< Abakkolosaayi 4 >

1 Mmwe bakama b’abaddu, mubenga benkanya eri abaddu bammwe nga mumanyi nti nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu.
Οἱ κύριοι, τὸ δίκαιον καὶ τὴν ἰσότητα τοῖς δούλοις παρέχεσθε, εἰδότες ὅτι καὶ ὑμεῖς ἔχετε Κύριον ἐν οὐρανῷ.
2 Munyiikirirenga mu kusaba, nga temuddirira, wabula nga mwebazanga
Τῇ προσευχῇ προσκαρτερεῖτε, γρηγοροῦντες ἐν αὐτῇ ἐν εὐχαριστίᾳ,
3 nga mwenna awamu mutusabira Katonda atuggulirewo oluggi okubuulira Enjiri, n’okutegeeza ekyama kya Kristo, kye nasibirwa.
προσευχόμενοι ἅμα καὶ περὶ ἡμῶν, ἵνα ὁ Θεὸς ἀνοίξῃ ἡμῖν θύραν τοῦ λόγου, λαλῆσαι τὸ μυστήριον τοῦ Χριστοῦ, δι’ ὃ καὶ δέδεμαι,
4 Ndyoke njolesenga ekyama ekyo nga bwe kiŋŋwanidde okukyogerako.
ἵνα φανερώσω αὐτὸ ὡς δεῖ με λαλῆσαι.
5 Abo abatannakkiriza mutambulenga nabo n’amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera bye mulina.
Ἐν σοφίᾳ περιπατεῖτε πρὸς τοὺς ἔξω, τὸν καιρὸν ἐξαγοραζόμενοι.
6 Enjogera yammwe ebeerenga ya kisa, era ng’enoga omunnyo, mulyoke mumanye eky’okwanukulanga buli muntu yenna.
ὁ λόγος ὑμῶν πάντοτε ἐν χάριτι, ἅλατι ἠρτυμένος, εἰδέναι πῶς δεῖ ὑμᾶς ἑνὶ ἑκάστῳ ἀποκρίνεσθαι.
7 Tukiko owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa era muddu munnaffe mu Mukama waffe alibategeeza ebinfaako byonna.
Τὰ κατ’ ἐμὲ πάντα γνωρίσει ὑμῖν Τυχικὸς ὁ ἀγαπητὸς ἀδελφὸς καὶ πιστὸς διάκονος καὶ σύνδουλος ἐν Κυρίῳ,
8 Kyenva mmutuma gye muli mulyoke mumanye ebitufaako, era abazzeemu n’amaanyi,
ὃν ἔπεμψα πρὸς ὑμᾶς εἰς αὐτὸ τοῦτο, ἵνα γνῶτε τὰ περὶ ἡμῶν καὶ παρακαλέσῃ τὰς καρδίας ὑμῶν,
9 awamu ne Onesimo owooluganda omwagalwa era omwesigwa, omu ku b’ewammwe; balibategeeza byonna ebifa eno.
σὺν Ὀνησίμῳ τῷ πιστῷ καὶ ἀγαπητῷ ἀδελφῷ, ὅς ἐστιν ἐξ ὑμῶν· πάντα ὑμῖν γνωρίσουσιν τὰ ὧδε.
10 Alisutaluuko, musibe munnange, ne Makko omujjwa wa Balunabba, gwe baabagambako nti bw’aliba ng’aze gye muli mumusembezanga, babatumidde;
Ἀσπάζεται ὑμᾶς Ἀρίσταρχος ὁ συναιχμάλωτός μου, καὶ Μᾶρκος ὁ ἀνεψιὸς Βαρνάβα, (περὶ οὗ ἐλάβετε ἐντολάς, ἐὰν ἔλθῃ πρὸς ὑμᾶς, δέξασθε αὐτόν, )
11 ne Yesu ayitibwa Yusito abalamusizza. Abo be Bayudaaya, bakozi bannange bokka mu bwakabaka bwa Katonda, abaanzizaamu amaanyi.
καὶ Ἰησοῦς ὁ λεγόμενος Ἰοῦστος, οἱ ὄντες ἐκ περιτομῆς οὗτοι μόνοι συνεργοὶ εἰς τὴν βασιλείαν τοῦ Θεοῦ, οἵτινες ἐγενήθησάν μοι παρηγορία.
12 Epafula ow’ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, afuba bulijjo ku lwammwe okubasabira, mulyoke muyimirirenga nga munywedde mu kukkiriza era nga mutegeereranga ddala mu byonna Katonda by’ayagala, abalamusizza.
ἀσπάζεται ὑμᾶς Ἐπαφρᾶς ὁ ἐξ ὑμῶν, δοῦλος Χριστοῦ Ἰησοῦ, πάντοτε ἀγωνιζόμενος ὑπὲρ ὑμῶν ἐν ταῖς προσευχαῖς, ἵνα σταθῆτε τέλειοι καὶ πεπληροφορημένοι ἐν παντὶ θελήματι τοῦ Θεοῦ.
13 Kubanga mmuweera obujulirwa, nga bw’afuba ennyo ku lwammwe, n’ab’omu Lawodikiya, n’ab’omu Kiyerapoli.
μαρτυρῶ γὰρ αὐτῷ ὅτι ἔχει πολὺν πόνον ὑπὲρ ὑμῶν καὶ τῶν ἐν Λαοδικίᾳ καὶ τῶν ἐν Ἱεραπόλει.
14 Lukka, omusawo omwagalwa ne Dema, babalamusizza.
ἀσπάζεται ὑμᾶς Λουκᾶς ὁ ἰατρὸς ὁ ἀγαπητὸς καὶ Δημᾶς.
15 Mulamuse abooluganda ab’omu Lawodikiya, ne Nunfa, n’ekkanisa ekuŋŋaanira mu nnyumba ye.
Ἀσπάσασθε τοὺς ἐν Λαοδικίᾳ ἀδελφοὺς καὶ Νύμφαν καὶ τὴν κατ’ οἶκον αὐτῆς ἐκκλησίαν.
16 Ebbaluwa eno bw’emalanga okusomebwa mu mmwe, mulabe nti esomerwa n’ab’ekkanisa y’omu Lawodikiya, era nammwe musome ebbaluwa eriva e Lawodikiya.
καὶ ὅταν ἀναγνωσθῇ παρ’ ὑμῖν ἡ ἐπιστολή, ποιήσατε ἵνα καὶ ἐν τῇ Λαοδικέων ἐκκλησίᾳ ἀναγνωσθῇ, καὶ τὴν ἐκ Λαοδικίας ἵνα καὶ ὑμεῖς ἀναγνῶτε.
17 Era mugambe Alukipo nti, “Ssaayo omwoyo ku kuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe, okutuukirize.”
καὶ εἴπατε Ἀρχίππῳ Βλέπε τὴν διακονίαν ἣν παρέλαβες ἐν Κυρίῳ, ἵνα αὐτὴν πληροῖς.
18 Nze Pawulo nzennyini nze mpandiise okulamusa kuno. Munzijukirenga mu busibe bwange. Ekisa kibeerenga nammwe.
Ὁ ἀσπασμὸς τῇ ἐμῇ χειρὶ Παύλου. μνημονεύετέ μου τῶν δεσμῶν. ἡ χάρις μεθ’ ὑμῶν.

< Abakkolosaayi 4 >