< 2 Basessaloniika 2 >

1 Kaakano abooluganda, ku by’okukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era n’okukuŋŋaanyizibwa okumusisinkana, tubasaba
弟兄们,论到我们主耶稣基督降临和我们到他那里聚集,
2 muleme okweraliikirira wadde emitima okubeewanika newaakubadde olw’omwoyo, newaakubadde olw’ekigambo wadde olw’ebbaluwa, ebirabika ng’ebivudde gye tuli, nga biranga nti olunaku lwa Mukama lutuuse.
我劝你们:无论有灵、有言语、有冒我名的书信,说主的日子现在到了,不要轻易动心,也不要惊慌。
3 Omuntu yenna tabalimbalimbanga mu ngeri yonna; kubanga okuggyako ng’obujeemu busoose okujja, n’omuntu oli ow’obujeemu, omwana w’okuzikirira ng’amaze okulabisibwa,
人不拘用什么法子,你们总不要被他诱惑;因为那日子以前,必有离道反教的事,并有那大罪人,就是沉沦之子,显露出来。
4 oyo alivvoola Katonda ne yeegulumiza okusinga ebintu byonna nga yeeyita katonda oba ekissibwamu ekitiibwa atuule mu yeekaalu ya Katonda omwo nga yeefuula okuba Katonda.
他是抵挡主,高抬自己,超过一切称为神的和一切受人敬拜的,甚至坐在 神的殿里,自称是 神。
5 Temujjukira ng’ebyo nabibategeeza bwe nnali nammwe?
我还在你们那里的时候,曾把这些事告诉你们,你们不记得吗?
6 Era ekikyamuziyizza mukimanyi kubanga tagenda kujja okutuusa ng’ekiseera kye kituuse.
现在你们也知道,那拦阻他的是什么,是叫他到了的时候才可以显露。
7 Kubanga ekyama ky’obujeemu kyatandika dda okukola, naye ye yennyini tagenda kujja okutuusa oyo amuziyiza lw’aliva mu kkubo.
因为那不法的隐意已经发动,只是现在有一个拦阻的,等到那拦阻的被除去,
8 Olwo omuntu ow’obujeemu alyoke alabisibwe, Mukama waffe Yesu gw’alimalawo n’omukka ogw’omu kamwa ke n’amuzikiriza n’okulabisibwa kw’okujja kwe.
那时这不法的人必显露出来。主耶稣要用口中的气灭绝他,用降临的荣光废掉他。
9 Omuntu oyo alijjira mu maanyi ga Setaani gonna n’akola obubonero n’eby’amagero, eby’obulimba,
这不法的人来,是照撒但的运动,行各样的异能、神迹,和一切虚假的奇事,
10 era n’obulimba obwa buli ngeri obw’obutali butuukirivu eri abo abazikirizibwa, kubanga bagaana okukkiriza amazima okulokolebwa.
并且在那沉沦的人身上行各样出于不义的诡诈;因他们不领受爱真理的心,使他们得救。
11 Katonda kyava abawaayo eri okubuzibwabuzibwa okw’amaanyi bakkirize eby’obulimba.
故此, 神就给他们一个生发错误的心,叫他们信从虚谎,
12 Era bonna balyoke basalirwe omusango olw’okukkiriza obulimba, ne bagaana amazima ne basanyukira okukola ebitali bya butuukirivu.
使一切不信真理、倒喜爱不义的人都被定罪。
13 Naye kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, abooluganda abaagalwa mu Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye, ng’abatukuza olw’okukola kw’Omwoyo n’okukkiriza amazima,
主所爱的弟兄们哪,我们本该常为你们感谢 神;因为他从起初拣选了你们,叫你们因信真道,又被圣灵感动,成为圣洁,能以得救。
14 ge yabayitira ng’ayita mu Njiri yaffe mulyoke mufune ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo.
神借我们所传的福音召你们到这地步,好得着我们主耶稣基督的荣光。
15 Noolwekyo abooluganda, munywererenga ku ebyo bye twabayigiriza mu bbaluwa zaffe oba mu bigambo byaffe.
所以,弟兄们,你们要站立得稳,凡所领受的教训,不拘是我们口传的,是信上写的,都要坚守。
16 Kale Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe eyatwagala n’atuwa essanyu n’essuubi eddungi olw’ekisa kye, (aiōnios g166)
但愿我们主耶稣基督和那爱我们、开恩将永远的安慰并美好的盼望赐给我们的父 神, (aiōnios g166)
17 abazzeemu amaanyi, era abanywezenga mu buli kye mukola ne mu buli kigambo ekirungi.
安慰你们的心,并且在一切善行善言上坚固你们。

< 2 Basessaloniika 2 >