< 2 Samwiri 1 >

1 Oluvannyuma lw’okufa kwa Sawulo, Dawudi n’agenda n’abeera e Zikulagi n’amalayo ennaku bbiri, ng’amaze okusaanyaawo Abamaleki.
ויהי אחרי מות שאול ודוד שב מהכות את העמלק וישב דוד בצקלג ימים שנים׃
2 Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, ne wajja omusajja ng’ava mu lusiisira lwa Sawulo, ng’ayuzizza ebyambalo bye, nga ne mu mutwe gwe mulimu enfuufu. Bwe yatuuka awali Dawudi, n’avuunama ng’amuwa ekitiibwa.
ויהי ביום השלישי והנה איש בא מן המחנה מעם שאול ובגדיו קרעים ואדמה על ראשו ויהי בבאו אל דוד ויפל ארצה וישתחו׃
3 Dawudi n’amubuuza nti, “Ova wa?” N’amuddamu nti, “Ndi kaawonawo okuva mu lusiisira lwa Isirayiri.”
ויאמר לו דוד אי מזה תבוא ויאמר אליו ממחנה ישראל נמלטתי׃
4 Dawudi n’ayogera nti, “Ntegeeza ebyabaddewo.” N’ayogera nti, “Abantu badduse mu lutalo, era bangi ku bo bafudde. Sawulo ne Yonasaani mutabani we nabo bafudde.”
ויאמר אליו דוד מה היה הדבר הגד נא לי ויאמר אשר נס העם מן המלחמה וגם הרבה נפל מן העם וימתו וגם שאול ויהונתן בנו מתו׃
5 Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Otegedde otya nga Sawulo ne mutabani we Yonasaani nabo bafudde?”
ויאמר דוד אל הנער המגיד לו איך ידעת כי מת שאול ויהונתן בנו׃
6 Omuvubuka n’amugamba nti, “Bwe nnali awo ku lusozi Girubowa, ne ndaba Sawulo nga yeesigamye ku ffumu lye era n’amagaali n’abeebagala embalaasi eby’omulabe nga bamucocca.
ויאמר הנער המגיד לו נקרא נקריתי בהר הגלבע והנה שאול נשען על חניתו והנה הרכב ובעלי הפרשים הדבקהו׃
7 Awo bwe yakyusa amaaso ge n’andaba, n’ankowoola, ne muddamu nti, ‘Nkukolere ki?’
ויפן אחריו ויראני ויקרא אלי ואמר הנני׃
8 “N’ambuuza nti, ‘Ggwe ani?’ “Ne muddamu nti, ‘Ndi Mwamaleki.’
ויאמר לי מי אתה ויאמר אליו עמלקי אנכי׃
9 “N’alyoka aŋŋamba nti, ‘Nnyimirirako onzite! Ndi mu masaŋŋanzira ag’okufa newaakubadde nga ndabika ng’akyalimu obulamu.’
ויאמר אלי עמד נא עלי ומתתני כי אחזני השבץ כי כל עוד נפשי בי׃
10 “Kyennava muyimirirako ne mutta, kubanga n’ategeera nga takyalamye. Ne ntwala engule eyali ku mutwe gwe n’ekikomo ekyali ku mukono gwe, era biibino mbireetedde mukama wange.”
ואעמד עליו ואמתתהו כי ידעתי כי לא יחיה אחרי נפלו ואקח הנזר אשר על ראשו ואצעדה אשר על זרעו ואביאם אל אדני הנה׃
11 Awo Dawudi n’abasajja bonna be yali nabo, ne bayuza ebyambalo byabwe.
ויחזק דוד בבגדו ויקרעם וגם כל האנשים אשר אתו׃
12 Ne bakaaba, ne bakungubaga ne basiiba okutuusa akawungeezi ku lwa Sawulo ne Yonasaani mutabani we; ne ku lw’eggye lya Mukama, ne ku lw’ennyumba ya Isirayiri; kubanga bonna baali bafudde n’ekitala.
ויספדו ויבכו ויצמו עד הערב על שאול ועל יהונתן בנו ועל עם יהוה ועל בית ישראל כי נפלו בחרב׃
13 Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Ova wa?” N’addamu nti, “Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwameleki.”
