< Amosi 9 >

1 Bwe ntyo nate ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto, n’ayogera nti, “Mukube emitwe gy’empagi bya yeekaalu n’amaanyi mangi, emifuubeeto gikankane. Bisesebbuke bikube emitwe gy’abantu bonna, n’abo abaliba bawonyeewo ndibattisa ekitala. Tewaliba n’omu awona.
ראיתי את אדני נצב על המזבח ויאמר הך הכפתור וירעשו הספים ובצעם בראש כלם ואחריתם בחרב אהרג לא ינוס להם נס ולא ימלט להם פליט׃
2 Ne bwe balisima ne baddukira emagombe, omukono gwange gulibaggyayo. Ne bwe balirinnya waggulu mu ggulu ndibawanulayo. (Sheol h7585)
אם יחתרו בשאול משם ידי תקחם ואם יעלו השמים משם אורידם׃ (Sheol h7585)
3 Wadde balyekweka ku lusozi Kalumeeri, ndibanoonyaayo ne mbaggyayo. Ne bwe balyekweka wansi mu buziba bw’ennyanja ndiragira ogusota ne gubalumirayo.
ואם יחבאו בראש הכרמל משם אחפש ולקחתים ואם יסתרו מנגד עיני בקרקע הים משם אצוה את הנחש ונשכם׃
4 Ne bwe balitwalibwa abalabe baabwe mu buwaŋŋanguse, era nayo ndiragira ekitala ne kibattirayo. Ndibasimba amaaso ne batuukibwako bibi so si birungi.”
ואם ילכו בשבי לפני איביהם משם אצוה את החרב והרגתם ושמתי עיני עליהם לרעה ולא לטובה׃
5 Era Mukama, Mukama ow’Eggye, akwata ku nsi n’esaanuuka, abantu baayo bonna abagibeeramu ne bakungubaga, ensi yonna n’etumbiira nga Kiyira ate n’ekka ng’amazzi g’omugga gw’e Misiri;
ואדני יהוה הצבאות הנוגע בארץ ותמוג ואבלו כל יושבי בה ועלתה כיאר כלה ושקעה כיאר מצרים׃
6 oyo eyazimba olubiri lwe olulungi ennyo mu ggulu, omusingi gwalwo ne gubeera ku nsi, ayita amazzi g’ennyanja, n’agayiwa wansi ku lukalu, Mukama lye linnya lye.
הבונה בשמים מעלותו ואגדתו על ארץ יסדה הקרא למי הים וישפכם על פני הארץ יהוה שמו׃
7 Mukama ayongera n’agamba nti, “Mmwe abaana ba Isirayiri temuli ng’Abakuusi gye ndi? Ssabaggya mu nsi y’e Misiri nga bwe naggya Abafirisuuti e Katufoli, n’Abasuuli e Kiri?”
הלוא כבני כשיים אתם לי בני ישראל נאם יהוה הלוא את ישראל העליתי מארץ מצרים ופלשתיים מכפתור וארם מקיר׃
8 “Ddala ddala amaaso ga Mukama Katonda, gatunuulidde nkaliriza obwakabaka obwonoonyi. Ndibuzikiriza ne mbusaasaanya okuva ku nsi. Kyokka sirizikiririza ddala ennyumba ya Yakobo okugimalawo,” bw’ayogera Mukama.
הנה עיני אדני יהוה בממלכה החטאה והשמדתי אתה מעל פני האדמה אפס כי לא השמיד אשמיד את בית יעקב נאם יהוה׃
9 “Kubanga ndiwa ekiragiro, ennyumba ya Isirayiri erinyeenyezebwa mu mawanga gonna, ng’emmere ey’empeke bwe kuŋŋutibwa mu kakuŋŋunta era tewaliba kayinja akaligwa wansi.
כי הנה אנכי מצוה והנעותי בכל הגוים את בית ישראל כאשר ינוע בכברה ולא יפול צרור ארץ׃
10 Aboonoonyi bonna mu bantu bange, balifa kitala, abo bonna aboogera nti, ‘Akabi tekalitutuukako.’”
בחרב ימותו כל חטאי עמי האמרים לא תגיש ותקדים בעדינו הרעה׃
11 “Mu biro ebyo ndizzaawo ennyumba ya Dawudi eyagwa era ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa, ne nzizaawo ebyali amatongo, ne biba nga bwe byabeeranga,
ביום ההוא אקים את סכת דויד הנפלת וגדרתי את פרציהן והרסתיו אקים ובניתיה כימי עולם׃
12 balyoke batwale ekitundu kya Edomu ekyasigalawo n’amawanga gonna ge nayita okuba abantu bange,” bw’ayogera Mukama alikola ebintu ebyo byonna.
למען יירשו את שארית אדום וכל הגוים אשר נקרא שמי עליהם נאם יהוה עשה זאת׃
13 “Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “akungula lw’alisinga asiga, n’asiga ensigo lw’alisinga atunda emizabbibu. Wayini omuggya alitonnya okuva mu nsozi, n’akulukuta okuva mu busozi.
הנה ימים באים נאם יהוה ונגש חורש בקצר ודרך ענבים במשך הזרע והטיפו ההרים עסיס וכל הגבעות תתמוגגנה׃
14 Ndikomyawo abantu bange Isirayiri okuva mu buwaŋŋanguse, ne bazimba nate ebibuga ebyamenyebwa, babibeeremu. Balisimba ennimiro zaabwe ez’emizabbibu ne banywa wayini avaamu, era balisimba ennimiro balye ebibala byamu.
ושבתי את שבות עמי ישראל ובנו ערים נשמות וישבו ונטעו כרמים ושתו את יינם ועשו גנות ואכלו את פריהם׃
15 Ndisimba Isirayiri mu nsi yaabwe, era tebaliggibwa nate mu nsi gye nabawa,” bw’ayogera Mukama Katonda wammwe.
ונטעתים על אדמתם ולא ינתשו עוד מעל אדמתם אשר נתתי להם אמר יהוה אלהיך׃

< Amosi 9 >