< Danyeri 5 >

1 Kabaka Berusazza n’agabula embaga nnene eri abakungu be lukumi, ne banywa omwenge naye.
Belshazzar the king made a great feast to a thousand of his nobles, and drank wine before the thousand.
2 Awo Berusazza, yali ng’anywa omwenge, n’atumya ebikompe ebya zaabu n’ebya ffeeza, Nebukadduneeza kitaawe bye yaggya mu yeekaalu mu Yerusaalemi, ye n’abakungu be, n’abakyala be n’abazaana be babinyweremu.
Belshazzar, while he tasted the wine, commanded to bring the golden and silver vessels that Nebuchadnezzar his father had taken out of the temple which was in Jerusalem; that the king and his nobles, his wives and his concubines, might drink in them.
3 Era ne baleeta ebikompe ebya zaabu n’ebya ffeeza ebyaggyibwa mu yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, kabaka n’abakungu be, n’abakyala be n’abazaana be ne babinyweramu.
Then they brought the golden vessels that were taken out of the temple of the house of God which was at Jerusalem; and the king and his nobles, his wives and his concubines, drank in them.
4 Ne banywa omwenge ne batandika okutendereza bakatonda aba zaabu n’aba ffeeza, n’ab’ebikomo, n’ab’ekyuma, n’ab’emiti n’ab’amayinja.
They drank wine, and praised the gods of gold and of silver, of brass, of iron, of wood, and of stone.
5 Mu kiseera ekyo ne walabika engalo z’omukono gw’omuntu ne ziwandiika ku kisenge okuliraana ettaala mu lubiri lwa kabaka; kabaka n’alaba ekibatu ky’omukono nga kiwandiika.
In the same hour came forth fingers of a man's hand, and wrote over against the candlestick upon the plaster of the wall of the king's palace: and the king saw the part of the hand that wrote.
6 Entunula ye n’ekyuka, n’atya nnyo, n’amaviivi ge ne gakubagana n’amagulu ge ne galemererwa okumuwanirira.
Then the king's countenance was changed, and his thoughts troubled him, and the joints of his loins were loosed, and his knees smote one against another.
7 Kabaka n’alagira mu ddoboozi ery’omwanguka baleete abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi. Kabaka n’agamba abasajja abagezigezi abo ab’e Babulooni nti, “Omuntu yenna anaasoma ekiwandiiko ekyo, n’antegeeza amakulu gaakyo, alyambazibwa engoye ez’effulungu era alyambazibwa omukuufu ogwa zaabu mu bulago, era aliba mukulu owa waggulu ow’ekifo ekyokusatu mu bwakabaka.”
The king cried aloud to bring in the magicians, the Chaldeans, and the astrologers. The king spoke and said to the wise men of Babylon, Whosoever shall read this writing, and shew me the interpretation thereof, shall be clothed with purple, and have a chain of gold about his neck, and shall be the third ruler in the kingdom.
8 Awo abasajja ba kabaka abagezigezi bonna ne bajja, naye ne balemwa okusoma ekiwandiiko ekyo newaakubadde okutegeeza kabaka amakulu gaakyo.
Then came in all the king's wise men, but they could not read the writing, nor make known to the king the interpretation.
9 Kabaka Berusazza ne yeeyongera nnyo okweraliikirira, n’entunula ye ne yeeyongera okukyuka; n’abakungu be amagezi ne gababula.
Then was king Belshazzar greatly troubled, and his countenance was changed in him, and his nobles were confounded.
10 Awo muka kabaka bwe yawulira ebigambo ebyatuuka ku kabaka n’abakungu be, n’agenda mu kisenge ekinene embaga mwe yali n’ayogera nti, “Ayi kabaka, owangaale! Leka kweraliikirira, so tokeŋŋentererwa.
— The queen, by reason of the words of the king and his nobles, came into the banquet-house. The queen spoke and said, O king, live for ever! let not thy thoughts trouble thee, neither let thy countenance be changed.
