< Danyeri 2 >

1 Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Nebukadduneeza, Nebukadduneeza n’aloota ekirooto; ne yeeraliikirira nnyo, n’otulo ne tumubula.
And in the second year of the reign of Nebuchadnezzar, Nebuchadnezzar dreamed dreams; and his spirit was troubled, and his sleep broke from him.
2 Awo kabaka n’atumya abasawo, n’abafumu, n’abalaguzi n’Abakaludaaya okumutegeeza ekirooto kye yaloota. Ne bajja ne bayimirira mu maaso ga kabaka.
Then the king commanded to call the magicians, and the enchanters, and the sorcerers, and the Chaldeans, to tell the king his dreams. So they came and stood before the king.
3 N’abagamba nti, “Naloota ekirooto ekimbuzizza otulo, njagala mukintegeeze n’amakulu gaakyo.”
And the king said unto them: 'I have dreamed a dream, and my spirit is troubled to know the dream.'
4 Awo Abakaludaaya ne baddamu kabaka mu lulimi Olusuuli nti, “Ayi kabaka, owangaale emirembe gyonna! Buulira abaddu bo ekirooto, nabo banaakunnyonnyola amakulu gaakyo.”
Then spoke the Chaldeans to the king in Aramaic: 'O king, live for ever! tell thy servants the dream, and we will declare the interpretation.'
5 Kabaka n’addamu Abakaludaaya nti, “Kino kye nsazeewo; bwe mutantegeeze kirooto ekyo, n’amakulu gaakyo, nzija kulagira mutemebwetemebwe, era n’amayumba gammwe gamenyebwemenyebwe.
The king answered and said to the Chaldeans: 'The thing is certain with me; if ye make not known unto me the dream and the interpretation thereof, ye shall be cut in pieces, and your houses shall be made a dunghill.
6 Kyokka bwe munaantegeeza ekirooto n’amakulu gaakyo, nnaabawa ebirabo, n’empeera, n’ekitiibwa kinene. Noolwekyo mumbuulire ekirooto n’amakulu gaakyo.”
But if ye declare the dream and the interpretation thereof, ye shall receive of me gifts and rewards and great honour; only declare unto me the dream and the interpretation thereof.'
7 Ne bamuddamu nate nti, “Tubuulire ekirooto kyo, tusobole okukubuulira amakulu gaakyo.”
They answered the second time and said: 'Let the king tell his servants the dream, and we will declare the interpretation.'
8 Awo kabaka n’addamu nti, “Ntegeeredde ddala nga mwagala kufuna bbanga ddene, kubanga mutegedde nga kye nsazeewo mmaliridde okukikola,
The king answered and said: 'I know of a truth that ye would gain time, inasmuch as ye see the thing is certain with me,
9 era bwe mutantegeeze kirooto, ekibonerezo kiri kimu kyokka. Mwekobaanye okunnimba n’okumbuulira ebigambo ebikyamu, nga munsuubira okukyusa ku ndowooza yange. Kale nno, muntegeeze ekirooto, munnyinnyonnyole n’amakulu gaakyo.”
that, if ye make not known unto me the dream, there is but one law for you; and ye have agreed together to speak before me lying and corrupt words, till the time be changed; only tell me the dream, and I shall know that ye can declare unto me the interpretation thereof.'
10 Abakaludaaya ne baddamu kabaka nti, “Tewali muntu n’omu ku nsi ayinza okukola kabaka ky’asaba. Ate era tewabangawo kabaka ne bw’aba w’amaanyi atya oba wa buyinza atya, eyali asabye omulaguzi yenna newaakubadde omufumu yenna newaakubadde Omukaludaaya yenna ekintu ng’ekyo.
The Chaldeans answered before the king, and said: 'There is not a man upon the earth that can declare the king's matter; forasmuch as no great and powerful king hath asked such a thing of any magician, or enchanter, or Chaldean.
11 Kabaka ky’asaba kizibu nnyo. Tewali n’omu ayinza kukibikkulira kabaka, wabula bakatonda abatalina mubiri ogwa bulijjo.”
And it is a hard thing that the king asketh, and there is none other that can declare it before the king, except the gods, whose dwelling is not with flesh.'
12 Ekigambo ekyo ne kisunguwaza nnyo kabaka, kyeyava alagira abagezigezi bonna mu Babulooni okuttibwa.
For this cause the king was angry and very furious, and commanded to destroy all the wise men of Babylon.
13 Ekiragiro ne kiyita okutta abagezigezi bonna, era ne wabaawo abasajja abaatumibwa okunoonya Danyeri ne mikwano gye okubatta.
So the decree went forth, and the wise men were to be slain; and they sought Daniel and his companions to be slain.
