< Ekyamateeka Olwokubiri 16 >

1 Ojjukiranga omwezi ogwa Abibu ng’ogukwatiramu Okuyitako kwa Mukama Katonda wo, kubanga ekiro mu mwezi gwa Abibu, Mukama Katonda wo mwe yakuggyira mu nsi y’e Misiri.
Држи месец Авив, те слави пасху Господу Богу свом, јер месеца Авива извео те је Господ Бог твој из Мисира ноћу.
2 Onooleetanga ekiweebwayo eri Mukama eky’Okuyitako, ng’okiggya mu ggana lyo, ne mu kisibo kyo mu kifo Mukama ky’anaabanga yerondedde nga kye ky’okubeerangamu Erinnya lye.
И закољи пасху Господу Богу свом, од крупне и ситне стоке, на месту које изабере Господ да онде настани име своје.
3 Tokiryanga na mugaati omuzimbulukuse. Onoomalanga ennaku musanvu ng’emigaati gy’olya si mizimbulukuse, gye migaati egy’okulaba ennaku, kubanga mu Misiri wavaayo mu bwangu, bw’otyo olyokenga ojjukirenga, mu nnaku zonna ez’obulamu bwo, olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri.
Не једи с њом хлеб кисели; седам дана једи с њом пресан хлеб, хлеб невољнички, јер си хитећи изашао из земље мисирске, па да се опомињеш дана кад си изашао из Мисира, док си год жив.
4 Tewaabeerengawo asangibwa na kizimbulukusa mu nsi yo yonna okumalanga ennaku musanvu. Ennyama gy’onooteekateekanga, ey’ekiweebwayo, akawungeezi ku lunaku olw’olubereberye teesigalengawo kutuusa nkeera.
И да се не види у тебе квасац за седам дана нигде међу границама твојим, и да не остане преко ноћ ништа до јутра од меса које закољеш први дан увече.
5 Tokkirizibwenga kuweerangayo mu bibuga byo Mukama Katonda wo by’akuwa, ekiweebwayo eky’Okuyitako,
Не можеш клати пасхе на сваком месту свом које ти да Господ Бог твој;
6 wabula onookiweerangayo mu kifo Mukama ky’anaabanga yeerondedde eky’okubeerangamu Erinnya lye. Eyo gy’onooweerangayo Okuyitako akawungeezi ng’enjuba egwa, ng’ojjukiranga olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri.
Него на месту које изабере Господ Бог твој да онде настани име своје, онде кољи пасху увече о сунчаном заходу у исто време кад си пошао из Мисира.
7 Onoofumbanga okuyitako okwo n’okuliira mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera. Enkeera onoddangayo mu weema yo.
А пеци је и једи на месту које изабере Господ Бог твој; и сутрадан вративши се иди у своје шаторе.
8 Onoolyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku mukaaga, kyokka ku lunaku olw’omusanvu kunaabanga kukuŋŋaana mu maaso ga Mukama Katonda wo okumusinza; tolukolerangako mulimu gwonna.
Шест дана једи пресне хлебове, а седми дан да је празник Господњи, тада не ради ништа.
9 Onoobalanga wiiki musanvu okuva ku kiseera lw’onookungulanga emmere ey’empeke okuva mu nnimiro yo omulundi ogusooka.
Седам недеља наброј; кад стане срп радити по летини, онда почни бројати седам недеља.
10 Kale nno onookwatanga Embaga ya Wiiki ezo ng’oleetera Mukama Katonda wo ekiweebwayo ekya kyeyagalire ekinaavanga mu ngalo zo, ng’emikisa bwe ginaabeeranga Mukama Katonda wo gy’anaabanga akuwadde.
Тада празнуј празник недеља Господу Богу свом; шта можеш приносити драговољно како те буде благословио Господ Бог твој.
11 Onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’anaabanga yeerondedde okubeerangamu Erinnya lye. Onoosanyukanga ne batabani bo, ne bawala bo, n’abaweereza bo abasajja, n’abaweereza bo abakazi, n’Omuleevi anaabeeranga mu bibuga byo, ne munnaggwanga ne mulekwa, ne nnamwandu abanaabeeranga mu mmwe.
