< Ebikolwa by’Abatume 27 >

1 Awo bwe kyasalibwawo tusaabale ku nnyanja tugende mu Italiya, Pawulo n’abasibe abalala ne bakwasibwa omuserikale omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, erinnya lye Yuliyo, eyali ow’omu kibinja kya Kayisaali Agusito.
ως δε εκριθη του αποπλειν ημας εις την ιταλιαν παρεδιδουν τον τε παυλον και τινας ετερους δεσμωτας εκατονταρχη ονοματι ιουλιω σπειρης σεβαστης
2 Ekyombo eky’e Adulamutiyo ekyali kinaatera okuseeyeya ku lubalama lwa Asiya; ne tusitula nga ne Alisutaluuko Omumakedoni ow’e Sessaloniika ali naffe.
επιβαντες δε πλοιω αδραμυττηνω μελλοντες πλειν τους κατα την ασιαν τοπους ανηχθημεν οντος συν ημιν αρισταρχου μακεδονος θεσσαλονικεως
3 Ku lunaku olwaddirira ne tugoba ku mwalo gw’e Sidoni, Yuliyo n’akolera Pawulo eky’ekisa n’amukkiriza n’agenda ku lukalu eri mikwano gye ne bamusembeza.
τη τε ετερα κατηχθημεν εις σιδωνα φιλανθρωπως τε ο ιουλιος τω παυλω χρησαμενος επετρεψεν προς φιλους πορευθεντα επιμελειας τυχειν
4 Bwe twasitula, empewo n’etufuluma mu maaso, ne tusaabala ne tuyita ku mabbali ga Kupulo.
κακειθεν αναχθεντες υπεπλευσαμεν την κυπρον δια το τους ανεμους ειναι εναντιους
5 Bwe twamala okuva mu nnyanja wakati ne tuyita ku lubalama lwa Kirukiya ne Panfuliya, ne tugoba ku mwalo Mula ogw’e Lukiya.
το τε πελαγος το κατα την κιλικιαν και παμφυλιαν διαπλευσαντες κατηλθομεν εις μυρα της λυκιας
6 Eyo omukulu w’ekitongole n’alabawo ekyombo ekyali kiva mu Alegezanderiya nga kiraga mu Italiya, n’atusaabaza omwo.
κακει ευρων ο εκατονταρχος πλοιον αλεξανδρινον πλεον εις την ιταλιαν ενεβιβασεν ημας εις αυτο
7 Twamala ennaku nnyingi ng’ennyanja yeefuukudde, nga tugenda mpola, ne tusemberera olubalama lw’e Kunido mu buzibu bungi naye ne tuteeyongerayo mu maaso ng’omuyaga gutuyitiridde, ne tusala ne tugenda ku luuyi olumu olwa Kuleete nga tuva ku mwalo gwa Salumone.
εν ικαναις δε ημεραις βραδυπλοουντες και μολις γενομενοι κατα την κνιδον μη προσεωντος ημας του ανεμου υπεπλευσαμεν την κρητην κατα σαλμωνην
8 Ne tusaabala mu buzibu bungi ne tuyita ku lubalama okumpi n’ekifo ekiyitibwa Emyalo Emirungi ekiriraanye ekibuga Laseya.
μολις τε παραλεγομενοι αυτην ηλθομεν εις τοπον τινα καλουμενον καλους λιμενας ω εγγυς ην πολις λασαια
9 Bwe waayitawo ebbanga ddene, n’obudde nga butandise okwonoonekera ddala, era nga kyakabi okwolekera olugendo, ate era nga n’ekisiibo kyayita dda, Pawulo n’abawa amagezi,
ικανου δε χρονου διαγενομενου και οντος ηδη επισφαλους του πλοος δια το και την νηστειαν ηδη παρεληλυθεναι παρηνει ο παυλος
10 ng’agamba nti, “Bassebo, ndaba nti olugendo lujja kubeeramu emitawaana n’okufiirwa kungi, si kwa bintu byokka n’ekyombo, naye n’obulamu bwaffe.”
λεγων αυτοις ανδρες θεωρω οτι μετα υβρεως και πολλης ζημιας ου μονον του φορτου και του πλοιου αλλα και των ψυχων ημων μελλειν εσεσθαι τον πλουν
11 Naye omukulu w’ekitongole n’awalirizibwa okugondera amagezi g’omugoba w’ekyombo ne nannyini kyo okusinga Pawulo bye yayogera.
