< 2 Bassekabaka 8 >

1 Mu biro ebyo Erisa n’agamba omukazi gwe yazuukiriza mutabani we nti, “Golokoka ove wano ogende n’ab’omu nnyumba yo bonna mu nsi gy’oliyinza okubeeramu, kubanga Mukama alireeta ekyeeya mu nsi okumala emyaka musanvu.”
Eliseus autem locutus est ad mulierem, cuius vivere fecerat filium, dicens: Surge, vade tu et domus tua, et peregrinare ubicumque repereris: vocavit enim Dominus famem, et veniet super terram septem annis.
2 Omukazi n’asitukiramu n’akola ng’omusajja wa Katonda bwe yayogera, n’alaga ye n’ab’omu nnyumba ye mu nsi y’Abafirisuuti okumala emyaka musanvu.
Quæ surrexit, et fecit iuxta verbum hominis Dei: et vadens cum domo sua, peregrinata est in Terra Philisthiim diebus multis.
3 Oluvannyuma lw’emyaka omusanvu, n’akomawo okuva mu nsi y’Abafirisuuti, n’alaga eri kabaka okumwegayirira addizibwe ekibanja kye n’ennyumba ye.
Cumque finiti essent anni septem, reversa est mulier de Terra Philisthiim: et egressa est ut interpellaret regem pro domo sua, et pro agris suis.
4 Mu kiseera ekyo kye kimu kabaka yali anyumyamu ne Gekazi omuweereza w’omusajja wa Katonda, nga kabaka amugambye nti, “Ntegeeza ebintu ebikulu byonna Erisa by’akoze.”
Rex autem loquebatur cum Giezi puero viri Dei, dicens: Narra mihi omnia magnalia quæ fecit Eliseus.
5 Awo Gekazi bwe yali ng’akyanyumiza kabaka, engeri Erisa bwe yazuukiza abafu, omukazi eyali ne mutabani we, Erisa gwe yazuukiza n’atuuka, okwegayirira kabaka ng’asaba ekibanja kye n’ennyumba ye. Gekazi n’ayogera nti, “Mukama wange kabaka, ono ye mukazi, era ne mutabani we Erisa gwe yazuukiza y’oyo.”
Cumque ille narraret regi quo modo mortuum suscitasset, apparuit mulier, cuius vivificaverat filium, clamans ad regem pro domo sua, et pro agris suis. Dixitque Giezi: Domine mi rex, hæc est mulier, et hic est filius eius, quem suscitavit Eliseus.
6 Awo kabaka bwe yabuuza omukazi, n’amutegeeza nti bwe kyali. N’alyoka alagira omu ku bakungu amutereereze ensonga ze; n’amugamba nti, “Muddize buli kintu kyonna ekikye, n’obusuulu bwonna obwa kuŋŋaanyizibwa okuva mu kibanja kye okuva ku lunaku lwe yakivaamu okutuusa kaakano.”
Et interrogavit rex mulierem: quæ narravit ei. Deditque ei rex eunuchum unum, dicens: Restitue ei omnia quæ sua sunt, et universos reditus agrorum a die, qua reliquit terram usque ad præsens.
7 Erisa n’agenda e Ddamasiko n’asanga Benikadadi kabaka w’e Busuuli ng’alwadde. Kabaka bwe yategeezebwa nti, “Omusajja wa Katonda atuuse mu kitundu,”
Venit quoque Eliseus Damascum, et Benadad rex Syriæ ægrotabat: nunciaveruntque ei, dicentes: Venit vir Dei huc.
8 n’agamba Kazayeeri nti, “Ffuna ekirabo, ogende osisinkane omusajja wa Katonda, weebuuze ku Mukama ng’oyita mu ye oba, ndiwona endwadde eno.”
Et ait rex ad Hazael: Tolle tecum munera, et vade in occursum viri Dei, et consule Dominum per eum, dicens: Si evadere potero de infirmitate mea hac?
