< Danyeri 9 >

1 Mu mwaka ogw’olubereberye ogwa Daliyo mutabani wa Akaswero Omumeedi, gwe yaliiramu obwakabaka bwa Bakaludaaya,
בשנת אחת לדריוש בן אחשורוש--מזרע מדי אשר המלך על מלכות כשדים
2 mu mwaka ogwo ogw’olubereberye, nze Danyeri ne ntegeera amakulu ag’ebyawandiikibwa, ng’ekigambo kya Mukama bwe kiri kye yawa Yeremiya nnabbi, ng’okubonaabona kwa Yerusaalemi kulitwala emyaka nsanvu.
בשנת אחת למלכו אני דניאל בינתי בספרים מספר השנים אשר היה דבר יהוה אל ירמיה הנביא למלאות לחרבות ירושלם שבעים שנה
3 Awo ne nkyukira Mukama Katonda ne nnoonya okubeerwa okuva gyali nga nsaba era nga neegayirira, nga nsiiba era nga nyambadde ebibukutu nga neesiize evvu.
ואתנה את פני אל אדני האלהים לבקש תפלה ותחנונים--בצום ושק ואפר
4 Ne nsaba Mukama Katonda wange ne mwatulira nti, “Ayi Mukama omukulu era ow’entiisa, akuuma endagaano ye so n’okwagala kwo tekujjulukuka eri abo bonna abakwagala era abagondera ebiragiro byo,
ואתפללה ליהוה אלהי ואתודה ואמרה אנא אדני האל הגדול והנורא שמר הברית והחסד לאהביו ולשמרי מצותיו
5 twonoonye era tusobezza, tukoze eby’ekyejo n’eby’obujeemu, era
חטאנו ועוינו והרשענו (הרשענו) ומרדנו וסור ממצותך וממשפטיך
6 tetwawuliriza baddu bo bannabbi, abaayogeranga mu linnya lyo eri bakabaka baffe, n’eri abalangira baffe, n’eri bajjajjaffe, n’eri abantu bonna ab’omu nsi.
ולא שמענו אל עבדיך הנביאים אשר דברו בשמך אל מלכינו שרינו ואבתינו--ואל כל עם הארץ
7 “Mukama oli mutukuvu, naye olunaku lwa leero tuswadde, abantu ba Yuda, n’abatuuze ba Yerusaalemi, ne Isirayiri yenna, abali okumpi n’abali ewala mu nsi zonna gye wabawaŋŋangusiriza olw’obutaba beesigwa gy’oli.
לך אדני הצדקה ולנו בשת הפנים כיום הזה לאיש יהודה ולישבי ירושלם ולכל ישראל הקרבים והרחקים בכל הארצות אשר הדחתם שם במעלם אשר מעלו בך
8 Ayi Mukama, ffe ne bakabaka baffe, n’abalangira baffe, ne bajjajjaffe tuswadde kubanga twonoonye.
יהוה לנו בשת הפנים למלכינו לשרינו ולאבתינו אשר חטאנו לך
9 Mukama Katonda waffe ajjudde okusaasira n’okusonyiwa, newaakubadde nga tumujeemedde,
לאדני אלהינו הרחמים והסלחות כי מרדנו בו
10 ne tutawuliriza ddoboozi lya Mukama Katonda waffe, newaakubadde okukuuma amateeka ge, ge yatuwa ng’ayita mu baddu be bannabbi.
ולא שמענו בקול יהוה אלהינו--ללכת בתורתיו אשר נתן לפנינו ביד עבדיו הנביאים
11 Isirayiri yenna bamenye amateeka go ne bakuvaako, era bakujeemedde. “Noolwekyo ebikolimo n’ebirayiro ebyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omuddu wa Mukama kyebivudde bitutuukako kubanga twayonoona mu maaso go.
