< 2 Bassekabaka 7 >

1 Naye Erisa n’agamba nti, “Muwulire ekigambo kya Mukama, kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, Jjo obudde nga buno ekigero ky’obutta obulungi ekyenkana lita omusanvu ne desimoolo ssatu kiritundibwa gulaamu kkumi n’emu, n’ebigero bibiri ebya sayiri bitundibwe gulaamu kkumi n’emu ebweru wa wankaaki w’e Samaliya.”
엘리사가 가로되 `여호와의 말씀을 들을지어다 여호와께서 가라사대 내일 이맘때에 사마리아 성문에서 고운 가루 한 스아에 한 세겔을 하고 보리 두 스아에 한 세겔을 하리라 하셨느니라'
2 Awo omukungu kabaka gwe yeesigamangako n’agamba omusajja wa Katonda nti, “Mukama ne bw’anakuba ebituli mu ggulu, ekyo tekiyinzika kubaawo.” Erisa n’amuddamu nti, “Ekyo olikiraba n’amaaso go, naye tolibaako na kimu ky’olyako ku byo.”
그 때에 한 장관 곧 왕이 그 손에 의지하는 자가 하나님의 사람에게 대답하여 가로되 `여호와께서 하늘에 창을 내신들 어찌 이런 일이 있으리요 엘리사가 가로되 네가 네 눈으로 보리라 그러나 그것을 먹지는 못하리라' 하니라
3 Waaliwo abasajja bana abaagengewala abaabeeranga ku mulyango gwa wankaaki w’ekibuga. Ne bagambagana bokka ne bokka nti, “Kiki ekitutuuza wano okutuusa okufa?
성문 어귀에 문둥이 네 사람이 있더니 서로 말하되 `우리가 어찌하여 여기 앉아서 죽기를 기다리랴
4 Bwe tunaagamba nti, ‘Tuyingire mu kibuga,’ enjala gy’eri, era tunaafiirayo; ate bwe tusigala wano, era nawo tujja kufiirawo. Noolwekyo tulage mu nkambi y’Abasuuli, bwe banaatusaasira, tunaaba balamu, bwe banaatutta, kale kinaaba bwe kityo.”
우리가 성에 들어가자고 할지라도 성 중은 주리니 우리가 거기서 죽을 것이요 여기 앉아 있어도 죽을지라 그런즉 우리가 가서 아람 군대에게 항복하자 저희가 우리를 살려 두면 살려니와 우리를 죽이면 죽을 따름이라' 하고
5 Awo ekiro mu ttumbi ne bagolokoka ne balaga mu lusiisira lw’Abasuuli. Naye bwe baatuuka mu kitundu ekisembayo eky’olusiisira, tewaali muntu n’omu.
아람 진으로 가려하여 황혼에 일어나서 아람 진 가에 이르러 본즉 그 곳에 한 사람도 없으니
6 Mukama yalowozesa eggye ly’Abasuuli nti kabaka wa Isirayiri yali apangisizza bakabaka b’Abakiiti n’ab’Abamisiri okujja okumulwanirira, bwe lyawulira eddoboozi ly’amagaali n’eddoboozi ly’embalaasi.
이는 주께서 아람 군대로 병거 소리와 말 소리와 큰 군대의 소리를 듣게 하셨으므로 아람 사람이 서로 말하기를 이스라엘 왕이 우리를 치려하여 헷 사람의 왕들과 애굽 왕들에게 값을 주고 저희로 우리에게 오게 하였다 하고
7 Ne bagolokoka ne badduka okuva mu nkambi yaabwe amatumbibudde ne baleka awo eweema zaabwe, n’embalaasi zaabwe n’endogoyi zaabwe, ne badduka okuwonya obulamu bwabwe.
황혼에 일어나서 도망하되 그 장막과 말과 나귀를 버리고 진을 그대로 두고 목숨을 위하여 도망하였음이라
8 Abagenge bwe baatuuka ku nkambi w’ekoma, ne bayingira mu emu ku weema, ne balya ne banywa era ne beetikka n’effeeza ne zaabu n’engoye, ne bagenda ne babikweka. N’oluvannyuma ne bakomawo, ne bayingira mu weema endala, ne baggyayo ebyalimu, ne bagenda ne babikweka nabyo.
그 문둥이들이 진 가에 이르자 한 장막에 들어가서 먹고 마시고 거기서 은과 금과 의복을 가지고 가서 감추고 다시 와서 다른 장막에 들어가서 거기서도 가지고 가서 감추니라
9 Awo ne bagambagana nti, “Kye tukola si kituufu. Luno olunaku lwa bigambo birungi; bwe tunaasirika ne tulinda okutuusa enkya, tujja kubonerezebwa. Noolwekyo tugende tutegeeze ab’omu nju ya kabaka.”
문둥이가 서로 말하되 우리의 소위가 선치 못하도다 오늘날은 아름다운 소식이 있는 날이어늘 우리가 잠잠하고 있도다 만일 밝은 아침까지 기다리면 벌이 우리에게 미칠지니 이제 떠나 왕궁에 가서 고하자 하고
10 Awo ne bagenda ne bakoowoola abakuumi ba wankaaki w’ekibuga, ne boogera nti, “Twalaze mu nkambi y’Abasuuli ne tutasangayo muntu n’omu okuggyako embalaasi nga zisibiddwa, n’endogoyi nga zisibiddwa, n’eweema nga ziri nga bwe baazirese.”