9 Kazayeeri n’agenda okusisinkana Erisa, n’amutwalira n’ebirabo eby’engeri zonna okuva e Ddamasiko, ku ŋŋamira amakumi ana. N’agenda n’ayimirira mu maaso ge, n’amugamba nti, “Mutabani wo Benikadadi kabaka w’e Busuuli antumye okukubuuza nti, ‘Ndiwona endwadde eno?’”
Ivit igitur Hazael in occursum eius, habens secum munera, et omnia bona Damasci, onera quadraginta camelorum. Cumque stetisset coram eo, ait: Filius tuus Benadad rex Syriæ misit me ad te, dicens: Si sanari potero de infirmitate mea hac?
10 Erisa n’amuddamu nti, “Genda omutegeeze nti, ‘Ojja kuwona;’ naye Mukama akimbikulidde nti talirema kufa.”
Dixitque ei Eliseus: Vade, dic ei: Sanaberis: porro ostendit mihi Dominus quia morte morietur.
11 N’amutunuulira n’amaaso ag’enkaliriza, okutuusa Kazayeeri bwe yakwatibwa ensonyi, omusajja wa Katonda n’atandika okukaaba.
Stetique cum eo, et conturbatus est usque ad suffusionem vultus: flevitque vir Dei.
12 Kazayeeri n’abuuza nti, “Kiki ekikaabya mukama wange?” Erisa n’amuddamu nti, “Kubanga mmanyi obubi bw’olikola Abayisirayiri; olikuma omuliro ku bigo byabwe, n’otta abavubuka baabwe n’ekitala, n’osesebbulira abaana abato ku ttaka, era n’obaaga n’abakyala abali embuto.”
Cui Hazael ait: Quare dominus meus flet? At ille dixit: Quia scio quæ facturus sis filiis Israel mala. Civitates eorum munitas igne succendes, et iuvenes eorum interficies gladio, et parvulos eorum elides, et prægnantes divides.
13 Awo Kazayeeri n’addamu nti, “Nze ani omuddu wo, embwa obubwa, ayinza okukola ekintu ng’ekyo?” Erisa n’amuddamu nti, “Mukama akimbikulidde nti ggwe ogenda okubeera kabaka w’e Busuuli.”
Dixitque Hazael: Quid enim sum servus tuus canis, ut faciam rem istam magnam? Et ait Eliseus: Ostendit mihi Dominus te regem Syriæ fore.
14 Awo n’ava mu maaso ga Erisa, n’addayo eri mukama we. Benikadadi n’amubuuza nti, “Erisa yakugambye ki?” Kazayeeri n’amuddamu nti, “Yaŋŋambye nti eky’amazima ojja kuwona.”
Qui cum recessisset ab Eliseo, venit ad dominum suum. Qui ait ei: Quid dixit tibi Eliseus? At ille respondit: Dixit mihi: Recipies sanitatem.
15 Naye olunaku olwaddirira, enkeera, n’addira ekiwero ekinene, n’akinnyika mu mazzi, n’akibikka ku maaso ga kabaka, okutuusa bwe yafa. N’oluvannyuma Kazayeeri n’alya obwakabaka mu kifo kye.
Cumque venisset dies altera, tulit stragulum, et infudit aquam, et expandit super faciem eius: quo mortuo, regnavit Hazael pro eo.
16 Mu mwaka ogwokutaano nga Yolaamu mutabani wa Akabu ye kabaka wa Isirayiri, Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati, kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga Yuda.
Anno quinto Ioram filii Achab regis Israel, et Iosaphat regis Iuda, regnavit Ioram filius Iosaphat rex Iuda.
17 Yalina emyaka amakumi asatu mu ebiri, we yaliira obwakabaka, era n’afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi.
Triginta duorum annorum erat cum regnare cœpisset, et octo annis regnavit in Ierusalem.
18 Yekolaamu n’atambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isirayiri ng’ab’ennyumba ya Akabu bwe baakola, n’okuwasa n’awasa omu ku bawala ba Akabu. N’akola ebibi mu maaso ga Mukama.
