< 2 Samwiri 21 >

1 Awo mu mirembe gya Dawudi ne waba enjala okumala emyaka esatu, Dawudi ne yeeyongera nnyo okunoonya Mukama. Mukama n’ayogera nti, “Ennyumba ya Sawulo ejjudde omusaayi, kubanga yatta Abagibyoni.”
ויהי רעב בימי דוד שלש שנים שנה אחרי שנה ויבקש דוד את פני יהוה ויאמר יהוה אל שאול ואל בית הדמים על אשר המית את הגבענים׃
2 Kabaka n’akuŋŋaanya Abagibyoni n’ayogera gye bali. (Abagibyoni tebaali Bayisirayiri naye baali bakaawonawo ab’oku baana b’Abamoli. Abayisirayiri baali babalayiridde obutabakola kabi, naye Sawulo olw’obuggya bwe yalina n’agezaako okubazikiriza ku lwa Isirayiri ne Yuda.)
ויקרא המלך לגבענים ויאמר אליהם והגבענים לא מבני ישראל המה כי אם מיתר האמרי ובני ישראל נשבעו להם ויבקש שאול להכתם בקנאתו לבני ישראל ויהודה׃
3 Dawudi n’abuuza Abagibyoni nti, “Mbakolere ki? Nnaabatangirira ntya, mmwe okuwa Isirayiri, obusika bwa Mukama omukisa?”
ויאמר דוד אל הגבענים מה אעשה לכם ובמה אכפר וברכו את נחלת יהוה׃
4 Abagibyoni ne bamuddamu nti, “Kye twetaaga okuva eri Sawulo oba ennyumba ye, si kigambo kya ffeeza oba zaabu, so tetulina buyinza kutta muntu yenna mu Isirayiri.” Dawudi n’ababuuza nti, “Kiki kye mwagala mbakolere?”
ויאמרו לו הגבענים אין לי כסף וזהב עם שאול ועם ביתו ואין לנו איש להמית בישראל ויאמר מה אתם אמרים אעשה לכם׃
5 Ne baddamu kabaka nti, “Ku lw’omusajja eyatuyigganyanga n’ayagala okutuuzikiriza, ne tubulwako ne we tubeera mu Isirayiri,
ויאמרו אל המלך האיש אשר כלנו ואשר דמה לנו נשמדנו מהתיצב בכל גבל ישראל׃
6 tuwe musanvu ku batabani be tubatte tubaanike mu maaso ga Mukama e Gibea ekya Sawulo, omulonde wa Mukama.” Kabaka n’ayogera nti, “Ndibabawa.”
ינתן לנו שבעה אנשים מבניו והוקענום ליהוה בגבעת שאול בחיר יהוה ויאמר המלך אני אתן׃
7 Kabaka n’alekawo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani, mutabani wa Sawulo.
ויחמל המלך על מפיבשת בן יהונתן בן שאול על שבעת יהוה אשר בינתם בין דוד ובין יהונתן בן שאול׃
8 Naye kabaka n’addira Alumoni ne Mefibosesi batabani ba Lizupa muwala wa Aya bombi be yazaalira Sawulo, ne batabani ba Mikali muwala wa Sawulo be yazaalira Abuliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi Sawulo be yalabiriranga bataano, n’abawaayo.
ויקח המלך את שני בני רצפה בת איה אשר ילדה לשאול את ארמני ואת מפבשת ואת חמשת בני מיכל בת שאול אשר ילדה לעדריאל בן ברזלי המחלתי׃
9 N’abawaayo eri Abagibyoni, ne babatta ne babaanika ku lusozi mu maaso ga Mukama. Bonna omusanvu ne battibwa mu nnaku ezaasooka ez’amakungula nga batandika amakungula ga sayiri.
ויתנם ביד הגבענים ויקיעם בהר לפני יהוה ויפלו שבעתים יחד והם המתו בימי קציר בראשנים תחלת קציר שערים׃
10 Lizupa muwala wa Aya n’addira ebibukutu, n’abyaliira ku lwazi, okuva ku ntandikwa ey’amakungula okutuusa enkuba lwe yatonnya okuva mu ggulu, n’ataganya nnyonyi za mu bbanga newaakubadde ensolo enkambwe okulya emirambo gyabwe emisana oba ekiro.
