< Ekyamateeka Olwokubiri 15 >

1 Ku buli nkomerero y’omwaka ogw’omusanvu, amabanja gonna onoogasonyiwanga.
מקץ שבע שנים תעשה שמטה׃
2 Okusonyiwa okwo kunaabeeranga bwe kuti: buli muntu eyawola munne ebbanja, anaasazangamu ebbanja eryo lye yamuwola. Temubanjanga Bayisirayiri bannammwe, kubanga ebiro Mukama by’anaabanga ataddewo eby’okusonyiwagana amabanja binaabanga bimaze okulangirirwa.
וזה דבר השמטה שמוט כל בעל משה ידו אשר ישה ברעהו לא יגש את רעהו ואת אחיו כי קרא שמטה ליהוה׃
3 Onooyinzanga okubanja munnaggwanga akusasule, naye ebbanja muganda wo ly’akulinako onoolimusonyiwanga.
את הנכרי תגש ואשר יהיה לך את אחיך תשמט ידך׃
4 Naye tewaabeerengawo mwavu mu mmwe kubanga ng’otuuse mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugyefunira ng’obutaka bwo obw’enkalakkalira n’akuyiwangako emikisa gye emingi,
אפס כי לא יהיה בך אביון כי ברך יברכך יהוה בארץ אשר יהוה אלהיך נתן לך נחלה לרשתה׃
5 kasita onoogonderanga ddala Mukama Katonda wo, n’ogoberera n’obwegendereza ebiragiro bino byonna bye nkuwa leero.
רק אם שמוע תשמע בקול יהוה אלהיך לשמר לעשות את כל המצוה הזאת אשר אנכי מצוך היום׃
6 Kubanga Mukama Katonda wo agenda kukuyiwako emikisa gye nga bwe yakusuubiza. Amawanga mangi onoogawolanga naye ggwe tojjanga kugeewolako. Onoofuganga amawanga mangi, naye go tegaakufugenga.
כי יהוה אלהיך ברכך כאשר דבר לך והעבטת גוים רבים ואתה לא תעבט ומשלת בגוים רבים ובך לא ימשלו׃
7 Bw’onoobanga oli mu bibuga by’omu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, mu mmwe bwe munaabangamu munno omwavu ali mu kwetaaga tokakanyazanga mutima gwo wadde okukodowaliranga muganda wo oyo omwavu.
כי יהיה בך אביון מאחד אחיך באחד שעריך בארצך אשר יהוה אלהיך נתן לך לא תאמץ את לבבך ולא תקפץ את ידך מאחיך האביון׃
8 Omwanjululizanga engalo zo, n’omuwolanga n’okwagala kyonna ky’anaabanga yeetaaga okumuwewulako obuzibu bwe.
כי פתח תפתח את ידך לו והעבט תעביטנו די מחסרו אשר יחסר לו׃
9 Weekuumenga nnyo olemenga kubeeranga na ndowooza eno embi mu mutima gwo nti, “Omwaka ogw’omusanvu ogw’okusonyiwa amabanja gusembedde,” muganda wo n’omukwatirwa ettima n’otobaako ky’omuwa. Muganda wo ayinza okujulira eri Mukama n’osangibwanga ng’ogudde mu kibi.
השמר לך פן יהיה דבר עם לבבך בליעל לאמר קרבה שנת השבע שנת השמטה ורעה עינך באחיך האביון ולא תתן לו וקרא עליך אל יהוה והיה בך חטא׃
10 Muwenga n’okwagala n’obutajuliriranga, kubanga olw’omwoyo ng’ogwo, Mukama Katonda wo ajjanga kukuwanga omukisa mu mirimu gyo gyonna, ne mu buli kintu ky’onootuusangako engalo zo.
נתון תתן לו ולא ירע לבבך בתתך לו כי בגלל הדבר הזה יברכך יהוה אלהיך בכל מעשך ובכל משלח ידך׃
11 Olwokubanga mu nsi temuubulengamu baavu abali mu kwetaaga, kyenva nkulagira nti muganda wo omwavu era ali mu kwetaaga omwanjululizanga engalo zo bulijjo mu nsi yo.
