< 2 Samwiri 20 >

1 Waaliwo omusajja omujeemu erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuli, Omubenyamini. Yafuuwa ekkondeere n’ayogerera n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Tetulina mugabo mu Dawudi, so tetulina busika mu mutabani wa Yese! Buli muntu adde mu weema ye, ggwe Isirayiri!”
וְשָׁם נִקְרָא אִישׁ בְּלִיַּעַל וּשְׁמוֹ שֶׁבַע בֶּן־בִּכְרִי אִישׁ יְמִינִי וַיִּתְקַע בַּשֹּׁפָר וַיֹּאמֶר אֵֽין־לָנוּ חֵלֶק בְּדָוִד וְלֹא נֽ͏ַחֲלָה־לָנוּ בְּבֶן־יִשַׁי אִישׁ לְאֹהָלָיו יִשְׂרָאֵֽל׃
2 Awo abantu ba Isirayiri bonna ne balekulira Dawudi ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuli. Naye abantu ba Yuda bo ne basigala ne kabaka waabwe, okuva ku Yoludaani okutuuka e Yerusaalemi.
וַיַּעַל כָּל־אִישׁ יִשְׂרָאֵל מֵאַחֲרֵי דָוִד אַחֲרֵי שֶׁבַע בֶּן־בִּכְרִי וְאִישׁ יְהוּדָה דָּבְקוּ בְמַלְכָּם מִן־הַיַּרְדֵּן וְעַד־יְרוּשָׁלָֽ͏ִם׃
3 Dawudi bwe yadda mu lubiri lwe e Yerusaalemi, n’addira abakyala be ekkumi be yali alese okulabirira olubiri n’abasibira mu kkomera. N’abagabirira mu byokulya kwabwe, naye n’atebaka nabo. Ne baggalirwa eyo okutuusa lwe baafa, nga bali nga bannamwandu.
וַיָּבֹא דָוִד אֶל־בֵּיתוֹ יְרֽוּשָׁלִַם וַיִּקַּח הַמֶּלֶךְ אֵת עֶֽשֶׂר־נָשִׁים ׀ פִּלַגְשִׁים אֲשֶׁר הִנִּיחַ לִשְׁמֹר הַבַּיִת וַֽיִּתְּנֵם בֵּית־מִשְׁמֶרֶת וַֽיְכַלְכְּלֵם וַאֲלֵיהֶם לֹא־בָא וַתִּהְיֶינָה צְרֻרוֹת עַד־יוֹם מֻתָן אַלְמְנוּת חַיּֽוּת׃
4 Awo kabaka n’agamba Amasa nti, “Nkuŋŋaanyiza abasajja ba Yuda mu nnaku ssatu, naawe obeerewo.”
וַיֹּאמֶר הַמֶּלֶךְ אֶל־עֲמָשָׂא הַזְעֶק־לִי אֶת־אִישׁ־יְהוּדָה שְׁלֹשֶׁת יָמִים וְאַתָּה פֹּה עֲמֹֽד׃
5 Naye Amasa bwe yagenda okukola ky’alagiddwa, n’atwala ekiseera kiwanvu okusinga kabaka kye yali amuwadde.
וַיֵּלֶךְ עֲמָשָׂא לְהַזְעִיק אֶת־יְהוּדָה וייחר וַיּוֹחֶר מִן־הַמּוֹעֵד אֲשֶׁר יְעָדֽוֹ׃
6 Dawudi n’agamba Abisaayi nti, “Seba mutabani wa Bikuli alitukola akabi okusinga Abusaalomu bwe yakola. Noolwekyo twala abasajja ba mukama wo omugoberere aleme okuddukira mu bibuga ebiriko bbugwe, n’atusimatuka.”
