< 2 Bassekabaka 3 >
1 Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obwakabaka bwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, Yekolaamu mutabani wa Akabu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri e Samaliya, era n’afugira emyaka kkumi n’ebiri.
2 Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga teyatuuka ku bibi bya kitaawe ne nnyina. Yazikiriza n’empagi eya Baali kitaawe gye yali asimbye.
3 Newaakubadde ng’ekyo yakikola, teyalekayo kukola ebibi ng’ebyo Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yakola, n’ayonoonyesa Isirayiri.
4 Mesa Kabaka wa Mowaabu yalundanga endiga, era yalina omutemwa ogw’okuwangayo abaana b’endiga emitwalo kkumi, n’ebyoya by’endiga ennume emitwalo kkumi eri Akabu.
5 Naye Akabu olwafa, kabaka wa Mowaabu n’atandika okujeemera kabaka wa Isirayiri.
6 Awo mu biro ebyo kabaka Yekolaamu n’asitula okuva e Samaliya, n’akunga Isirayiri yenna okugenda naye.
7 N’atumira ne Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Kabaka wa Mowaabu anjeemedde, onooyinza okumbeera tumulwanyise?” Yekosafaati n’amuddamu nti, “Nnaagenda naawe, kubanga nze ndi nga bw’oli, era abantu bange be bantu bo, n’embalaasi zange ze zizo.”
8 Yekosafaati n’amubuuza nti, “Ye, tunaalumba kuva ku luuyi ki?” Yekolaamu n’amuddamu nti, “Tunaayita mu ddungu erya Edomu.”
9 Awo kabaka wa Isirayiri, n’asitukira wamu ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu ne bagenda mu lutalo. Ne batambula olugendo lwa nnaku musanvu, n’oluvannyuma ne beesanga ng’eggye amazzi galiweddeko, nga n’ebisolo byabwe tebirina wadde ettondo.
10 Kabaka wa Isirayiri ne yeekanga nnyo. N’ayogera nti, “Zitusanze! Ffenna abasatu, Mukama atuwaddeyo mu mukono gwa Mowaabu?”
11 Kyokka Yekosafaati n’abuuza nti, “Tewali wano nnabbi wa Mukama tumwebuuzeeko?” Awo omu ku bakungu ba kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Wano waliwo Erisa mutabani wa Safati. Ye yali omuweereza wa Eriya ow’oku mwanjo.”
12 Yekosafaati n’ayogera nti, “Alina ekigambo okuva eri Mukama.” Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda, awamu ne kabaka wa Isirayiri, ne kabaka wa Edomu ne baserengeta gy’ali.
13 Awo Erisa n’agamba kabaka wa Isirayiri nti, “Onnanga ki? Genda eri bannabbi ba kitaawo n’aba maama wo.” Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Nedda sijja kugendayo; kubanga kirabika nga Mukama atukuŋŋaanyiza ffensatule, okutuwaayo mu mukono gwa Mowaabu.”
14 Erisa n’ayogera nti, “Nga Mukama Katonda Ayinzabyonna gwe mpeereza bw’ali omulamu, singa nnali siwa Yekosafaati kabaka wa Yuda kitiibwa, sandikukubyeko munye ya liiso wadde okukusaako omwoyo.
15 Naye kaakano, mundeetere omukubi w’ennanga.” Omukubi w’ennanga bwe yali ng’akyakuba ennanga, amaanyi ga Mukama ne gakka ku Erisa,
16 n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Musime ensalosalo mu kiwonvu kino.’
17 Mukama agamba nti, ‘Temuulabe mbuyaga wadde enkuba, naye ekiwonvu kino kijja kujjula amazzi, era mmwe munaanywa, n’ente zammwe zinaanywa, n’ebisolo byammwe ebirala nabyo binywe.
18 Eyo nsonga nnyangu mu maaso ga Mukama, era n’Abamowaabu mujja kubawangula.
19 Mulizikiriza buli kibuga ekyetooloddwa bbugwe na buli kibuga ekikulu, era mulitema buli muti omulungi, ne muziyiza n’enzizi okuleeta amazzi, era ne mwonoona buli nnimiro nga mugijjuza amayinja.’”
20 Awo obudde bwe bwakya, mu kiseera eky’okuweerayo ssaddaaka, amazzi ne gakulukuta nga gava ku luuyi olwa Edomu, ensi n’ejjula amazzi.
21 Abamowaabu bonna bwe baawulira nga bakabaka babalumbye okulwana nabo, buli musajja, omuto n’omukulu abaali basobola okwambala ebyokulwanyisa, ne bayitibwa okugenda okutabaala.
22 Enkeera enjuba bwe yayaka ku mazzi, Abamowaabu ne balowooza nti amazzi mamyufu kubanga gaabalabikira ng’omusaayi.
23 Ne bagamba nti, “Guno musaayi! Kirabika nga bakabaka baalwanye bokka ne bokka, ne battiŋŋana, kale Mowaabu mugwe ku munyago.”
24 Naye Abamowaabu bwe baali nga baakayingira mu nkambi y’Abayisirayiri, amangwago Abayisirayiri ne batandika okulwana nabo, okutuusa Abamowaabu lwe badduka.
25 Ne bamenyaamenya ebibuga by’Abamowaabu, ne bakanyuga amayinja ku buli kibanja ekirungi okutuusa lwe gaakolangako entuumo; ne baziba enzizi zonna ez’amazzi, ne batema na buli muti omulungi. Kirukalesesi kye kifo kyokka ekyali kitalumbiddwa, naye oluvannyuma abasajja ab’envuumuulo ne bakirumba.
26 Awo kabaka wa Mowaabu bwe yalaba ng’olutalo lumugendedde bubi, n’atwala abasajja ab’ebitala lusanvu, ne bagenda naye okulumba kabaka wa Edomu, kyokka ne balemelerwa.
27 N’addira mutabani we omuggulanda, eyali ateekwa okumusikira, n’amuweerayo ku bbugwe w’ekibuga ng’ekiweebwayo ekyokebwa. Abayisirayiri ne beesisiwala nnyo ne beetamwa, era ne baddayo mu nsi yaabwe.