< 2 Bassekabaka 25 >

1 Awo Zeddekiya nga yakafugira emyaka mwenda, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’eggye lye lyonna ne balumba Yerusaalemi ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi; ne basiisira ebweru waakyo, ne bakizimbako ebigo okukyetooloola.
ויהי בשנת התשיעית למלכו בחדש העשירי בעשור לחדש בא נבכדנאצר מלך בבל הוא וכל חילו על ירושלם ויחן עליה ויבנו עליה דיק סביב׃
2 Awo ekibuga ne kizingizibwa okumala emyaka ebiri nga Zeddekiya y’akyali kabaka.
ותבא העיר במצור עד עשתי עשרה שנה למלך צדקיהו׃
3 Ku lunaku olw’omwenda mu mwezi ogwokuna enjala n’eba nnyingi nnyo mu kibuga, abantu ab’omu nsi ne babulwako n’emmere ey’okulya.
בתשעה לחדש ויחזק הרעב בעיר ולא היה לחם לעם הארץ׃
4 Awo kabaka n’eggye lye lyonna abaali mu kibuga ne bawagula mu bbugwe ekituli, ekiro, ne badduka nga bayita mu mulyango ogwaliraananga ennimiro ya kabaka ne bayita ne ku Bakaludaaya abaali bazingizza ekibuga enjuuyi zonna.
ותבקע העיר וכל אנשי המלחמה הלילה דרך שער בין החמתים אשר על גן המלך וכשדים על העיר סביב וילך דרך הערבה׃
5 Naye eggye ly’Abakaludaaya ne bagoberera kabaka, okutuusa lwe bamukwatira mu nsenyi ez’e Yeriko n’eggye lye lyonna ne lisaasaana okumwabulira.
וירדפו חיל כשדים אחר המלך וישגו אתו בערבות ירחו וכל חילו נפצו מעליו׃
6 Ne bawamba kabaka, ne bamuleeta eri kabaka w’e Babulooni e Libula gye yasalirwa omusango.
ויתפשו את המלך ויעלו אתו אל מלך בבל רבלתה וידברו אתו משפט׃
7 Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ne bamuggyamu amaaso, ne bamuteeka mu masamba, n’atwalibwa e Babulooni.
ואת בני צדקיהו שחטו לעיניו ואת עיני צדקיהו עור ויאסרהו בנחשתים ויבאהו בבל׃
8 Awo ku lunaku olw’omusanvu mu mwezi ogwokutaano mu mwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obwakabaka bwa Nebukadduneeza, kabaka w’e Babulooni, Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye lya kabaka ery’oku ntikko, ate nga mwami wa kabaka w’e Babulooni n’ajja mu Yerusaalemi.
ובחדש החמישי בשבעה לחדש היא שנת תשע עשרה שנה למלך נבכדנאצר מלך בבל בא נבוזראדן רב טבחים עבד מלך בבל ירושלם׃
9 N’ayokya yeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwa kabaka, n’ennyumba zonna na buli kizimbe ekikulu era nga kya muwendo mu Yerusaalemi.
וישרף את בית יהוה ואת בית המלך ואת כל בתי ירושלם ואת כל בית גדול שרף באש׃
10 Awo eggye lyonna ery’Abakaludaaya nga bakulemberwa omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko, ne bamenya bbugwe wa Yerusaalemi.
ואת חומת ירושלם סביב נתצו כל חיל כשדים אשר רב טבחים׃
11 Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala abantu bonna abaali basigaddewo mu kibuga, mu buwaŋŋanguse nga basibe, n’abaali baasenga kabaka w’e Babulooni, n’abalala bonna abaali mu kibuga.
