< Danyeri 10 >

1 Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka w’e Buperusi, Danyeri eyayitibwanga Berutesazza n’afuna okwolesebwa okulala. Ekigambo kye yafuna kyali kya mazima nga kyogera ku lutalo olw’amaanyi. N’ategeera obubaka obwamuweebwa mu kwolesebwa okwo.
בשנת שלוש לכורש מלך פרס דבר נגלה לדניאל אשר נקרא שמו בלטשאצר ואמת הדבר וצבא גדול ובין את הדבר ובינה לו במראה׃
2 Mu biro ebyo, nze Danyeri ne mmala wiiki ssatu nga nkungubaga.
בימים ההם אני דניאל הייתי מתאבל שלשה שבעים ימים׃
3 Saalya ku mmere ennungi, newaakubadde ennyama wadde okunywa ku wayini; era ne nsiwuukira ddala okumala wiiki ssatu.
לחם חמדות לא אכלתי ובשר ויין לא בא אל פי וסוך לא סכתי עד מלאת שלשת שבעים ימים׃
4 Ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogw’olubereberye nga nyimiridde ku mabbali g’omugga omunene Tigiriisi,
וביום עשרים וארבעה לחדש הראשון ואני הייתי על יד הנהר הגדול הוא חדקל׃
5 ne nnyimusa amaaso gange, ne ntunula waggulu, ne ndaba omusajja ayambadde linena, nga yeesibye olukoba olwa zaabu ennongooseemu mu kiwato.
ואשא את עיני וארא והנה איש אחד לבוש בדים ומתניו חגרים בכתם אופז׃
6 Omubiri gwe gwali gumasamasa ng’ejjinja erya berulo, n’ekyenyi kye nga kiri ng’okumyansa okw’eggulu, n’amaaso ge nga gali ng’ettabaaza ez’omuliro, n’emikono gye n’amagulu ge nga biri ng’ebbala ly’ekikomo ekizigule, n’eddoboozi lye ng’oluyoogaano olw’ekibiina ekinene.
וגויתו כתרשיש ופניו כמראה ברק ועיניו כלפידי אש וזרעתיו ומרגלתיו כעין נחשת קלל וקול דבריו כקול המון׃
7 Nze Danyeri nzekka, nze nalaba okwolesebwa okwo, abasajja be nnali nabo tebaakulaba, wabula bajjula entiisa, ne badduka ne beekweka.
וראיתי אני דניאל לבדי את המראה והאנשים אשר היו עמי לא ראו את המראה אבל חרדה גדלה נפלה עליהם ויברחו בהחבא׃
8 Ne nsigala nzekka, nga neewuunya okwolesebwa okunene okwo; ne nzigwamu amaanyi; amaaso gange ne gayongobera, ne mba, nga seesobola.
ואני נשארתי לבדי ואראה את המראה הגדלה הזאת ולא נשאר בי כח והודי נהפך עלי למשחית ולא עצרתי כח׃
9 Awo ne mpulira ng’ayogera, era bwe nnali nga nkyamuwuliriza, ne neebaka otulo tungi nnyo, amaaso gange nga gatunudde wansi ku ttaka.
ואשמע את קול דבריו וכשמעי את קול דבריו ואני הייתי נרדם על פני ופני ארצה׃
10 Ne wabaawo omukono ogunkwatako, emikono gyange n’amaviivi gange ne bitanula okujugumira.
והנה יד נגעה בי ותניעני על ברכי וכפות ידי׃
11 N’aŋŋamba nti, “Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo, tegeera era osseeyo omwoyo ku bigambo bye njogera naawe, era yimuka oyimirire kubanga ntumiddwa gy’oli.” Awo bwe yayogera ebigambo ebyo gye ndi ne nnyimirira nga nkankana.
ויאמר אלי דניאל איש חמדות הבן בדברים אשר אנכי דבר אליך ועמד על עמדך כי עתה שלחתי אליך ובדברו עמי את הדבר הזה עמדתי מרעיד׃
12 N’alyoka aŋŋamba nti, “Totya Danyeri, kubanga okuva ku lunaku olwasooka lwe wamalirira okutegeera ne weetoowaza mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa, era nzize olw’ebigambo byo.
ויאמר אלי אל תירא דניאל כי מן היום הראשון אשר נתת את לבך להבין ולהתענות לפני אלהיך נשמעו דבריך ואני באתי בדבריך׃
13 Namala ennaku amakumi abiri mu lumu nga nkyalwana n’omulangira w’e Buperusi, naye Mikayiri omu ku balangira abakulu n’ajja n’annyamba, kubanga kabaka w’e Buperusi yali ankwatidde eyo.
ושר מלכות פרס עמד לנגדי עשרים ואחד יום והנה מיכאל אחד השרים הראשנים בא לעזרני ואני נותרתי שם אצל מלכי פרס׃
14 Kaakano nzize okukunnyonnyola ebigenda okutuuka ku bantu bo mu biro eby’omu maaso; kubanga bye wayolesebwa byogera ku biro ebigenda okujja.”
ובאתי להבינך את אשר יקרה לעמך באחרית הימים כי עוד חזון לימים׃
15 Awo bwe yali ng’akyambuulira ebyo, ne nkutama, ne ntunuza amaaso gange wansi, ne nsirika.
ובדברו עמי כדברים האלה נתתי פני ארצה ונאלמתי׃
16 Awo ne wajja eyafaanana ng’omuntu n’akoma ku mimwa gyange, ne ntanula okwogera. Ne ŋŋamba eyali annyimiridde mu maaso nti, “Mukama wange nzijjudde obuyinike, era n’amaanyi sirina olw’ebyo bye njolesebbwa.
והנה כדמות בני אדם נגע על שפתי ואפתח פי ואדברה ואמרה אל העמד לנגדי אדני במראה נהפכו צירי עלי ולא עצרתי כח׃
17 Nnyinza ntya nze omuddu wo okwogera naawe ggwe mukama wange? Amaanyi gampweddemu, sikyayinza na kussa bulungi mukka.”
והיך יוכל עבד אדני זה לדבר עם אדני זה ואני מעתה לא יעמד בי כח ונשמה לא נשארה בי׃
18 Nate eyafaanana ng’omuntu n’ankomako n’anzizaamu amaanyi.
ויסף ויגע בי כמראה אדם ויחזקני׃
19 N’aŋŋamba nti, “Ggwe omwagalwa ennyo, totya. Emirembe gibeere gy’oli, guma omwoyo era beera n’obuvumu.” Awo bwe yayogera nange, ne nziramu amaanyi, ne njogera nti, “Yogera mukama wange, kubanga onzizizzaamu amaanyi.”
ויאמר אל תירא איש חמדות שלום לך חזק וחזק וכדברו עמי התחזקתי ואמרה ידבר אדני כי חזקתני׃
20 N’alyoka ayogera nti, “Ekindeese gy’oli okimanyi? Mu bbanga eritali ly’ewala, nzija kuddayo okulwanyisa omulangira ow’e Buperusi, era bwe ndimuwangula, omulangira ow’e Buyonaani alijja.
ויאמר הידעת למה באתי אליך ועתה אשוב להלחם עם שר פרס ואני יוצא והנה שר יון בא׃
21 Naye okusooka byonna, ka nkutegeeze ebyawandiikibwa ebiri mu kitabo eky’amazima: Tewali n’omu ambeera okuggyako Mikayiri, omulangira wammwe abakuuma.
אבל אגיד לך את הרשום בכתב אמת ואין אחד מתחזק עמי על אלה כי אם מיכאל שרכם׃

< Danyeri 10 >