< Ekyamateeka Olwokubiri 12 >

1 Gano ge mateeka n’ebiragiro bye musaana okukwatanga n’obwegendereza, nga muli mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjaabo gy’akuwadde okubeera obutaka bwo ebbanga lyonna lye mulimala ku nsi.
네 열조의 하나님 여호와께서 네게 주셔서 얻게 하신 땅에서 너희가 평생에 지켜 행할 규례와 법도는 이러하니라
2 Muzikiririzanga ddala ebifo byonna ebiri ku gasozi ne ku nsozi, ne wansi w’agati aganene,
너희가 쫓아 낼 민족들이 그 신들을 섬기는 곳은 높은 산이든지 작은 산이든지 푸른 나무 아래든지 무론하고 그 모든 곳을 너희가 마땅히 파멸하며
3 bannaggwanga be mugenda okutwalako ensi yaabwe gye basinziza; n’amayinja gaabwe mugaasaayasanga, n’empagi zaabwe eza Asera mulizimenyaamenya ne muzookya mu muliro; n’ebibajje ebya bakatonda baabwe mubitemaatemanga n’amannya gaabwe mu bifo ebyo ne mugasanguliramu ddala.
그 단을 헐며 주상을 깨뜨리며 아세라 상을 불사르고 또 그 조각한 신상들을 찍어서 그 이름을 그곳에서 멸하라
4 Mukama Katonda wammwe, ye temumusinzanga mu ngeri eyo nga bali bwe bakola.
너희 하나님 여호와에게는 너희가 그처럼 행하지 말고
5 Mmwe munoonyanga mu bika byammwe byonna, ekifo Mukama Katonda wammwe ky’alibalondera we munaateekanga Erinnya lye ne mumuzimbira awo ennyumba ye ey’okubeerangamu. Mu kifo ekyo gye munaagendanga okumusinza;
오직 너희 하나님 여호와께서 자기 이름을 두시려고 너희 모든 지파 중에서 택하신 곳인 그 거하실 곳으로 찾아 나아가서
6 awo we munaaleetanga ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ne biweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’obweyamo bwammwe, n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire, n’ebibereberye eby’omu bisibo byammwe n’eby’omu biraalo byammwe.
너희 번제와 너희 희생과 너희의 십일조와 너희 손의 거제와 너희 서원제와 낙헌 예물과 너희 우양의 처음 낳은 것들을 너희는 그리로 가져다가 드리고
7 Mmwe n’ab’omu nnyumba zammwe munaaliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, munaasanyukanga ne mwenyumirizanga mu buli kintu kyonna kye munaabanga mukoze n’emikono gyammwe, kubanga Mukama Katonda wo anaabanga akuwadde omukisa.
거기 곧 너희 하나님 여호와 앞에서 먹고 너희 하나님 여호와께서 너희 손으로 수고한 일에 복 주심을 인하여 너희와 너희 가족이 즐거워할지니라
8 Temukolanga nga bwe tukola wano leero, nga buli omu akola nga bw’alaba ekisaanidde,
우리가 오늘날 여기서는 각기 소견대로 하였거니와 너희가 거기서는 하지 말지니라
9 kubanga temunnatuuka mu kiwummulo ne mu busika Mukama Katonda wammwe bw’abawa.
너희가 너희 하나님 여호와의 주시는 안식과 기업에 아직은 이르지 못하였거니와
10 Naye bwe mulimala okusomoka omugga Yoludaani, ne mubeera mu nsi Mukama Katonda wammwe gy’abawa nga bwe busika bwammwe, ng’abawadde n’okuwummula, nga temukyataataaganyizibwa balabe bammwe abanaabanga babeetoolodde n’okutuula ne mutuulanga mu mirembe;
너희가 요단을 건너 너희 하나님 여호와께서 너희에게 기업으로 주시는 땅에 거하게 될 때 또는 여호와께서 너희로 너희 사방의 모든 대적을 이기게 하시고 너희에게 안식을 주사 너희로 평안히 거하게 하실 때에
11 kale nno, mu kifo ekyo Mukama Katonda wammwe kyanaabanga yeerondedde okutuuzanga omwo Erinnya lye, omwo mwe munaaleetanga buli kintu kyonna kye mbalagira: ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, n’ebiweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’ebirabo ebisinga obulungi mu bintu byammwe bye munaabanga mweyamye okuwaayo eri Mukama.
