< Abakkolosaayi 2 >
1 Njagala mumanye nga bwe nfuba ennyo okubasabira mmwe n’ab’omu Lawodikiya, era n’abo abatandabangako mu mubiri.
2 Ekyo nkikola mbazzeemu amaanyi era bagattibwe wamu mu kwagalana, ne mu kutegeerera ddala obugagga bwonna obuli mu kumanya ekyama kya Katonda, ye Kristo.
3 Mu Kristo mwe mukwekeddwa eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya.
4 Ebyo mbibategeeza waleme kubaawo n’omu ababuzaabuza.
5 Kubanga wadde siri wamu nammwe mu mubiri, naye mu mwoyo ndi wamu nammwe, era nsanyuka okumanya nti mutambula nga bwe muteekwa okutambula mu Kristo era nti n’okukkiriza kwammwe mu Kristo kunywevu.
6 Nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga mu ye,
7 nga musimbibwa era nga mukuzibwa mu ye, era nga munywezebwa mu kukkiriza nga bwe mwayigirizibwa, nga mujjudde okwebazanga.
8 Mwekuumenga walemenga kubaawo n’omu ku mmwe abuzibwabuzibwa mu bufirosoofo ne mu by’obulimba ebitaliimu, okugobereranga obulombolombo obw’abantu n’ebiyigirizibwa abantu. Munywererenga ku biyigirizibwa ku Kristo.
9 Kubanga mu Kristo okutuukiriza kwonna okw’Obwakabaka mwe kulabikira mu mubiri,
10 era mmwe nga muli mu ye, mwatuukirira mu ye, oyo Kristo omutwe gw’obufuzi bwonna n’obuyinza bwonna.
11 Mu ye mwakomolebwa, bwe mwaggibwako okwegomba kw’omubiri, naye si okukomolebwa okw’engalo z’abantu, wabula mu kukomolebwa okwa Kristo.
12 Bwe mwabatizibwa, mwaziikibwa wamu naye, ate ne muzuukizibwa wamu naye olw’okukkiriza kwammwe mu maanyi ga Katonda eyamuzuukiza mu bafu.
13 Mwali mufudde olw’ebyonoono byammwe ne mu butakomolebwa bwammwe obw’okwegomba kw’omubiri. Katonda n’abafuula balamu wamu ne Kristo, ffenna bwe yatusonyiwa ebyonoono byaffe byonna.
14 Bwe yasazaamu era n’aggyawo ebiragiro ebyawandiikibwa mu mateeka ebyatwolekeranga, n’abikomerera ku musaalaba,
15 n’aggya ebyokulwanyisa ebyo ku bafuzi n’ab’obuyinza ab’omu bbanga, n’abaswaza mu lwatu, n’abawangulira ddala.
16 Noolwekyo waleme kubaawo muntu n’omu abasalira musango ku bye mulya ne bye munywa, oba okubasalira omusango olw’embaga z’Ekiyudaaya oba ez’omwezi ogubonese wadde olwa Ssabbiiti.
17 Kubanga ebyo kisiikirize eky’ebyo ebyali bigenda okujja, naye ekirimu ensa ye Kristo.
18 Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’abanyagako ekirabo kye mwaweebwa, nga yeesigama ku kwewombeeka okw’obulimba n’okuwa bamalayika ekitiibwa ekingi, ng’anywerera mu bintu bye yalaba, nga yeenyumiririza mu butaliimu obw’amagezi ag’omubiri gwe.
19 Ab’engeri eyo baba tebakyali mu Kristo, omutwe gw’omubiri gwonna. Omubiri ogwo gugattibwa mu nnyingo ne mu binywa era ne gugattibwa wamu nga gukula, Katonda nga y’agukuza.
20 Obanga mwafiira wamu ne Kristo ne musumululwa okuva mu magezi ag’ebintu ebyangu eby’ensi, lwaki mufugibwa ebiragiro ng’ab’omu nsi?
21 Bino bye bimu ku biragiro ab’omu nsi bye bawa: Tolya kino, tokwata ku kiri oba nti tokomba ku kino.
22 Ebyo byonna ku nkomerero biriggwaawo kubanga biriba tebikyalina mugaso.
23 Birabika ng’eby’amagezi mu ngeri ey’okusinza, abantu gye beegunjirawo bokka mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri, songa tebiriiko kye bigasa n’akatono mu kufuga okwegomba kw’omubiri.