14 Awo Danyeri n’asisinkana Aliyooki omuduumizi w’abakuumi ba kabaka, bwe yali ng’agenda okutta abagezigezi ab’e Babulooni; n’ayogera naye mu magezi n’obukalabakalaba,
Then Daniel returned answer with counsel and discretion to Arioch the captain of the king's guard, who was gone forth to slay the wise men of Babylon;
15 n’amubuuza nti, “Kyavudde ku ki kabaka okuwa ekiragiro eky’obukambwe bwe kityo?” Aliyooki n’annyonnyola Danyeri ensonga eyavaako ekyo.
he answered and said to Arioch the king's captain: 'Wherefore is the decree so peremptory from the king?' Then Arioch made the thing known to Daniel.
16 Awo Danyeri n’alaga eri kabaka, n’asaba aweebwe ekiseera okwogera ne kabaka, alyoke amutegeeze amakulu g’ekirooto.
Then Daniel went in, and desired of the king that he would give him time, that he might declare unto the king the interpretation.
17 Awo Danyeri n’addayo ewuwe, n’ategeeza mikwano gye Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya,
Then Daniel went to his house, and made the thing known to Hananiah, Mishael, and Azariah, his companions;
18 n’abagamba basabe Katonda ow’eggulu abalage ekisa ababikkulire amakulu ag’ekyama ekyo, ye ne banne baleme kuzikirizibwa wamu n’abagezigezi abalala ab’e Babulooni.
that they might ask mercy of the God of heaven concerning this secret; that Daniel and his companions should not perish with the rest of the wise men of Babylon.
19 Mu kiro ekyo Danyeri n’afuna okwolesebwa ku kigambo ekyo, n’atendereza Katonda ow’eggulu.
Then was the secret revealed unto Daniel in a vision of the night. Then Daniel blessed the God of heaven.
20 N’ayogera nti, “Erinnya lya Katonda litenderezebwenga emirembe n’emirembe, kubanga amagezi n’obuyinza bibye.
Daniel spoke and said: Blessed be the name of God from everlasting even unto everlasting; for wisdom and might are His;
21 Ategeera ebiseera n’ebiro; assaawo bakabaka era aggyawo bakabaka; awa amagezi abagezigezi, era n’okumanyisa abo abategeevu.
And He changeth the times and the seasons; He removeth kings, and setteth up kings; He giveth wisdom unto the wise, and knowledge to them that know understanding;
22 Abikkula ebyama ebyakisibwa edda; amanyi ebifa mu nzikiza, n’ekitangaala kibeera naye.
He revealeth the deep and secret things; He knoweth what is in the darkness, and the light dwelleth with Him.
23 Nkwebaza era nkutendereza, Ayi Katonda wa bajjajjange ompadde amagezi n’amaanyi, ombikkulidde ekyo kye twakusabye, otutegeezezza ekirooto kya kabaka.”
I thank Thee, and praise Thee, O Thou God of my fathers, who hath given me wisdom and might, and hast now made known unto me what we desired of Thee; for Thou hast made known unto us the king's matter.
24 Awo Danyeri n’alaga eri Aliyooki, kabaka gwe yali alonze okuzikiriza abasajja abagezigezi aba Babulooni, n’amugamba nti, “Tozikiriza basajja bagezigezi ba Babulooni. Ntwala eri kabaka mmutegeeze amakulu g’ekirooto kye.”
Therefore Daniel went in unto Arioch, whom the king had appointed to destroy the wise men of Babylon; he went and said thus unto him: 'Destroy not the wise men of Babylon; bring me in before the king, and I will declare unto the king the interpretation.'
25 Amangwago, Aliyooki n’atwala Danyeri eri kabaka, n’ategeeza kabaka nti, “Nsanze omusajja, omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, asobola okutegeeza kabaka amakulu g’ekirooto kye.”
Then Arioch brought in Daniel before the king in haste, and said thus unto him: 'I have found a man of the children of the captivity of Judah, that will make known unto the king the interpretation.'
26 Kabaka n’abuuza Danyeri eyayitibwanga Berutesazza nti, “Oyinza okuntegeeza ekirooto kye nalabye, n’amakulu gaakyo?”
The king spoke and said to Daniel, whose name was Belteshazzar: 'Art thou able to make known unto me the dream which I have seen, and the interpretation thereof?'
27 Danyeri n’addamu kabaka nti, “Tewali muntu mugezigezi, newaakubadde omufumu, newaakubadde omulaguzi, newaakubadde omulogo asobola okutegeeza kabaka ekigambo kye yasabye.