너희는 너희 하나님 여호와께서 자기 이름을 두시려고 한 곳을 택하실 그 곳으로 나의 명하는 것을 모두 가지고 갈지니 곧 너희 번제와 너희 희생과 너희 십일조와 너희 손의 거제와 너희가 여호와께 서원하는 모든 아름다운 서원물을 가져가고
12 Munaasanyukiranga awo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, n’abaweereza bammwe abasajja, n’abaweereza bammwe abakazi, n’Abaleevi ab’omu bibuga byammwe, kubanga bo ku bwabwe tebalifuna mugabo oba obusika okufaanana nga mmwe.
너희와 너희 자녀와 노비와 함께 너희 하나님 여호와 앞에서 즐거워할 것이요 네 성중에 거하는 레위인과도 그리할찌니 레위인은 너희 중에 분깃이나 기업이 없음이니라
13 Weekuumanga n’otaweerayo biweebwayo by’omu buli kifo kyonna ky’onoolabanga.
너는 삼가서 네게 보이는 아무 곳에서든지 번제를 드리지 말고
14 Obiweerengayo mu kifo ekyo ekimu kyokka Mukama ky’anaakulonderanga okuva mu kimu ku bika byo; era omwo mw’onookoleranga ebyo byonna bye nkulagira.
오직 너희의 한 지파 중에 여호와의 택하실 그 곳에서 너는 번제를 드리고 또 내가 네게 명하는 모든 것을 거기서 행할지니라
15 Naye onettiranga ku bisolo ebinaabanga mu bibuga byo, oba mpeewo oba njaza, n’olya ennyama nnyingi nga bw’onooyagalanga, ng’omukisa bwe guli Mukama Katonda wo gw’anaakuwanga. Abalongoofu mu by’emikolo n’abatali balongoofu, bonna banaalyanga.
그러나 네 하나님 여호와께서 네게 주신 복을 따라 각 성에서 네 마음에 즐기는 대로 생축을 잡아 그 고기를 먹을 수 있나니 곧 정한 자나 부정한 자를 무론하고 노루나 사슴을 먹음과 같이 먹으려니와
16 Wabula omusaayi temugulyanga; munaaguyiwanga wansi ku ttaka ng’amazzi.
오직 그 피는 먹지 말고 물 같이 땅에 쏟을 것이며
17 Mu bibuga byo toliirangamu kitundu ekimu eky’ekkumi eky’emmere yo ey’empeke, oba ekya wayini wo, oba eky’amafuta go; oba ebibereberye eby’omu bisibo byo n’eby’omu biraalo byo, oba n’obweyamo bwo oba n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire; wadde n’ebirabo ebitali bya bulijjo.
너는 곡식과 포도주와 기름의 십일조와 네 우양의 처음 낳은 것과 너의 서원을 갚는 예물과 너의 낙헌 예물과 네 손의 거제물은 너의 각 성에서 먹지 말고
18 Onoobiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo ekyo Mukama Katonda wo ky’anaabanga akulondedde; ggwe, ne mutabani wo, ne muwala wo, n’omuweereza wo omusajja n’omuweereza wo omukazi, n’Omuleevi anaabanga mu bibuga byo, era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu buli kintu kyonna ky’onoobanga okoze n’emikono gyo.
오직 네 하나님 여호와께서 택하실 곳에서 네 하나님 여호와 앞에서 너는 네 자녀와 노비와 성중에 거하는 레위인과 함께 그것을 먹고 또 네 손으로 수고한 모든 일을 인하여 네 하나님 여호와 앞에서 즐거워하되
19 Weekuumanga nnyo obutalagajjaliranga Muleevi ebbanga lyonna ly’olimala ng’oli mulamu ku nsi.
너는 삼가서 네 땅에 거하는 동안에 레위인을 저버리지 말지니라
20 Mukama Katonda wo bw’aligaziya amatwale go, nga bwe yakusuubiza, n’oyoyanga okulya ku nnyama ng’ogamba nti, “Nandiyagadde okulya ku nnyama.” Kale, onoolyanga ennyama ennyingi nga bw’onooyagalanga.
네 하나님 여호와께서 네게 허락하신 대로 네 지경을 넓히신 후에 네 마음에 고기를 먹고자 하여 이르기를 내가 고기를 먹으리라 하면 네가 무릇 마음에 좋아하는 대로 고기를 먹을 수 있으리니
21 Ekifo, Mukama Katonda wo ky’anaabanga akulondedde okuteekamu Erinnya lye, bwe kinaabanga kiri wala n’ewuwo kale onooyinzanga okutta ku zimu ku nsolo ez’omu bisibo byo ne mu biraalo byo Mukama by’anaabanga akuwadde, nga bwe nkulagidde; era mu bibuga byo onooyinzanga okulya ennyama ennyingi nga bw’onooyagalanga.