ο δε εκατονταρχος τω κυβερνητη και τω ναυκληρω επειθετο μαλλον η τοις υπο του παυλου λεγομενοις
12 Olw’okubanga omwalo tegwali mulungi okwewogomamu mu kiseera ky’obutiti, abasinga obungi kyebaava basemba eky’okweyongerayo, nga basuubira nti obanga kisoboka tutuuke e Foyiniiki, we baba bamala ekiseera eky’obutiti ku mwalo gwa Kuleete ogwali gutunuulidde obukiikaddyo n’ebugwanjuba, n’obukiikakkono n’ebugwanjuba.
ανευθετου δε του λιμενος υπαρχοντος προς παραχειμασιαν οι πλειους εθεντο βουλην αναχθηναι κακειθεν ειπως δυναιντο καταντησαντες εις φοινικα παραχειμασαι λιμενα της κρητης βλεποντα κατα λιβα και κατα χωρον
13 Mu kiseera ekyo empewo n’efuluma mu bukiikaddyo nga nzikakkamu, ne balowooza nti kye baali bagenderera bakifunye ne basikayo ennanga ne bagendera kumpi n’olukalu lwa Kuleete.
υποπνευσαντος δε νοτου δοξαντες της προθεσεως κεκρατηκεναι αραντες ασσον παρελεγοντο την κρητην
14 Naye waali tewannayita bbanga ddene, omuyaga ogw’amaanyi ennyo oguyitibwa Ewulakulo, ne gukunta n’amaanyi mangi nnyo.
μετ ου πολυ δε εβαλεν κατ αυτης ανεμος τυφωνικος ο καλουμενος ευροκλυδων
15 Ne gufuuwa ekyombo ne kiva mu kkubo lyakyo, ne kitayinza kwolekera muyaga, ne tuguleka ne gututwala nga bwe gwayagala.
συναρπασθεντος δε του πλοιου και μη δυναμενου αντοφθαλμειν τω ανεμω επιδοντες εφερομεθα
16 Oluvannyuma ne tuyita ku mabbali g’akazinga akayitibwa Kawuda, mu kutegana,
νησιον δε τι υποδραμοντες καλουμενον κλαυδην μολις ισχυσαμεν περικρατεις γενεσθαι της σκαφης
17 ne tukwata akaato akeeyambisibwa mu kabenje, ne bakasibira okwo n’emiguwa okwetooloola ekyombo, ne bakanyweza. Olw’okutya nti ekyombo kiyinza okuwagamira mu musenyu gwa Suluti, kyebaava bassa ettanga eddene ne baleka ekyombo ne kitwalibwa omuyaga.
ην αραντες βοηθειαις εχρωντο υποζωννυντες το πλοιον φοβουμενοι τε μη εις την συρτιν εκπεσωσιν χαλασαντες το σκευος ουτως εφεροντο
18 Olunaku olwaddirira omuyaga ne gweyongera amaanyi, abalunnyanja ne batandika okusuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo.
σφοδρως δε χειμαζομενων ημων τη εξης εκβολην εποιουντο
19 Ne ku lunaku olwokusatu ne bakwata ebintu ebikola ku kyombo ne babisuula mu nnyanja.
και τη τριτη αυτοχειρες την σκευην του πλοιου ερριψαμεν
20 Ne tumala ennaku nnyingi nga tetulabye ku njuba wadde emunyeenye, gwo omuyaga nga gutuzunza n’amaanyi gaagwo gonna; olwo essuubi lyaffe lyonna ery’okuwona ne lituggweeramu ddala.
μητε δε ηλιου μητε αστρων επιφαινοντων επι πλειονας ημερας χειμωνος τε ουκ ολιγου επικειμενου λοιπον περιηρειτο πασα ελπις του σωζεσθαι ημας
21 Bwe baamala ebbanga nga n’okulya tebaagala kulya, Pawulo n’alyoka ayimirira wakati mu bo, n’abagamba nti, “Abasajja kyabagwanira okumpuliriza obutava Kuleete, kubanga temwandifiiriddwa byammwe bwe muti awamu n’okulumizibwa!
