< Ebikolwa by’Abatume 26 >

1 Agulipa n’agamba Pawulo nti, “Okkirizibbwa okuwoza ensonga zo.” Awo Pawulo n’agolola omukono gwe, n’awoza nti,
Agrippa sayde vnto Paul: thou arte permitted to speake for thy selfe. Then Paul stretched forth the honde and answered for him selfe.
2 “Kabaka Agulipa, nnina omukisa okuwoleza mu maaso go leero, nga nnyanukula byonna Abayudaaya bye banvunaana,
I thynke my selfe happy kynge Agrippa because I shall answere this daye before the of all the thinges wherof I am accused of ye Iewes
3 kubanga mmanyi ng’empisa z’Ekiyudaaya, zonna ozitegeera bulungi. Kyenva nkusaba ompulirize n’obugumiikiriza.
namely because thou arte experte in all customes and questions which are amonge the Iewes. Wherfore I beseche the to heare me paciently.
4 “Nayigirizibwa n’obwegendereza mu mpisa z’Ekiyudaaya okuviira ddala mu buto bwange mu kibuga ky’ewaffe e Taluso ne mu Yerusaalemi, era ne ntambulira mu mpisa ezo obulamu bwange bwonna. Ebyo byonna Abayudaaya bonna babimanyi bulungi.
My lyvynge of a chylde which was at the fyrst amoge myne awne nacion at Ierusalem knowe all the Iewes
5 Era bammanyidde ebbanga ddene nnyo, singa babadde baagala bandinjulidde, nga ndi munnakibiina eky’Abafalisaayo, eky’omu ddiini yaffe ekisingira ddala okunonooza mu buli nsonga ey’Ekiyudaaya.
which knew me from ye beginnynge yf they wolde testifie it. For after the most straytest secte of oure laye lyved I a pharisaye.
6 Kaakano nnyimiridde nga nvunaanibwa, kubanga nnina essuubi mu ebyo Katonda bye yasuubiza bajjajjaffe,
And now I stond and am iudged for the hope of the promes made of God vnto oure fathers:
7 ebika byaffe ekkumi n’ebibiri bye basuubira okutuukako nga banyiikira okusinza emisana n’ekiro; era olw’essuubi eryo, ayi kabaka, Abayudaaya kyebavudde banvunaana.
vnto which promes oure. xii. tribes instantly servynge God daye and nyght hope to come. For which hopes sake kynge Agrippa am I accused of the Iewes.
8 Kiki ekibalowoozesa nti tekiyinzika Katonda okuzuukiza abafu?
Why shuld it be thought a thinge vncredible vnto you that god shuld rayse agayne the deed?
9 “Nze ku lwange nalowooza nti kiŋŋwanidde okuyigganya erinnya lya Yesu Omunnazaaleesi, n’obukambwe bungi.
I also verely thought in my selfe that I ought to do many cotrary thinges clene agaynst the name of Iesus of Nazareth:
10 Bwe ntyo ne mbikola ne mu Yerusaalemi era ne nsiba abatuukirivu bangi mu makomera, era ne mpeebwa n’obuyinza okuva eri bakabona abakulu; abatukuvu ne bwe battibwanga, nga nkiwagira.
which thinge I also dyd in Ierusalem. Where many of the sainctes I shut vp in preson and had receaved auctorite of ye hye prestes. And whe they were put to deeth I gave the sentence.
11 Ne mu makuŋŋaaniro gonna wonna ne mbasindiikirizanga nga mbawalirizanga okuvvoola, ne mbasunguwaliranga nnyo, ne mbayigganyanga okutuuka ne mu bibuga eby’ewala.
And I punysshed them ofte in every synagoge and compelled them to blaspheme: and was yet more mad apon them and persecuted the even vnto straunge cities.
12 “Awo bwe nnali nga ndaga e Damasiko, nga ndagiddwa era nga mpeereddwa obuyinza okuva eri bakabona abakulu,
About the which thinges as I went to Damasco with auctorite and licence of the hye Prestes
13 nga ndi mu kkubo mu ttuntu, ayi Kabaka, ne ndaba ekitangaala ekyaka okusinga eky’enjuba, ne kinjakira ne bannange be nnali ntambula nabo.
even at myddaye (o kynge) I sawe in ye waye a lyght from heven above the brightnes of the sunne shyne rounde about me and them which iorneyed with me.
14 Ffenna bwe twagwa wansi, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba mu Lwebbulaniya nti, ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? Weerumya wekka bw’osamba ku nkato.’
When we were all fallen to the erth I hearde a voyce speakynge vnto me and sayinge in ye Hebrue tonge: Saul Saul why persecutest thou me? It is harde for the to kicke agaynste the pricke.
15 Ne mbuuza nti, ‘Ggwe ani Mukama wange?’ Mukama waffe n’addamu nti, ‘Nze Yesu, gw’oyigganya.
And I sayde: Who arte thou lorde? And he sayde I am Iesus whom thou persecutest.
16 Naye golokoka. Nkulabikidde, nkulonde obeere omuweereza wange era omujulirwa w’ebyo mw’ondabidde era ow’ebyo mwe nnaakulabikiranga.
