< 3 Yokaana 1 >

1 Nze, Omukadde, mpandiikira ggwe Gayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima.
The elder unto Gaius the beloved, whom I love in truth.
2 Munnange omwagalwa, nkusabira okole bulungi ebintu byonna era obeere mulamu mu mubiri, nga bw’oli mu mwoyo.
Beloved, I pray that in all things thou mayest prosper and be in health, even as thy soul prospereth.
3 Abooluganda bwe nabatuukako kya nsanyusa nnyo bwe bambuulira nti onyweredde mu mazima, era nti mw’otambulira.
For I rejoiced greatly, when brethren came and bare witness unto thy truth, even as thou walkest in truth.
4 Tewali kindeetera ssanyu lisinga ng’eryo lye nfuna bwe mpulira nti abaana bange batambulira mu mazima.
Greater joy have I none than this, to hear of my children walking in the truth.
5 Omwagalwa, okola ekintu kya bwesigwa buli lw’okolera abooluganda ebirungi na ddala ababeera ku ŋŋendo ne bw’oba tobamanyi.
Beloved, thou doest a faithful work in whatsoever thou doest toward them that are brethren and strangers withal;
6 Baategeeza Ekkanisa omukwano gwe wabalaga awamu ne bye wabakolera. Kibeera kirungi singa obasiibuza ekirabo ekiba kisaanidde.
who bare witness to thy love before the church: whom thou wilt do well to set forward on their journey worthily of God:
7 Kubanga baatambulira mu linnya lya Mukama, nga tebakkiriza ebyo abatali bakkiriza bye baabawanga.
because that for the sake of the Name they went forth, taking nothing of the Gentiles.
8 Noolwekyo ffe ffennyini, ffe tusaana okubalabirira tulyoke tufuuke bakozi bannaabwe mu mazima.
We therefore ought to welcome such, that we may be fellow-workers with the truth.
9 Nawandiikira Ekkanisa ku nsonga eyo, kyokka Diyotuleefe, olw’okwagala okwefuula omukulembeze tatwagala.
I wrote somewhat unto the church: but Diotrephes, who loveth to have the preeminence among them, receiveth us not.
10 Bwe ndijja ndibategeeza ebimu ku bintu by’akola, n’ebintu by’atwogerako ebitali birungi, era n’olulimi oluvuma lw’akozesa. Takoma ku kugaana kwaniriza abooluganda abatambuze kyokka, naye n’okulagira alagira abantu abalala nabo, baleme okubaaniriza era abo ababaaniriza agezaako okubagoba mu Kkanisa.
Therefore, if I come, I will bring to remembrance his works which he doeth, prating against us with wicked words: and not content therewith, neither doth he himself receive the brethren, and them that would he forbiddeth, and casteth [them] out of the church.
11 Mukwano gwange, togobereranga kyakulabirako ekibi wabula eby’obutuukirivu. Gobereranga ebyo byokka by’olaba nga bya butuukirivu. Kirungi ojjukirenga nti abo abakola eby’obutuukirivu baba bakakasiza ddala nga bwe bali abaana ba Katonda; naye abakola ebitali bya butuukirivu balaga nga bwe bali ewala ne Katonda.
Beloved, imitate not that which is evil, but that which is good. He that doeth good is of God: he that doeth evil hath not seen God.
12 Naye buli omu ayogera bya mazima ku Demeteriyo. Nange mwogerako bya mazima byereere. Naye omanyi nga nze njogera mazima.
Demetrius hath the witness of all [men], and of the truth itself: yea, we also bear witness; and thou knowest that our witness is true.
13 Mbadde na bingi eby’okukugamba, kyokka saagala kubikuwandiikira mu bbaluwa,
I had many things to write unto thee, but I am unwilling to write [them] to thee with ink and pen:
14 kubanga nsuubira okukulaba mu bbanga ttono. Kale olwo tuliba na bingi eby’okwogerako ffembi nga tulabaganye amaaso n’amaaso. Emirembe gibeerenga naawe. Ab’emikwano abali wano bakulamusizza. Nange, mikwano gyange abali eyo, buli omu munnamusize.
but I hope shortly to see thee, and we shall speak face to face. Peace [be] unto thee. The friends salute thee. Salute the friends by name.

< 3 Yokaana 1 >