πολλης δε ασιτιας υπαρχουσης τοτε σταθεις ο παυλος εν μεσω αυτων ειπεν εδει μεν ω ανδρες πειθαρχησαντας μοι μη αναγεσθαι απο της κρητης κερδησαι τε την υβριν ταυτην και την ζημιαν
22 Naye kaakano mugume omwoyo! Kubanga tewali n’omu ajja kufa, wabula ekyombo kyokka kye kijja okuzikirira.
και τανυν παραινω υμας ευθυμειν αποβολη γαρ ψυχης ουδεμια εσται εξ υμων πλην του πλοιου
23 Kubanga ekiro ekyayise, malayika wa Katonda wange gwe mpeereza, yayimiridde we ndi,
παρεστη γαρ μοι τη νυκτι ταυτη αγγελος του θεου ου ειμι ω και λατρευω
24 n’aŋŋamba nti, ‘Totya, Pawulo, kubanga kikugwanira okuyimirira mu maaso ga Kayisaali owozesebwe, era laba, Katonda akuwadde obuvunaanyizibwa ku abo bonna b’oli nabo mu kyombo.’
λεγων μη φοβου παυλε καισαρι σε δει παραστηναι και ιδου κεχαρισται σοι ο θεος παντας τους πλεοντας μετα σου
25 Noolwekyo mugume omwoyo! Kubanga nzikiriza Katonda nga mu ngeri yonna kijja kuba nga bwe kyaŋŋambiddwa.
διο ευθυμειτε ανδρες πιστευω γαρ τω θεω οτι ουτως εσται καθ ον τροπον λελαληται μοι
26 Naye kitugwanidde okusuulibwa ku kizinga.”
εις νησον δε τινα δει ημας εκπεσειν
27 Mu kiro eky’ekkumi n’ebina embuyaga bwe yali etuwuuba eno n’eri mu Nnyanja Aduliya, mu ttumbi abalunnyanja ne bateebereza nti olukalu luli kumpi.
ως δε τεσσαρεσκαιδεκατη νυξ εγενετο διαφερομενων ημων εν τω αδρια κατα μεσον της νυκτος υπενοουν οι ναυται προσαγειν τινα αυτοις χωραν
28 Ne bapima ne balaba ng’obuwanvu bw’amazzi okukka wansi buli mita amakumi asatu mu musanvu. Bwe waayitawo akabanga ate ne bapima ne basanga nga mita amakumi abiri mu musanvu.
και βολισαντες ευρον οργυιας εικοσι βραχυ δε διαστησαντες και παλιν βολισαντες ευρον οργυιας δεκαπεντε
29 Bwe baatya okutomera enjazi ku lubalama ne basuula ennanga nnya emabega, ne basabirira obudde okukya.
φοβουμενοι τε μηπως εις τραχεις τοπους εκπεσωσιν εκ πρυμνης ριψαντες αγκυρας τεσσαρας ηυχοντο ημεραν γενεσθαι
30 Abamu ku balunnyanja ne bateesa okwabulira ekyombo ne bassa akaato akeyambisibwa mu kabenje, nga beefuula ng’abagenda okusuula ennanga mu maaso g’ekyombo.
των δε ναυτων ζητουντων φυγειν εκ του πλοιου και χαλασαντων την σκαφην εις την θαλασσαν προφασει ως εκ πρωρας μελλοντων αγκυρας εκτεινειν
31 Naye Pawulo n’agamba omukulu w’ekitongole n’abaserikale be nti, “Mwenna temujja kuwona okuggyako ng’abasajja bano basigala ku kyombo.”
ειπεν ο παυλος τω εκατονταρχη και τοις στρατιωταις εαν μη ουτοι μεινωσιν εν τω πλοιω υμεις σωθηναι ου δυνασθε
32 Awo abaserikale ne basala emiguwa egyali gikutte akato, ne bakaleka ne kagwayo.
τοτε οι στρατιωται απεκοψαν τα σχοινια της σκαφης και ειασαν αυτην εκπεσειν
33 Awo obudde bwali bunaatera okukya, Pawulo ne yeegayirira buli muntu alye ku mmere, ng’abagamba nti, “Leero lunaku lwa kkumi na nnya nga mulindirira nga temulidde, ate era mukyeyongera obutalya.