ותקח רצפה בת איה את השק ותטהו לה אל הצור מתחלת קציר עד נתך מים עליהם מן השמים ולא נתנה עוף השמים לנוח עליהם יומם ואת חית השדה לילה׃
11 Dawudi bwe yategeezebwa, Lizupa omuzaana wa Sawulo, muwala wa Aya, kye yakola,
ויגד לדוד את אשר עשתה רצפה בת איה פלגש שאול׃
12 n’agenda, n’aggya amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani ku bantu ab’e Yabesugireyaadi, Abafirisuuti gye baagawanika, ku lunaku kwe battira Sawulo e Girubowa, abaali bagatutte mu bubba mu kifo ekigazi eky’abantu bonna e Besusani.
וילך דוד ויקח את עצמות שאול ואת עצמות יהונתן בנו מאת בעלי יביש גלעד אשר גנבו אתם מרחב בית שן אשר תלום שם הפלשתים ביום הכות פלשתים את שאול בגלבע׃
13 Dawudi n’aggyayo amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani, n’agakuŋŋaanya n’amagumba g’abo abattibwa ne baanikibwa.
ויעל משם את עצמות שאול ואת עצמות יהונתן בנו ויאספו את עצמות המוקעים׃
14 Ne baziika amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani mu ntaana ya Kiisi kitaawe wa Sawulo, e Zeera mu nsi ya Benyamini, ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Oluvannyuma Katonda n’addamu okusaba kw’ensi.
ויקברו את עצמות שאול ויהונתן בנו בארץ בנימן בצלע בקבר קיש אביו ויעשו כל אשר צוה המלך ויעתר אלהים לארץ אחרי כן׃
15 Ne waba nate olutalo wakati w’Abafirisuuti n’Abayisirayiri. Dawudi n’aserengeta n’abasajja be okulwana n’Abafirisuuti, n’akoowa nnyo.
ותהי עוד מלחמה לפלשתים את ישראל וירד דוד ועבדיו עמו וילחמו את פלשתים ויעף דוד׃
16 Awo Isubibenobu omu ku bazzukulu b’agasajja agawanvu yalina effumu ng’obuzito bw’omutwe gw’alyo kilo ssatu n’ekitundu ng’alina n’ekitala ekiggya, n’ayogera nti agenda okutta Dawudi.
וישבו בנב אשר בילידי הרפה ומשקל קינו שלש מאות משקל נחשת והוא חגור חדשה ויאמר להכות את דוד׃
17 Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n’adduukirira Dawudi, n’alumba Omufirisuuti, n’amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayirira nti, “Tokyatabaala naffe ettaala ya Isirayiri ereme okuzikira.”
ויעזר לו אבישי בן צרויה ויך את הפלשתי וימיתהו אז נשבעו אנשי דוד לו לאמר לא תצא עוד אתנו למלחמה ולא תכבה את נר ישראל׃
18 Bwe waayitawo ebbanga ne wabaawo olutalo olulala n’Abafirisuuti e Gobu. Sibbekayi Omukusasi n’atta Safu omu ku bazzukulu b’agasajja gali agawanvu.
ויהי אחרי כן ותהי עוד המלחמה בגוב עם פלשתים אז הכה סבכי החשתי את סף אשר בילדי הרפה׃
19 Ne wabaawo nate olutalo olulala n’Abafirisuuti e Gobu, Erukanani mutabani wa Yayiri Omubesirekemu n’atta muganda wa Goliyaasi Omugitti eyalina olunyago lw’effumu olwali ng’omuti ogulukirwako engoye.
ותהי עוד המלחמה בגוב עם פלשתים ויך אלחנן בן יערי ארגים בית הלחמי את גלית הגתי ועץ חניתו כמנור ארגים׃
20 Ne waba olutalo olulala e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo eyalina engalo mukaaga ku buli mukono n’ebigere mukaaga ku buli kigere, byonna awamu abiri mu bina. Era naye yali muzzukulu w’agasajja gali agawanvu ennyo.
ותהי עוד מלחמה בגת ויהי איש מדין ואצבעת ידיו ואצבעות רגליו שש ושש עשרים וארבע מספר וגם הוא ילד להרפה׃
21 Bwe yasoomooza Isirayiri, Yonasaani mutabani wa Simeeya, muganda wa Dawudi, n’amutta.
ויחרף את ישראל ויכהו יהונתן בן שמעי אחי דוד׃
22 Abo abana baali bazzukulu b’agasajja gali agawanvu ennyo mu Gaasi, era bonna ne bagwa mu mukono gwa Dawudi ne basajja be.
את ארבעת אלה ילדו להרפה בגת ויפלו ביד דוד וביד עבדיו׃

< 2 Samwiri 21 >