< 2 Samwiri 23 >

1 Bino bye bigambo ebya Dawudi, mutabani wa Yese, eby’enkomerero: ebigambo eby’omusajja eyagulumizibwa, Ali Waggulu ennyo, Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta, omuyimbi wa Zabbuli za Isirayiri:
ואלה דברי דוד האחרנים נאם דוד בן ישי ונאם הגבר הקם על משיח אלהי יעקב ונעים זמרות ישראל׃
2 “Omwoyo wa Mukama yayogerera mu nze, ekigambo kye kyali mu kamwa kange.
רוח יהוה דבר בי ומלתו על לשוני׃
3 Katonda wa Isirayiri yayogera, olwazi lwa Isirayiri yaŋŋamba nti, ‘Omuntu bw’afuga n’obutuukirivu, n’afugira mu kutya Katonda,
אמר אלהי ישראל לי דבר צור ישראל מושל באדם צדיק מושל יראת אלהים׃
4 ali ng’ekitangaala eky’oku makya, enjuba ng’evaayo ku ggulu nga tekuli bire, obudde nga butangaala oluvannyuma lw’enkuba okukya ereetera omuddo okuvaayo mu ttaka.’
וכאור בקר יזרח שמש בקר לא עבות מנגה ממטר דשא מארץ׃
5 Ennyumba yange tetuukiridde mu maaso ga Katonda? Teyalagaana nange endagaano ey’enkalakkalira, n’agiteekateeka era n’aginyweza mu buli nsonga? Ekimulobera okumpa omukisa, n’okuddamu buli kye mmusaba, kiki?
כי לא כן ביתי עם אל כי ברית עולם שם לי ערוכה בכל ושמרה כי כל ישעי וכל חפץ כי לא יצמיח׃
6 Naye abatatya Katonda baliba nga amaggwa agasuulibwa wa bbali, kizibu okugakwata n’engalo.
ובליעל כקוץ מנד כלהם כי לא ביד יקחו׃
7 Buli agakwatako kimugwanira okukozesa ekyuma oba olunyago lw’effumu, era gookerwa awo omuliro we bagakuŋŋaanyirizza.”
ואיש יגע בהם ימלא ברזל ועץ חנית ובאש שרוף ישרפו בשבת׃
8 Gano ge mannya ag’abasajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yosebu-Basusebesi Omutakemoni eyali omukulu wa bazira abasatu ab’oku ntikko; yatta abasajja lunaana mu lulumbagana lumu.
אלה שמות הגברים אשר לדוד ישב בשבת תחכמני ראש השלשי הוא עדינו העצנו על שמנה מאות חלל בפעם אחד׃
9 Eyamuddiriranga ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodayi Omwakowa. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanye okulwana. Abasajja ba Isirayiri baali bazze ennyuma,
ואחרו אלעזר בן דדי בן אחחי בשלשה גברים עם דוד בחרפם בפלשתים נאספו שם למלחמה ויעלו איש ישראל׃
10 naye ye nayimirira ku bubwe n’atta Abafirisuuti, n’omukono gwe ne gukoowa, ne gusanyalalira ku kitala. Mukama n’abawa obuwanguzi obw’amaanyi olunaku olwo, abaserikale ne baddayo eri Eriyazaali okunyaga ebintu byabo abattibwa.
הוא קם ויך בפלשתים עד כי יגעה ידו ותדבק ידו אל החרב ויעש יהוה תשועה גדולה ביום ההוא והעם ישבו אחריו אך לפשט׃
11 Owookusatu ye yali Samma mutabani wa Agee Omukalali. Abafirisuuti bwe baakuŋŋaanira mu musiri ogw’ebijanjaalo, abasajja ba Isirayiri ne babadduka,
ואחריו שמא בן אגא הררי ויאספו פלשתים לחיה ותהי שם חלקת השדה מלאה עדשים והעם נס מפני פלשתים׃
12 Samma yayimirira wakati mu musiri, n’agulwanirira, era n’atta Abafirisuuti. Mukama n’awa Abayisirayiri obuwanguzi obw’amaanyi.
ויתיצב בתוך החלקה ויצילה ויך את פלשתים ויעש יהוה תשועה גדולה׃
13 Mu kiseera eky’okukungula, basatu ku bakungu amakumi asatu ne bagenda eri Dawudi mu mpuku eya Adulamu, ekibinja ky’Abafirisuuti nga basiisidde mu kiwonvu Lefayimu.
וירדו שלשים מהשלשים ראש ויבאו אל קציר אל דוד אל מערת עדלם וחית פלשתים חנה בעמק רפאים׃
14 Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, n’olusiisira lw’Abafirisuuti nga luli mu Besirekemu.
ודוד אז במצודה ומצב פלשתים אז בית לחם׃
15 Dawudi n’alumwa ennyonta, n’ayogera nti, “Waliwo omuntu ayinza okunsenera amazzi okuva mu luzzi oluliraanye wankaaki wa Besirekemu?”
ויתאוה דוד ויאמר מי ישקני מים מבאר בית לחם אשר בשער׃
16 Awo abasajja be abazira abasatu ne bawaguza mu nkambi ey’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi lwa Besirekemu olwali luliraanye wankaaki, ne bagatwalira Dawudi.
