< Ebikolwa by’Abatume 4 >

1 Awo Peetero ne Yokaana baali bakyayogera eri abantu, bakabona, n’omukulu w’abakuumi ba Yeekaalu n’Abasaddukaayo ne bajja gye bali,
loquentibus autem illis ad populum supervenerunt sacerdotes et magistratus templi et Sadducaei
2 nga basunguwadde nnyo okuwulira nga Peetero ne Yokaana bayigiriza abantu, ku bwa Yesu, okuzuukira mu bafu.
dolentes quod docerent populum et adnuntiarent in Iesu resurrectionem ex mortuis
3 Ne bakwata Peetero ne Yokaana, naye olwokubanga obudde bwali buyise ne babaggalira mu kkomera okutuusa enkeera.
et iniecerunt in eis manus et posuerunt eos in custodiam in crastinum erat enim iam vespera
4 Kyokka abantu bangi ku abo abaali bawuliriza abatume ne bakkiriza, era omuwendo gw’abasajja bokka abakkiriza ne guba ng’enkumi ttaano!
multi autem eorum qui audierant verbum crediderunt et factus est numerus virorum quinque milia
5 Enkeera, abafuzi n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi.
factum est autem in crastinum ut congregarentur principes eorum et seniores et scribae in Hierusalem
6 Baali ne Ana Kabona Asinga Obukulu, ne Kayaafa, ne Yokaana, ne Alegezanda n’abalala bangi abaalina oluganda ne Kabona Asinga Obukulu.
et Annas princeps sacerdotum et Caiphas et Iohannes et Alexander et quotquot erant de genere sacerdotali
7 Awo abatume bombi ne baleetebwa ne basimbibwa mu maaso g’Olukiiko. Ne bababuuza nti, “Buyinza ki oba linnya ly’ani kwe musinzidde okukola kino?”
et statuentes eos in medio interrogabant in qua virtute aut in quo nomine fecistis hoc vos
8 Awo Peetero bwe yajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Abafuzi, n’abakulembeze b’abantu,
tunc Petrus repletus Spiritu Sancto dixit ad eos principes populi et seniores
9 obanga tubuuzibwa nsonga ey’omusajja eyawonyezeddwa,
si nos hodie diiudicamur in benefacto hominis infirmi in quo iste salvus factus est
10 mutegeere mmwe mwenna n’abantu bonna mu Isirayiri, omusajja ono ayimiridde mu maaso gammwe mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, gwe mwakomerera naye Katonda n’amuzuukiza, era kaakano mulamu.
notum sit omnibus vobis et omni plebi Israhel quia in nomine Iesu Christi Nazareni quem vos crucifixistis quem Deus suscitavit a mortuis in hoc iste adstat coram vobis sanus
11 “‘Oyo ly’Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’
hic est lapis qui reprobatus est a vobis aedificantibus qui factus est in caput anguli
12 Tewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi w’eggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”
et non est in alio aliquo salus nec enim nomen aliud est sub caelo datum hominibus in quo oportet nos salvos fieri
13 Awo ab’Olukiiko bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yokaana, ate n’okutegeera ne bategeera nga tebaasoma, era nga si batendeke, ne beewuunya nnyo, ne bategeera ng’abasajja abo baabeeranga ne Yesu.
videntes autem Petri constantiam et Iohannis conperto quod homines essent sine litteris et idiotae admirabantur et cognoscebant eos quoniam cum Iesu fuerant
14 Era bwe baalaba omusajja eyawonyezebwa ng’ayimiridde nabo, n’eky’okubaddamu ne kibabula.
hominem quoque videntes stantem cum eis qui curatus fuerat nihil poterant contradicere
15 Ne babalagira okugira nga babeera wabweru Olukiiko lubakubaganyeko ebirowoozo.
iusserunt autem eos foras extra concilium secedere et conferebant ad invicem
16 Ab’olukiiko ne beebuuzaganya nti, “Abasajja bano tubakole tutya? Kubanga tetuyinza kwegaana ekyamagero eky’amaanyi ekikoleddwa mu bo; buli muntu yenna mu Yerusaalemi akitegedde.
dicentes quid faciemus hominibus istis quoniam quidem notum signum factum est per eos omnibus habitantibus in Hierusalem manifestum et non possumus negare
17 Naye engeri gye tunaaziyizaamu ebigambo byabwe okwongera okusaasaana kwe kubalabula n’amaanyi baleme kuddayo kwogera na muntu yenna ku linnya lya Yesu.”
sed ne amplius divulgetur in populum comminemur eis ne ultra loquantur in nomine hoc ulli hominum
18 Ne babayita bakomewo mu Lukiiko, ne babalagira baleme kuddayo nate kwogera ku linnya lya Yesu.
et vocantes eos denuntiaverunt ne omnino loquerentur neque docerent in nomine Iesu
19 Naye Peetero ne Yokaana ne baddamu nti, “Mmwe muba musalawo obanga kituufu mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga okuwulira Katonda.
