< 2 Samwiri 22 >

1 Awo Dawudi n’ayimbira Mukama ebigambo eby’oluyimba luno, Mukama bwe yamulokola mu mukono gw’abalabe be ne mu mukono gwa Sawulo.
Locutus est autem David Domino verba carminis huius, in die qua liberavit eum Dominus de manu omnium inimicorum suorum, et de manu Saul.
2 N’ayogera nti, “Mukama lwe lwazi lwange, era ekigo kyange era omulokozi wange;
et ait: Dominus petra mea, et robur meum, et salvator meus.
3 Katonda wange lwe lwazi lwange, omwo mwe neekweka, ye ngabo yange era amaanyi ge bwe bulokozi bwange. Kye kiddukiro kyange, mwe nneekweka era ye mulokozi wange; ggwe ondokola eri abantu ababi.
Deus fortis meus sperabo in eum: scutum meum, et cornu salutis meæ: elevator meus, et refugium meum: salvator meus, de iniquitate liberabis me.
4 Nkaabira Mukama asaanidde okutenderezebwa, n’andokola eri abalabe bange.
Laudabilem invocabo Dominum: et ab inimicis meis salvus ero.
5 “Amayengo ag’okufa ganzingiza; embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
Quia circumdederunt me contritiones mortis: torrentes Belial terruerunt me.
6 Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola; n’emitego gy’okufa ne ginjolekera. (Sheol h7585)
Funes inferni circumdederunt me: prævenerunt me laquei mortis. (Sheol h7585)
7 Mu nnaku yange nakoowoola Mukama; nakoowoola Katonda wange. Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye; n’okukaaba kwange kwamutuukako.
In tribulatione mea invocabo Dominum, et ad Deum meum clamabo: et exaudiet de templo suo vocem meam, et clamor meus venit ad aures eius.
8 “Ensi n’ekankana n’ejjugumira, emisingi gy’eggulu ne ginyeenyezebwa, ne gikankanyizibwa kubanga yali asunguwadde.
Commota est et contremuit terra: fundamenta montium concussa sunt, et conquassata, quoniam iratus est eis.
9 Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze, n’omuliro ne guva mu kamwa ke, n’amanda agaaliko omuliro ne gava mu ye.
Ascendit fumus de naribus eius, et ignis de ore eius vorabit: carbones succensi sunt ab eo.
10 Yayabuluza eggulu n’akka wansi; ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
Inclinavit cælos, et descendit: et caligo sub pedibus eius.
11 Ne yeebagala kerubi n’abuuka, n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
Et ascendit super cherubim, et volavit: et lapsus est super pennas venti.
12 Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga okuba enkuufiira, n’ebire ebikutte okuba ekitaba ky’amazzi.
Posuit tenebras in circuitu suo latibulum: cribrans aquas de nubibus cælorum.
13 Okumasamasa okwali mu maaso ge kwayakisa amanda ag’omuliro.
Præ fulgore in conspectu eius, succensi sunt carbones ignis.
14 Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; Ali Waggulu Ennyo n’ayogera mu ddoboozi lye.
Tonabit de cælo Dominus: et excelsus dabit vocem suam.
15 Yalasa obusaale n’asaasaanya abalabe n’okumyansa okw’eggulu, n’abawangula.
Misit sagittas et dissipavit eos: fulgur, et consumpsit eos.
16 Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa n’emisingi gy’ensi ne gyeruka olw’okunenya kwa Mukama n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo ze.
Et apparuerunt effusiones maris, et revelata sunt fundamenta orbis ab increpatione Domini, ab inspiratione spiritus furoris eius.
17 “Yasinzira waggulu n’antwala n’ansika mu mazzi amangi.
Misit de excelso, et assumpsit me: et extraxit me de aquis multis.
18 Yamponya abalabe bange ab’amaanyi abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi.
Liberavit me ab inimico meo potentissimo, et ab his qui oderant me: quoniam robustiores me erant.
19 Bannumba mu nnaku yange naye Mukama n’ampanirira.
Prævenit me in die afflictionis meæ, et factus est Dominus firmamentum meum.
20 Yandeeta mu kifo ekigazi; yandokola kubanga yansanyukira.
Et eduxit me in latitudinem: liberavit me, quia complacui ei.
21 “Mukama yampa empeera yange ng’obutuukirivu bwange bwe bwali; n’ansasula ng’obulongoofu bwe ngalo zange bwe buli.
Retribuet mihi Dominus secundum iustitiam meam: et secundum munditiam manuum mearum reddet mihi.
22 Ntambulidde mu kkubo lya Mukama, era sivanga ku Katonda wange okukola ebitali bya butuukirivu.
Quia custodivi vias Domini, et non egi impie, a Deo meo.
23 Amateeka ge gonna gaali mu maaso gange, era ssaava ku biragiro bye.
Omnia enim iudicia eius in conspectu meo: et præcepta eius non amovi a me.
24 Sizzanga na musango mu maaso ge, era neekuumye eri obutali butuukirivu.
Et ero perfectus cum eo: et custodiam me ab iniquitate mea.
25 Mukama kyavudde ansasula ng’obutuukirivu bwange bwe buli, era ng’obulongoofu bwange bwe buli mu maaso ge.
Et restituet mihi Dominus secundum iustitiam meam: et secundum munditiam manuum mearum, in conspectu oculorum suorum.