11 Waliwo omusajja mu bwakabaka bwo alimu omwoyo gwa bakatonda abatukuvu. Mu mirembe gya kitaawo yasangibwa okuba n’okutegeera, n’amagezi, ng’aga bakatonda, era Kabaka Nebukadduneeza kitaawo, n’amufuula omukulu w’abasawo, n’abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi.
There is a man in thy kingdom in whom is the spirit of the holy gods; and in the days of thy father, light and understanding and wisdom, like the wisdom of the gods was found in him; and the king Nebuchadnezzar thy father, [even] the king thy father, made him master of the scribes, magicians, Chaldeans, [and] astrologers;
12 Omusajja oyo Danyeri, kabaka gwe yatuuma Berutesazza, yasangibwa ng’alina omwoyo ogw’okutegeera, n’okumanya, n’okulootolola ebirooto, n’okubikkula ebigambo eby’ekyama, n’okutta ebibuuzo ebizibu ennyo. Kale Danyeri ayitibwe, anaakutegeeza amakulu g’ekiwandiiko.”
forasmuch as an excellent spirit, and knowledge, and understanding, interpreting of dreams, and shewing of hard sentences, and solving of problems, were found in the same Daniel, whom the king named Belteshazzar. Now let Daniel be called, and he will shew the interpretation.
13 Awo Danyeri n’aleetebwa mu maaso ga kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Ggwe Danyeri, omu ku abo abaaleetebwa kabaka kitange mu buwaŋŋanguse okuva mu Yuda?
Then was Daniel brought in before the king. The king spoke and said unto Daniel, Art thou that Daniel, of the children of the captivity of Judah, whom the king my father brought out of Judah?
14 Bantegeezezza ng’omwoyo wa bakatonda abatukuvu ali mu ggwe, era olaba ebitalabibwa bantu abaabulijjo, otegeera era oli w’amagezi amasukkirivu.
And I have heard of thee, that the spirit of the gods is in thee, and [that] light and understanding and excellent wisdom is found in thee.
15 Abasajja abagezigezi, n’abafumu baaleeteddwa mu maaso gange basome ekiwandiiko ekyo era bantegeeze n’amakulu gaakyo, naye balemeddwa okukinnyonnyola.
And now the wise men, the magicians, have been brought in before me, that they should read this writing, and make known unto me the interpretation thereof; but they could not shew the interpretation of the thing.
16 Naye ntegeezeddwa, ng’oyinza okunnyonnyola amakulu g’ebigambo ebizibu. Kaakano bw’ononsomera ekiwandiiko ekyo, era n’ontegeeza n’amakulu gaakyo, onooyambazibwa engoye ez’effulungu n’omukuufu ogwa zaabu mu bulago, era oliba mukulu owookusatu mu bwakabaka.”
But I have heard of thee, that thou canst give interpretations, and solve problems. Now if thou canst read the writing, and make known to me the interpretation thereof, thou shalt be clothed with purple, and have a chain of gold about thy neck, and shalt be the third ruler in the kingdom.
17 Awo Danyeri n’addamu kabaka nti, “Ebirabo byo byeterekere, n’empeera yo ogiwe omuntu omulala. Naye nzija kukusomera ekiwandiiko era nkutegeeze n’amakulu gaakyo.
Then Daniel answered and said before the king, Let thy gifts be to thyself, and give thy rewards to another; yet will I read the writing to the king, and make known to him the interpretation.
18 “Katonda Ali Waggulu Ennyo yawa Nebukadduneeza kitaawo obwakabaka, n’obuyinza, n’ekitiibwa n’obukulu, ayi kabaka;
O thou king, the Most High God gave Nebuchadnezzar thy father the kingdom, and greatness, and glory, and majesty;
19 era olw’obuyinza bwe yamuwa, abantu bonna n’amawanga gonna n’abantu ab’ennimi zonna baamutyanga era ne bakankana mu maaso ge. Abo kabaka be yayagalanga battibwe, battibwanga; n’abo be yasonyiwanga, baasonyiyibwanga; n’abo be yayagalanga okugulumiza bagulumizibwanga, n’abo be yayagalanga okutoowaza, baatoowazibwanga.
and for the greatness that he gave him, all peoples, nations, and languages, trembled and feared before him: whom he would he slew, and whom he would he kept alive; and whom he would he exalted, and whom he would he humbled.
