< 2 Bassekabaka 5 >

1 Awo waaliwo omusajja erinnya lye nga ye Naamani eyali omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Busuuli, nga musajja wa maanyi mu maaso ga mukama we, era ng’ayagalibwa nnyo, kubanga Mukama yali awadde Busuuli obuwanguzi ku lulwe. Yali muserikale muzira ddala; naye nga mugenge.
Now Naaman, captain of the army of the king of Aram, was a great man with his master, and honorable, because by him Jehovah had given victory to Aram: he was also a mighty man of valor, but he was a leper.
2 Awo mu biro ebyo Abasuuli ne balumba Isirayiri, ne bawamba omuwala omuto okuva mu Isirayiri, n’aweerezanga mukazi wa Naamani.
The Arameans had gone out in bands, and had brought away captive out of the land of Israel a little maiden; and she waited on Naaman's wife.
3 Omuwala n’agamba mugole we nti, “Singa mukama wange Naamani agenda n’alaba nnabbi ali mu Samaliya, nnabbi oyo yandiyinzizza okumuwonya ebigenge bye.”
She said to her mistress, "I wish that my lord were with the prophet who is in Samaria. Then he would heal him of his leprosy."
4 Awo Naamani n’agenda n’ategeeza mukama we ebigambo by’omuwala eyava mu Isirayiri.
Someone went in, and told his lord, saying, "The maiden who is from the land of Israel said this."
5 Kabaka wa Busuuli n’amuddamu nti, “Genda kaakano, era ogende n’ebbaluwa gye nnaawandiikira kabaka wa Isirayiri.” Awo Naamani n’asitula, n’atwala kilo bisatu mu ana eza ffeeza, ne kilo nsanvu eza zaabu, n’ebika by’engoye eby’enjawulo kkumi.
The king of Aram said, "Go now, and I will send a letter to the king of Israel." He departed, and took with him ten talents of silver, and six thousand pieces of gold, and ten changes of clothing.
6 Era n’atwalira kabaka wa Isirayiri ebbaluwa, ng’egamba nti, “Nkuweerezza ebbaluwa eno n’omuweereza wange Naamani omuwonye ebigenge bye.”
He brought the letter to the king of Israel, saying, "Now when this letter has come to you, look, I have sent Naaman my servant to you, that you may heal him of his leprosy."
7 Kabaka wa Isirayiri olwasoma ebbaluwa, n’ayuza ebyambalo bye, n’ayogera nti, “Ndi Katonda, atta era awonya, omusajja ono alyoke ampeereze omusajja we mmuwonye ebigenge bye? Mulaba bw’ansosonkerezaako oluyombo?”
It happened, when the king of Israel had read the letter, that he tore his clothes, and said, "Am I God, to kill and to make alive, that this man sends to me to heal a man of his leprosy? But please consider and see how he seeks a quarrel against me."
8 Erisa omusajja wa Katonda bwe yawulira nti kabaka wa Isirayiri ayuzizza ebyambalo bye, n’amutumira ng’agamba nti, “Lwaki oyuzizza ebyambalo byo? Nsindikira omusajja, alyoke ategeere nga mu Isirayiri mulimu nnabbi.”
It was so, when Elisha the man of God heard that the king of Israel had torn his clothes, that he sent to the king, saying, "Why have you torn your clothes? Let him come now to me, and he shall know that there is a prophet in Israel."
9 Awo Naamani n’asitula n’embalaasi ze n’amagaali ge n’ayimirira ku luggi lw’ennyumba ya Erisa.
So Naaman came with his horses and with his chariots, and stood at the door of the house of Elisha.
10 Erisa n’atuma omubaka okumugamba nti, “Genda, onaabe mu Yoludaani emirundi musanvu, onoowonyezebwa, omubiri gwo ne gudda buto.”
Elisha sent a messenger to him, saying, "Go and wash in the Jordan seven times, and your flesh shall come again to you, and you shall be clean."
11 Naye Naamani n’anyiiga, n’agenda nga yeemulugunya nti, “Ndowoozezza nti anaavaayo n’ajja, n’ayimirira n’akoowoola erinnya lya Mukama Katonda we, n’awuba omukono gwe ku bitundu ebirina ebigenge, n’amponya.
But Naaman was angry, and went away, and said, "Look, I thought, 'He will surely come out to me, and stand, and call on the name of Jehovah his God, and wave his hand over the place, and heal the leper.'
12 Abana ne Faafa, emigga gy’e Damasiko tegisinga amazzi gonna ag’omu Isirayiri? Lwaki sinaabira mu gyo ne mponyezebwa?” N’akyuka n’agenda ng’ajjudde obusungu bungi.
Aren't Abanah and Pharpar, the rivers of Damascus, better than all the waters of Israel? Couldn't I go wash in them, and be clean?" So he turned and went away in a rage.
13 Naye abaddu ba Naamani ne bamusemberera, ne bamugamba nti, “Kitaffe, singa nnabbi yakulagidde okukola ekyobuzira, tewandikikoze? Lwaki kikukaluubiridde bw’akugambye nti, ‘Nnaaba obe mulongoofu?’”
His servants came near, and spoke to him, and said, "My father, if the prophet had asked you to do some great thing, wouldn't you have done it? How much rather then, when he says to you, 'Wash, and be clean?'"
14 N’aserengeta n’agenda ne yebbika mu Yoludaani emirundi musanvu, ng’omusajja wa Katonda bwe yamulagira, n’aba mulongoofu, omubiri gwe ne guba ng’ogw’omwana omuto.
Then he went down and dipped himself seven times in the Jordan, according to the saying of the man of God; and his flesh was restored like the flesh of a little child, and he was clean.
