< Ebikolwa by’Abatume 24 >
1 Awo nga wayiseewo ennaku ttaano, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, n’atuuka mu Kayisaliya ng’ali n’abamu ku bakulembeze b’Abayudaaya era ng’aleese n’omwogezi omulungi erinnya lye Terutuulo, eyannyonnyola gavana emisango egyali givunaanibwa Pawulo.
2 Pawulo bwe yaleetebwa, Terutuulo n’ayitibwa ategeeze ekivunaanibwa Pawulo, n’awoza bw’ati nti, “Oweekitiibwa, ffe Abayudaaya otuwadde eddembe, n’enkulaakulana olw’amagezi go.
3 Tukwebaza nnyo olwa bino byonna by’otukoledde.
4 Obutayagala kukukooya, nsaba ompulirize akaseera katono nga mpitaayita mu byangu ku nsonga ze tuvunaana omusajja ono.
5 “Omusajja ono tumulabye nga wa mutawaana nnyo, kubanga akuma omuliro mu Bayudaaya bonna mu nsi yonna, basasamale era bajeemere gavumenti y’Abaruumi, omukulembeze mu ttabi ly’eddiini erimanyiddwa ng’ery’Abannazaalaayo.
6 N’okugezaako yali agezaako okwonoona Yeekaalu, ne tumukwata. Twali tugenda okumusalira omusango n’ekibonerezo ng’amateeka gaffe bwe galagira,
7 naye Lusiya, omuduumizi w’abaserikale n’ajja n’atumuggyako n’amaanyi,
8 n’alagira nti awozesebwe mu mateeka g’Ekiruumi, era n’alagira abamuwawaabira bajje wano mu maaso go. Bw’onoogenda ng’omubuuza ebintu bino byonna, amazima g’ensonga zaffe gajja kweyoleka.”
9 Olwo n’Abayudaaya abalala ne boogera nga bawagira ebyo Terutuulo bye yawoza nti bya mazima.
10 Oluwalo lwa Pawulo ne lutuuka, gavana n’amuwenya asituke ayogere. Pawulo n’ayanukula nti, “Mmanyi, ssebo, nga bw’osaze emisango egifa ku nsonga zaffe ez’Ekiyudaaya okumala emyaka emingi, ekyo kimpa obugumu nga mpoleza mu maaso go.
11 Ggwe bw’onoobuuza, ojja kuzuula nti ennaku tezinnayita kkumi na bbiri kasookedde nyambuka mu Yerusaalemi okusinza mu Yeekaalu.
12 Abo abampawaabira tebansisinkanangako nga nnina gwe nnyumya naye mu Yeekaalu, wadde nga nsasamaza ekibiina mu kuŋŋaaniro oba awalala wonna mu kibuga.
13 Era tebayinza kukulaga bukakafu bwonna ku bintu bino bye bampawaabira nti nabikola.
14 Naye waliwo ekintu kimu kye nzikiriza. Nsinza Katonda nga nzikiririza mu Kkubo, bano kye bayita enzikiriza endala. Nsinza Katonda n’okumuweereza nga ngoberera empisa za bajjajjaffe n’obulombolombo, nga bwe baabitegeka, era nzikiririza ddala mu mateeka g’Ekiyudaaya ne mu byonna ebyawandiikibwa mu bitabo bya bannabbi.
15 Era nzikiriza, nga bano bwe bakkiriza, nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’ababi.
16 Olw’essuubi lino lye nnina, nfuba bulijjo okuba n’emmeeme ennongoofu eri Katonda n’eri abantu.
17 “Oluvannyuma lw’emyaka mingi, nga siriiwo, nakomawo mu Yerusaalemi ng’Abayudaaya mbaleetedde n’ensimbi ez’okubayamba, nga nange neeretedde ekirabo eky’okuwaayo eri Katonda mu Yeekaalu.
18 Bano abampawaabira bansanga ndi mu kusinza kuno mu Yeekaalu, nga nneerongoosezza, mmaze n’okumwa omutwe ng’amateeka bwe galagira, nga tewaliiwo kibiina kinneetoolodde, era nga tewali kasasamalo.
19 Naye waliwo Abayudaaya abava mu kitundu kye Asiya era basaanye babeewo wano boogere obanga balina kye banvunaana.
20 Oba si ekyo buuza bano abali wano kaakano, bakutegeeze omusango Olukiiko lw’Abayudaaya Olukulu gwe lwandabako, bwe nayimirira mu maaso gaalwo.
21 Mpozzi kino ekimu kye nayogera nti, ‘Ndi wano mu Lukiiko nga mpozesebwa olwokubanga nzikiriza okuzuukira kw’abafu!’”
22 Awo Ferikisi, eyali amanyi obulungi ebikwata ku Kkubo, n’agamba Abayudaaya nti, “Lusiya, omuduumizi w’abaserikale mu Yerusaalemi, bw’alituuka ne ndyoka nsala omusango gwammwe.”
23 N’alagira Pawulo azzibweyo mu kkomera akuumibwe, naye ng’alekerwamu ku ddembe, ne mikwano gye bakkirizibwe okujjanga okumulaba n’okumuleetera bye yeetaaga.
24 Awo nga wayiseewo ennaku ntonotono, Ferikisi n’ajja ne mukyala we Dulusira, eyali Omuyudaaya. N’atumya Pawulo, ne bamuwuliriza ng’abategeeza ku kukkiriza Kristo Yesu.
25 Awo Pawulo bwe yagenda abannyonnyola ebikwata ku butuukirivu, n’okwefuga mu bikolwa, n’okusalirwa omusango okugenda okujja, Ferikisi n’atya nnyo, n’agamba Pawulo nti, “Ebyo binaagira bimala! Kaakano genda, bwe ndifuna ekiseera ekirungi ndyongera okukuyita.”
26 Era Ferikisi yali asuubira nti Pawulo ajja kumuwa enguzi, kyeyava amutumya emirundi mingi n’ayogera naye.
27 Ne wayitawo emyaka ebiri, Polukiyo Fesuto n’adda mu bigere bya Ferikisi. Naye Ferikisi olw’okwagala Abayudaaya bamusiime, bwe yali agenda n’aleka nga Pawulo musibe mu kkomera.