26 “Eri abeesigwa weeraga okuba omwesigwa; n’eri abatalina musango ne weeraga obutaba na musango;
Cum sancto sanctus eris: et cum robusto perfectus.
27 eri omulongoofu weeraga okuba omulongoofu n’eri omukujjukujju ne weeraga okuba omukujjukujju okumusinga.
Cum electo electus eris: et cum perverso perverteris.
28 Olokola abantu abawombeefu, naye amaaso go ganoonya ab’amalala n’obakkakkanya.
Et populum pauperem salvum facies: oculisque tuis excelsos humiliabis.
29 Oli ttaala yange, Ayi Mukama era Mukama wange yammulisiza mu nzikiza yange.
Quia tu lucerna mea Domine: et tu Domine illuminabis tenebras meas.
30 Ku lulwe mpangula eggye, era ku lwa Katonda wange mbuuka bbugwe.
In te enim curram accinctus: in Deo meo transiliam murum.
31 Ekkubo lya Katonda golokofu, n’ekigambo kye kituukirira; era ngabo eri abo bonna abaddukira gy’ali.
Deus, immaculata via eius, eloquium Domini igne examinatum: scutum est omnium sperantium in se.
32 Kubanga ani Katonda wabula Mukama, era ani lwazi okuggyako Katonda waffe?
Quis est Deus præter Dominum: et quis fortis præter Deum nostrum?
33 Katonda kye kiddukiro kyange, era alongoosa ekkubo lyange.
Deus qui accinxit me fortitudine: et complanavit perfectam viam meam.
34 Ebigere byange abifuula okuba ng’eby’ennangaazi, era ampanirira mu bifo ebya waggulu.
Coæquans pedes meos cervis, et super excelsa mea statuens me.
35 Anteekateeka okulwana entalo, era n’ansobozesa okulasa obusaale obw’ebikomo.
Docens manus meas ad prælium, et componens quasi arcum æreum brachia mea.
36 Ompadde engabo ey’obulokozi bwo, ne weefeebya ne wessa wansi olyoke onfuule ow’ekitiibwa.
Dedisti mihi clypeum salutis tuæ: et mansuetudo tua multiplicavit me.
37 Ogaziyizza ekkubo mwe mpita, n’obukongovvule bwange tebukoonagana.
Dilatabis gressus meos subtus me: et non deficient tali mei.
38 “Nagoba abalabe bange ne mbazikiriza, so saakyuka kudda mabega okutuusa lwe baamalibwawo.
Persequar inimicos meos, et conteram: et non convertar donec consumam eos.
39 Na babetentera ddala ne batayinza kuyimuka, era bali wansi w’ebigere byange.
Consumam eos et confringam, ut non consurgant: cadent sub pedibus meis.
40 Wampa amaanyi okulwana entalo, n’oteeka abo abanjigganya wansi wange.
Accinxisti me fortitudine ad prælium: incurvasti resistentes mihi subtus me.
41 Waleetera abalabe bange okunziruka, ne nsanyaawo abo abankyawa.
Inimicos meos dedisti mihi dorsum: odientes me, et disperdam eos.
42 Baalindirira okuyambibwa naye ne wataba n’omu ababeera, ne bakaabira Mukama, naye n’atabaanukula.
Clamabunt, et non erit qui salvet, ad Dominum, et non exaudiet eos.
43 Nabasekulasekula ne bafuuka ng’enfuufu ey’oku nsi, ne mbabetenta, ne mbalinnyirira ne bafuuka ng’ebitosi eby’omu nguudo.
Delebo eos ut pulverem terræ: quasi lutum platearum comminuam eos atque confringam.
44 “Ondokodde mu nnumbagana ez’abantu bange, n’onfuula omukulu w’amawanga; abantu be saamanya be bampeereza.
Salvabis me a contradictionibus populi mei: custodies me in caput Gentium: populus, quem ignoro, serviet mihi.
45 Bannaggwanga bajja gye ndi nga beegayirira, bwe bawulira eddoboozi lyange ne baŋŋondera.
Filii alieni resistent mihi, auditu auris obedient mihi.
46 Bonna baggwaamu omwoyo, ne bajja nga bakankana okuva gye beekwese.
Filii alieni defluxerunt, et contrahentur in angustiis suis.
47 “Mukama mulamu! Olwazi lwange yeebazibwe. Agulumizibwe Katonda wange, olwazi lwange, era obulokozi bwange.
Vivit Dominus, et benedictus Deus meus: et exaltabitur Deus fortis salutis meæ.
48 Oyo ye Katonda ampalanira eggwanga, era ateeka amawanga wansi wange;
Deus qui das vindictas mihi, et deiicis populos sub me.
49 anziggya mu balabe bange. Wangulumiza okusinga abalabe bange, n’ondokola okuva mu basajja abakambwe.
Qui educis me ab inimicis meis, et a resistentibus mihi elevas me: a viro iniquo liberabis me:
50 Kyenaava nkutenderezanga, Ayi Mukama Katonda, mu mawanga gonna, era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
Propterea confitebor tibi Domine in gentibus: et nomini tuo cantabo.
51 Kabaka we amuwadde obuwanguzi obw’amaanyi, era alaze okwagala okutayogerekeka eri oyo gwe yafukako amafuta, eri Dawudi n’ezzadde lye emirembe gyonna.”
Magnificans salutes regis sui, et faciens misericordiam christo suo David, et semini eius in sempiternum.

< 2 Samwiri 22 >