< 2 Samwiri 15 >

1 Bwe waayitawo ebbanga, Abusaalomu ne yeefunira amagaali, n’embalaasi, n’abasajja amakumi ataano okumukulemberangamu.
ויהי מאחרי כן ויעש לו אבשלום מרכבה וססים וחמשים איש רצים לפניו
2 Yagolokokanga mu makya n’ayimirira ku mabbali g’ekkubo okwolekera wankaaki w’ekibuga. Omuntu yenna bwe yabanga n’ensonga gye yaleeteranga kabaka okulamula, Abusaalomu yamuyitanga n’amubuuza nti, “Oviira mu kibuga ki?” Bwe yaddangamu nti, “Omuddu wo aviira mu kimu ku bika bya Isirayiri,”
והשכים אבשלום ועמד על יד דרך השער ויהי כל האיש אשר יהיה לו ריב לבוא אל המלך למשפט ויקרא אבשלום אליו ויאמר אי מזה עיר אתה ויאמר מאחד שבטי ישראל עבדך
3 Abusaalomu n’alyoka amugamba nti, “Laba, ensonga ntuufu era etegeerekeka, naye tewali muntu anaagikulamulira.”
ויאמר אליו אבשלום ראה דבריך טובים ונכחים ושמע אין לך מאת המלך
4 Ate era Abusaalomu yayongerangako ne kino nti, “Singa nnondebwa okuba omukulembeze mu nsi, olwo buli muntu alina ensonga anajjanga gye ndi, ne mukolera ku nsonga ye.”
ויאמר אבשלום מי ישמני שפט בארץ ועלי יבוא כל איש אשר יהיה לו ריב ומשפט--והצדקתיו
5 Ate era omuntu yenna eyajjanga n’amuvuunamira ng’amuwa ekitiibwa, yagololanga omukono gwe, n’amukwatako n’amunywegera ng’amulamusa.
והיה בקרב איש להשתחות לו ושלח את ידו והחזיק לו ונשק לו
6 Bw’atyo Abusaalomu bwe yeeyisanga eri Abayisirayiri bonna abajjanga eri kabaka nga baagala okubalamulira ensonga zaabwe. Ekyavaamu n’abba emitima gy’abantu ba Isirayiri.
ויעש אבשלום כדבר הזה לכל ישראל אשר יבאו למשפט אל המלך ויגנב אבשלום את לב אנשי ישראל
7 Oluvannyuma lw’emyaka ena, Abusaalomu n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde, nzikiriza ŋŋende e Kebbulooni, ntuukirize obweyamo bwange bwe nakola eri Mukama.
ויהי מקץ ארבעים שנה ויאמר אבשלום אל המלך אלכה נא ואשלם את נדרי אשר נדרתי ליהוה בחברון
8 Omuweereza wo bwe yabeeranga e Gesuli mu Busuuli, nakola obweyamo nga ŋŋamba nti, ‘Mukama bw’alinzizaayo e Yerusaalemi, ndisinza Mukama.’”
כי נדר נדר עבדך בשבתי בגשור בארם לאמר אם ישיב (ישוב) ישיבני יהוה ירושלם ועבדתי את יהוה
9 Kabaka n’amuddamu nti, “Ggenda mirembe.” N’asitula n’alaga e Kebbulooni.
ויאמר לו המלך לך בשלום ויקם וילך חברונה
10 Abusaalomu n’atuma ababaka kyama mu bika byonna ebya Isirayiri, babagambe nti, “Amangwago nga muwulidde okuvuga kw’amakondeere, mwogere nti, ‘Abusaalomu ye kabaka e Kebbulooni.’”
וישלח אבשלום מרגלים בכל שבטי ישראל לאמר כשמעכם את קול השפר ואמרתם מלך אבשלום בחברון
11 Abasajja ebikumi bibiri be baawerekera Abusaalomu oluvannyuma olw’okuyitibwa ng’abagenyi, songa tebaalina kye baamanya ku nsonga eyo.
ואת אבשלום הלכו מאתים איש מירושלם קראים והלכים לתמם ולא ידעו כל דבר
12 Mu kiseera ekyo, Abusaalomu bwe yali ng’awaayo ssaddaaka, n’atumya Akisoferi Omugiro, omuwi w’amagezi owa Dawudi, okuva mu kibuga ky’e Giro. Obujeemu ne bwongerwamu amaanyi n’abagoberezi ba Abusaalomu ne beeyongeranga obungi.
