< Amosi 3 >

1 Muwulire ekigambo kino Mukama ky’aboogerako mmwe abaana ba Isirayiri, ennyumba yonna gye naggya mu Misiri.
שמעו את הדבר הזה אשר דבר יהוה עליכם--בני ישראל על כל המשפחה אשר העליתי מארץ מצרים לאמר
2 “Mu bantu bonna abali ku nsi, mmwe mwekka be nalonda. Kyendiva mbabonereza olw’ebibi byammwe byonna.”
רק אתכם ידעתי מכל משפחות האדמה על כן אפקד עליכם את כל עונתיכם
3 Abantu ababiri bayinza okutambulira awamu wabula nga bakkiriziganyizza?
הילכו שנים יחדו בלתי אם נועדו
4 Empologoma ewulugumira mu kisaka nga terina muyiggo? Empologoma ento ekaabira mu mpuku yaayo nga teriiko ky’ekutte?
הישאג אריה ביער וטרף אין לו היתן כפיר קולו ממענתו בלתי אם לכד
5 Akanyonyi kayinza okugwa mu mutego nga tewali kikasikirizza? Omutego gumasuka nga teguliiko kye gukwasizza?
התפל צפור על פח הארץ ומוקש אין לה היעלה פח מן האדמה ולכוד לא ילכוד
6 Akagombe kavugira mu kibuga abantu ne batatya? Akabenje kagwa mu kibuga nga Mukama si y’akaleese?
אם יתקע שופר בעיר ועם לא יחרדו אם תהיה רעה בעיר ויהוה לא עשה
7 Naye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonna nga tasoose kukibikkulira baweereza be, bannabbi.
כי לא יעשה אדני יהוה דבר כי אם גלה סודו אל עבדיו הנביאים
8 Empologoma ewulugumye, ani ataatye? Mukama Katonda ayogedde ani ataawe bubaka bwe?
אריה שאג מי לא יירא אדני יהוה דבר מי לא ינבא
9 Langirira eri ebigo by’e Asudodi n’eri ebigo by’e Misiri nti, “Mujje mukuŋŋaanire ku nsozi z’e Samaliya mulabe akajagalalo akanene akali eyo n’abantu be nga bwe bajoogebwa.”
השמיעו על ארמנות באשדוד ועל ארמנות בארץ מצרים ואמרו האספו על הרי שמרון וראו מהומת רבות בתוכה ועשוקים בקרבה
10 Mukama agamba nti, “Abantu abajjuzza ebigo byabwe n’ebintu ebinyage, tebamanyi kukola kituufu.”
ולא ידעו עשות נכחה נאם יהוה האוצרים חמס ושד בארמנותיהם
11 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Omulabe alirumba ensi, n’amenyaamenya ebigo byo eby’amaanyi era n’abinyagulula.”
לכן כה אמר אדני יהוה צר וסביב הארץ והוריד ממך עזך ונבזו ארמנותיך
12 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ng’omusumba bw’agezaako okutaasa endiga ye okuva mu kamwa k’empologoma n’asikayo amagulu abiri obubiri n’ekitundu ky’okutu, bwe batyo Abayisirayiri bwe balinunulibwa, abo abatuula mu Samaliya ku nkomerero y’ebitanda byabwe ne ku bitanda byabwe mu Ddamasiko.
כה אמר יהוה כאשר יציל הרעה מפי הארי שתי כרעים או בדל אזן--כן ינצלו בני ישראל הישבים בשמרון בפאת מטה ובדמשק ערש
13 “Muwulirize kino era mulumirize enju ya Yakobo yonna,” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.
שמעו והעידו בבית יעקב--נאם אדני יהוה אלהי הצבאות
14 “Ku lunaku lwe lumu lwe ndibonereza Isirayiri olw’ebibi bye, ndisaanyaawo ebyoto by’e Beseri, n’amayembe g’ekyoto galisalibwako ne gagwa wansi.
כי ביום פקדי פשעי ישראל--עליו ופקדתי על מזבחות בית אל ונגדעו קרנות המזבח ונפלו לארץ
15 Era ndisaanyaawo ennyumba ebeerwamu mu biseera eby’obutiti, awamu n’ennyumba ebeerwamu mu biseera ey’ebbugumu; era ndimenyaamenya n’ennyumba ezayolebwa n’amasanga, ne nsanyaawo n’embiri,” bw’ayogera Mukama.
והכיתי בית החרף על בית הקיץ ואבדו בתי השן וספו בתים רבים--נאם יהוה

< Amosi 3 >