Ambulavitque in viis regum Israel, sicut ambulaverat domus Achab: filia enim Achab erat uxor eius: et fecit quod malum est in conspectu Domini.
19 Naye Mukama n’atazikiriza Yuda, ku lwa Dawudi omuddu we, gwe yasuubiza nti alireka ettabaaza ye ng’eyaka n’okutuusa ku bazzukulu be emirembe gyonna.
Noluit autem Dominus disperdere Iudam, propter David servum suum, sicut promiserat ei, ut daret illi lucernam, et filiis eius cunctis diebus.
20 Mu mirembe gya Yekolaamu, Edomu ne bajeemera obufuzi bwa Yuda, ne bassaawo kabaka owaabwe.
In diebus eius recessit Edom, ne esset sub Iuda, et constituit sibi regem.
21 Awo Yekolaamu n’asomoka n’agenda e Zayiri n’amagaali ge, n’agolokoka mu kiro n’abaduumizi be ne batta Abayedomu abaali bamuzingizza, olwo eggye lye ne lidduka okuddayo ewaabwe.
Venitque Ioram Seira, et omnes currus cum eo: et surrexit nocte, percussitque Idumæos, qui eum circumdederant, et principes curruum, populus autem fugit in tabernacula sua.
22 Okuva mu kiseera ekyo Edomu n’ajeemera obufuzi bwa Yuda n’okutuusa ku lunaku lwa leero. Mu kiseera kye kimu ab’e Libuna nabo ne bajeema.
Recessit ergo Edom ne esset sub Iuda, usque ad diem hanc. Tunc recessit et Lobna in tempore illo.
23 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo ku mulembe gwa Yekolaamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
Reliqua autem sermonum Ioram, et universa, quæ fecit, nonne hæc scripta sunt in Libro verborum dierum regum Iuda?
24 Yekolaamu n’afa n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Akaziya mutabani we n’amusikira.
Et dormivit Ioram cum patribus suis, sepultusque est cum eis in Civitate David, et regnavit Ochozias filius eius pro eo.
25 Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri nga Yolaamu mutabani wa Akabu ye kabaka wa Isirayiri, Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga Yuda.
Anno duodecimo Ioram filii Achab regis Israel regnavit Ochozias filius Ioram regis Iudæ.
26 Akaziya yalina emyaka amakumi abiri mu ebiri we yaliira obwakabaka, n’afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina ye yali Asaliya, muzzukulu wa Omuli kabaka wa Isirayiri.
Viginti duorum annorum erat Ochozias cum regnare cœpisset, et uno anno regnavit in Ierusalem: nomen matris eius Athalia filia Amri regis Israel.
27 N’atambulira mu makubo ga b’ennyumba ya Akabu n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’ab’omu nnyumba ya Akabu bwe baakola, kubanga yali mukoddomi wa nnyumba ya Akabu.
Et ambulavit in viis domus Achab: et fecit quod malum est coram Domino, sicut domus Achab: gener enim domus Achab fuit.
28 Akaziya n’agenda ne Yolaamu mutabani wa Akabu okutabaala Kazayeeri kabaka w’e Busuuli e Lamosugireyaadi, era eyo Abasuuli ne bafumitirayo Yolaamu, n’afunirayo ebiwundu.
Abiit quoque cum Ioram filio Achab, ad præliandum contra Hazael regem Syriæ in Ramoth Galaad, et vulneraverunt Syri Ioram:
29 Awo kabaka Yolaamu n’addayo e Yezuleeri okumujjanjaba ebiwundu Abasuuli bye baamuleetako ng’ali e Lama, bwe yali ng’alwanagana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n’aserengeta e Yezuleeri okulaba ku Yolaamu mutabani wa Akabu, kubanga yali afumitiddwa ebiwundu.
qui reversus est ut curaretur, in Iezrahel: quia vulneraverant eum Syri in Ramoth præliantem contra Hazael regem Syriæ. Porro Ochozias filius Ioram rex Iuda, descendit invisere Ioram filium Achab in Iezrahel, quia ægrotabat ibi.

< 2 Bassekabaka 8 >