ויאמר דוד אל הנער המגיד לו אי מזה אתה ויאמר בן איש גר עמלקי אנכי׃
14 Dawudi n’amugamba nti, “Lwaki tewatya kuzikiriza omuntu Mukama gwe yafukako amafuta?”
ויאמר אליו דוד איך לא יראת לשלח ידך לשחת את משיח יהוה׃
15 Awo Dawudi n’ayita omu ku basajja be, n’amugamba nti, “Mutte.” N’amufumita n’amutta.
ויקרא דוד לאחד מהנערים ויאמר גש פגע בו ויכהו וימת׃
16 Dawudi n’amugamba nti, “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo, kubanga akamwa ko ye mujulirwa ng’oyogera nti, ‘Nnatta oyo Mukama gwe yafukako amafuta.’”
ויאמר אליו דוד דמיך על ראשך כי פיך ענה בך לאמר אנכי מתתי את משיח יהוה׃
17 Dawudi n’akungubagira Sawulo ne Yonasaani mutabani we,
ויקנן דוד את הקינה הזאת על שאול ועל יהונתן בנו׃
18 n’alagira abantu ba Isirayiri bayigirizibwe oluyimba olw’omutego olw’okukungubaga olwawandiikibwa mu kitabo kya Yasali. Olugamba nti,
ויאמר ללמד בני יהודה קשת הנה כתובה על ספר הישר׃
19 “Ekitiibwa kyo, ayi Isirayiri, kifiiridde ku nsozi zo! Ab’amaanyi nga bagudde!
הצבי ישראל על במותיך חלל איך נפלו גבורים׃
20 “Temukyogeranga mu Gaasi, temukyatuliranga mu nguudo za Asukulooni, abawala b’Abafirisuuti baleme okusanyuka, abawala b’abatali bakomole baleme okujaguza.
אל תגידו בגת אל תבשרו בחוצת אשקלון פן תשמחנה בנות פלשתים פן תעלזנה בנות הערלים׃
21 “Mmwe ensozi za Girubowa, muleme okugwibwako omusulo newaakubadde enkuba, newaakubadde ennimiro okumeramu ensigo. Kubanga eyo engabo ey’ab’amaanyi gye yanyoomerwa n’engabo ya Sawulo, gye yafuukira ng’etafukibwangako mafuta.
הרי בגלבע אל טל ואל מטר עליכם ושדי תרומת כי שם נגעל מגן גבורים מגן שאול בלי משיח בשמן׃
22 Omutego gwa Yonasaani tegwaddanga mabega n’ekitala kya Sawulo tekyaddanga nga kikalu, olw’okubuna omusaayi gw’abattibwanga, n’amasavu g’ab’amaanyi.
מדם חללים מחלב גבורים קשת יהונתן לא נשוג אחור וחרב שאול לא תשוב ריקם׃
23 “Sawulo ne Yonasaani, mu bulamu bwabwe baali baagalwa nnyo era baali baakisa, ne mu kufa tebaayawukana. Baali bangu okusinga empungu, era baali b’amaanyi n’okusinga empologoma.
שאול ויהונתן הנאהבים והנעימם בחייהם ובמותם לא נפרדו מנשרים קלו מאריות גברו׃
24 “Mmwe abawala ba Isirayiri, mukaabire Sawulo, eyabambaza engoye ezinekaaneka ez’okwesiima, eyabambaza ebyambalo ebyatonebwa ne zaabu.
בנות ישראל אל שאול בכינה המלבשכם שני עם עדנים המעלה עדי זהב על לבושכן׃
25 “Ab’amaanyi nga bagudde wakati mu lutalo! Yonasaani attiddwa ku nsozi zammwe.
איך נפלו גברים בתוך המלחמה יהונתן על במותיך חלל׃
26 Nnumwa nnyo ku lwa muganda wange Yonasaani, kubanga wali mukwano gwange ddala. Okwagala kwe wanjagala kwali kwa kitalo, nga kwa kitalo n’okusinga okw’abakyala.
צר לי עליך אחי יהונתן נעמת לי מאד נפלאתה אהבתך לי מאהבת נשים׃
27 “Ab’amaanyi nga bagudde, n’ebyokulwanyisa nga bizikiridde!”
איך נפלו גבורים ויאבדו כלי מלחמה׃

< 2 Samwiri 1 >