< 2 Samwiri 9 >

1 Dawudi n’abuuza nti, “Wakyaliwo omuntu mu nnyumba ya Sawulo eyasigalawo gwe nnyinza okulaga ekisa ku lwa Yonasaani?”
Et dixit David: Putasne est aliquis qui remanserit de domo Saul, ut faciam cum eo misericordiam propter Ionathan?
2 Awo waaliwo omuddu mu nnyumba ya Sawulo erinnya lye Ziba. Ne bamutumya, n’ajja mu maaso ga Dawudi. Kabaka n’amubuuza nti, “Ggwe Ziba?” N’addamu nti, “Nze wuuyo omuddu wo.”
Erat autem de domo Saul, servus nomine Siba: quem cum vocasset rex ad se, dixit ei: Tune es Siba? Et ille respondit: Ego sum servus tuus.
3 Kabaka n’amubuuza nti, “Tewaliwo muntu mu nnyumba ya Sawulo eyasigalawo gwe nnyinza okukolera ebirungi olw’ekisa kya Katonda?” Ziba n’addamu kabaka nti, “Wakyaliwo mutabani wa Yonasaani, eyalemala ebigere.”
Et ait rex: Numquid superest aliquis de domo Saul. ut faciam cum eo misericordiam Dei? Dixitque Siba regi: Superest filius Ionathæ, debilis pedibus.
4 Kabaka n’amubuuza nti, “Ali ludda wa?” Ziba n’amuddamu nti, “Ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.”
Ubi, inquit, est? Et Siba ad regem, Ecce, ait, in domo est Machir filii Ammiel in Lodabar.
5 Awo Dawudi n’amutumya, ne bamuleeta okuva mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.
Misit ergo rex David, et tulit eum de domo Machir filii Ammiel de Lodabar.
6 Mefibosesi mutabani wa Yonasaani, muzzukulu wa Sawulo n’ajja eri Dawudi n’avuunama mu maaso ge. Dawudi n’amubuuza nti, “Ggwe Mefibosesi?” N’addamu nti, “Nze wuuyo omuddu wo.”
Cum autem venisset Miphiboseth filius Ionathæ filii Saul ad David, corruit in faciem suam, et adoravit. Dixitque David: Miphiboseth? Qui respondit: Adsum servus tuus.
7 Dawudi n’amugamba nti, “Totya kubanga siireme kukukolera bya kisa ku lwa Yonasaani kitaawo. Nzija kukuddiza ettaka lyonna eryali erya jjajjaawo Sawulo, era onooliranga ku mmeeza yange.”
Et ait ei David: Ne timeas, quia faciens faciam in te misericordiam propter Ionathan patrem tuum, et restituam tibi omnes agros Saul patris tui, et tu comedes panem in mensa mea semper.
8 Mefibosesi ne yeeyanza n’ayogera nti, “Omuddu wo kye ki, okufaayo ku mbwa enfu nga nze?”
Qui adorans eum, dixit: Quis ego sum servus tuus, quoniam respexisti super canem mortuum similem mei?
9 Awo kabaka n’ayita Ziba, omuddu wa Sawulo, n’amugamba nti, “Mpadde muzzukulu wa mukama wo ebintu byonna ebyali ebya Sawulo n’ennyumba ye.
Vocavit itaque rex Sibam puerum Saul, et dixit ei: Omnia quæcumque fuerunt Saul, et universam domum eius, dedi filio domini tui.
10 Ggwe ne batabani bo n’abaddu bo munaamulimiranga ettaka ne muleeta ebibala ebirivaamu, muzzukulu wa mukama wo abenga n’ekyokulya. Mefibosesi muzzukulu wa mukama wo, ye anaaliiranga ku mmeeza yange nange, ennaku zange zonna.” Ziba yalina abaana aboobulenzi kkumi na bataano n’abaddu amakumi abiri.
Operare igitur ei terram tu, et filii tui, et servi tui: et inferes filio domini tui cibos ut alatur: Miphiboseth autem filius domini tui comedet semper panem super mensam meam. Erant autem Sibæ quindecim filii, et viginti servi.
11 Awo Ziba n’agamba kabaka nti, “Nga bw’olagidde mukama wange kabaka, bwe kijja okukolebwa omuddu wo.” Mefibosesi n’aliiranga ku mmeeza ya Dawudi ng’omu ku balangira.
Dixitque Siba ad regem: Sicut iussisti domine mi rex servo tuo, sic faciet servus tuus: et Miphiboseth comedet super mensam meam, quasi unus de filiis regis.
12 Mefibosesi yalina mutabani we omuto, eyayitibwanga Mikka, ne bonna abaali ab’ennyumba ya Ziba baali baddu ba Mefibosesi.
Habebat autem Miphiboseth filium parvulum nomine Micha: omnis vero cognatio domus Sibæ serviebat Miphiboseth.
13 Mefibosesi n’abeera mu Yerusaalemi kubanga yaliiranga ku mmeeza ya kabaka. Yali yalemala ebigere.
Porro Miphiboseth habitabat in Ierusalem: quia de mensa regis iugiter vescebatur: et erat claudus utroque pede.

< 2 Samwiri 9 >