15 Awo Naamani n’ekibinja kye ne baddayo eri omusajja wa Katonda. N’agenda n’ayimirira mu maaso ge, n’ayogera nti, “Kaakano ntegeeredde ddala nga teri Katonda mu nsi endala zonna wabula mu Isirayiri. Noolwekyo kkiriza ekirabo okuva eri omuddu wo.”
He returned to the man of God, he and all his company, and came, and stood before him; and he said, "See now, I know that there is no God in all the earth, but in Israel. Now therefore, please take a gift from your servant."
16 Nnabbi n’amuddamu nti, “Mazima ddala, nga Mukama gwe mpeereza bw’ali omulamu, siitwale kintu na kimu.” Naamani n’agezaako okumuwaliriza, naye ye n’agaana.
But he said, "As Jehovah lives, before whom I stand, I will receive none." He urged him to take it; but he refused.
17 Naamani n’amugamba nti, “Bwe kitaabe bwe kityo, nkwegayiridde omuddu wo aweebwe ettaka eriyinza okusitulibwa ennyumbu bbiri, kubanga omuddu wo taliddayo nate okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka eri katonda omulala yenna wabula eri Mukama.
Naaman said, "If not, then, please let two mules' burden of earth be given to your servant; for your servant will from now on offer neither burnt offering nor sacrifice to other gods, but to Jehovah.
18 Era ne mu nsonga eno Mukama asaasire omuddu wo; mukama wange bw’anayingira mu ssabo lya Limoni okusinza, ne yeesigama omukono gwange, ne nvuunamira eyo mu ssabo lya Limoni, Mukama asonyiwe omuddu we olw’ensonga eyo.”
In this thing may Jehovah pardon your servant: when my master goes into the house of Rimmon to worship there, and he leans on my hand, and I bow myself in the house of Rimmon. When I bow myself in the house of Rimmon, may Jehovah pardon your servant in this thing."
19 Erisa n’amuddamu nti, “Genda mirembe.” Naye Naamani bwe yali yakagendako ebbanga ttono,
He said to him, "Go in peace." So he departed from him a little way.
20 Gekazi omuweereza wa Erisa omusajja wa Katonda, n’alowooza mu mutima gwe nti, “Laba mukama wange bw’asaasidde Naamani ono Omusuuli, n’atakkiriza kirabo kimuweerebbwa. Mazima ddala, nga Mukama bw’ali omulamu nzija kumugoberera, mbeeko kye muggyako.”
But Gehazi the servant of Elisha the man of God, said, "Look, my master has spared this Naaman the Aramean, in not receiving at his hands that which he brought. As Jehovah lives, I will run after him, and take something from him."
21 Amangwago, Gekazi n’agoberera Naamani. Naamani bwe yamulengera ng’ajja adduka, n’ava mu gaali lye okumusisinkana, n’amubuuza nti, “Byonna biri bulungi?”
So Gehazi followed after Naaman. When Naaman saw one running after him, he came down from the chariot to meet him, and said, "Is all well?"
22 N’amuddamu nti, “Byonna biri bulungi, naye mukama wange antumye okukutegeeza nti, ‘Wabaddewo bannabbi abavubuka babiri abazze gy’ali okuva mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, era akusabye obaweeko kilo amakumi asatu mu nnya eza ffeeza n’ebika by’engoye bya mirundi ebiri.’”
He said, "All is well. My master has sent me, saying, 'Look, even now two young men of the sons of the prophets have come to me from the hill country of Ephraim. Please give them a talent of silver and two changes of clothing.'"
23 Naamani n’amugamba nti, “Tewali kikugaana kutwala kilo nkaaga munaana.” N’awaliriza Gekazi, n’amusibirako kilo bbiri eza ffeeza mu nsawo bbiri, n’ebika by’engoye bya mirundi ebiri, Naamani n’abitikka abaddu be babiri, abaabyetikka nga bakulembeddemu Gekazi.
Naaman said, "Be pleased to take two talents." He urged him, and bound two talents of silver in two bags, with two changes of clothing, and laid them on two of his servants; and they carried them before him.
24 Gekazi bwe yatuuka ku lusozi, n’abibaggyako, n’abiteeka mu nnyumba ye, n’abasindika bagende.
When he came to the hill, he took them from their hand, and stored them in the house. Then he let the men go, and they departed.
25 N’ayingira n’ayimirira mu maaso ga Erisa mukama we. Erisa n’amubuuza nti, “Ova wa Gekazi?” Gekazi n’addamu nti, “Omuddu wo taliiko gy’agenze.”
But he went in, and stood before his master. Elisha said to him, "Where did you come from, Gehazi?" He said, "Your servant went nowhere."
26 Naye Erisa n’amugamba nti, “Ssaagenze naawe mu mwoyo, omusajja bwe yavudde mu ggaali lye okukusisinkana? Kino ky’ekiseera eky’okutwala ensimbi, oba engoye, oba ennimiro ez’emizeeyituuni, oba ez’emizabbibu, oba endiga, oba ente, oba abaddu, oba abaweereza abawala?
He said to him, "Did not my heart go with you, when the man turned from his chariot to meet you? Is it a time to receive money, and to receive garments, and olive groves and vineyards, and sheep and cattle, and male servants and female servants?
27 Noolwekyo ebigenge bya Naamani binaakuberangako gwe ne bazzukulu bo emirembe gyonna.” Awo Gekazi n’ava mu maaso ga Erisa nga mugenge, atukula ng’omuzira.
Therefore the leprosy of Naaman will cling to you and to your descendants forever." He went out from his presence a leper, as white as snow.

< 2 Bassekabaka 5 >