Daniel answered before the king, and said: 'The secret which the king hath asked can neither wise men, enchanters, magicians, nor astrologers, declare unto the king;
28 Waliwo Katonda ow’omu ggulu annyonnyola abantu ebitategeerekeka. Abikkulidde Kabaka Nebukadduneeza ebigenda okubaawo mu nnaku ez’enkomerero. Ekirooto n’okwolesebwa bye wafuna nga weebase bye bino.
but there is a God in heaven that revealeth secrets, and He hath made known to the king Nebuchadnezzar what shall be in the end of days. Thy dream, and the visions of thy head upon thy bed, are these:
29 “Bwe wali ng’ogalamidde mu kitanda kyo, ayi kabaka omutima gwo ne gutandika okulowooza ku bintu ebiribaawo, era oyo abikkula ebigambo ebitategeerekeka bantu abaabulijjo, yakulaze ebigenda okubaawo.
as for thee, O king, thy thoughts came into thy mind upon thy bed, what should come to pass hereafter; and He that revealeth secrets hath made known to thee what shall come to pass.
30 Naye ekigambo kino ekitategeerekeka bantu abaabulijjo kimbikkuliddwa, si lwa kuba nga ndi mugezi okusinga abantu abalala bonna, naye nkifunye bwe ntyo, kabaka ategeere amakulu gaakyo, era otegeere ebirowoozo bye wafuna mu mutima gwo.
But as for me, this secret is not revealed to me for any wisdom that I have more than any living, but to the intent that the interpretation may be made known to the king, and that thou mayest know the thoughts of thy heart.
31 “Watunula, ayi kabaka, era laba, mu maaso go nga wayimiriddewo ekifaananyi ekinene. Ekifaananyi ekyo kyali kinene nnyo, nga kimasamasa nnyo nnyini era nga kya ntiisa.
Thou, O king, sawest, and behold a great image. This image, which was mighty, and whose brightness was surpassing, stood before thee; and the appearance thereof was terrible.
32 Omutwe gwakyo gwali gwa zaabu ennongoose, ekifuba kyakyo n’emikono gyakyo nga bya ffeeza, n’olubuto lwakyo n’ebisambi byakyo nga bya kikomo,
As for that image, its head was of fine gold, its breast and its arms of silver, its belly and its thighs of brass,
33 n’amagulu gaakyo nga ga kyuma. N’ebigere byakyo ekitundu ekimu kyali kya kyuma, n’ekitundu ekirala nga kya bbumba.
its legs of iron, its feet part of iron and part of clay.
34 Awo bwe wali ng’okyakitunuulira, olwazi ne lutemebwa, naye si na ngalo, ejjinja ne livaako ne likuba ekifaananyi ku bigere byakyo eby’ekyuma n’ebbumba, ne libyasaayasa.
Thou sawest till that a stone was cut out without hands, which smote the image upon its feet that were of iron and clay, and broke them to pieces.
35 Ekyuma n’ebbumba, n’ekikomo, ne zaabu, byonna ne biyasibwayasibwa wamu, ne bifuuka ng’ebisusunku eby’omu gguuliro mu biro eby’omusana omungi; kibuyaga n’abifuuwa obutalekaawo na kimu. Naye ejjinja eryakuba ekifaananyi ne lifuuka olusozi olunene, ne lujjula ensi yonna.
Then was the iron, the clay, the brass, the silver, and the gold, broken in pieces together, and became like the chaff of the summer threshing-floors; and the wind carried them away, so that no place was found for them; and the stone that smote the image became a great mountain, and filled the whole earth.
36 “Ekyo kye kyali ekirooto; kaakano tunaategeeza kabaka amakulu gaakyo.
This is the dream; and we will tell the interpretation thereof before the king.
37 Ggwe, ayi kabaka, ggwe kabaka wa bakabaka, Katonda ow’eggulu gwe yawa obwakabaka, n’obuyinza, n’amaanyi, n’ekitiibwa;
Thou, O king, king of kings, unto whom the God of heaven hath given the kingdom, the power, and the strength, and the glory;
38 era akukwasizza abantu n’ensolo ez’omu nsiko, n’ennyonyi ez’omu bbanga. Buli we bibeera, akuwadde okubifuga, era ggwe mutwe ogwa zaabu.
and wheresoever the children of men, the beasts of the field, and the fowls of the heaven dwell, hath He given them into thy hand, and hath made thee to rule over them all; thou art the head of gold.
39 “Bw’olivaawo, obwakabaka obulala buliddawo, obutenkanankana bubwo. N’oluvannyuma waliddawo obwakabaka obwokusatu nga bwa kikomo obulifuga ensi yonna.
And after thee shall arise another kingdom inferior to thee; and another third kingdom of brass, which shall bear rule over all the earth.
