< Amosi 7 >
1 Bino Mukama Katonda bye yandaga. Yali ateekateeka ebibinja by’enzige okusaanyaawo ebirime ebyalimwanga, nga baakakungula olukungula olusooka ssinziggu, kabaka kw’afuna omusolo.
2 Enzige bwe zaalya buli kantu akaali mu nnimiro akalamu, ne nkaaba nti, “Mukama Katonda, sonyiwa abantu bo nkwegayiridde. Yakobo aliwona atya? Nga mutono nnyo.”
3 Mukama bwe yawulira okukaaba kuno n’akyusa ekirowoozo kye. N’agamba nti, “Ekyo tekiribaawo.”
4 Bino Mukama bye yayongera okundaga. Yali ategeka okubonereza abantu n’omuliro. Gwalya ennyanja eyali wansi w’ensi ne gumalawo n’olukalu.
5 Ne nkaaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde osonyiwe abantu bo! Yakobo anaasobola atya okusigalawo? Nga mutono nnyo!”
6 Awo Mukama bwe yawulira okukaaba kuno, n’akyusa ekirowoozo kye. Era n’agamba nti, “Era n’ekyo tekijja kubeerawo.”
7 Ate Mukama n’andaga okwolesebwa okulala. Ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku bbugwe azimbiddwa obulungi nga yatereera era nga Mukama akutte bbirigi mu mukono gwe.
8 Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?” Ne nziramu nti, “Ndaba bbirigi.” Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Laba nteese bbirigi wakati mu bantu bange Isirayiri. Sijja kuddayo kukyusa kirowoozo kyange nate ku ky’okubabonereza.
9 “Ebifo ebigulumivu ebya Isaaka birizikirizibwa, n’ebifo bya Isirayiri ebitukuvu birifuuka matongo. N’ennyumba ya Yerobowaamu ndigirwanyisa n’ekitala.”
10 Awo Amaziya kabona w’e Beseri n’aweereza kabaka wa Isirayiri, Yerobowaamu, obubaka ng’agamba nti, “Amosi agezaako okukulyamu olukwe wakati mu Isirayiri mwennyini. Ensi teyinza kugumira bigambo bye.”
11 Bw’ati Amosi bw’ayogera nti, “‘Yerobowaamu alifa kitala, ne Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse bave mu nsi yaboobwe.’”
12 Awo Amaziya n’alyoka alagira Amosi nti, “Vva wano ggwe omulabi. Ddayo mu nsi ya Yuda gy’oba oweera obunnabbi, ofunire eyo omusaala gwo.
13 Toweera wano bunnabbi nate e Beseri kubanga luno lubiri lwa kabaka era ssinzizo lya bwakabaka.”
14 Amosi n’amuddamu nti, “Saali nnabbi oba omwana wa nnabbi nnali mulunzi wa ndiga era nga ndabirira miti emisukamooli.
15 Naye Mukama yanziggya eyo mu kulunda ekisibo n’aŋŋamba nti, ‘Genda owe obunnabbi abantu bange, Isirayiri.’”
16 Noolwekyo ggwe wuliriza ekigambo kya Mukama. Ogamba nti, “‘Towa bunnabbi bunenya Isirayiri, era lekaraawo okubuulira ebikwata ku nnyumba ya Isaaka.’
17 “Mukama kyava akuddamu nti, “‘Mukazi wo alifuuka malaaya mu kibuga era n’abaana bo aboobulenzi n’aboobuwala balifa ekitala. Ettaka lyo lirigabanyizibwamu ne liweebwa abalala naawe kennyini olifiira mu nsi ey’abakafiiri. Ekituufu kiri nti abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse, ne baggyibwa mu nsi yaboobwe.’”