< Amosi 2 >
1 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Mowaabu ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu ne gafuuka evvu.
2 Ndiweereza omuliro ku Mowaabu era gulyokya ebigo bya Keriyoosi. Abantu ba Mowaabu balifiira wakati mu kusasamala okungi omuliba okuleekaana n’okufuuwa amakondeere.
3 Ndizikiriza omukulembeze wa Mowaabu n’abakungu baamu bonna, ndibatta,” bw’ayogera Mukama.
4 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Yuda ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga banyoomye amateeka ga Mukama, ne batakuuma biragiro bye nabawa ne bagondera bakatonda ab’obulimba bajjajjaabwe be baagobereranga.
5 Ndiweereza omuliro ku Yuda ne njokya ebigo bya Yerusaalemi.”
6 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Isirayiri ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Batunda obutuukirivu bafune ffeeza, ne batunda n’abaavu olw’omugogo gw’engatto.
7 Balinnyiririra emitwe gy’abaavu mu nfuufu, n’abajoogebwa ne batalamulwa mu bwenkanya. Omwana ne kitaawe bayingira eri omuwala omu ne boonoona erinnya lyange.
8 Bagalamira okumpi ne buli kyoto ku ngoye ezaweebwayo ng’obweyamo. Mu nnyumba ya bakatonda baabwe mwe banywera omwenge oguleetebwa abatanziddwa.
9 “Nazikiriza Abamoli ku lwabwe newaakubadde nga baali bawanvu ng’emivule era nga ba maanyi ng’emyera. Nazikiriza ebibala ebyali waggulu okutuuka ku mirandira egyali wansi.
10 Nakuggya mu nsi y’e Misiri, ne nkukulemberera emyaka amakumi ana mu ddungu, weetwalire ensi y’Abamoli.
11 “Nayimusa abamu ku batabani bammwe okubeera bannabbi, ne ku balenzi bammwe okuba Abawonge ba Mukama. Si bwe kiri bwe kityo abantu ba Isirayiri?” bw’ayogera Mukama.
12 “Naye mmwe ne mudda mu kuwa Abawonge ba Mukama omwenge okunywa, ne muwa bannabbi amateeka nga mubagamba nti temuwa byabunnabbi.
13 “Laba, ndibasesebbula ng’eggaali eryettisse ebinywa by’emmere ey’empeke bwe lisesebbula ekiri mu kkubo lyalyo.
14 Abanguwa tebaliwona, n’ab’amaanyi tebalikuŋŋaanya maanyi gaabwe era n’omuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe.
15 Omukubi w’obusaale omukugu taliyimirira kunywera, n’omuserikale ow’ebigere nnakinku talisobola kuwenyuka. Abo abasajja abazira abeebagazi b’embalaasi tebalisobola kuwonya bulamu bwabwe.
16 Ku lunaku olwo abalwanyi abazira nnamige balidduka bukunya!” bw’atyo bw’ayogera Mukama.