ואת יתר העם הנשארים בעיר ואת הנפלים אשר נפלו על המלך בבל ואת יתר ההמון הגלה נבוזראדן רב טבחים׃
12 Wabula yalekamu abaali basemberayo ddala obwavu mu nsi eyo, okulabiriranga emizabbibu n’okulimanga.
ומדלת הארץ השאיר רב טבחים לכרמים וליגבים׃
13 Abakaludaaya ne bamenyaamenya empagi ez’ebikomo n’ebyuma ebyawaniriranga ennyanja ey’ekikomo, n’ennyanja ey’ekikomo, ebyali mu yeekaalu ya Mukama, n’ebikomo byamu ne babitwala e Babulooni.
ואת עמודי הנחשת אשר בית יהוה ואת המכנות ואת ים הנחשת אשר בבית יהוה שברו כשדים וישאו את נחשתם בבלה׃
14 Era baatwala n’entamu, n’ebisena, n’ebisalako ebisirinza, n’ebijiiko n’ebintu byonna eby’ekikomo ebyakozesebwanga mu yeekaalu.
ואת הסירת ואת היעים ואת המזמרות ואת הכפות ואת כל כלי הנחשת אשר ישרתו בם לקחו׃
15 Omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala n’ebyoterezo wamu n’ebibya ebyali ebya zaabu n’ebyali ebya ffeeza.
ואת המחתות ואת המזרקות אשר זהב זהב ואשר כסף כסף לקח רב טבחים׃
16 Ekikomo ekyava mu mpagi ebbiri, ne mu nnyanja, ne mu byuma ebyawaniriranga ennyanja ey’ekikomo, Sulemaani bye yakolera yeekaalu ya Mukama, obuzito bwakyo nga tebumanyiddwa.
העמודים שנים הים האחד והמכנות אשר עשה שלמה לבית יהוה לא היה משקל לנחשת כל הכלים האלה׃
17 Buli mpagi obugulumivu yali mita munaana ne desimoolo emu ne ku mutwe gwayo nga kuliko ekikomo ng’obugulumivu bwakyo mita emu ne desimoolo ssatu, nga kitoneddwatoneddwa n’ebifaananyi n’amakomamawanga ag’ekikomo okukyetooloola. N’empagi eyookubiri yali ekoleddwa mu ngeri y’emu.
שמנה עשרה אמה קומת העמוד האחד וכתרת עליו נחשת וקומת הכתרת שלש אמה ושבכה ורמנים על הכתרת סביב הכל נחשת וכאלה לעמוד השני על השבכה׃
18 Omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala nga basibe: Seraya kabona Asinga obukulu, n’omumyuka we Zeffaniya, n’abaggazi abasatu.
ויקח רב טבחים את שריה כהן הראש ואת צפניהו כהן משנה ואת שלשת שמרי הסף׃
19 Era yatwala n’omukungu eyaduumiranga abasajja abalwanyi, n’abakungu abalala bataano abatuulanga ku lukiiko lwa kabaka; era n’atwala n’omuwandiisi omukulu eyavunaanyizibwanga okuyingizanga abantu mu magye mu nsi ya Yuda, n’abasajja abannansi nkaaga abaasangibwa mu kibuga.
ומן העיר לקח סריס אחד אשר הוא פקיד על אנשי המלחמה וחמשה אנשים מראי פני המלך אשר נמצאו בעיר ואת הספר שר הצבא המצבא את עם הארץ וששים איש מעם הארץ הנמצאים בעיר׃
20 Abo bonna Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’abatwalira kabaka w’e Babulooni e Libula.
ויקח אתם נבוזראדן רב טבחים וילך אתם על מלך בבל רבלתה׃
21 Kabaka w’e Babulooni n’abattira eyo e Libula, mu nsi y’e Kamasi. Bw’atyo Yuda n’atwalibwa mu buwaŋŋanguse nga musibe, okuva mu nsi ye.
ויך אתם מלך בבל וימיתם ברבלה בארץ חמת ויגל יהודה מעל אדמתו׃
22 Awo Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alonda Gedaliya mutabani wa Akikamu, muzzukulu wa Safani okuba omukulembeze w’abo abaali basigaddewo mu Yuda.
