< 2 Samwiri 17 >
1 Awo Akisoferi n’agamba Abusaalomu nti, “Leka nnonde abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ŋŋende mpondere Dawudi ekiro kino.
亚希多弗又对押沙龙说:“求你准我挑选一万二千人,今夜我就起身追赶大卫,
2 Ndimulumba mu bukoowu bwe ne mu bunafu bwe ne mutiisatiisa, era n’abantu bonna abali naye balidduka. Ndikuba kabaka yekka ne mutta,
趁他疲乏手软,我忽然追上他,使他惊惶;跟随他的民必都逃跑,我就单杀王一人,
3 naye abantu abalala bonna ndibakomyawo gy’oli. Okufa kw’omusajja omu yekka gw’onoonya, kulikomyawo abantu bonna nga tebaliiko mutawaana.”
使众民都归顺你。你所寻找的人既然死了,众民就如已经归顺你;这样,也都平安无事了。”
4 Ekigambo ekyo Abusaalomu n’abakadde bonna aba Isirayiri ne bakisiima.
押沙龙和以色列的长老都以这话为美。
5 Naye Abusaalomu n’ayogera nti, “Mumpitire ne Kusaayi Omwaluki, tuwulire ky’anaayogera ku nsonga eyo.”
押沙龙说:“要召亚基人户筛来,我们也要听他怎样说。”
6 Kusaayi bwe yajja eri Abusaalomu, Abusaalomu n’amugamba nti, Akisoferi, amagezi g’atuwadde ge gano. Tukole nga Akisoferi bw’agambye? Oba nga si weewaawo, ggwe ogamba otya?
户筛到了押沙龙面前,押沙龙向他说:“亚希多弗是如此如此说的,我们照着他的话行可以不可以?若不可,你就说吧!”
7 Kusaayi n’addamu Abusaalomu nti, “Ago amagezi Akisoferi g’abawadde si malungi ku mulundi guno.
户筛对押沙龙说:“亚希多弗这次所定的谋不善。”
8 Omanyi kitaawo n’abasajja be nga basajja balwanyi era nga bakambwe ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo. Ate n’ekirala, kitaawo mulwanyi mumanyirivu; tayinza kusula na baserikale.
户筛又说:“你知道,你父亲和跟随他的人都是勇士,现在他们心里恼怒,如同田野丢崽子的母熊一般,而且你父亲是个战士,必不和民一同住宿。
9 Ne mu kiseera kino, ayinza okuba nga yeekwese mu mpuku oba mu kifo ekirala. Bw’anaasooka okulumba abantu bo, buli anaakiwulira anaagamba nti, ‘Bangi ku bagoberezi ba Abusaalomu battiddwa.’
他现今或藏在坑中或在别处,若有人首先被杀,凡听见的必说:‘跟随押沙龙的民被杀了。’
10 Olwo n’omuntu omuzira mu bazira, alina omutima oguli ng’omutima gw’empologoma, anaayongoberera ddala, kubanga Isirayiri yenna bamanyi kitaawo nga musajja mulwanyi, era n’abali naye basajja bazira.
虽有人胆大如狮子,他的心也必消化;因为以色列人都知道你父亲是英雄,跟随他的人也都是勇士。
11 “Naye nze amagezi ge nkuwa ge gano: kuŋŋaanya gy’oli Isirayiri yenna okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba, mu bungi bwabwe, ng’omusenyu ogw’oku nnyanja bwe guli obungi, ggwe mwene obakulembere mu lutalo.
依我之计,不如将以色列众人—从但直到别是巴,如同海边的沙那样多—聚集到你这里来,你也亲自率领他们出战。
12 Tulimulumba yonna gy’alisangibwa, ne tumugwako ng’omusulo bwe gugwa ku ttaka. Ye newaakubadde abasajja abali naye, tewaliba n’omu aliba omulamu.
这样,我们在何处遇见他,就下到他那里,如同露水下在地上一般,连他带跟随他的人,一个也不留下。
13 Bw’aliddukira mu kibuga, Isirayiri yenna, balireeta emiguwa, ne tukiwalulira mu mugga obutalekawo jjinja n’erimu.”
他若进了哪一座城,以色列众人必带绳子去,将那城拉到河里,甚至连一块小石头都不剩下。”
14 Awo Abusaalomu n’abasajja bonna aba Isirayiri ne bakkiriziganya nti, “Ekiteeso Kusaayi Omwaluki ky’aleese kirungi okusinga ekya Akisoferi.” Mukama yasiima okulemesa ekiteeso ekirungi ekya Akisoferi alyoke azikirize Abusaalomu.
押沙龙和以色列众人说:“亚基人户筛的计谋比亚希多弗的计谋更好!”这是因耶和华定意破坏亚希多弗的良谋,为要降祸与押沙龙。
15 Naye Kusaayi n’ategeeza Zadooki ne Abiyasaali bakabona nti, “Akisoferi awadde Abusaalomu n’abakadde ba Isirayiri amagezi bwe gati ne bwe gati, naye nze mbawabudde okukola bwe bati ne bwe bati.
户筛对祭司撒督和亚比亚他说: “亚希多弗为押沙龙和以色列的长老所定的计谋是如此如此,我所定的计谋是如此如此。
16 Kaakano muweereze mangu obubaka mutegeeze Dawudi nti, ‘Ekiro kya leero tosula ku misomoko egy’omu ddungu; ssomoka, kabaka n’abantu bonna abali naye baleme okumalibwawo.’”
