< 2 Samwiri 24 >
1 Awo Mukama n’asunguwalira Isirayiri nate, n’aleetera Dawudi okubabala. Dawudi n’alagira nti, “Genda obale Isirayiri ne Yuda.”
Y volvió el furor de Jehová a enojarse contra Israel, e incitó a David contra ellos a que dijese: Vé, cuenta a Israel, y a Judá.
2 Kabaka n’alagira Yowaabu n’abaduumizi ab’eggye nti, “Mugende mu bika byonna ebya Isirayiri okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba mubale abantu, ntegeere omuwendo gwabwe.”
Y dijo el rey a Joab general del ejército que tenía consigo: Rodea todas las tribus de Israel, desde Dan hasta Beer-seba, y contád el pueblo, para que yo sepa el número del pueblo.
3 Naye Yowaabu n’addamu kabaka nti, “Mukama Katonda wo ayongere ku bantu bo emirundi kikumi n’okusingawo, nga mukama wange kabaka akyali mulamu. Naye kiki ekikukoza ekintu bwe kityo mukama wange kabaka?”
Y Joab respondió al rey: Añada Jehová tu Dios al pueblo cien veces tantos como son, y que lo vea mi señor el rey; mas ¿para qué quiere esto mi señor el rey?
4 Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga amaanyi ebigambo bya Yowaabu n’abaduumizi b’eggye, era ne bava mu maaso ga kabaka ne batanula okubala abantu ba Isirayiri.
Empero la palabra del rey pudo más que Joab, y que los capitanes del ejército: y salió Joab, de delante del rey con los capitanes del ejército, para ir a contar el pueblo de Israel.
5 Oluvannyuma olw’okusomoka Yoludaani, ne basiisira okumpi ne Aloweri ku luuyi olw’obukiikaddyo olw’ekibuga mu kiwonvu, ne bayitira mu Gaadi okutuuka e Yazeri.
Y pasando el Jordán asentaron en Aroer, a la mano derecha de la ciudad que está en medio del arroyo de Gad, y junto a Jazer.
6 Ne bagenda e Gireyaadi ne mu kitundu kya Tatimukodusi, ne batuuka e Ddaani-Yaani ne beebungulula ne baggukira e Sidoni.
Y después vinieron a Galaad, y a la tierra baja de Hodsi; y de allí vinieron a Danjaán, y al rededor de Sidón.
7 Ne bagenda ku kigo eky’e Ttuulo ne mu bibuga byonna eby’Abakiivi n’eby’Abakanani, ne bakomekkereza omulimu gwabwe e Beeruseba mu bukiikaddyo obwa Yuda.
Y vinieron a la fortaleza de Tiro, y a todas las ciudades de los Heveos, y de los Cananeos, y salieron al mediodía de Judá a Beer-seba.
8 Awo oluvannyuma olw’okuyitaayita mu nsi yonna omulimu nga bagukoledde emyezi mwenda n’ennaku amakumi abiri, ne baddayo e Yerusaalemi.
Y después que hubieron andado toda la tierra, volvieron a Jerusalem después de nueve meses y veinte días.
9 Yowaabu n’awaayo omuwendo gw’abantu bonna eri kabaka. Mu Isirayiri mwaweramu abasajja abalwanyi emitwalo kinaana, ne mu Yuda ne muweramu abasajja abalwanyi emitwalo amakumi ataano.
Y Joab dio la cuenta del número del pueblo al rey: y fueron los de Israel ochocientos mil hombres fuertes, que sacaban espada: y de los de Judá fueron quinientos mil hombres.
10 Naye Dawudi n’akeŋŋeentererwa emmeeme olw’ekikolwa ekyo eky’okubala abantu. N’agamba Mukama nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekyo kye nkoze. Kaakano, Ayi Mukama Katonda nziggyako omusango guno omuddu wo gw’azizza, kubanga nkoze eky’obusirusiru.”
Y después que David hubo contado el pueblo, hirióle su corazón, y dijo David a Jehová: Yo he pecado gravemente por haber hecho esto; mas ahora Jehová, ruégote que traspases el pecado de tu siervo; porque yo he obrado muy neciamente.
11 Awo mu kiro ekigambo kya Mukama Katonda ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi nti,
Y por la mañana cuando David se levantaba, fue palabra de Jehová a Gad profeta, vidente de David, diciendo:
12 “Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti: ku bino ebisatu londawo ekimu kye nnaakukola.’”
Vé, y habla a David: Así dijo Jehová: Tres cosas te ofrezco: tú te escogerás de estas la una, la cual yo haga.
13 Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Ndireeta enjala mu nsi okumala emyaka musanvu? Oba, ndikuddusa mu maaso g’abalabe bo okumala emyezi esatu, nga bakugoba? Oba, walibaawo ennaku ssatu eza kawumpuli mu nsi yo? Kirowoozeeko, ontegeeze ky’onoosalawo, nzizeeyo obubaka eri oyo antumye.”