וַיֹּאמֶר דָּוִד אֶל־אֲבִישַׁי עַתָּה יֵרַֽע לָנוּ שֶׁבַע בֶּן־בִּכְרִי מִן־אַבְשָׁלוֹם אַתָּה קַח אֶת־עַבְדֵי אֲדֹנֶיךָ וּרְדֹף אַחֲרָיו פֶּן־מָצָא לוֹ עָרִים בְּצֻרוֹת וְהִצִּיל עֵינֵֽנוּ׃
7 Awo abasajja ba Yowaabu, n’Abakeresi, n’Abaperesi, n’abaserikale abazira bonna, ne bava mu Yerusaalemi ne bagenda okunoonya Seba mutabani wa Bikuli nga baduumirwa Abisaayi.
וַיֵּצְאוּ אַֽחֲרָיו אַנְשֵׁי יוֹאָב וְהַכְּרֵתִי וְהַפְּלֵתִי וְכָל־הַגִּבֹּרִים וַיֵּֽצְאוּ מִירוּשָׁלִַם לִרְדֹּף אַחֲרֵי שֶׁבַע בֶּן־בִּכְרִֽי׃
8 Bwe baatuuka ku lwazi olunene mu Gibyoni, Amasa n’ajja okubasisinkana. Yowaabu yali yeesibye ebyambalo bye eby’olutalo, ne mu kiwato nga yeesibye olukoba olwaliko ekitala ekyali mu kiraato kyakyo. Bwe yasituka, ne kisowoka mu kiraato kyakyo ne kigwa wansi.
הֵם עִם־הָאֶבֶן הַגְּדוֹלָה אֲשֶׁר בְּגִבְעוֹן וַעֲמָשָׂא בָּא לִפְנֵיהֶם וְיוֹאָב חָגוּר ׀ מִדּוֹ לְבֻשׁוּ ועלו וְעָלָיו חֲגוֹר חֶרֶב מְצֻמֶּדֶת עַל־מָתְנָיו בְּתַעְרָהּ וְהוּא יָצָא וַתִּפֹּֽל׃
9 Yowaabu n’alamusa Amasa ng’ayogera nti, “Mirembe, muganda wange?” Yowaabu n’akwata Amasa ekirevu n’omukono gwe ogwa ddyo, n’aba nga agenda okumunywegera.
וַיֹּאמֶר יוֹאָב לַעֲמָשָׂא הֲשָׁלוֹם אַתָּה אָחִי וַתֹּחֶז יַד־יְמִין יוֹאָב בִּזְקַן עֲמָשָׂא לִנְשָׁק־לֽוֹ׃
10 Naye Amasa n’atassaayo mwoyo okwekuuma ekitala ekyali mu mukono gwa Yowaabu; Yowaabu n’akimufumita mu lubuto, n’ayiwa ebyenda bye wansi. N’atamufumita lwakubiri, Amasa bw’atyo n’afa. Awo Yowaabu ne muganda we Abisaayi ne beeyongera okugoberera Seba mutabani wa Bikuli.
וַעֲמָשָׂא לֹֽא־נִשְׁמַר בַּחֶרֶב ׀ אֲשֶׁר בְּיַד־יוֹאָב וַיַּכֵּהוּ בָהּ אֶל־הַחֹמֶשׁ וַיִּשְׁפֹּךְ מֵעָיו אַרְצָה וְלֹא־שָׁנָה לוֹ וַיָּמֹת וְיוֹאָב וַאֲבִישַׁי אָחִיו רָדַף אַחֲרֵי שֶׁבַע בֶּן־בִּכְרִֽי׃
11 Omu ku basajja ba Yowaabu n’ayimirira okumpi n’omulambo gwa Amasa n’ayogera nti, “Buli ayagala Yowaabu, era buli ali ku luuyi lwa Dawudi, agoberere Yowaabu.”
וְאִישׁ עָמַד עָלָיו מִֽנַּעֲרֵי יוֹאָב וַיֹּאמֶר מִי אֲשֶׁר חָפֵץ בְּיוֹאָב וּמִי אֲשֶׁר־לְדָוִד אַחֲרֵי יוֹאָֽב׃
12 Omulambo gwa Amasa ne gubeera mu musaayi gwe nga gukulukunyirizibwa omwo wakati mu luguudo. Ne wabaawo omusajja eyalaba nga buli eyatuukanga awali omulambo gwa Amasa ng’ayimirira; omusajja oyo n’agusitula n’aguggya mu luguudo n’agutwala ebbali mu nsiko, n’agusuulako olugoye.