20 Naye omutima gwe bwe gwegulumiza ne gukakanyala olw’amalala ge, yaggyibwa ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’ekitiibwa kye ne kimuggyibwako.
But when his heart was lifted up, and his spirit hardened unto presumption, he was deposed from the throne of his kingdom, and they took his glory from him;
21 N’agobebwa mu bantu, n’ebirowoozo bye ne biwaanyisibwa n’aba ng’ensolo ey’omu nsiko, n’abeera wamu n’endogoyi ez’omu nsiko, n’alya omuddo ng’ente, n’omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw’eggulu, okutuusa lwe yategeera nga Katonda Ali Waggulu Ennyo, y’afuga obwakabaka bw’abantu, era y’ateekawo buli gw’asiima.
and he was driven from the sons of men, and his heart was made like the beasts, and his dwelling was with the wild asses; they fed him with grass like oxen, and his body was bathed with the dew of heaven; till he knew that the Most High God ruleth over the kingdom of men, and that he appointeth over it whomsoever he will.
22 “Naye ggwe mutabani we, Berusazza, teweetoowazizza mu mutima newaakubadde ng’ebyo byonna wabimanya.
And thou, Belshazzar, his son, hast not humbled thy heart, although thou knewest all this;
23 Weegulumizizza eri Mukama w’eggulu; ebikompe ebyaggyibwa mu yeekaalu ye, obitumizzaayo; era ggwe, n’abakungu bo, n’abakyala bo, n’abazaana bo mubinywereddemu omwenge, n’oluvannyuma ne mutandika okutendereza bakatonda aba ffeeza, n’aba zaabu, n’ab’ebikomo, n’ab’ebyuma, n’ab’emiti, n’ab’amayinja abatayinza kulaba newaakubadde okuwulira newaakubadde okutegeera. Naye Katonda oyo alina omukka gwo mu ngalo ze, era amanyi engeri zo zonna, tomugulumizizza.
but hast lifted up thyself against the Lord of the heavens; and they have brought the vessels of his house before thee, and thou and thy nobles, thy wives and thy concubines, have drunk wine in them; and thou hast praised the gods of silver and gold, of brass, iron, wood, and stone, which see not, nor hear, nor know; and the God in whose hand thy breath is, and whose are all thy ways, hast thou not glorified:
24 Kale kyeyavudde akusindikira omukono ogwawandiise ebigambo ebyo.
then from before him was sent the part of the hand, and this writing hath been written.
25 “Era ebigambo ebyawandiikiddwa bye bino nti: mene, mene, tekel, ufarsin.
And this is the writing that is written: MENE, MENE, TEKEL, UPHARSIN.
26 “N’amakulu gaabyo ge gano: “Mene: Katonda akendezezza ennaku z’obwakabaka bwo era abukomezza.
This is the interpretation of the thing: MENE, God hath numbered thy kingdom, and finished it;
27 “Tekel: Opimiddwa ku minzaani, era osangiddwa ng’obulako;
TEKEL, Thou art weighed in the balances, and art found wanting;
28 “Peres: Obwakabaka bwo bugabanyiziddwamu, era buweereddwa Abameedi n’Abaperusi.”
PERES, Thy kingdom is divided, and given to the Medes and Persians.
29 Awo amangwago Berusazza n’alagira Danyeri ayambazibwe engoye ez’effulungu, era bamwambaze omukuufu ogwa zaabu, era n’ekiragiro ne kiyita nga bw’ali omukulembeze owookusatu mu bwakabaka.
Then Belshazzar commanded, and they clothed Daniel with purple, and [put] a chain of gold about his neck, and made proclamation concerning him that he should be the third ruler in the kingdom.
30 Ekiro ekyo Berusazza kabaka w’Abakaludaaya n’attibwa.
In that night was Belshazzar the king of the Chaldeans slain.
31 Daliyo Omumeedi n’alya obwakabaka nga wa myaka nkaaga mu ebiri.
And Darius the Mede received the kingdom, [being] about sixty-two years old.

< Danyeri 5 >