ויבקעו שלשת הגברים במחנה פלשתים וישאבו מים מבאר בית לחם אשר בשער וישאו ויבאו אל דוד ולא אבה לשתותם ויסך אתם ליהוה׃
17 Naye mu kifo eky’okuganywa n’agayiwayo eri Mukama. N’ayogera nti, “Kikafuuwe, Ayi Mukama Katonda, nze okukola ekyo. Nnyinza ntya okunywa omusaayi ogw’abasajja abawaddeyo obulamu bwabwe?” Bw’atyo n’ataganywa. Ebyo bye bimu ku bintu abasajja abo abasatu abazira bye baakola.
ויאמר חלילה לי יהוה מעשתי זאת הדם האנשים ההלכים בנפשותם ולא אבה לשתותם אלה עשו שלשת הגברים׃
18 Waaliwo ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya, naye nga mukulu w’abasajja amakumi asatu. Yayimusiza effumu lye eri abasajja ebikumi bisatu n’abatta, ne yeekolera erinnya okwenkanankana abasatu.
ואבישי אחי יואב בן צרויה הוא ראש השלשי והוא עורר את חניתו על שלש מאות חלל ולו שם בשלשה׃
19 N’aba wa kitiibwa nnyo mu bali amakumi asatu newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abali abasatu.
מן השלשה הכי נכבד ויהי להם לשר ועד השלשה לא בא׃
20 Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ow’e Kabuzeeri yali musajja mulwanyi nnyo eyakola ebyobuzira ebikulu. Yatta babiri ku basajja abazira aba Mowaabu, ate n’aserengeta ne mu bunnya n’atta empologoma mu kiseera eky’obutiti.
ובניהו בן יהוידע בן איש חי רב פעלים מקבצאל הוא הכה את שני אראל מואב והוא ירד והכה את האריה בתוך הבאר ביום השלג׃
21 N’atta Omumisiri omunene ennyo. Newaakubadde ng’Omumisiri yalina effumu mu mukono gwe, Benaya ye ng’alina muggo; yamunyagako effumu lye, n’alimuttisa.
והוא הכה את איש מצרי אשר מראה וביד המצרי חנית וירד אליו בשבט ויגזל את החנית מיד המצרי ויהרגהו בחניתו׃
22 Ebyo bye byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira ng’abasajja bali abasatu abazira.
אלה עשה בניהו בן יהוידע ולו שם בשלשה הגברים׃
23 N’aweebwa ekitiibwa mu makumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abasatu. Dawudi n’amufuula omukulu w’abambowa.
מן השלשים נכבד ואל השלשה לא בא וישמהו דוד אל משמעתו׃
24 Mu makumi asatu mwe mwali: Asakeri muganda wa Yowaabu, Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu,
עשה אל אחי יואב בשלשים אלחנן בן דדו בית לחם׃
25 Samma Omukalodi, Erika Omukalodi,
שמה החרדי אליקא החרדי׃
26 Kerezi Omupaluti, Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa,
חלץ הפלטי עירא בן עקש התקועי׃
27 Abiyezeeri Omwanasosi, Mebunnayi Omukusasi,
אביעזר הענתתי מבני החשתי׃
28 Zalumoni Omwakowa, Makalayi Omunetofa,
צלמון האחחי מהרי הנטפתי׃
29 Kerebu mutabani wa Baana Omunetofa, Ittayi mutabani wa Libayi ow’e Gibea eky’e Benyamini,
חלב בן בענה הנטפתי אתי בן ריבי מגבעת בני בנימן׃
30 Benaya Omupirasoni, Kiddayi ow’oku bugga obw’e Gaasi,
בניהו פרעתני הדי מנחלי געש׃
31 Abi-Aluboni Omwalubasi, ne Azumavesi Omubalukumi,
אבי עלבון הערבתי עזמות הברחמי׃
32 ne Eriyaba Omusaaluboni, batabani ba Yaseni, Yonasaani,
אליחבא השעלבני בני ישן יהונתן׃
33 ne Samma Omukalali, Akiyamu mutabani wa Salali Omwalali,
שמה ההררי אחיאם בן שרר האררי׃
34 Erifereti mutabani wa Akasubayi Omumaakasi, Eriyaamu mutabani wa Akisoferi Omugiro,
אליפלט בן אחסבי בן המעכתי אליעם בן אחיתפל הגלני׃
35 Kezulo Omukalumeeri, Paalayi Omwalubi,
חצרו הכרמלי פערי הארבי׃
36 Igali mutabani wa Nasani ow’e Zoba, Bani Omugaadi,
יגאל בן נתן מצבה בני הגדי׃
37 Zereki Omwamoni, Nakalayi Omubeerosi, eyasitulanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya,
צלק העמני נחרי הבארתי נשאי כלי יואב בן צריה׃
38 Ira Omuyisuli, Galebu Omuyisuli,
עירא היתרי גרב היתרי׃
39 ne Uliya Omukiiti. Bonna awamu baali amakumi asatu mu musanvu.
אוריה החתי כל שלשים ושבעה׃

< 2 Samwiri 23 >