וַעֲמָשָׂא מִתְגֹּלֵל בַּדָּם בְּתוֹךְ הַֽמְסִּלָּה וַיַּרְא הָאִישׁ כִּֽי־עָמַד כָּל־הָעָם וַיַּסֵּב אֶת־עֲמָשָׂא מִן־הַֽמְסִלָּה הַשָּׂדֶה וַיַּשְׁלֵךְ עָלָיו בֶּגֶד כַּאֲשֶׁר רָאָה כָּל־הַבָּא עָלָיו וְעָמָֽד׃
13 Awo omulambo gwa Amasa bwe gwaggyibwa mu kkubo abantu bonna ne beeyongerayo ne Yowaabu okugoberera Seba mutabani wa Bikuli.
כַּאֲשֶׁר הֹגָה מִן־הַֽמְסִלָּה עָבַר כָּל־אִישׁ אַחֲרֵי יוֹאָב לִרְדֹּף אַחֲרֵי שֶׁבַע בֶּן־בִּכְרִֽי׃
14 Seba n’ayita mu bika byonna ebya Isirayiri ng’abakunga okutuuka mu Aberi eky’e Besumaaka, n’ayita ne mu kitundu kyonna eky’Ababeri ne bakuŋŋaanira gy’ali ne bamugoberera.
וַֽיַּעֲבֹר בְּכָל־שִׁבְטֵי יִשְׂרָאֵל אָבֵלָה וּבֵית מַעֲכָה וְכָל־הַבֵּרִים ויקלהו וַיִּקָּהֲלוּ וַיָּבֹאוּ אַף־אַחֲרָֽיו׃
15 Eggye lyonna eryali ne Yowaabu, ne bazingiza Seba mu Aberi eky’e Besumaaka. Ne bakola ebifunvu okutuuka ku kibuga n’okwolekera ekigo. Bwe baali nga bakyamenya bbugwe,
וַיָּבֹאוּ וַיָּצֻרוּ עָלָיו בְּאָבֵלָה בֵּית הַֽמַּעֲכָה וַיִּשְׁפְּכוּ סֹֽלְלָה אֶל־הָעִיר וַֽתַּעֲמֹד בַּחֵל וְכָל־הָעָם אֲשֶׁר אֶת־יוֹאָב מַשְׁחִיתִם לְהַפִּיל הַחוֹמָֽה׃
16 ne wavaayo omukazi ow’amagezi mu kibuga, n’akoowoola ng’ayogera nti, “Muwulirize. Muwulirize! Mugambe Yowaabu ajje wano, mbeeko kye mmugamba.”
וַתִּקְרָא אִשָּׁה חֲכָמָה מִן־הָעִיר שִׁמְעוּ שִׁמְעוּ אִמְרוּ־נָא אֶל־יוֹאָב קְרַב עַד־הֵנָּה וַאֲדַבְּרָה אֵלֶֽיךָ׃
17 Yowaabu n’agenda okumpi ne we yali, omukazi n’amubuuza nti, “Ggwe Yowaabu?” N’addamu nti, “Nze nzuuyo.” N’amugamba nti, “Wuliriza omuweereza wo by’anaayogera.” N’addamu nti, “Mpuliriza.”
וַיִּקְרַב אֵלֶיהָ וַתֹּאמֶר הָאִשָּׁה הַאַתָּה יוֹאָב וַיֹּאמֶר אָנִי וַתֹּאמֶר לוֹ שְׁמַע דִּבְרֵי אֲמָתֶךָ וַיֹּאמֶר שֹׁמֵעַ אָנֹֽכִי׃
18 N’ayongera n’ayogera nti, “Edda baayogeranga nti, ‘Bw’oba ng’olina ky’obuuza genda mu Aberi,’ era ekyo kye ky’amalanga ensonga.
