< Amosi 8 >

1 Bino Mukama Katonda bye yandaga. Ne ndaba ekisero ekirimu ebibala ebyengedde.
כה הראני אדני יהוה והנה כלוב קיץ׃
2 Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?” Ne muddamu nti, “Ndaba ekisero ky’ebibala ebyengedde.” Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Ekiseera eky’okubonereza abaana ba Isirayiri kituuse. Siribasonyiwa nate.
ויאמר מה אתה ראה עמוס ואמר כלוב קיץ ויאמר יהוה אלי בא הקץ אל עמי ישראל לא אוסיף עוד עבור לו׃
3 “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “okuyimba kw’omu yeekaalu kulifuuka kukungubaga. Walibeerawo okufa okuyitirivu, emirambo nga gibunye wonna. Walibaawo akasiriikiriro.”
והילילו שירות היכל ביום ההוא נאם אדני יהוה רב הפגר בכל מקום השליך הס׃
4 Muwulire bino mmwe abalinnyirira abateesobola, era abasaanyaawo abanaku b’omu nsi,
שמעו זאת השאפים אביון ולשבית ענוי ארץ׃
5 nga mwogera nti, “Ennaku enkulu ez’Omwezi ogwa kaboneka ziggwaako ddi, tulyoke tutunde emmere yaffe ey’empeke, era ne Ssabbiiti eggwaako ddi, tutunde eŋŋaano yaffe?” Mukozesa minzaani enkyamu ne mwongera emiwendo ne mukozesa n’ebipimo ebitatuuse,
לאמר מתי יעבר החדש ונשבירה שבר והשבת ונפתחה בר להקטין איפה ולהגדיל שקל ולעות מאזני מרמה׃
6 mmwe abagula abaavu n’effeeza n’abanaku ne mubagula n’omugogo gw’engatto, ne mutundira ebisaaniiko mu ŋŋaano.
לקנות בכסף דלים ואביון בעבור נעלים ומפל בר נשביר׃
7 Mukama yeeweredde amalala ga Yakobo ng’agamba nti, “Sigenda kwerabira bintu bye bakoze.
נשבע יהוה בגאון יעקב אם אשכח לנצח כל מעשיהם׃
8 “Ensi terikankana olw’ekyo, na buli abeeramu n’akungubaga? Ensi yonna eritumbiira ng’omugga Kiyira n’ekka ng’amazzi ag’omugga gw’e Misiri bwe gakola.”
העל זאת לא תרגז הארץ ואבל כל יושב בה ועלתה כאר כלה ונגרשה ונשקה כיאור מצרים׃
9 Mukama Katonda agamba nti, “Ku lunaku olwo, enjuba erigwiira mu ttuntu era ensi erikwata ekizikiza emisana ttuku.
והיה ביום ההוא נאם אדני יהוה והבאתי השמש בצהרים והחשכתי לארץ ביום אור׃
10 Embaga zammwe ez’eddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga era okuyimba kwammwe kwonna kulifuuka kukaaba. Mwenna nzija kubatuusa ku kwambala ebibukutu n’emitwe gyammwe mugimwe. Olunaku olwo ndilufuula ng’olw’okukungubagira omwana owoobulenzi omu yekka, era n’enkomerero yaabyo ekaayire ddala.
והפכתי חגיכם לאבל וכל שיריכם לקינה והעליתי על כל מתנים שק ועל כל ראש קרחה ושמתיה כאבל יחיד ואחריתה כיום מר׃
11 “Ekiseera kijja,” bw’ayogera Mukama Katonda, “lwe ndisindika enjala mu nsi yonna, teriba njala ya mmere oba nnyonta y’amazzi, naye eriba enjala y’ekigambo kya Katonda.
הנה ימים באים נאם אדני יהוה והשלחתי רעב בארץ לא רעב ללחם ולא צמא למים כי אם לשמע את דברי יהוה׃
12 Abantu balibundabunda okuva ku nnyanja emu okudda ku ndala, bave mu bukiikakkono badde mu bukiikaddyo nga banoonya ekigambo kya Mukama, naye tebalikifuna.
ונעו מים עד ים ומצפון ועד מזרח ישוטטו לבקש את דבר יהוה ולא ימצאו׃
13 “Mu biro ebyo, “abawala ababalagavu n’abalenzi ab’amaanyi balizirika olw’ennyonta.
ביום ההוא תתעלפנה הבתולת היפות והבחורים בצמא׃
14 Abo abaalayira eby’ensonyi eby’e Samaliya oba abaayogera nti, ‘Nga katonda wo bw’ali omulamu ggwe Ddaani,’ oba nti, ‘Nga katonda w’e Beeruseba bw’ali omulamu,’ baligwa obutayimuka nate.”
הנשבעים באשמת שמרון ואמרו חי אלהיך דן וחי דרך באר שבע ונפלו ולא יקומו עוד׃

< Amosi 8 >