现在你们要急速打发人去,告诉大卫说:‘今夜不可住在旷野的渡口,务要过河,免得王和跟随他的人都被吞灭。’”
17 Yonasaani ne Akimaazi baabeeranga ku Enerogeri. Baali balinda omuwala okujja okubategeeza byonna, n’oluvannyuma bagende babuulire kabaka Dawudi; baali beewala okulabibwa nga bayingira mu kibuga.
那时,约拿单和亚希玛斯在隐·罗结那里等候,不敢进城,恐怕被人看见。有一个使女出来,将这话告诉他们,他们就去报信给大卫王。
18 Naye waaliwo omuvubuka eyabalaba, n’agenda n’abuulira Abusaalomu. Amangwago bombi ne baddukira mu nnyumba ey’omwami omu mu Bakulimu. Yalina oluzzi mu luggya lwe; ne bakka omwo.
然而有一个童子看见他们,就去告诉押沙龙。他们急忙跑到巴户琳某人的家里;那人院中有一口井,他们就下到井里。
19 Omukyala we n’addira ekisaanikira n’asaanikira ku kamwa k’oluzzi, n’ayiwako eŋŋaano n’agisaasaanyizaako. Ne wataba n’omu eyakitegeera.
那家的妇人用盖盖上井口,又在上头铺上碎麦,事就没有泄漏。
20 Awo abasajja ba Abusaalomu bwe batuuka ew’omukyala ku nnyumba, ne bamubuuza nti, “Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa?” N’abaddamu nti, “Basomose akagga ak’amazzi.” Abasajja ne babanoonyako naye ne batalaba muntu yenna, ne baddayo e Yerusaalemi.
押沙龙的仆人来到那家,问妇人说:“亚希玛斯和约拿单在哪里?”妇人说:“他们过了河了。”仆人找他们,找不着,就回耶路撒冷去了。
21 Abasajja bwe baagenda, abaali beekwese ne bava mu luzzi ne bagenda ne bategeeza kabaka Dawudi. Ne bamugamba nti, “Golokoka osomoke mangu omugga, kubanga Akisoferi ateeseteese bw’ati ne bw’ati.”
他们走后,二人从井里上来,去告诉大卫王说:“亚希多弗如此如此定计害你,你们务要起来,快快过河。”
22 Awo Dawudi n’abantu bonna abaali naye ne bagolokoka ne basomoka Yoludaani; we bwakeerera nga tewali n’omu atasomose Yoludaani.
于是大卫和跟随他的人都起来,过约旦河。到了天亮,无一人不过约旦河的。
23 Akisoferi bwe yalaba nga amagezi ge tegagobereddwa, ne yeebagala endogoyi ye, n’agenda ewuwe mu kyalo kye waabwe. N’ateekateeka ennyumba ye, n’oluvannyuma ne yeetuga. N’aziikibwa mu ntaana ya kitaawe.
亚希多弗见不依从他的计谋,就备上驴,归回本城;到了家,留下遗言,便吊死了,葬在他父亲的坟墓里。
24 Dawudi n’agenda e Makanayimu, ne Abusaalomu n’abasajja bonna aba Isirayiri ne basomoka Yoludaani.
大卫到了玛哈念,押沙龙和跟随他的以色列人也都过了约旦河。
25 Abusaalomu n’alonda Amasa okuba omuduumizi w’eggye mu kifo kya Yowaabu. Amasa yali mutabani wa Isira Omuyisimayiri eyawasa Abbigayiri muwala wa Nakasi muganda wa Zeruyiya nnyina Yowaabu.
押沙龙立亚玛撒作元帅,代替约押。亚玛撒是以实玛利人以特拉的儿子。以特拉曾与拿辖的女儿亚比该亲近;这亚比该与约押的母亲洗鲁雅是姊妹。
26 Abayisirayiri ne Abusaalomu ne basiisira mu nsi ya Gireyaadi.
押沙龙和以色列人都安营在基列地。
27 Dawudi bwe yatuuka e Makanayimu, Sobi mutabani wa Nakasi ow’e Labba eky’Abamoni, ne Makiri mutabani wa Ammiyeri ow’e Lodebali, ne Baluzirayi Omugireyaadi ow’e Logerimu,
大卫到了玛哈念,亚扪族的拉巴人拿辖的儿子朔比,罗·底巴人亚米利的儿子玛吉,基列的罗基琳人巴西莱,
28 ne bamuleetera ebyokwebikka, n’ebibya, n’entamu, n’eŋŋaano, ne sayiri, n’obutta, n’eŋŋaano ensiike, n’ebijanjaalo, n’empindi, ne mpokya omusiike,
带着被、褥、盆、碗、瓦器、小麦、大麦、麦面、炒谷、豆子、红豆、炒豆、
29 n’omubisi gw’enjuki, n’omuzigo, n’endiga, ne bbongo, ne babiwa Dawudi n’abantu be okulya. Ne boogera nti, “Abantu enjala ebaluma, era bakooye, n’ennyonta ebalumidde mu ddungu.”
蜂蜜、奶油、绵羊、奶饼,供给大卫和跟随他的人吃;他们说:“民在旷野,必饥渴困乏了。”