וַתֹּאמֶר לֵאמֹר דַּבֵּר יְדַבְּרוּ בָרִֽאשֹׁנָה לֵאמֹר שָׁאֹל יְשָׁאֲלוּ בְּאָבֵל וְכֵן הֵתַֽמּוּ׃
19 Ffe bantu abaagazi b’emirembe era abeesigwa mu Isirayiri. Mwagala okuzikiriza ekibuga, nnyina w’abaana mu Isirayiri. Lwaki oyagala okumira obusika bwa Mukama?”
אָנֹכִי שְׁלֻמֵי אֱמוּנֵי יִשְׂרָאֵל אַתָּה מְבַקֵּשׁ לְהָמִית עִיר וְאֵם בְּיִשְׂרָאֵל לָמָּה תְבַלַּע נַחֲלַת יְהוָֽה׃
20 Yowaabu n’addamu nti, “Kikafuuwe, nze okumira ekibuga kino newaakubadde okukizikiriza.
וַיַּעַן יוֹאָב וַיֹּאמַר חָלִילָה חָלִילָה לִי אִם־אֲבַלַּע וְאִם־אַשְׁחִֽית׃
21 Si bwe kiri. Waliwo omusajja erinnya lye ye Seba, mutabani wa Bikuli, ow’omu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, agolodde omukono gwe eri kabaka Dawudi. Bwe munaamuwaayo oyo omu yekka, nange nzija kulekayo okubalumba.”
לֹא־כֵן הַדָּבָר כִּי אִישׁ מֵהַר אֶפְרַיִם שֶׁבַע בֶּן־בִּכְרִי שְׁמוֹ נָשָׂא יָדוֹ בַּמֶּלֶךְ בְּדָוִד תְּנֽוּ־אֹתוֹ לְבַדּוֹ וְאֵלְכָה מֵעַל הָעִיר וַתֹּאמֶר הָֽאִשָּׁה אֶל־יוֹאָב הִנֵּה רֹאשׁוֹ מֻשְׁלָךְ אֵלֶיךָ בְּעַד הַחוֹמָֽה׃
22 Omukazi n’agamba Yowaabu nti, “Omutwe gwe gunaakasukibwa gy’oli ku bbugwe.” Awo omukazi n’agenda n’ekiteeso kye eri abantu bonna, ne basalako omutwe gwa Seba mutabani wa Bikuli, ne bagusuulira Yowaabu. Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, abasajja be ne bava ku kibuga ne basaasaana, bonna ne baddayo ewaabwe. Yowaabu ye n’addayo eri kabaka mu Yerusaalemi.
וַתָּבוֹא הָאִשָּׁה אֶל־כָּל־הָעָם בְּחָכְמָתָהּ וַֽיִּכְרְתוּ אֶת־רֹאשׁ שֶׁבַע בֶּן־בִּכְרִי וַיַּשְׁלִכוּ אֶל־יוֹאָב וַיִּתְקַע בַּשּׁוֹפָר וַיָּפֻצוּ מֵֽעַל־הָעִיר אִישׁ לְאֹהָלָיו וְיוֹאָב שָׁב יְרוּשָׁלַ͏ִם אֶל־הַמֶּֽלֶךְ׃
23 Yowaabu yali muduumizi wa ggye lya Isirayiri, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada nga y’akulira Abakeresi, n’Abaperesi.
וְיוֹאָב אֶל כָּל־הַצָּבָא יִשְׂרָאֵל וּבְנָיָה בֶּן־יְהוֹיָדָע עַל־הכרי הַכְּרֵתִי וְעַל־הַפְּלֵתִֽי׃
24 Adolaamu ye yakuliranga abapakasi, Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza.
וַאֲדֹרָם עַל־הַמַּס וִיהוֹשָׁפָט בֶּן־אֲחִילוּד הַמַּזְכִּֽיר׃
25 Seva ye yali omuwandiisi, Zadooki ne Abiyasaali nga be bakabona,
ושיא וּשְׁוָא סֹפֵר וְצָדוֹק וְאֶבְיָתָר כֹּהֲנִֽים׃
26 ne Ira Omuyayiri nga ye kabona wa Dawudi.
וְגַם עִירָא הַיָּאִרִי הָיָה כֹהֵן לְדָוִֽד׃

< 2 Samwiri 20 >