< Amosi 4 >
1 Muwulire kino mmwe ente ez’omu Basani ezibeera ku Lusozi Samaliya, mmwe abakazi abajooga abaavu ne munyigiriza abanaku, era abagamba ba bbaabwe nti, “Mutuletereyo ekyokunywa.”
2 Mu butukuvu bwe Mukama Katonda alayidde nti, “Ekiseera kijja lwe balibasika n’amalobo, era abalisembayo ku mmwe ne basikibwa n’amalobo agavuba.
3 Mulisikibwa okuva mu mayumba gammwe ne musuulibwa ebweru nga muyisibwa mu bituli ebibotoddwa mu bbugwe, musuulibwe ku Kalumooni, bw’ayogera Mukama.
4 Kale mmwe mugende e Beseri mukoleyo ebitasaana; era mugende ne Girugaali mwongere okukola ebibi. Mutwalengayo ssaddaaka zammwe buli nkya, n’ekimu eky’ekkumi buli myaka esatu.
5 Muweeyo ekiweebwayo eky’okwebaza eky’emigaati egizimbulukusibbwa, mulangirire n’ebiweebwayo eby’ekyeyagalire; mwe mwenyumiririza, mmwe Abayisirayiri kubanga ekyo kye mwagala,” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.
6 “Nabaleetera enjala embuto zammwe ne ziba njereere mu buli kibuga, ne ssibawa kyakulya mu buli kabuga, naye era ne mugaana okudda gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
7 “Ne mbamma enkuba ng’ekyabulayo emyezi esatu amakungula gatuuke. Ne ntonnyesa enkuba mu kibuga ekimu ne ngiziyiza mu kirala. Yatonnyanga mu nnimiro emu, mu ndala n’etatonnya, ebirime ne biwotoka.
8 Abantu ne bavanga mu kibuga ekimu ne balaga mu kirala nga banoonya amazzi banyweko, naye ne gababula; naye era ne mutakyuka kudda gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
9 “Emirundi mingi ebirime byammwe n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu na bigengewaza. Nabileetako obulwadde. Enzige nazo ne zirya emitiini gyammwe n’emizeeyituuni gyammwe, naye era temwadda gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
10 “Nabasindikira kawumpuli nga gwe nasindika mu Misiri. Abavubuka bammwe ne mbattira mu lutalo n’ekitala awamu n’embalaasi zammwe ze mwawamba. Okuwunya kw’olusisira lwammwe ne kuyitirira nnyo naye era ne mugaana okudda gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
11 “Nazikiriza abamu ku mmwe nga bwe nakola Sodomu ne Ggomola, ne muba ng’olumuli olusikiddwa mu muliro ogwaka naye era ne mulema okudda gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
12 “Kyendiva nkukola bwe ntyo, ggwe Isirayiri, era ndikwongerako ebibonoobono. Noolwekyo weetegeke okusisinkana Katonda wo, ggwe Isirayiri.”
13 Kubanga laba, oyo eyatonda ensozi era ye yatonda n’embuyaga era abikkulira omuntu ebirowoozo bye. Yafuula enkya okubeera ekiro, era alinnya mu bifo ebigulumivu eby’ensi. Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.