וכל ישראל עברו את תורתך וסור לבלתי שמוע בקלך ותתך עלינו האלה והשבעה אשר כתובה בתורת משה עבד האלהים--כי חטאנו לו
12 Otuukirizza ebigambo bye watwogerako, n’eri abakulembeze baffe, bw’otuleeseeko akabi akanene; era wansi w’eggulu tewabangawo kintu kinene bwe kityo ekyakolebwa, ng’ekyo ekituuse ku Yerusaalemi.
ויקם את דבריו (דברו) אשר דבר עלינו ועל שפטינו אשר שפטונו--להביא עלינו רעה גדלה אשר לא נעשתה תחת כל השמים כאשר נעשתה בירושלם
13 Nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, bwe bityo ebisobyo byonna bwe byatutuukako, naye ate nga tetunneegayirira kisa kya Mukama Katonda waffe, okulekayo ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu tusseeyo omwoyo okugoberera amazima.
כאשר כתוב בתורת משה את כל הרעה הזאת באה עלינו ולא חלינו את פני יהוה אלהינו לשוב מעוננו ולהשכיל באמתך
14 Mukama kyeyava talwa kutuleetako buzibu obwo, kubanga Mukama Katonda waffe mutuukirivu mu buli ky’akola, naye tetugondedde ddoboozi lye.
וישקד יהוה על הרעה ויביאה עלינו כי צדיק יהוה אלהינו על כל מעשיו אשר עשה ולא שמענו בקלו
15 “Ggwe, Ayi Mukama Katonda waffe eyaggya abantu bo mu nsi ey’e Misiri n’omukono gwo ogw’amaanyi ne weekolera erinnya, eryayatiikirira ne leero, twayonoona ne tukola ebitali bya butuukirivu.
ועתה אדני אלהינו אשר הוצאת את עמך מארץ מצרים ביד חזקה ותעש לך שם כיום הזה חטאנו רשענו
16 Ayi Mukama, ng’obutuukirivu bwo bwonna bwe buli, obusungu bwo n’ekiruyi kyo obiggye ku kibuga kyo Yerusaalemi, olusozi lwo olutukuvu, kubanga olw’ebibi byaffe n’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu ebya bajjajjaffe, tufuuse eky’okusekererwa eri abatwetoolodde bonna.
אדני ככל צדקתך ישב נא אפך וחמתך מעירך ירושלם הר קדשך כי בחטאינו ובעונות אבתינו ירושלם ועמך לחרפה לכל סביבתינו
17 “Kaakano, Ayi Katonda waffe, owulire okusaba n’okwegayirira kw’omuddu wo, olw’okusaasira kwo Ayi Mukama otunule eri ekifo kyo ekitukuvu.
ועתה שמע אלהינו אל תפלת עבדך ואל תחנוניו והאר פניך על מקדשך השמם--למען אדני
18 Ayi Katonda wange, otege okutu kwo owulirize, otunuulire okuzika kw’ekibuga ekyatuumibwa erinnya lyo, kubanga tetuleeta byetaago byaffe eri ggwe olw’obutuukirivu bwaffe, wabula olw’okusaasira kwo okungi.
הטה אלהי אזנך ושמע--פקחה (פקח) עיניך וראה שממתינו והעיר אשר נקרא שמך עליה כי לא על צדקתינו אנחנו מפילים תחנונינו לפניך--כי על רחמיך הרבים
19 Ayi Mukama otuwulire! Ayi Mukama, otusonyiwe! Ayi Mukama otuwulire era obeeko ne ky’okolawo! Olw’okusaasira kwo, Ayi Katonda wange oleme okulwa, kubanga ekibuga kyo n’abantu bo n’eggwanga lyo bayitibwa Erinnya lyo.”