וישלח אבשלום את אחיתפל הגילני יועץ דוד מעירו מגלה בזבחו את הזבחים ויהי הקשר אמץ והעם הולך ורב את אבשלום
13 Omubaka n’ajja n’ategeeza Dawudi nti, “Emitima gy’abantu ba Isirayiri gigoberedde Abusaalomu.”
ויבא המגיד אל דוד לאמר היה לב איש ישראל אחרי אבשלום
14 Awo Dawudi n’agamba abakungu be bonna abaali naye e Yerusaalemi nti, “Mugolokoke tudduke kubanga bwe tutaakole bwe tutyo tewaabeewo n’omu ku ffe anaawona Abusaalomu. Tuteekwa okuvaawo amangu nga bwe kisoboka, aleme okutusaangiriza wano okusaanyaawo ekibuga n’ekitala.”
ויאמר דוד לכל עבדיו אשר אתו בירושלם קומו ונברחה--כי לא תהיה לנו פליטה מפני אבשלם מהרו ללכת פן ימהר והשגנו והדיח עלינו את הרעה והכה העיר לפי חרב
15 Abakungu ba kabaka ne bamuddamu nti, “Abaddu bo beetegefu okukola kyonna, mukama waffe kabaka ky’anaaba asazeewo.”
ויאמרו עבדי המלך אל המלך ככל אשר יבחר אדני המלך הנה עבדיך
16 Awo Kabaka n’asitula n’ennyumba ye yonna ne bamugoberera, naye n’alekawo abakyala be kkumi okulabirira olubiri.
ויצא המלך וכל ביתו ברגליו ויעזב המלך את עשר נשים פלגשים--לשמר הבית
17 Kabaka n’abantu bonna abaagenda naye, bwe baatambulako akabanga, ne batuuka mu kifo ekimu ewalako n’olubiri ne bayimirira awo.
ויצא המלך וכל העם ברגליו ויעמדו בית המרחק
18 Abasajja be bonna ne bamukulemberamu, n’Abakeresi bonna n’Abaperesi bonna, n’Abagitti olukaaga bonna abaali bamugoberedde okuva e Gaasi ne bakumba nga bamukulembeddemu.
וכל עבדיו עברים על ידו וכל הכרתי וכל הפלתי וכל הגתים שש מאות איש אשר באו ברגלו מגת עברים על פני המלך
19 Awo kabaka n’agamba Ittayi Omugitti nti, “Lwaki otugoberera? Ddayo obeere ne kabaka Abusaalomu. Oli munnaggwanga eyagobebwa ewaabwe.
ויאמר המלך אל אתי הגתי למה תלך גם אתה אתנו שוב ושב עם המלך כי נכרי אתה וגם גלה אתה למקומך
20 Wajja jjuuzi. Lwaki leero nkutambuza eno n’eri, nga ssinamanya gye ndaga? Ddayo n’abantu bo. Ekisa n’emirembe bibeerenga naawe.”
תמול בואך והיום אנועך (אניעך) עמנו ללכת ואני הולך על אשר אני הולך שוב והשב את אחיך עמך חסד ואמת
21 Naye Ittayi n’addamu kabaka nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, era mukama wange kabaka nga bw’ali omulamu, buli mukama wange kabaka gy’anaagendanga, oba bulamu oba kufa, omuddu wo anaabeeranga wamu naawe.”
ויען אתי את המלך ויאמר חי יהוה וחי אדני המלך כי אם במקום אשר יהיה שם אדני המלך אם למות אם לחיים כי שם יהיה עבדך
22 Dawudi n’agamba Ittayi nti, “Kale yitawo ogende mu maaso.” Awo Ittayi Omugitti n’abasajja be bonna n’abantu baabwe abaali naye ne bayitawo.
ויאמר דוד אל אתי לך ועבר ויעבר אתי הגתי וכל אנשיו וכל הטף אשר אתו
23 Ab’omu byalo bonna ne bakaaba nnyo bwe baalaba abantu nga bayitawo. Kabaka naye n’asomoka akagga Kidulooni, abantu bonna ne bayitawo ne boolekera eddungu.
וכל הארץ בוכים קול גדול וכל העם עברים והמלך עבר בנחל קדרון וכל העם עברים על פני דרך את המדבר
24 Zadooki awamu n’Abaleevi bonna abaali awamu naye, abaasitulanga essanduuko ey’endagaano ya Mukama, baagenda ne kabaka. Essanduuko ya Katonda ne bagissa wansi, Abiyasaali naye n’ayambuka okuwaayo ssaddaaka okutuusa abantu bonna bwe baggwa mu kibuga.