И весели се пред Господом Богом својим ти и син твој и кћи твоја и слуга твој и слушкиња твоја, и Левит који буде у месту твом, и дошљак и сирота и удовица, што буду код тебе, на месту које изабере Господ Бог твој да онде настани име своје.
12 Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu nsi ey’e Misiri, osaana ogonderenga ebiragiro ebyo n’obwegendereza.
И опомињи се да си био роб у Мисиру, те чувај и твори уредбе ове.
13 Onookwatanga Embaga ey’Ensiisira okumala ennaku musanvu ng’omaze okuyingiza ebyamakungula byo okubiggya mu gguuliro, ne wayini ng’omuggye mu ssogolero lyo.
Празник сеница празнуј седам дана, кад збереш с гумна свог и из каце своје.
14 Onoojaguzanga ng’oli ku Mbaga eyo, ggwe, ne mutabani wo, ne muwala wo, n’omuweereza wo omusajja, n’omuweereza wo omukazi, n’Omuleevi, n’omunnaggwanga, ne mulekwa, ne nnamwandu, abanaabeeranga mu bibuga byo.
И весели се на празник свој ти и син твој и слуга твој и слушкиња твоја, и Левит и дошљак и сирота и удовица, што буду у месту твом.
15 Onoomalanga ennaku musanvu ng’ojaguza ku Mbaga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo Mukama ky’aneeronderanga. Kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byonna eby’amakungula go, ne mu mirimu gyo gyonna gy’onootuusangako engalo zo, essanyu lyo bwe lityo linaabanga lijjuvu.
Седам дана празнуј празник Господу Богу свом на месту које изабере Господ, кад те благослови Господ Бог твој у свакој летини твојој и у сваком послу руку твојих; и буди весео.
16 Abasajja bonna mu mmwe banaakuŋŋaananga emirundi esatu buli mwaka, mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo ky’aneeronderanga, ku Mbaga y’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, ne ku Mbaga eya Wiiki Omusanvu, ne ku Mbaga ey’Ensiisira. Tewaabengawo n’omu anajjanga engalo enjereere awali Mukama.
Три пута у години нека дође свако мушко пред Господа Бога твог на место које изабере: на празник пресних хлебова, на празник недеља и на празник сеница, али нико да не дође празан пред Господа;
17 Buli omu anaaleetanga ekirabo kye ng’obusobozi bwe bwe bunaabanga, nga bwesigamizibwa ku mikisa Mukama Katonda wo gy’anaabanga akuwadde.
Него сваки с даром од оног што има, према благослову Господа Бога твог којим те је даривао.
18 Onoolondanga abalamuzi n’abakulembeze mu bantu, mu bika byo byonna, mu bibuga byo byonna, Mukama Katonda wo by’akuwa, baweerezenga abantu nga babasalirawo ensonga zaabwe nga tebasaliriza.
Судије и управитеље постави себи по свим местима која ти да Господ Бог твој по племенима твојим, и нека суде народу право.
19 Obeeranga n’obwenkanya, era tobanga na kyekubiira ng’osala emisango. Tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso g’omugezi era ebuzaabuza ebigambo by’abatuukirivu.
Не изврћи правде и не гледај ко је ко; не примај поклона. јер поклон заслепљује очи мудрима и изврће речи праведнима.
20 Ogobereranga bwenkanya bwokka olyoke olye ensi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
Сасвим иди за правдом, да би био жив и наследио земљу коју ти даје Господ Бог твој.
21 Tosimbanga miti gya kusinza okumpi n’ekyoto ky’onoozimbiranga Mukama Katonda wo;
Не сади луга ни од каквих дрвета код олтара Господа Бога свог, који начиниш;
22 wadde okuyimirizangawo empagi ey’amayinja ey’okusinzanga; kubanga ebyo byonna Mukama Katonda wo tabyagala abikyayira ddala.
И не подижи никакав лик; на то мрзи Господ Бог твој.

< Ekyamateeka Olwokubiri 16 >