< Amosi 5 >
1 Muwulirize mmwe abantu ba Isirayiri ekigambo kino eky’ennaku ekibakwatako.
2 “Isirayiri embeerera agudde obutayimuka nate. Bamwabulidde era tewali amuyimusa.”
3 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Ekibuga ekiyungula abalwanyi olukumi okugenda mu lutalo kirisigazaawo kikumi bokka, n’ekyo ekiweereza ekikumi, kirizza kkumi bokka!”
4 Bw’ati bw’ayogera Mukama eri ennyumba ya Isirayiri nti, “Munnoonye kale munaabanga balamu.
5 Temunnoonyeza Beseri so temulaga Girugaali wadde okulaga e Beeruseba. Kubanga abantu b’e Girugaali balitwalibwa mu buwaŋŋanguse era ne Beseri kiriggwaawo.”
6 Munoonye Mukama munaabanga balamu aleme okubuubuuka ng’omuliro ku nnyumba ya Yusufu; guligyokya nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri.
7 Mmwe abantu ba Isirayiri abafuula obwenkanya okuba eky’okufumwa obufumwa mutulugunya obutuukirivu.
8 Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka ng’ebizungirizi era afuula ekisiikirize okubeera enkya era akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro, ayita amazzi g’omu nnyanja ne gafukirira ensi ng’enkuba, Mukama lye linnya lye.
9 Okutemya n’okuzibula aleeta okuzikirira ku b’amaanyi era n’asaanyaawo ebibuga ebiriko ebigo.
10 Mukyawa abalamuzi abasalawo mu bwenkanya era munyooma n’abo aboogera amazima.
11 Olinnyirira omwavu, n’omuwaliriza okukuwa emmere ey’empeke. Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba ag’amayinja, temuligabeeramu; era newaakubadde nga mwesimbidde ennimiro z’emizabbibu ennungi, temulinywa ku wayini waamu.
12 Ebibi byammwe mbimanyi, nga bingi ate nga bisasamaza. Munyigiriza omutuukirivu ne mulya n’enguzi, abaavu temubasalira musango mu bwenkanya.
13 Noolwekyo oyo alina amagezi kyaliva asirika obusirisi mu biseera ng’ebyo kubanga ennaku mbi.
14 Munoonyenga okukola obulungi, so si obubi munaabeeranga balamu! Bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye anaabeeranga mubeezi wammwe nga bulijjo bwe mumuyita.
15 Mukyawe ekibi, mwagalenga ekirungi era embuga z’amateeka zibeerengamu obwenkanya. Oboolyawo Mukama Katonda ow’Eggye anaabakwatirwa ekisa abantu abo abaasigalawo ku Yusufu.
16 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Walibeerawo okwaziirana mu nguudo n’okukaaba mu buli kibangirizi eky’omu kibuga. N’abalimi baliyitibwa, bakaabe, n’abakungubazi bakube ebiwoobe.
17 Walibaawo okukaaba mu buli nnimiro ya mizabbibu kubanga nzija okuyita wakati mu mmwe.”
18 Zibasanze mmwe abasuubira olunaku lwa Mukama. Lwaki mwesunga olunaku lwa Mukama? Olunaku olwo luliba kizikiza so si kitangaala.
19 Olunaku olwo lulibeera ng’omusajja adduka empologoma n’asisinkana eddubu, bw’aba ng’ayingira mu nnyumba ne yeekwata ku kisenge, ate n’abojjebwa omusota.
20 Olunaku lwa Mukama, teruliba kizikiza awatali kitangaala n’akatono, ng’ekizikiza ekikutte ennyo?
21 Nkyawa, era nnyooma embaga zammwe n’emikolo gyammwe egy’eddiini so sisanyukira kukuŋŋaana kwammwe.
22 Weewaawo, ne bwe munaawaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, sijja kubikkiriza. Ne bwe mulireeta ebiweebwayo olw’emirembe ebisinga obulungi, siribikkiriza.
23 Muggyeewo ennyimba zammwe ez’okutendereza. Siriwuliriza na bivuga ng’entongooli zammwe.
24 Kye njagala okulaba ge mazima n’obwenkanya nga bikulukuta ng’amazzi, n’obutuukirivu nga bukulukuta ng’omugga ogw’amaanyi.
25 “Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu emyaka gyonna amakumi ana, ggw’ennyumba ya Isirayiri?
26 Muyimusizza essabo lya kabaka wammwe, amaanyi ga bakatonda bammwe, n’emmunyeenye ya katonda wammwe, bye mwekolera mmwe.
27 Kyendiva mbawaŋŋangusa okusukka Ddamasiko,” bw’ayogera Mukama, ayitibwa Katonda Ayinzabyonna.