaako kiruyi kyonna, oyo eyasse anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo awonye obulamu bwe.
וְזֶה דְּבַר הָרֹצֵחַ אֲשֶׁר־יָנוּס שָׁמָּה וָחָי אֲשֶׁר יַכֶּה אֶת־רֵעֵהוּ בִּבְלִי־דַעַת וְהוּא לֹא־שֹׂנֵא לוֹ מִתְּמֹל שִׁלְשֹֽׁם׃
5 Ekyokulabirako kiikino: Singa omuntu agenda ne munne okutema omuti mu kibira n’embazzi, naye ng’abadde agiwuuba ateme omuti, embazzi n’ewanguka mu kiti kyayo, n’etema munne n’afa, eyasse anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n’atattibwa.
וַאֲשֶׁר יָבֹא אֶת־רֵעֵהוּ בַיַּעַר לַחְטֹב עֵצִים וְנִדְּחָה יָדוֹ בַגַּרְזֶן לִכְרֹת הָעֵץ וְנָשַׁל הַבַּרְזֶל מִן־הָעֵץ וּמָצָא אֶת־רֵעֵהוּ וָמֵת הוּא יָנוּס אֶל־אַחַת הֶעָרִים־הָאֵלֶּה וָחָֽי׃
6 Ebibuga ebyo tebisaanira kuba wala nnyo, kubanga oli ayagala okuwalanira omufu eggwanga bw’anaafubanga okugoba eyasse embiro okutuusa ng’amukutte, aleme kusobola kumukwata, naye n’amutta, songa eyasse oli yali tagenderedde kutta munne, kubanga ku bombi tekwaliko mulabe wa munne.
פֶּן־יִרְדֹּף גֹּאֵל הַדָּם אַחֲרֵי הָרֹצֵחַ כִּי־יֵחַם לְבָבוֹ וְהִשִּׂיגוֹ כִּֽי־יִרְבֶּה הַדֶּרֶךְ וְהִכָּהוּ נָפֶשׁ וְלוֹ אֵין מִשְׁפַּט־מָוֶת כִּי לֹא שֹׂנֵא הוּא לוֹ מִתְּמוֹל שִׁלְשֽׁוֹם׃
7 Kyenva nkulagira okweyawulirangako ebibuga bisatu.
עַל־כֵּן אָנֹכִי מְצַוְּךָ לֵאמֹר שָׁלֹשׁ עָרִים תַּבְדִּיל לָֽךְ׃
8 Mukama Katonda wo bw’anaakugaziyirizanga amatwale go, nga bwe yalayirira bajjajjaabo, n’akuwa ettaka lyonna lye yasuubiza bajjajjaabo,
וְאִם־יַרְחִיב יְהֹוָה אֱלֹהֶיךָ אֶת־גְּבֻלְךָ כַּאֲשֶׁר נִשְׁבַּע לַאֲבֹתֶיךָ וְנָתַן לְךָ אֶת־כׇּל־הָאָרֶץ אֲשֶׁר דִּבֶּר לָתֵת לַאֲבֹתֶֽיךָ׃
9 kasita onookwatanga amateeka gonna ge nkulagira leero, kwe kwagalanga Mukama Katonda wo, n’okutambuliranga mu makubo ge, kale ku bibuga bino ebisatu onooyongerangako ebirala bisatu.
כִּֽי־תִשְׁמֹר אֶת־כׇּל־הַמִּצְוָה הַזֹּאת לַעֲשֹׂתָהּ אֲשֶׁר אָנֹכִי מְצַוְּךָ הַיּוֹם לְאַהֲבָה אֶת־יְהֹוָה אֱלֹהֶיךָ וְלָלֶכֶת בִּדְרָכָיו כׇּל־הַיָּמִים וְיָסַפְתָּ לְךָ עוֹד שָׁלֹשׁ עָרִים עַל הַשָּׁלֹשׁ הָאֵֽלֶּה׃
10 Ekyo onookikolanga okuziyiza omusaayi gw’omuntu ataliiko musango okuyiikira obwereere mu nsi yo Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, omusaayi oguyiise gulemenga kubeera ku ggwe.
וְלֹא יִשָּׁפֵךְ דָּם נָקִי בְּקֶרֶב אַרְצְךָ אֲשֶׁר יְהֹוָה אֱלֹהֶיךָ נֹתֵן לְךָ נַחֲלָה וְהָיָה עָלֶיךָ דָּמִֽים׃
11 Naye omuntu bw’anaabanga n’ekiruyi ku munne, n’amwekwekerera n’amutta, n’alyoka addukira mu kimu ku bibuga ebyo,
וְכִֽי־יִהְיֶה אִישׁ שֹׂנֵא לְרֵעֵהוּ וְאָרַב לוֹ וְקָם עָלָיו וְהִכָּהוּ נֶפֶשׁ וָמֵת וְנָס אֶל־אַחַת הֶעָרִים הָאֵֽל׃
12 abakulembeze abakulu ab’omu kibuga ky’omutemu, banaamutumyangayo ne bamuggyayo, ne bamukwasa anaabanga agenda okuwoolera eggwanga ery’omusaayi gw’omufu, omutemu n’alyoka attibwa.
