< Danyeri 7 >

1 Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Berusazza kabaka w’e Babulooni, Danyeri n’aloota era n’ayolesebwa ng’agalamidde ku kitanda kye. N’awandiika byonna bye yaloota.
巴比倫王貝爾沙匝元年,達尼爾睡在床上,作了一夢,在腦海裏見了一些異象;他遂寫下那夢,記述了這事的始末。
2 Danyeri n’ayogera nti, “Mu kwolesebwa kwange ekiro, nalaba empewo ez’omu ggulu nnya nga zisiikuula ennyanja ennene,
達尼爾說道:我夜間見了一個異象:看見天上忽然起了四股巨風,震盪了大海,
3 n’ensolo enkambwe nnya ez’ebika eby’enjawulo ne ziva mu nnyanja.
遂有四種巨獸從海中出來,各有不同的形狀:
4 “Eyasooka yali mpologoma ng’erina ebiwaawaatiro eby’empungu. Awo bwe nnali nga nkyagitunuulira, ebiwaawaatiro byayo ne bigikuunyuukako, n’esitulibwa, n’eyimirira ku magulu abiri ng’omuntu, n’eweebwa omutima ogw’omuntu.
第一個相似獅子,具有鷹的翅膀;我觀看,直至看見牠的翅膀被拔去,由地上被舉起來,兩腳直立像一個人,且給了牠一顆人心。
5 “Ate ne ndaba ensolo enkambwe eyookubiri, eyali ng’eddubu. N’esitulibwa ku luuyi olumu era yalina embiriizi ssatu mu kamwa kaayo, n’eragirwa nti, ‘Situka olye ennyama nnyingi.’
又看見另一個獸,就是第二個,相似熊,半身側立,口內牙齒間銜著三根肋骨;有人吩咐牠說:「起來,大量吞食肉罷! 」
6 “Oluvannyuma ne ndaba ensolo enkambwe endala eyali ng’engo, ng’erina ebiwaawaatiro bina eby’ennyonyi, ng’erina n’emitwe ena, n’eweebwa n’obuyinza okufuga.
後來我又觀看,看見另有一獸,相似豹子,有四個頭,背上有四隻鳥的翅膀,且賜給了牠統治權。
7 “N’oluvannyuma mu kwolesebwa kwange ekiro, ne ndaba ensolo enkambwe eyokuna, nga ya ntiisa, nga ya buyinza era nga ya maanyi mangi nnyo. Yalina amannyo amanene ag’ekyuma, n’erya n’ebetenta, n’erinnyirira ebyasigalawo. Yali yanjawulo ku nsolo enkambwe endala, ng’erina n’amayembe kkumi.
此後,我在夜間的神視中觀看,看見第四個獸,非常可怕,極其兇猛,有巨大的鐵牙,吞噬咬碎,又把剩餘的用腳踐踏;牠與以前各獸不同,尚有十隻角。
8 “Awo bwe nnali nga nkyalowooza ku mayembe, ne walabika mu maaso gange ejjembe eddala, ettono, eryava mu ago; n’amayembe asatu ku ago ag’olubereberye ne gasimbulirwa ddala. Ejjembe eryo lyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’akamwa akaayogeranga eby’okwegulumiza.
我定睛注視這些角時,看見在那些角中又生出另一隻小角,在這小角前面,以前的角中有三隻角竟被連根拔除;看,小角上還有眼睛,相似人的眼睛,有一個誇大的口。
9 “Era nga nkyali awo ne ndaba, “entebe ez’obwakabaka nga ziteekeddwawo, n’Owedda n’Edda n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka. Ebyambalo bye byali byeru ng’omuzira, n’enviiri ez’oku mutwe gwe nga njeru ng’ebyoya by’endiga. Entebe ye ey’obwakabaka yali eyakaayakana ng’ennimi z’omuliro, ne namuziga zaayo nga zaaka omuliro.
我觀望直到安置了寶座,上面坐著一位萬古常存者,他的衣服潔白如雪,他的頭髮潔白如羊毛,他的寶座好似火燄,寶座的輪子如同烈火。
10 Omugga gw’omuliro nga gukulukuta, nga gukulukutira awo mu maaso ge. Abantu nkumi na nkumi baamuweerezanga, n’emitwalo n’emitwalo baayimiriranga mu maaso ge. Okuwozesa emisango ne kutandika, ebitabo ne bibikkulwa.
一道火河湧出,從他面前流下,有千萬服事他的,有億兆侍立在他面前的,審判者已坐堂,案卷已展開。
11 “Awo ne neyongera okwetegereza ebigambo eby’okwegulumiza, ejjembe lye byayogeranga. Ne ntunula okutuusa ensolo enkambwe bwe yafumitibwa n’ettibwa, n’esuulibwa mu muliro, n’ezikirizibwa.
那時,我因那隻角說出大話而注意觀望,一直觀望到那獸被殺,牠的屍體被撕毀,被投入火內。
12 Ensolo enkambwe endala zo zaggibwako obuyinza bwazo, kyokka ennaku zaazo ne zongerwako.
至於其餘的獸,他們的統治權被剝奪;至於牠們的壽命,也被注定直到某一個時候和期限。
13 “Mu kwolesebwa okwo ekiro ne ndaba, laba, omuntu eyafaanana ng’omwana w’omuntu, ng’ajja n’ebire eby’omu ggulu. N’ajja okumpi n’Owedda n’Edda, n’asembezebwa mu maaso ge.