כי לא יחדל אביון מקרב הארץ על כן אנכי מצוך לאמר פתח תפתח את ידך לאחיך לעניך ולאבינך בארצך׃
12 Omusajja Omwebbulaniya oba omukazi Omwebbulaniya gw’onoobanga oguze okukuweerezanga, bw’anaamalangako emyaka omukaaga, mu mwaka ogw’omusanvu onoomuddizanga eddembe lye.
כי ימכר לך אחיך העברי או העבריה ועבדך שש שנים ובשנה השביעת תשלחנו חפשי מעמך׃
13 Era bw’onoomutanga tomusiibulanga ngalo nsa.
וכי תשלחנו חפשי מעמך לא תשלחנו ריקם׃
14 Omuwangako, nga teweebalira, ku magana go, ne ku mmere yo ey’empeke, ne ku wayini wo. Omuwanga nga Mukama Katonda wo bw’anaabanga akuwadde omukisa.
העניק תעניק לו מצאנך ומגרנך ומיקבך אשר ברכך יהוה אלהיך תתן לו׃
15 Ojjukiranga nga wali muddu mu nsi y’e Misiri, Mukama Katonda wo n’akununulayo. Noolwekyo kyenva nkuwa ekiragiro kino leero.
וזכרת כי עבד היית בארץ מצרים ויפדך יהוה אלהיך על כן אנכי מצוך את הדבר הזה היום׃
16 Naye omuddu bw’anaakugambanga nti, “Sijja kuva wano,” kubanga akwagala nnyo ggwe n’abali mu maka go, era nga bw’abeera naawe aba bulungi;
והיה כי יאמר אליך לא אצא מעמך כי אהבך ואת ביתך כי טוב לו עמך׃
17 kale nno, onoomulazanga awali oluggi, n’oddira olukato n’olufumitanga mu kutu kwe okw’ebweru ne luyingira ne mu luggi; olwo anaabanga afuuse muweereza wo ennaku zonna ez’obulamu bwe bwonna. N’omuweereza wo omukazi naye onoomuyisanga bw’otyo.
ולקחת את המרצע ונתתה באזנו ובדלת והיה לך עבד עולם ואף לאמתך תעשה כן׃
18 Tolowoozanga nti omukwatiddwa ekisa kubanga akuweerezza okumala emyaka mukaaga, nga buli mulimu gw’akola gwandikoleddwanga abaweereza ab’empeera babiri balamba. Era mu byonna by’onookolanga, Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa.
לא יקשה בעינך בשלחך אתו חפשי מעמך כי משנה שכר שכיר עבדך שש שנים וברכך יהוה אלהיך בכל אשר תעשה׃
19 Buli bibereberye ebisajja ebinaazaalibwanga mu ggana lyo ne mu kisibo kyo, onoobitukuzanga era binaabanga bya Mukama Katonda wo. Ente zo ennume embereberye tozikozesanga mirimu, n’endiga zo embereberye tozisalangako byoya.
כל הבכור אשר יולד בבקרך ובצאנך הזכר תקדיש ליהוה אלהיך לא תעבד בבכר שורך ולא תגז בכור צאנך׃
20 Ebibereberye ebyo onoobiryanga buli mwaka, buli mwaka, ggwe n’ab’omu nju yo bonna, nga mubiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo Mukama ky’anaabanga yeerondedde.
לפני יהוה אלהיך תאכלנו שנה בשנה במקום אשר יבחר יהוה אתה וביתך׃
21 Ekisolo bwe kinaabeerangako akamogo, gamba nga kirema, oba nga kizibe kya maaso, oba nga kiriko ekikyamu kyonna ekinene, tokireetanga ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda wo.
וכי יהיה בו מום פסח או עור כל מום רע לא תזבחנו ליהוה אלהיך׃
22 Onookiriiranga mu bibuga byo. Omulongoofu n’atali mulongoofu mwenna munaabiryanga nga bwe munaalyanga empeewo oba enjaza.
בשעריך תאכלנו הטמא והטהור יחדו כצבי וכאיל׃
23 Naye omusaayi togulyanga, oguyiwanga wansi ku ttaka ng’ayiwa amazzi.
רק את דמו לא תאכל על הארץ תשפכנו כמים׃

< Ekyamateeka Olwokubiri 15 >