וְשָֽׁלְחוּ זִקְנֵי עִירוֹ וְלָקְחוּ אֹתוֹ מִשָּׁם וְנָתְנוּ אֹתוֹ בְּיַד גֹּאֵל הַדָּם וָמֵֽת׃
13 Tomusaasiranga. Kikugwanira okumalirawo ddala mu Isirayiri okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, olyoke obeerenga bulungi n’emirembe.
לֹא־תָחוֹס עֵֽינְךָ עָלָיו וּבִֽעַרְתָּ דַֽם־הַנָּקִי מִיִּשְׂרָאֵל וְטוֹב לָֽךְ׃
14 Tosimbulanga bituuti ebiri mu mpenda eziraga ensalo ya buli muntu ne muliraanwa we, ebyasimbibwawo ab’omu mirembe egyasooka, ebiraga ettaka ly’onoogabana mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugirya.
לֹא תַסִּיג גְּבוּל רֵֽעֲךָ אֲשֶׁר גָּבְלוּ רִאשֹׁנִים בְּנַחֲלָֽתְךָ אֲשֶׁר תִּנְחַל בָּאָרֶץ אֲשֶׁר יְהֹוָה אֱלֹהֶיךָ נֹתֵן לְךָ לְרִשְׁתָּֽהּ׃
15 Omujulizi omu taamalenga, okusinzisa omuntu omusango gw’anaabanga azzizza, oba olw’ekikolwa ekibi ky’anaabanga akoze nga kyekuusa ku musango gw’anaabanga azzizza. Wanaamalanga kubeerawo obujulizi bw’abantu babiri oba basatu, olwo nno ekivunaanwa omuntu oyo ne kiryoka kinywezebwa.
לֹֽא־יָקוּם עֵד אֶחָד בְּאִישׁ לְכׇל־עָוֺן וּלְכׇל־חַטָּאת בְּכׇל־חֵטְא אֲשֶׁר יֶֽחֱטָא עַל־פִּי ׀ שְׁנֵי עֵדִים אוֹ עַל־פִּי שְׁלֹשָֽׁה־עֵדִים יָקוּם דָּבָֽר׃
16 Omujulizi ow’obulimba bw’aneesowolangayo n’avunaana omuntu nti musobya,
כִּֽי־יָקוּם עֵד־חָמָס בְּאִישׁ לַעֲנוֹת בּוֹ סָרָֽה׃
17 abantu bombi abawozaŋŋanya banajjanga mu maaso ga Mukama Katonda awali bakabona n’abalamuzi abanaabanga ku mulimu mu kiseera ekyo.
וְעָמְדוּ שְׁנֵֽי־הָאֲנָשִׁים אֲשֶׁר־לָהֶם הָרִיב לִפְנֵי יְהֹוָה לִפְנֵי הַכֹּֽהֲנִים וְהַשֹּׁפְטִים אֲשֶׁר יִהְיוּ בַּיָּמִים הָהֵֽם׃
18 Abalamuzi kinaabagwaniranga okubuulirizanga ennyo n’obwegendereza. Omujulizi oyo bw’anaakakasibwanga nga mulimba, ng’obujulizi bw’awadde ku munne bugingirire,
וְדָרְשׁוּ הַשֹּׁפְטִים הֵיטֵב וְהִנֵּה עֵֽד־שֶׁקֶר הָעֵד שֶׁקֶר עָנָה בְאָחִֽיו׃
19 munaamukolangako nga naye bw’abadde ayagala munne akolweko. Bw’atyo n’omalirawo ddala ebikolwa ebibi ebiri wakati mu mmwe.
וַעֲשִׂיתֶם לוֹ כַּאֲשֶׁר זָמַם לַעֲשׂוֹת לְאָחִיו וּבִֽעַרְתָּ הָרָע מִקִּרְבֶּֽךָ׃
20 Abalala bwe banaakiwuliranga banaatyanga, ng’olwo mu mmwe temukyali baddayo kuzzanga musango gufaanana ng’ogwo.
וְהַנִּשְׁאָרִים יִשְׁמְעוּ וְיִרָאוּ וְלֹֽא־יֹסִפוּ לַעֲשׂוֹת עוֹד כַּדָּבָר הָרָע הַזֶּה בְּקִרְבֶּֽךָ׃
21 Tobasaasiranga; obulamu busasulwenga na bulamu, eriiso olw’eriiso, erinnyo olw’erinnyo, omukono olw’omukono n’ekigere olw’ekigere.
וְלֹא תָחוֹס עֵינֶךָ נֶפֶשׁ בְּנֶפֶשׁ עַיִן בְּעַיִן שֵׁן בְּשֵׁן יָד בְּיָד רֶגֶל בְּרָֽגֶל׃

< Ekyamateeka Olwokubiri 19 >