Y Gad vino a David, y denuncióle, y díjole: ¿Quiéres que te vengan siete años de hambre en tu tierra? ¿O que huyas tres meses delante de tus enemigos, y que ellos te persigan? ¿O que tres días haya pestilencia en tu tierra? Piensa ahora, y mira que responderé al que me envió.
14 Awo Dawudi n’agamba Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo; wakiri tugwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi; okusinga okugwa mu mikono gy’abantu.”
Entonces David dijo a Gad: En grande angustia estoy. Yo ruego que yo caiga en la mano de Jehová, porque sus miseraciones son muchas, y que yo no caiga en manos de hombres.
15 Awo Mukama Katonda n’aweereza kawumpuli ku Isirayiri okuva ku makya okwo okumala ekiseera Mukama kye yateekateeka, abantu emitwalo musanvu ne bafa okuva mu bitundu ebya Ddaani okutuuka e Beeruseba.
Y Jehová envió pestilencia en Israel desde la mañana hasta el tiempo señalado: y murieron del pueblo, desde Dan hasta Beer-seba, setenta mil hombres.
16 Malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa olw’ekikolwa ekyo, n’agamba malayika eyabonereza abantu nti, “Kinaamala, toyoongera nate.” Olwo malayika wa Mukama Katonda yali atuuse ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.
Y como el ángel extendió su mano sobre Jerusalem para destruirla, Jehová se arrepintió de aquel mal, y dijo al ángel que destruía el pueblo. Basta ahora: detén tu mano. Entonces el ángel de Jehová estaba junto a la era de Areuna Jebuseo.
17 Awo Dawudi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda eyabonereza abantu, n’ayogera nti, “Nze nnyonoonye era nze nkoze eby’ekyejo, naye endiga zino, tezirina kye zikoze. Nkwegayiridde, omukono gwo ka gubonereze nze n’ennyumba ya kitange.”
Y David dijo a Jehová, cuando vio al ángel que hería al pueblo: Yo pequé, yo hice la maldad: ¿Estas ovejas qué hicieron? Ruégote que tu mano se torne contra mí, y contra la casa de mi padre.
18 Ku lunaku olwo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Yambuka ozimbire Mukama Katonda ekyoto ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.”
Y Gad vino a David aquel día, y díjole: Sube, y haz un altar a Jehová en la era de Areuna Jebuseo.
19 Awo Dawudi n’agondera ebiragiro bya Mukama Katonda bye yayisa mu Gaadi, n’ayambuka ku gguuliro.
Y David subió conforme al dicho de Gad, que Jehová había mandado.
20 Alawuna n’alengera kabaka n’abasajja be nga bajja gy’ali, n’afuluma n’avuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi.
Y mirando Areuna, vio al rey y a sus siervos que pasaban a él: y saliendo Areuna inclinóse delante del rey hacia tierra.
21 Alawuna n’abuuza nti, “Kiki ekireese mukama wange kabaka eri omuddu we?” Dawudi n’addamu nti, “Nzize okugula egguuliro lyo, nzimbire Mukama ekyoto, kawumpuli aleke okubuna mu bantu.”
Y dijo Areuna: ¿Por qué viene mi señor el rey a su siervo? Y David respondió: Para comprar de ti esta era para edificar en ella altar a Jehová, y que la mortandad cese del pueblo.
22 Alawuna n’agamba Dawudi nti, “Mukama wange kabaka atwale kyonna ky’anaasiima akiweeyo. Ente ziizo ez’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ebintu ebiwuula n’ebikoligo by’ente byonna mbiwaddeyo okuba enku.
Y Areuna dijo a David: Tome y sacrifique mi señor el rey lo que bien le pareciere. He aquí bueyes para el holocausto, y trillos, y otros aderezos de bueyes para leña.
23 Ebyo byonna, Alawuna abiwaddeyo eri kabaka.” Alawuna n’ayongerako nti, “Olabe ekisa mu maaso ga Mukama Katonda wo.”
Todo lo da, como un rey, Areuna al rey: Y dijo Areuna al rey: Jehová tu Dios te sea propicio.
24 Naye kabaka n’agamba Alawuna nti, “Nedda, nzija kulisasulira. Sijja kuwaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wange, nga sisasulidde muwendo.” Awo Dawudi n’asasulira egguuliro n’ente, omuwendo ogw’enkana effeeza, gulaamu lukaaga.
Y el rey dijo a Areuna: No, sino por precio te lo compraré: porque no ofreceré a Jehová mi Dios holocaustos por nada. Entonces David compró la era y los bueyes por cincuenta siclos de plata.
25 Dawudi n’azimbira Mukama ekyoto n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe. Olwo Mukama Katonda n’ayanukula okusaba kwe ku lw’ensi, kawumpuli n’ava ku Isirayiri.
Y edificó allí David un altar a Jehová, y sacrificó holocaustos, y pacíficos, y Jehová se aplacó con la tierra, y cesó la plaga de Israel.