我仍在夜間的神視中觀望;看見一位相似人子者,乘著天上的雲彩而來,走向萬古常存者,遂即被引到他面前。
14 N’aweebwa obuyinza, n’ekitiibwa, n’obwakabaka n’amaanyi agava waggulu; abantu bonna, n’amawanga gonna, n’abantu ab’ennimi zonna ne bamusinzanga. Okufuga kwe kwa mirembe na mirembe, tekuliggwaawo, n’obwakabaka bwe tebulizikirizibwa.
他便賜給似人子者統治權、尊榮和國度,各民族、各邦國及各異語人民都要侍奉他;他的王權是永遠的王權,永存不替,他的國度永不滅亡。
15 “Nze Danyeri ne ntawaanyizibwa mu mutima, n’okwolesebwa kwe nafuna ne kunneeraliikiriza.
我達尼爾,因此心中憂愁,我所見的異象使我煩亂,
16 Ne nsemberera omu ku baali bayimiridde awo ne mubuuza amakulu g’ebyo byonna. “N’antegeeza amakulu g’ebintu ebyo, n’aŋŋamba nti,
我遂走近一位侍者,問他關於這一切事的實情;他便告訴了我,使我知道這些事的意義說:「
17 ‘Ensolo enkambwe ezo ennya, be bakabaka abana abalisibuka mu nsi.
這四個巨獸就是將在世界上興起的四個君王;
18 Naye abatukuvu ab’Oyo Ali Waggulu Ennyo baliweebwa obwakabaka, era buliba bwabwe emirembe n’emirembe, weewaawo okutuusa emirembe gyonna.’
但至高者的聖民要承受王國,永遠佔有,直至萬世萬代。」
19 “Awo ne njagala okumanya ensolo enkambwe eyokuna ky’etegeeza, etaafaanana ng’endala zonna, eyali ey’entiisa ennyo, amannyo gaayo nga ga kyuma, n’enjala zaayo nga za kikomo, eyabetenta, n’emenyaamenya era n’erinnyirira ezaasigalawo.
當時我又想知道有關那第四個獸的實情,因為牠與眾不同,非常可怕,牠的牙是鐵的,爪是銅的,吞噬咬碎,又把剩餘的用腳踐踏。
20 Ate ne njagala n’okumanya ku by’amayembe ekkumi agaali ku mutwe gwayo, ne ku by’ejjembe liri eddala eryasibuka wakati mu go, asatu ne galivuunamira, ejjembe eryo lye lyalina amaaso n’akamwa akayogeranga eby’okwegulumiza, era mu buyinza nga lirabika okusinga ganne gaalyo.
我又願意知道牠頭上的那十隻角及生於其中的那另一隻角,即那隻使三隻角墮於牠前的角,這角還有眼睛,有誇大的口,並且它的形狀比其餘的角都大。
21 Awo bwe nnali nkyatunula, ejjembe eryo ne lirwana n’abatukuvu ne lyagala okubawangula,
我觀看,看見這隻角正在與聖民交戰,竟戰勝了他們,
22 okutuusa ow’Edda n’Edda bwe yajja n’asala omusango, abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu Ennyo ne bagusinga, era n’ekiseera ne kituuka ne baweebwa obwakabaka.
直到萬古常存者降來,為至高者的聖民伸冤,於是期限到了,而眾聖民取得了國權。
23 “N’annyinnyonnyola nti, ‘Ensolo enkambwe eyokuna bwe bwakabaka obwokuna obulirabika ku nsi, era tebulifaanana ng’obwakabaka obulala; era bulirya ensi yonna, ne bugirinnyirira ne bugibetentabetenta.
侍者告訴我說:「這第四個獸就是將在世界上興起的地四個國,她與其他各國不同,她要併吞、蹂躪且粉碎天下。
24 Amayembe ekkumi, be bakabaka ekkumi abaliva mu bwakabaka obwo, era walirabikawo n’omulala oluvannyuma lw’abo, atalifaanana ng’aboolubereberye. Aliwangula bakabaka basatu.
至於那十隻角,即指將由此國而興起的十個君王;他們以後,將興起另一位君王,他與以前者不同,他要制勝三個君王,
25 Alyogera ebigambo ebibi ku Oyo Ali Waggulu Ennyo, era aligezaako okukyusakyusa ebiseera ebyateekebwawo n’amateeka agassibwawo. Era abatukuvu baliweebwayo mu mukono gwe okufugibwa okumala emyaka esatu n’ekitundu.
他要說褻瀆至高者的話,企圖消滅至高者的聖民,擅自改變節慶和法律;聖民將被交在他手中,直到一段時期,另兩段時期和半段時期;
26 “‘Kyokka oluvannyuma omusango gulisalibwa, n’obuyinza bwe ne bumuggyibwako, ne buzikiririzibwa ddala.
然後審判者要坐堂,奪去他的統治權,將他永遠消滅,
27 N’oluvannyuma ekitiibwa, n’obuyinza n’obukulu obw’obwakabaka obuli wansi w’eggulu, buliweebwa abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu Ennyo. Obwakabaka bwe bulibeerawo emirembe gyonna, n’amatwale amalala gonna galimugondera ne gamuweereza.’
將王國的統治權和天下萬邦的尊威,賜給至高者的聖民:他的國是永遠的國,一切邦國都要服事他,順從他。
28 “Ebigambo ebyo wano we bikoma. Naye nze Danyeri natawaanyizibwa nnyo mu mutima, n’amaaso gange ne gammyuka, naye ensonga ezo ne nzeekuuma.”
此事敘述至此結束,我達尼爾心中十分煩亂,面色都改變了,但我仍將此事存在心中。

< Danyeri 7 >