< 2 Samwiri 2 >
1 Oluvannyuma lw’ebyo Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Nyambuke mu kimu ku bibuga bya Yuda?” Mukama n’amuddamu nti, “Yambuka.” N’abuuza nate nti, “Ŋŋende mu kiruwa?” Mukama n’amuddamu nti, “E Kebbulooni.”
2 Awo Dawudi n’agenda eyo ne bakyala be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri nnamwandu wa Nabali ow’e Kalumeeri.
3 Dawudi n’atwala n’abasajja abaali naye, buli muntu n’amaka ge, ne basenga mu Kebbulooni ne mu byalo byakyo.
4 Awo abantu ba Yuda ne bajja mu Kebbulooni, ne bafukirako eyo Dawudi amafuta okuba kabaka w’ennyumba ya Yuda. Dawudi n’ategeezebwa nti abantu ab’e Yabesugireyaadi be baaziika Sawulo,
5 n’abatumira ababaka okubagamba nti, “Mukama abawe omukisa olw’ekisa n’ekitiibwa bye mwalaga Sawulo mukama wammwe ne mumuziika.
6 Mukama abalage ekisa n’okwagala, nange ndibalaga ky’ekimu olw’ekyo kye mukoze.
7 Noolwekyo kyemunaava mubeera ab’amaanyi era abavumu, kubanga oluvannyuma olw’okufa kwa Sawulo mukama wammwe, ennyumba ya Yuda enfuseeko amafuta okubeera kabaka waabwe.”
8 Mu biro ebyo, Abuneeri mutabani wa Neeri, omuduumizi w’eggye lya Sawulo, n’atwala Isubosesi mutabani wa Sawulo e Makanayimu.
9 N’amufuula kabaka w’e Gireyaadi, ow’Abasuuli, ow’e Yezuleeri, owa Efulayimu, owa Benyamini era owa Isirayiri yenna.
10 Isubosesi, mutabani wa Sawulo yali wa myaka amakumi ana we yatandika okufuga Isirayiri, era n’afugira emyaka ebiri. Naye ennyumba ya Yuda ne bagoberera Dawudi.
11 Ebbanga Dawudi lye yabeerera kabaka mu Kebbulooni ng’afuga ennyumba ya Yuda lyali emyaka musanvu n’emyezi mukaaga.
12 Abuneeri mutabani wa Neeri n’abasajja ba Isubosesi mutabani wa Sawulo, ne bava e Makanayimu ne bagenda e Gibyoni.
13 Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’abasajja ba Dawudi ne bagenda okubasisinkana ku kidiba eky’e Gibyoni. Ekibinja ekimu ne kituula ku luuyi olumu olw’ekidiba, n’ekirala ne kituula ku luuyi olulala.
14 Awo Abuneeri n’agamba Yowaabu nti, “Abamu ku basajja bagolokoke beegezeemu mu maaso gaffe.” Yowaabu n’amuddamu nti, “Kale bagolokoke.”
15 Ne bagolokoka, kkumi na babiri ne babalibwa okuva ku ludda lwa Benyamini ne Isubosesi mutabani wa Sawulo, n’ababala kkumi na babiri okuva ku ludda lwa Dawudi.
16 Buli omu n’akwatagana ne gwe yali atunuuliganye naye, ne banyolegana emitwe, ne bafumitigana amafumu, ne bagwira wamu. Era ekifo ekyo mu Gibyoni ne kituumibwa Kerukasu-Kazzulimu.
17 Olutalo ne lweyongerera ddala, Abuneeri n’abasajja be ne bawangulwa abasajja ba Dawudi.
18 Batabani ba Zeruyiya abasatu Yowaabu, Abisaayi, ne Asakeri baaliyo, era Asakeri yali muwenyusi wa misinde ng’empeewo ey’omu ttale.
19 Asakeri n’agoba Abuneeri emisinde, obutatunula ku mukono ogwa ddyo wadde ogwa kkono.
20 Awo Abuneeri bwe yatunula emabega we, n’abuuza nti, “Ye ggwe Asakeri?” N’addamu nti, “Ye nze.”
21 Abuneeri n’amugamba nti, “Tunula ku mukono gwo ogwa ddyo oba ku mukono gwo ogwa kkono ogye ku omu ku bavubuka akuli okumpi ekyokulwanyisa kye.” Naye Asakeri n’atalekaayo kumugoba.
22 Abuneeri n’addamu okumulabula ng’agamba nti, “Bw’oleka okungoba! Lwaki ondeetera okukutta? Muganda wo Yowaabu nnaamudda wa?”
23 Naye Asakeri ne yeeyongera bweyongezi okumugoba; Abuneeri kwe kumufumita mu lubuto n’omuwunda gw’effumu, effumu ne liggukira mu mugongo, n’agwa wansi era n’afiirawo.
24 Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bagoba Abuneeri. Enjuba bwe yali eneetera okugwa, ne batuuka ku lusozi Amma, oluliraanye Giya mu kkubo ery’eddungu ery’e Gibyoni.
25 Awo abasajja b’e Benyamini ne beekola ekibinja kimu, ne badda ku luuyi lwa Abuneeri, ne bayimirira ku lusozi olumu.
26 Abuneeri n’akoowoola Yowaabu n’ayogera nti, “Ekitala kirirya ennaku zonna? Tolaba nti enkomerero ya byonna buliba bukyayi bwereere? Kale kiki ekikulobera okulagira abantu bo balekeraawo okucocca baganda baabwe?”
27 Yowaabu n’addamu nti, “Katonda nga bw’ali omulamu, ne bwe watandikyogedde, obudde bwe bwandikeeredde ng’abasajja balekeddaawo okugoba baganda baabwe.”
28 Awo Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, abasajja bonna ne bayimirira, ne balekeraawo okugoba Isirayiri, era n’okubalwanyisa.
29 Ekiro ekyo kyonna Abuneeri n’abasajja be ne batambula ne bayita mu Alaba, ne basomoka Yoludaani, ne batambula mu kiseera eky’oku makya kyonna ne batuuka e Makanayimu.
30 Awo Yowaabu n’addayo ng’alese okugoba Abuneeri, n’akuŋŋaanya abasajja be. Bwe baababala, ne basanga ng’abasajja kkumi na mwenda be baali bafudde, okwo nga tobaliddeeko Asakeri.
31 Naye abasajja ba Dawudi baali basse Ababenyamini ebikumi bisatu mu nkaaga ku abo abaali ne Abuneeri.
32 Ne batwala omulambo gwa Asakeri ne bamuziika ku biggya bya kitaawe e Besirekemu. N’oluvannyuma Yowaabu n’abasajja be ne batambula ekiro kyonna, ne batuuka e Kebbulooni enkeera.