αχρι δε ου εμελλεν ημερα γινεσθαι παρεκαλει ο παυλος απαντας μεταλαβειν τροφης λεγων τεσσαρεσκαιδεκατην σημερον ημεραν προσδοκωντες ασιτοι διατελειτε μηδεν προσλαβομενοι
34 Noolwekyo mubeeko ke mulya, kubanga ekyo kye kijja okubalokola so tewaabe n’omu ku mmwe anaavibwako luviiri lwe ku mutwe gwe.”
διο παρακαλω υμας προσλαβειν τροφης τουτο γαρ προς της υμετερας σωτηριας υπαρχει ουδενος γαρ υμων θριξ εκ της κεφαλης πεσειται
35 Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n’addira omugaati, ne yeebaza Katonda mu maaso gaabwe bonna, n’amenya omugaati n’alya.
ειπων δε ταυτα και λαβων αρτον ευχαριστησεν τω θεω ενωπιον παντων και κλασας ηρξατο εσθιειν
36 Amangwago buli omu n’atandika okulya ku mmere.
ευθυμοι δε γενομενοι παντες και αυτοι προσελαβοντο τροφης
37 Abaali ku kyombo bonna awamu baali ebikumi bibiri mu nsanvu mu mukaaga.
ημεν δε εν τω πλοιω αι πασαι ψυχαι διακοσιαι εβδομηκονταεξ
38 Bonna bwe baamala okulya nga bakkuse, ne basuula eŋŋaano mu nnyanja okwongera okuwewula ku kyombo.
κορεσθεντες δε τροφης εκουφιζον το πλοιον εκβαλλομενοι τον σιτον εις την θαλασσαν
39 Awo obudde bwe bwakya ne batalaba lukalu naye ne balengera ekikono ky’ennyanja nga kirina ekibangirizi eky’omusenyu ku lubalama, ne baagala bagobye okwo ekyombo.
οτε δε ημερα εγενετο την γην ουκ επεγινωσκον κολπον δε τινα κατενοουν εχοντα αιγιαλον εις ον εβουλευσαντο ει δυναιντο εξωσαι το πλοιον
40 Ne bakutula ennanga, ne bazireka mu nnyanja, ne basumulula emiguwa egikwata enkasi ne bawanika ettanga ery’omu maaso g’ekyombo empewo eryoke ekitwale mu maaso, ne balyoka boolekera olukalu.
και τας αγκυρας περιελοντες ειων εις την θαλασσαν αμα ανεντες τας ζευκτηριας των πηδαλιων και επαραντες τον αρτεμονα τη πνεουση κατειχον εις τον αιγιαλον
41 Naye ekyombo ne kyeggunda mu musenyu engezi ebbiri we zaali zisisinkana, ekitundu eky’omu maaso ne kiwagamira mu musenyu nga tekinyeenya, eky’emabega ne kisigala wabweru waggulu, ng’amayengo ag’amaanyi gakikuba, era ne kitandika okumenyekamenyeka.
περιπεσοντες δε εις τοπον διθαλασσον επωκειλαν την ναυν και η μεν πρωρα ερεισασα εμεινεν ασαλευτος η δε πρυμνα ελυετο υπο της βιας των κυματων
42 Abaserikale ne bateesa batte abasibe bonna, si kulwa nga bawuga ne batuuka ku lukalu ne babomba.
των δε στρατιωτων βουλη εγενετο ινα τους δεσμωτας αποκτεινωσιν μη τις εκκολυμβησας διαφυγοι
43 Naye olwokubanga Yuliyo yayagala okuwonya Pawulo, amagezi ago n’agagaana. Awo n’alagira buli muntu asobola okuwuga awuge alage ku lukalu,
ο δε εκατονταρχος βουλομενος διασωσαι τον παυλον εκωλυσεν αυτους του βουληματος εκελευσεν τε τους δυναμενους κολυμβαν απορριψαντας πρωτους επι την γην εξιεναι
44 n’abo abatasobola kuwuga bagezeeko okweyambisa ebitundutundu by’embaawo ebyali bimenyese ku kyombo. Awo buli muntu n’atuuka bulungi ku lukalu nga taliiko kamogo.
και τους λοιπους ους μεν επι σανισιν ους δε επι τινων των απο του πλοιου και ουτως εγενετο παντας διασωθηναι επι την γην

< Ebikolwa by’Abatume 27 >