But ryse and stond vp on thy fete. For I have apered vnto the for this purpose to make the a minister and a witnes both of tho thinges which thou hast sene and of tho thinges in the which I will appere vnto the
17 Era ndikuwonya mu bantu bano ne mu baamawanga gye ndikutuma
delyverynge the from the people and from ye gentyls vnto which nowe I sende the
18 okuzibula amaaso gaabwe bakyuke bave mu kizikiza badde eri omusana, n’okuva mu buyinza bwa Setaani, badde eri Katonda balyoke basonyiyibwe ebibi bafunire wamu omugabo gwa Katonda n’abo abatukuzibwa olw’okunzikiriza.’
to open their eyes that they myght turne from darcknes vnto lyght and from the power of Satan vnto God that they maye receave forgevenes of synnes and inheritauce amonge the which are sanctified by fayth in me.
19 “Bwe ntyo, Ayi Kabaka Agulipa, ne sinyooma kwolesebwa okwo okwava mu ggulu,
Wherfore kynge Agrippa I was not disobedient vnto the hevenly vision:
20 naye ne nsookera ku b’omu Damasiko, ne nzizaako ab’omu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna, n’eri Abaamawanga, nga mbategeeza beenenye bakyukire Katonda, era bakolenga ebikolwa eby’okwenenya ebisaanira.
but shewed fyrst vnto them of Damasco and at Ierusalem and thorow out all the costes of Iewry and to the gentyls that they shuld repent and turne to God and do the ryght workes of repentaunce.
21 Eyo y’ensonga Abayudaaya kyebaava bankwata nga ndi mu Yeekaalu ne bagezaako n’okunzita.
For this cause the Iewes caught me in the temple and went about to kyll me.
22 Katonda kyavudde ankuuma okutuusa leero ndyoke nyimirire nga ndi mujulirwa eri ab’ekitiibwa era n’aba bulijjo, nga sirina kirala kye njogera, wabula ebyo bannabbi ne Musa bye baategeeza nga bigenda okujja
Neverthelesse I obtayned helpe of God and cotynew vnto this daye witnessyng bothe to small and to greate saying none other thinges then those which the prophetes and Moses dyd saye shuld come
23 nti Kristo kimugwanira okubonaabona, era abeere omubereberye mu kuzuukira kw’abafu, alyoke aleetere abantu bano n’Abamawanga omusana.”
that Christ shulde suffre and that he shuld be the fyrst that shulde ryse from deeth and shuld shewe lyght vnto the people and the gentyls.
24 Awo Pawulo bwe yali akyawoza Fesuto n’aleekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Pawulo, olaluse! Okusoma ennyo kukusudde eddalu!”
As he thus answered for him selfe: Festus sayde with a lowde voyce: Paul thou arte besides thy selfe. Moche learnynge hath made the mad.
25 Pawulo n’addamu nti, “Siraluse, Oweekitiibwa Fesuto. Ebigambo bye njogera bya nsonga era bya mazima.
And Paul sayde: I am not mad most dere Festus: but speake the wordes of trueth and sobernes.
26 Era ebintu bino Kabaka Agulipa abitegeera, noolwekyo nnyinza okubimubuulira nga seekomoma. Era nkakasa nga tewali na kimu ku bintu bino ky’ataamanya, kubanga tebyakolerwa mu nkiso!
The kynge knoweth of these thinges before whom I speke frely: nether thynke I that eny of these thinges are hydden fro him. For this thinge was not done in a corner.
27 Kabaka Agulipa, bannabbi obakkiriza? Mmanyi ng’obakkiriza.”
Kynge Agrippa belevest thou ye prophetes? I wote well thou belevest.
28 Agulipa n’agamba Pawulo nti, “Onsendasenda nfuuke Omukristaayo mu kaseera kano akatono bwe kati?”
Agrippa sayde vnto Paul: Sumwhat thou bringest me in mynde for to be come a Christen.
29 Pawulo n’addamu nti, “Nsaba Katonda, mu kaseera katono oba mu kiseera kinene, ggwe ne bonna abampuliriza kaakano, bafuuke nga nze, okuggyako enjegere zino ezinsibiddwa.”
And Paul sayd: I wolde to God that not only thou: but also all that heare me to daye were not sumwhat only but altogeder soche as I am except these bondes.
30 Awo Kabaka, ne gavana ne Berenike, n’abalala bwe baali batudde, ne basituka ne bafuluma.
And when he had thus spoken the kynge rose vp and the debite and Bernice and they that sate with them.
31 Bwe badda ebbali ne bakkiriziganya ne bagamba nti, “Omusajja ono talina ky’akoze kimusaanyiza kuttibwa wadde okusibwa mu njegere.”
And when they were gone aparte they talked betwene them selves sayinge: This man doeth nothinge worthy of deeth nor of bondes.
32 Agulipa kwe kugamba Fesuto nti, “Omusajja ono yanditeereddwa singa teyajulira wa Kayisaali.”
Then sayde Agrippa vnto Festus: This man myght have bene lowsed yf he had not appealed vnto Cesar.

< Ebikolwa by’Abatume 26 >