드디어 가서 성 문지기를 불러 고하여 가로되 우리가 아람 진에 이르러 보니 거기 한 사람도 없고 사람의 소리도 없고 오직 말과 나귀만 매여 있고 장막들이 그대로 있더이다
11 Abakuumi ne balangirira amawulire ago, n’ab’omu lubiri ne bakiwulira.
저가 문지기들을 부르매 저희가 왕궁에 있는 자에게 고하니
12 Kabaka n’agolokoka mu kiro ekyo, n’agamba abakungu be nti, “Ka mbategeeze Abasuuli kye bategese okutukola. Bamanyi nga tuli bayala; era bavudde mu nkambi yaabwe ne bagenda okwekweka ku ttale, nga balowooza nti, ‘Mazima ddala bajja kuvaayo, n’oluvannyuma tunaabawamba nga balamu, tulyoke tuyingire mu kibuga.’”
왕이 밤에 일어나 그 신복들에게 이르되 아람 사람이 우리에게 행한 것을 내가 너희에게 알게 하노니 저희가 우리의 주린 것을 아는고로 그 진을 떠나서 들에 매복하고 스스로 이르기를 저희들이 성에서 나오거든 우리가 사로잡고 성에 들어가겠다 한 것이니라
13 Awo omu ku bakungu be n’aleeta ekirowoozo nti, “Ffuna abasajja bagende n’embalaasi ttaano ku ezo ezisigaddewo, kubanga bali ng’ekibiina kyonna ekya Isirayiri ekisigaddewo; baliba ng’ekibiina kyonna ekya Isirayiri ekimaliddwawo. Ka tubasindikeyo bagende balabe ekiriyo.”
그 신복중 하나가 대답하여 가로되 청컨대 아직 성중에 남아 있는 말 다섯 필을 취하고 사람을 보내어 정탐하게 하소서 이 말들이 성중에 남아 있는 이스라엘 온 무리 곧 멸망한 이스라엘 온 무리와 같으니이다 하고
14 Awo ne balonda abeebagala embalaasi babiri n’embalaasi zaabwe, kabaka n’abatuma okuwondera eggye ly’Abasuuli, ng’abagamba nti, “Mugende mulabe.”
저희가 병거 둘과 그 말을 취한지라 왕이 아람 군대 뒤로 보내며 가서 정탐하라 하였더니
15 Ne babawondera okutuukira ddala ku Yoludaani, ne basanga ng’ekkubo lyonna lijjudde engoye n’ebintu ebirala Abasuuli bye baasuula nga badduka. Awo ababaka ne bakomawo eri kabaka ne bamutegeeza bye baalaba.
저희가 그 뒤를 따라 요단에 이른즉 아람 사람이 급히 도망하느라고 버린 의복과 군물이 길에 가득하였더라 사자가 돌아와서 왕에게 고하매
16 Awo abantu ne bafuluma, ne bakaliza olusiisira lw’Abasuuli. Ekigero ky’obutta obulungi ekyenkana lita musanvu ne desimoolo ssatu ne kitundibwa gulaamu kkumi n’emu, n’ebigero bibiri ebya sayiri ne bitundibwa gulaamu kkumi n’emu, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.
백성들이 나가서 아람 사람의 진을 노략한지라 이에 고운 가루 한 스아에 한 세겔이 되고 보리 두 스아에 한 세겔이 되니 여호와의 말씀과 같이 되었고
17 Kabaka yali alonze omukungu we oli gwe yeesigamangako, okuvunaanyizibwa wankaaki, abantu ne bamulinnyiririra mu mulyango, n’afa, ng’omusajja wa Katonda bwe yayogera, mu kiseera kabaka bwe yalaga ewuwe.
왕이 그 손에 의지하였던 그 장관을 세워 성문을 지키게 하였더니 백성이 성문에서 저를 밟으매 하나님의 사람의 말대로 죽었으니 곧 왕이 내려왔을 때에 그의 한 말대로라
18 Bwe kityo bwe kyali kubanga omusajja wa Katonda bwe yagamba kabaka nti, “Jjo essaawa nga zino ebigero bibiri ebya sayiri biritundibwa gulaamu kkumi n’emu, n’ekigero ky’obutta obulungi ne kitundibwa gulaamu kkumi n’emu, mu wankaaki ya Samaliya,”
일찌기 하나님의 사람이 왕에게 고하여 이르기를 내일 이맘때에 사마리아 성문에서 보리 두 스아에 한 세겔을 하고 고운 가루 한스아에 한 세겔을 하리라 한즉
19 omukungu oyo, yaddamu omusajja wa Katonda nti, “Laba, Mukama ne bwaggulawo ebituli eby’omu ggulu, tekiyinzika kubaawo.” Omusajja wa Katonda n’amugamba nti, “Olikiraba n’amaaso go, naye toliryako na kimu.”
그 때에 이 장관이 하나님의 사람에게 대답하여 가로되 여호와께서 하늘에 창을 내신들 어찌 이 일이 있으랴 하매 대답하기를 네가 네 눈으로 보리라 그러나 그것을 먹지는 못하리라 하였더니
20 Era bwe kityo bwe kyali ekyamutuukako, abantu bwe bamulinnyiririra mu wankaaki, n’afa.
그 장관에게 그대로 이루었으되 곧 백성이 성문에서 저를 밟으매 죽었더라

< 2 Bassekabaka 7 >