< Ebikolwa by’Abatume 3 >

1 Awo Peetero ne Yokaana bwe baali bagenda mu Yeekaalu mu kusaba okw’essaawa omwenda,
Петр и Иоанн шли вместе в храм в час молитвы девятый.
2 ne wabaawo omusajja eyazaalibwa nga mulema gwe baasitulanga ne bateekanga bulijjo ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi, okusabiriza.
И был человек, хромой от чрева матери его, которого носили и сажали каждый день при дверях храма, называемых Красными, просить милостыни у входящих в храм.
3 Awo bwe yalaba Peetero ne Yokaana nga bagenda okuyingira mu yeekaalu n’abasaba ensimbi.
Он, увидев Петра и Иоанна перед входом в храм, просил у них милостыни.
4 Ne bamwekaliriza amaaso, Peetero n’alyoka amugamba nti, “Tutunuulire!”
Петр с Иоанном, всмотревшись в него, сказали: взгляни на нас.
5 N’abatunuulira ng’asuubira okuweebwayo akantu.
И он пристально смотрел на них, надеясь получить от них что-нибудь.
6 Naye Peetero n’agamba nti, “Effeeza ne zaabu sibirina, naye ka nkuwe ekyo kye nnina. Mu linnya lya Yesu Omunnazaaleesi Golokoka, otambule!”
Но Петр сказал: серебра и золота нет у меня; а что имею, то даю тебе: во имя Иисуса Христа Назорея встань и ходи.
7 Awo Peetero n’akwata omulema ku mukono ogwa ddyo n’amuyimusa, amangwago ebigere by’omusajja n’obukongovvule ne bifuna amaanyi,
И, взяв его за правую руку, поднял; и вдруг укрепились его ступни и колени,
8 n’abuuka n’ayimirira n’atandika okutambula! N’ayingira nabo mu Yeekaalu ng’atambula era nga bw’abuuka ng’atendereza Katonda.
и, вскочив, стал, и начал ходить, и вошел с ними в храм, ходя, и скача, и хваля Бога.
9 Abantu bonna ne baamulaba ng’atambula, era ng’atendereza Katonda,
И весь народ видел его ходящим и хвалящим Бога;
10 ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi ng’asabiriza, ne bawuniikirira era ne beewuunya nnyo olw’ekyo ekimutuuseeko.
и узнали его, что это был тот, который сидел у Красных дверей храма для милостыни; и исполнились ужаса и изумления от случившегося с ним.
11 Awo omusajja eyali omulema bwe yali ng’akyekutte ku Peetero ne Yokaana abantu bonna ne badduka okujja we baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi kya Sulemaani, nga basamaaliridde.
И как исцеленный хромой не отходил от Петра и Иоанна, то весь народ в изумлении сбежался к ним в притвор, называемый Соломонов.
12 Awo Peetero bwe yabalaba n’agamba abantu nti, “Abasajja Abayisirayiri, kiki ekibeewuunyisa? Era lwaki mututunuulira ng’abagamba nti obulungi bwaffe n’obuyinza bwaffe bye bitambuzza omusajja ono?
Увидев это, Петр сказал народу: мужи Израильские! что дивитесь сему или что смотрите на нас, как будто бы мы своею силою или благочестием сделали то, что он ходит?
13 Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, era Katonda wa bajjajjaffe ffenna yagulumiza omuweereza we Yesu, gwe mwawaayo ne mu mwegaanira mu maaso ga Piraato newaakubadde nga ye yali amaliridde okumusumulula,
Бог Авраама, и Исаака, и Иакова, Бог отцов наших, прославил Сына Своего Иисуса, Которого вы предали и от Которого отреклись перед лицом Пилата, когда он полагал освободить Его.
14 naye mmwe ne mwegaana omutuukirivu era omutukuvu, ne musaba babateere omutemu.
Но вы от Святого и Праведного отреклись и просили даровать вам человека убийцу,
15 Bwe mutyo ne mutta aleeta obulamu; oyo ye Katonda yamuzuukiza mu bafu, era ffe bajulirwa.
а Начальника жизни убили. Сего Бог воскресил из мертвых, чему мы свидетели.
16 Olw’okukkiriza mu linnya lye, omusajja ono, mwenna gwe mulaba era gwe mumanyi aweereddwa amaanyi mu linnya lye, era okukkiriza mu ye kwe kuwadde omusajja ono obulamu obutuukiridde nga mwenna bwe mulaba.
И ради веры во имя Его, имя Его укрепило сего, которого вы видите и знаете, и вера, которая от Него, даровала ему исцеление сие перед всеми вами.
17 “Kale kaakano, abooluganda, mmanyi nga kye mwakola mwakikola mu butamanya, era n’abakulembeze bammwe nabo bwe batyo.
Впрочем, я знаю, братия, что вы, как и начальники ваши, сделали это по неведению;
18 Kyokka Katonda yali atuukiriza ebyo bannabbi bonna bye baayogera nti Kristo we ateekwa okubonaabona mu ngeri eyo.
Бог же, как предвозвестил устами всех Своих пророков пострадать Христу, так и исполнил.
19 Noolwekyo mwenenye, mukyuke, mulyoke mugibweko ebibi byammwe,
Итак покайтесь и обратитесь, чтобы загладились грехи ваши,
20 mulyoke muwummulire mu maaso ga Mukama, naye abaweereze Yesu, ye Kristo eyalangirirwa gye muli edda,
да придут времена отрады от лица Господа, и да пошлет Он предназначенного вам Иисуса Христа,
21 eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa ekiseera nga kituuse ebintu byonna ne bizzibwa obuggya Katonda bye yayogerera edda mu bannabbi be abatukuvu. (aiōn g165)
Которого небо должно было принять до времен совершения всего, что говорил Бог устами всех святых Своих пророков от века. (aiōn g165)
22 Weewaawo Musa yagamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe alibayimusiza nnabbi ali nga nze, gw’aliggya mu baganda bammwe. Muwulirizanga buli ky’alibagamba.
Моисей сказал отцам: Господь Бог ваш воздвигнет вам из братьев ваших Пророка, как меня, слушайтесь Его во всем, что Он ни будет говорить вам;
23 Ataliwuliriza nnabbi oyo abantu balimuzikiririza ddala.’
и будет, что всякая душа, которая не послушает Пророка того, истребится из народа.
24 “Ne bannabbi bonna okuviira ddala ku Samwiri n’abo abaamuddirira bonna abaayogera nabo baalangirira olunaku luno.
И все пророки, от Самуила и после него, сколько их ни говорили, также предвозвестили дни сии.
25 Mmwe bazzukulu ba bannabbi abo, era ab’endagaano Katonda gye yalagaana ne bajjajjammwe ng’agamba Ibulayimu nti, ‘Mu zzadde lyo abantu bonna ab’oku nsi mwe baliweerwa omukisa.’
Вы сыны пророков и завета, который завещевал Бог отцам вашим, говоря Аврааму: и в семени твоем благословятся все племена земные.
26 Bw’atyo Katonda bwe yalondawo okubatumira Omuweereza we abawe omukisa, buli omu ku mmwe ng’akyuka okuva mu bibi bye.”
Бог, воскресив Сына Своего Иисуса, к вам первым послал Его благословить вас, отвращая каждого от злых дел ваших.

< Ebikolwa by’Abatume 3 >