< 2 Samwiri 5 >

1 Ebika byonna ebya Isirayiri ne bigenda eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba, tuli mubiri gwo era musaayi gwo.
以色列各支派聚集到赫貝龍,來見達味說:「看,我們都是你的骨肉。
2 Mu biro eby’edda, Sawulo nga ye kabaka waffe, gwe wakulemberanga Isirayiri mu ntalo. Era Mukama yakwogerako nti, ‘Olirunda abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’”
以前,連撒烏耳當我們的君王時,也是你率領以色列出入征討;上主曾對你說過:你應牧養我的百姓以色列,作以色列的領袖。」
3 Awo abakadde bonna aba Isirayiri bwe bajja eri kabaka e Kebbulooni, n’akola nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama Katonda, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri.
隨後,以色列所有的長老都到赫貝龍來見君王,達味君王就在赫貝龍,當上主的面同他們立了盟約;他們便給達味傅油,立他為以色列王。
4 Dawudi we yatanulira okuba kabaka yalina emyaka amakumi asatu; n’afugira emyaka amakumi ana.
達味登極時已三十歲,做王四十年;
5 Mu Kebbulooni n’afugirayo Yuda emyaka musanvu n’ekitundu, ate mu Yerusaalemi n’afugiramu Isirayiri yenna ne Yuda emyaka asatu mu esatu.
在赫貝龍做猶大王,七年零六個月;在耶路撒冷做全以色列和猶大王三十三年。
6 Kabaka n’abasajja be ne boolekera Yerusaalemi okulwana n’Abayebusi abaabeeranga eyo. Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Toliyingira muno, kubanga abazibe b’amaaso n’abalema balikulwanyisa ne bakulemesa;” nga balowooza nti Dawudi tayinza kukiyingira.
以後,達味和他的人向耶路撒冷進發,攻打住在那地方的耶步斯人,有人告訴達味說:「你決攻不進去,因為瞎眼瘸腿的也會把你趕走。」這是說:「達味決攻不進去。」
7 Naye Dawudi n’awamba ekigo kya Sayuuni, ky’ekibuga kya Dawudi.
但是達味卻佔領了熙雍山堡,即達味城。
8 Ku lunaku olwo Dawudi n’alagira nti, “Abanaagenda okutta Abayebusi, bayitire ku lusalosalo batte abazibe b’amaaso n’abalema, emmeeme ya Dawudi b’ekyawa.” Kyekyava kigambibwa nti, “Abazibe b’amaaso n’abalema tebaliyingira mu lubiri.”
那日達味宣佈說:「凡攻打耶步斯人,從水道首先到達味所惱恨的那些瘸腿瞎眼的人那裏的,他要升為軍長和元帥。」責魯雅的兒子約阿布首先上去了,因而成了元帥。但為此有句俗語說:「有瞎眼瘸腿的在此,人是進不去的! 」
9 Dawudi n’abeera mu kigo, n’akituuma Ekibuga kya Dawudi. N’azimba ekibuga okukyetooloola, n’akiteekako ne bbugwe.
達味住在那山堡內,稱之為達味城。達味又從米羅往裏,四周加建了城牆。
10 Dawudi ne yeeyongeranga okuba ow’amaanyi kubanga Mukama Katonda ow’Eggye yali wamu naye.
達味日漸強盛,上主萬軍的天主與他同在。
11 Awo kabaka Kiramu ow’e Ttuulo n’atuma ababaka ne batwala emivule, ne bagenda, n’abazimbi b’amayinja, n’ababazzi eri Dawudi okumuzimbira olubiri.
提洛王希蘭派使臣來見達味,給他送來了香柏木,派來了木匠石匠,為他建造宮室。
12 Dawudi n’ategeera nga Mukama yali amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era ng’agulumizizza obwakabaka bwe olw’abantu ba Mukama Isirayiri.
那時,達味知道上主已堅定他為以色列王,並為了自己的百姓以色列,提高了他的王位。
13 Dawudi bwe yava e Kebbulooni n’awasa abakyala abalala mu Yerusaalemi, abaana aboobulenzi n’aboobuwala ne bamuzaalirwa.
達味從赫貝龍遷來以後,在耶路撒冷又娶了妻妾,生了一些子女。
14 Amannya g’abo abaamuzaalirwa mu Yerusaalemi gaali Sammuwa, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani,
他在耶路撒冷所生兒子的名字如下:沙慕亞、芍巴布、納堂、撒羅滿、
15 ne Ibukali, ne Eriswa, ne Nefegi, ne Yafiya,
依貝哈爾、厄里叔亞、乃費格、雅非亞、
16 ne Erisaama, ne Eriyada ne Erifereti.
厄里沙瑪、厄肋雅達和厄里培肋特。
17 Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Dawudi afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri, bonna ne bambuka okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulira n’aserengeta mu kigo kye.
培肋舍特人聽說:達味受傅作了以色列王,遂都上來向達味尋釁;達味一聽說,便下到堡壘中。
18 Abafirisuuti baali bazze nga basaasaanye mu kiwonvu Lefayimu.
培肋舍特人來到後,散布在勒法因平原內。
19 Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.”
那時達味求問上主說:「我可以上去攻打培肋舍特人嗎﹖你將他們交在我手中嗎﹖」上主回答達味說:「你上去,我必將培肋舍特人交在你手中。」
20 Awo Dawudi n’agenda e Baaluperazimu, era n’abawangula. N’ayogera nti, “Mukama abonerezza abalabe bange mu maaso gange, ng’embuyaga ez’amazzi bwe zita ne zikulukuta n’amaanyi.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu.
達味於是來到巴耳培辣親,在那裏擊敗了他們。達味因此說:「上主使我的敵人在我面前崩潰,如水破堤。」為此,後人稱這地方為巴耳培辣親。
21 Abafirisuuti ne baleka eyo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’abasajja be ne babatwala.
培肋舍特人把自己的神像都遺棄在那裏,達味和他的人便將這些神像都帶走了。
22 Abafirisuuti ne badda, ne basaasaana mu kiwonvu kya Lefayimu.
培肋舍特人又上來,散布在勒法因平原內。
23 Awo Dawudi bwe yeebuuza ku Mukama, n’amuddamu nti, “Tobatabaalirawo, naye beetooloole, obalumbe ng’obafuluma mu maaso g’emitugunda.
達味又求問上主,上主說:「不要上去,但要繞到他們後方,從桑林那邊抄他們的後路。
24 Awo olunaatuuka bw’onoowulira abakumba ku masanso g’emitugunda, oyanguwe okulumba, kubanga ekyo kinaategeeza nti Mukama akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.”
當你聽到桑樹梢上有腳步聲時,你就趕快行動,因為那時正是上主在你前面出擊培肋舍特人的軍隊。」
25 Awo Dawudi n’akola nga Mukama bwe yamulagira, n’azikiriza Abafirisuuti okuva e Geba okutuuka e Gezeri.
達味就照上主所命的行了,擊殺培肋舍特人,從基貝紅直到革則爾。

< 2 Samwiri 5 >