Petrus vero et Iohannes respondentes dixerunt ad eos si iustum est in conspectu Dei vos potius audire quam Deum iudicate
20 Tetuyinza butayogera ku bintu bye twalaba, n’ebigambo bye twawulira.”
non enim possumus quae vidimus et audivimus non loqui
21 Awo Olukiiko bwe lwamala okwongera okubatiisatiisa ne lubaleka ne bagenda, kubanga baabulwa kwe banaasinziira okubabonereza ne batasasamaza bantu. Kubanga abantu bonna baali bagulumiza Katonda olw’ekyo ekyabaawo.
at illi comminantes dimiserunt eos non invenientes quomodo punirent eos propter populum quia omnes clarificabant Deum in eo quod acciderat
22 Omusajja eyawonyezebwa yali assussa mu myaka amakumi ana.
annorum enim erat amplius quadraginta homo in quo factum erat signum istud sanitatis
23 Awo Peetero ne Yokaana bwe baateebwa ne baddayo eri bannaabwe ne bababuulira byonna bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya bye baabagamba.
dimissi autem venerunt ad suos et adnuntiaverunt eis quanta ad eos principes sacerdotum et seniores dixissent
24 Bonna bwe baabiwulira ne bayimusiza wamu amaloboozi gaabwe n’omwoyo gumu eri Katonda ne basaba nti, “Ayi Mukama, Omutonzi w’eggulu n’ensi n’ennyanja ne byonna ebibirimu,
qui cum audissent unianimiter levaverunt vocem ad Deum et dixerunt Domine tu qui fecisti caelum et terram et mare et omnia quae in eis sunt
25 ggwe Kitaffe wayogerera ku bwa Mwoyo Mutukuvu mu kamwa k’omuweereza wo, Dawudi bwe yagamba nti: “‘Lwaki Abaamawanga banyiigidde, n’abantu ne balowooza ebitaliimu?
qui Spiritu Sancto per os patris nostri David pueri tui dixisti quare fremuerunt gentes et populi meditati sunt inania
26 Bakabaka b’ensi n’abakulembeze, beegatta okulwanyisa Mukama n’okulwanyisa Kristo we.’
adstiterunt reges terrae et principes convenerunt in unum adversus Dominum et adversus Christum eius
27 Kubanga baakuŋŋaanira mu kibuga. Kerode ne Pontiyo Piraato, awamu n’Abamawanga, n’Abayisirayiri, beegatta okulwanyisa Omuweereza wo Omutukuvu Yesu gwe wafukako amafuta,
convenerunt enim vere in civitate ista adversus sanctum puerum tuum Iesum quem unxisti Herodes et Pontius Pilatus cum gentibus et populis Israhel
28 ne bakola ebyo omukono gwo n’okuteesa kwo bye kwateekateeka edda okubaawo.
facere quae manus tua et consilium decreverunt fieri
29 Ne kaakano, Ayi Mukama, wulira okutiisatiisa kwabwe; owe abaddu bo obuvumu babuulire ekigambo kyo,
et nunc Domine respice in minas eorum et da servis tuis cum omni fiducia loqui verbum tuum
30 golola omukono gwo owonye, n’obubonero n’ebyamagero bikolebwenga mu linnya ly’Omuweereza wo Omutukuvu Yesu.”
in eo cum manum tuam extendas sanitates et signa et prodigia fieri per nomen sancti Filii tui Iesu
31 Awo bwe baamala okusaba, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kinyeenyezebwa, bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ne babuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu.
et cum orassent motus est locus in quo erant congregati et repleti sunt omnes Spiritu Sancto et loquebantur verbum Dei cum fiducia
32 Abakkiriza bonna baalina omwoyo gumu n’omutima gumu; nga tewali agamba nti kino kye nnina kyange ku bwange, wazira nga bonna bagabanira wamu.
multitudinis autem credentium erat cor et anima una nec quisquam eorum quae possidebant aliquid suum esse dicebat sed erant illis omnia communia
33 Awo abatume ne babuulira nnyo n’amaanyi mangi ku kuzuukira kwa Mukama waffe Yesu, era bonna ne bajjula ekisa kingi.
et virtute magna reddebant apostoli testimonium resurrectionis Iesu Christi Domini et gratia magna erat in omnibus illis
34 Mu bo temwali baali mu kwetaaga, kubanga abo abaalina ettaka oba amayumba, baabitundanga, ensimbi ezivudde mu bye batunze
neque enim quisquam egens erat inter illos quotquot enim possessores agrorum aut domorum erant vendentes adferebant pretia eorum quae vendebant
35 ne bazireeta ku bigere by’abatume bagabireko buli muntu ng’okwetaaga kwe bwe kwalinga.
et ponebant ante pedes apostolorum dividebantur autem singulis prout cuique opus erat
36 Awo Yusufu, Omuleevi abatume gwe baatuuma Balunabba (amakulu gaalyo nti atereeza emitima gy’abantu) eyazaalibwa e Kupulo,
Ioseph autem qui cognominatus est Barnabas ab apostolis quod est interpretatum Filius consolationis Levites Cyprius genere
37 n’atunda ennimiro ye, ensimbi ezaavaamu n’azireeta ku bigere by’abatume.
cum haberet agrum vendidit illum et adtulit pretium et posuit ante pedes apostolorum

< Ebikolwa by’Abatume 4 >