만일 네 하나님 여호와께서 자기 이름을 두시려고 택하신 곳이 네게서 멀거든 내가 네게 명한 대로 너는 여호와의 주신 우양을 잡아 너의 각 성에서 네가 무릇 마음에 좋아하는 것을 먹되
22 Onoogiryanga nga bw’onoolyanga empeewo n’enjaza. Abalongoofu n’abatali balongoofu bonna banaalyanga.
정한 자나 부정한 자를 무론하고 노루나 사슴을 먹음 같이 먹을 수 있거니와
23 Naye weekuumenga obutalyanga musaayi; kubanga omusaayi bwe bulamu, ate nga tekikugwaniranga kulyanga bulamu ng’olya ennyama.
오직 크게 삼가서 그 피는 먹지 말라 피는 그 생명인즉 네가 그 생명을 고기와 아울러 먹지 못하리니
24 Togulyanga; oguyiwanga wansi ku ttaka ng’amazzi.
너는 그것을 먹지 말고 물 같이 땅에 쏟으라
25 Togulyanga, olyoke obeerenga mu ddembe, ggwe, n’abaana bo, ng’okoze ebituufu mu maaso ga Mukama.
너는 피를 먹지 말라 네가 이같이 여호와께서 의롭게 여기시는 일을 행하면 너와 네 후손이 복을 누리리라
26 Naye ebintu byo ebitukuvu ne byonna by’oneeyamanga okuwaayo, onoobiddiranga n’obitwalanga mu kifo Mukama ky’anaabanga akulondedde.
오직 네 성물과 서원물을 여호와께서 택하신 곳으로 가지고 가라
27 Onooleetanga ebiweebwayo byo ebyokebwa, ennyama n’omusaayi, ku Kyoto kya Mukama Katonda wo. Omusaayi gw’ebiweebwayo byo ebirala gunaafukibwanga ku Kyoto kya Mukama Katonda wo, naye ennyama onooyinzanga okugirya.
네가 번제를 드릴 때에는 그 고기와 피를 네 하나님 여호와의 단에 드릴 것이요 다른 제 희생을 드릴 때에는 그 피를 네 하나님 여호와의 단 위에 붓고 그 고기는 먹을지니라
28 Weegenderezenga okugoberera ebiragiro bino byonna bye nkuwa, olyoke obeenga bulungi, ggwe, n’abaana bo, oluvannyuma lwo, emirembe gyonna, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Mukama Katonda wo.
내가 네게 명하는 이 모든 말을 너는 듣고 지키라 네 하나님 여호와의 목전에 선과 의를 행하면 너와 네 후손에게 영원히 복이 있으리라
29 Amawanga ago g’ogenda okulumba ogatwaleko ensi yaabwe, Mukama agenda kugazikiriza nga naawe olaba. Naye bw’obanga omaze okubagoba mu nsi yaabwe, n’okugibeeramu n’ogibeeramu,
네 하나님 여호와께서 네가 들어가서 쫓아낼 그 민족들을 네 앞에서 멸절하시고 너로 그 땅을 얻어 거기 거하게 하실 때에
30 era ng’amawanga ago gamaze okuzikirizibwa nga naawe olaba, weekuumanga n’otabuuliriza ku bya bakatonda baabwe ng’ogamba nti, “Ab’omu mawanga ago baasinzanga batya bakatonda baabwe, nange njagala nkole bwe ntyo?”
너는 스스로 삼가서 네 앞에서 멸망한 그들의 자취를 밟아 올무에 들지 말라 또 그들의 신을 탐구하여 이르기를 이 민족들은 그 신들을 어떻게 위하였는고 나도 그와 같이 하겠다 하지 말라
31 Mukama Katonda wo tomusinzanga mu ngeri efaanana ng’eya bali, kubanga mu kusinza bakatonda baabwe bakoleramu ebikolobero bingi Mukama by’atayagala, by’akyawa. Bayokya ne batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro nga ssaddaaka eri bakatonda baabwe.
네 하나님 여호와께는 네가 그와 같이 행하지 못할 것이라 그들은 여호와의 꺼리시며 가증히 여기시는 일을 그 신들에게 행하여 심지어 그 자녀를 불살라 그 신들에게 드렸느니라
32 Kibagwanidde okunyiikiranga okukolanga buli kintu kye mbalagira, tokyongerangako wadde okukikendeezangako.
내가 너희에게 명하는 이 모든 말을 너희는 지켜 행하고 그것에 가감하지 말지니라

< Ekyamateeka Olwokubiri 12 >