אדני שמעה אדני סלחה אדני הקשיבה ועשה אל תאחר למענך אלהי--כי שמך נקרא על עירך ועל עמך
20 Awo bwe nnali nga njogera era nga nsaba, nga njatula ebibi byange n’ebibi by’abantu bange Isirayiri, nga neegayirira Mukama Katonda wange ku lw’olusozi lwe olutukuvu,
ועוד אני מדבר ומתפלל ומתודה חטאתי וחטאת עמי ישראל ומפיל תחנתי לפני יהוה אלהי--על הר קדש אלהי
21 awo mu kiseera ekyo nga nkyasaba, omusajja Gabulyeri, gwe nalaba mu kwolesebwa okwasooka, n’ajja gye ndi mu mbuyaga ey’amaanyi mu kiseera ekya ssaddaaka ey’akawungeezi.
ועוד אני מדבר בתפלה והאיש גבריאל אשר ראיתי בחזון בתחלה מעף ביעף נגע אלי כעת מנחת ערב
22 N’aŋŋamba nti, “Danyeri, kaakano nzize okukuwa amagezi n’okutegeera.
ויבן וידבר עמי ויאמר--דניאל עתה יצאתי להשכילך בינה
23 Amangu nga waakatandika okusaba, okwegayirira kwo kwaddibwamu era nzize okukutegeeza, kubanga oli mwagalwa nnyo. Noolwekyo ssaayo omwoyo eri ekigambo kino, otegeere bye wayolesebwa.
בתחלת תחנוניך יצא דבר ואני באתי להגיד--כי חמודות אתה ובין בדבר והבן במראה
24 “Wiiki nsavu ze ziweereddwa abantu bo n’ekibuga kyo ekitukuvu okukomya ebikolwa byabwe ebibi, n’okuleka ebibi, n’okutangiririrwa olw’ebikolwa ebitali bya butuukirivu, n’okuleeta obutuukirivu obutaliggwaawo, n’okukakasa ebyo ebyayolesebwa n’ebyo ebyalangibwa, n’okufuka amafuta ku asinga obutukuvu.
שבעים שבעים נחתך על עמך ועל עיר קדשך לכלא הפשע ולחתם (ולהתם) חטאות (חטאת) ולכפר עון ולהביא צדק עלמים ולחתם חזון ונביא ולמשח קדש קדשים
25 “Manya era tegeera ng’okuva ne kaakano ekiragiro nga bwe kiweereddwa ku kuzzibwawo kwa Yerusaalemi n’okutuusa ku kujja okw’omufuzi oyo eyafukibwako amafuta, waliba ebbanga lya wiiki musanvu. N’oluvannyuma kirizimbibwa mu wiiki nkaaga mu bbiri ne kiteekebwamu enguudo n’olusalosalo, newaakubadde nga biriba biro bya kutegana.
ותדע ותשכל מן מצא דבר להשיב ולבנות ירושלם עד משיח נגיד--שבעים שבעה ושבעים ששים ושנים תשוב ונבנתה רחוב וחרוץ ובצוק העתים
26 N’oluvannyuma lwa wiiki enkaaga mu ebbiri, eyafukibwako amafuta alisalibwako, era taliba na kintu. Abantu ab’omufuzi balijja ne bazikiriza ekibuga n’awatukuvu, n’enkomerero ye erijja ng’amataba, n’entalo era n’okuzika okwalagirwa biryeyongera okutuusa ku nkomerero.
ואחרי השבעים ששים ושנים יכרת משיח ואין לו והעיר והקדש ישחית עם נגיד הבא וקצו בשטף ועד קץ מלחמה נחרצת שממות
27 Alikola endagaano enywevu n’abantu bangi okumala wiiki emu, naye wakati wa wiiki eyo aliggyawo emikolo gya ssaddaaka n’ebiweebwayo. Ne ku kiwaawaatiro eky’ebyemizizo kulijjirako oyo aleeta okubonaabona, okutuusa ekiseera eky’enkomerero ekyalagirwa nga kituukiridde ku ye.”
והגביר ברית לרבים שבוע אחד וחצי השבוע ישבית זבח ומנחה ועל כנף שקוצים משמם ועד כלה ונחרצה תתך על שמם

< Danyeri 9 >