40 Oluvannyuma lw’ebyo byonna waliddawo obwakabaka obwokuna obuliba obw’amaanyi ng’ekyuma; era ng’ekyuma ekimenyaamenya ne kibetentabetenta buli kintu, era ng’ekyuma bwe kimenyaamenya obutundutundu, bwe kityo bwe kiribetentabetenta ne kimenyaamenya obwakabaka obulala bwonna.
And the fourth kingdom shall be strong as iron; forasmuch as iron breaketh in pieces and beateth down all things; and as iron that crusheth all these, shall it break in pieces and crush.
41 Nga bwe walaba ebigere n’obugere ekitundu nga kya bbumba ery’omubumbi, n’ekitundu nga kya kyuma, bwe butyo obwakabaka bwe buligabanyizibwamu; ate nga bulisigala n’amaanyi ag’ekyuma, nga bwe walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba.
And whereas thou sawest the feet and toes, part of potters' clay, and part of iron, it shall be a divided kingdom; but there shall be in it of the firmness of the iron, forasmuch as thou sawest the iron mixed with miry clay.
42 Ng’obugere bwe bwali, ekitundu nga kya kyuma n’ekitundu ekirala nga kya bbumba, n’obwakabaka buno buliba bwe butyo, ekitundu ekimu nga ky’amaanyi n’ekitundu ekirala nga kinafu.
And as the toes of the feet were part of iron, and part of clay, so part of the kingdom shall be strong, and part thereof broken.
43 Era nga bwe walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba bwe batyo n’abantu bwe baliba so tebalisigala bumu, ng’ekyuma bwe kitasobola kwetabula bulungi na bbumba.
And whereas thou sawest the iron mixed with miry clay, they shall mingle themselves by the seed of men; but they shall not cleave one to another, even as iron doth not mingle with clay.
44 “Mu biro ebya bakabaka abo, Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa, so tebuliweebwa bantu balala. Bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, ne bubumalawo, naye bwo bulibeerera emirembe gyonna.
And in the days of those kings shall the God of heaven set up a kingdom, which shall never be destroyed; nor shall the kingdom be left to another people; it shall break in pieces and consume all these kingdoms, but it shall stand for ever.
45 Gano ge makulu ag’okwolesebwa okukwata ku jjinja eryatemebwa mu lusozi, eritatemebwa na ngalo za muntu; eryabetentabetenta ekyuma, n’ekikomo, n’ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu. “Katonda omukulu abikkulidde kabaka ebigenda okubaawo mu biro eby’omu maaso. Ekirooto kituufu n’amakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa.”
Forasmuch as thou sawest that a stone was cut out of the mountain without hands, and that it broke in pieces the iron, the brass, the clay, the silver, and the gold; the great God hath made known to the king what shall come to pass hereafter; and the dream is certain, and the interpretation thereof sure.'
46 Awo Kabaka Nebukadduneeza ne yeeyaliira ku lubuto lwe mu maaso ga Danyeri n’amuwa ekitiibwa, n’alagira okuwaayo obubaane n’ebiweebwayo eri Danyeri.
Then the king Nebuchadnezzar fell upon his face, and worshipped Daniel, and commanded that they should offer an offering and sweet odours unto him.
47 Kabaka n’agamba Danyeri nti, “Mazima Katonda wo ye Katonda wa bakatonda era ye Mukama wa bakabaka, era omubikkuzi w’ebyama ebyakisibwa, kubanga osobozebbwa okututegeeza ekyama ekyakisibwa.”
The king spoke unto Daniel, and said: 'Of a truth it is, that your God is the God of gods, and the Lord of kings, and a revealer of secrets, seeing thou hast been able to reveal this secret.'
48 Awo kabaka n’akuza Danyeri n’amufuula omuntu omukulu ennyo, n’amuwa n’ebirabo bingi. N’amufuula mufuzi w’essaza lyonna erya Babulooni, n’amuwa n’obuvunaanyizibwa obw’okukulira abasajja abagezigezi bonna ab’e Babulooni.
Then the king made Daniel great, and gave him many great gifts, and made him to rule over the whole province of Babylon, and to be chief prefect over all the wise men of Babylon.
49 Awo Danyeri n’asaba kabaka akuze ne Saddulaaki, ne Mesaki, ne Abeduneego; kabaka n’abafuula abakulembeze n’abawa ebifo eby’obuvunaanyizibwa mu ssaza ery’e Babulooni, Danyeri ye n’asigala awali kabaka.
And Daniel requested of the king, and he appointed Shadrach, Meshach, and Abed-nego, over the affairs of the province of Babylon; but Daniel was in the gate of the king.

< Danyeri 2 >