והנה גם צדוק וכל הלוים אתו נשאים את ארון ברית האלהים ויצקו את ארון האלהים ויעל אביתר--עד תם כל העם לעבור מן העיר
25 Awo kabaka n’agamba Zadooki nti, “Zzaayo essanduuko ya Katonda mu kibuga. Bwe ndiraba ekisa mu maaso ga Mukama, alinkomyawo, ne ngirabako n’ekifo Mukama ky’abeeramu.
ויאמר המלך לצדוק השב את ארון האלהים העיר אם אמצא חן בעיני יהוה--והשבני והראני אתו ואת נוהו
26 Naye bw’alisalawo nti, ‘Ssiri musanyufu naawe,’ ndimweteefuteefu ankole nga bw’asiima.”
ואם כה יאמר לא חפצתי בך הנני--יעשה לי כאשר טוב בעיניו
27 Ate era kabaka n’agamba Zadooki nti, “Toli mulabi? Ddayo mu kibuga mirembe, ne mutabani wo Akimaazi ne mutabani wa Abiyasaali, Yonasaani. Ggwe ne Abiyasaali muddeeyo ne batabani bammwe.
ויאמר המלך אל צדוק הכהן הרואה אתה שבה העיר בשלום ואחימעץ בנך ויהונתן בן אביתר שני בניכם--אתכם
28 Ndirindirira ekigambo ekiriva gye muli, we tulisomokera okulaga mu ddungu.”
ראו אנכי מתמהמה בעברות (בערבות) המדבר--עד בוא דבר מעמכם להגיד לי
29 Awo Zadooki ne Abiyasaali ne bazzaayo essanduuko ya Katonda e Yerusaalemi ne basigala eyo.
וישב צדוק ואביתר את ארון האלהים ירושלם וישבו שם
30 Naye Dawudi n’alinnyalinnya n’alaga ku lusozi olw’Emizeeyituuni ng’akaaba, n’omutwe ng’agubisse era ng’ali mu bigere. Abantu bonna abaali awamu naye nabo baali beebisse emitwe era nga bakaaba.
ודוד עלה במעלה הזיתים עלה ובוכה וראש לו חפוי והוא הלך יחף וכל העם אשר אתו חפו איש ראשו ועלו עלה ובכה
31 Dawudi n’ategeezebwa nti, “Akisoferi ali omu ku abo abeekobaana ne Abusaalomu.” Dawudi n’asaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde, fuula amagezi ga Akisoferi obusirusiru.”
ודוד הגיד לאמר אחיתפל בקשרים עם אבשלום ויאמר דוד סכל נא את עצת אחיתפל יהוה
32 Awo Dawudi bwe yatuuka ku ntikko y’olusozi, abantu gye baasinzizanga Katonda, Kusaayi Omwaluki yaliyo okumusisinkana, ekkooti ye ng’eyulise n’omutwe gwe nga gujjudde enfuufu.
ויהי דוד בא עד הראש אשר ישתחוה שם לאלהים והנה לקראתו חושי הארכי קרוע כתנתו ואדמה על ראשו
33 Dawudi n’amugamba nti, “Bw’onoogenda nange ojja kunfuukira ekizibu.
ויאמר לו דוד אם עברת אתי והית עלי למשא
34 Naye bw’onoddayo mu kibuga, n’ogamba Abusaalomu nti, ‘Ndibeera omuddu wo, ayi kabaka; nga bwe naweerezanga kitaawo mu biro eby’edda, bwe ntyo bwe nnaakuweerezanga,’ onooba ombedde mu nsonga ey’okulemesa Akisoferi, afuuse omuwi w’amagezi owa Abusaalomu.
ואם העיר תשוב ואמרת לאבשלום עבדך אני המלך אהיה--עבד אביך ואני מאז ועתה ואני עבדך והפרתה לי את עצת אחיתפל
35 Zadooki ne Abiyasaali tebaliiyo? Kale bategeeze ekigambo kyonna ky’onoowulira mu lubiri.
והלוא עמך שם צדוק ואביתר הכהנים והיה כל הדבר אשר תשמע מבית המלך--תגיד לצדוק ולאביתר הכהנים
36 Batabani baabwe ababiri, Akimaazi mutabani wa Zadooki ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali nabo bali eyo, era abo boonoontumiranga bwe wanaabangawo ensonga yonna.”
הנה שם עמם שני בניהם--אחימעץ לצדוק ויהונתן לאביתר ושלחתם בידם אלי כל דבר אשר תשמעו
37 Awo Kusaayi mukwano gwa Dawudi n’atuuka e Yerusaalemi, nga Abusaalomu ayingira ekibuga.
ויבא חושי רעה דוד העיר ואבשלום יבוא ירושלם

< 2 Samwiri 15 >