והעם הנשאר בארץ יהודה אשר השאיר נבוכדנאצר מלך בבל ויפקד עליהם את גדליהו בן אחיקם בן שפן׃
23 Awo abakungu ab’eggye n’abasajja abalala bwe baawulira nga kabaka w’e Babulooni alonze Gedaliya okuba omukulembeze, ne bagenda eri Gedaliya e Mizupa. Abasajja abakungu abo baali Isimayiri mutabani wa Nesaniya, ne Yokanaani mutabani wa Kaleya, ne Seraya mutabani wa Tanukumesi Omunetofa, ne Yaazaniya mutabani w’Omumaakasi.
וישמעו כל שרי החילים המה והאנשים כי הפקיד מלך בבל את גדליהו ויבאו אל גדליהו המצפה וישמעאל בן נתניה ויוחנן בן קרח ושריה בן תנחמת הנטפתי ויאזניהו בן המעכתי המה ואנשיהם׃
24 Gedaliya n’abalayirira bo n’abasajja baabwe n’abagamba nti, “Temutya bakungu Bakaludaaya, naye mutereere mu nsi muweereze kabaka w’e Babulooni kale ebintu byonna binaabagendera bulungi.”
וישבע להם גדליהו ולאנשיהם ויאמר להם אל תיראו מעבדי הכשדים שבו בארץ ועבדו את מלך בבל ויטב לכם׃
25 Naye mu mwezi ogw’omusanvu, Isimayiri mutabani wa Nesaniya, muzzukulu wa Erisaama ow’olulyo olulangira n’ajja n’abasajja kkumi, n’alumba Gedaliya era n’amutta, awamu n’Abayudaaya; n’Abakaludaaya abaali awamu naye e Mizupa nabo n’abatta.
ויהי בחדש השביעי בא ישמעאל בן נתניה בן אלישמע מזרע המלוכה ועשרה אנשים אתו ויכו את גדליהו וימת ואת היהודים ואת הכשדים אשר היו אתו במצפה׃
26 Awo abantu bonna okuviira ddala ku wawansi okutuukira ddala ku w’eddaala erya waggulu, n’abamaggye abakulu bonna, ne baddukira e Misiri, nga batidde Abakaludaaya.
ויקמו כל העם מקטן ועד גדול ושרי החילים ויבאו מצרים כי יראו מפני כשדים׃
27 Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda nga yakamala emyaka amakumi asatu mu musanvu mu buwaŋŋanguse mu busibe, nga Evirumerodaki kyajje afuuke kabaka w’e Babulooni, Evirumerodaki n’ata Yekoyakini kabaka wa Yuda okuva mu kkomera ku lunaku olw’amakumi abiri mu omusanvu mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri.
ויהי בשלשים ושבע שנה לגלות יהויכין מלך יהודה בשנים עשר חדש בעשרים ושבעה לחדש נשא אויל מרדך מלך בבל בשנת מלכו את ראש יהויכין מלך יהודה מבית כלא׃
28 N’ayogera naye ebigambo ebyekisa, n’amuwa n’ekitiibwa ekya waggulu okusinga ne bakabaka abalala abaali awamu naye mu buwaŋŋanguse mu busibe e Babulooni.
וידבר אתו טבות ויתן את כסאו מעל כסא המלכים אשר אתו בבבל׃
29 Awo Yekoyakini n’aggyamu ebyambalo bye eby’ekkomera n’aliiranga wamu ne kabaka w’e Babulooni ku mmeeza ya kabaka ennaku zonna ez’obulamu bwe.
ושנא את בגדי כלאו ואכל לחם תמיד לפניו כל ימי חייו׃
30 Kabaka n’awanga Yekoyakini omugabo ogwa buli lunaku ennaku zonna ez’obulamu bwe.
וארחתו ארחת תמיד נתנה לו מאת המלך דבר יום ביומו כל ימי חיו׃

< 2 Bassekabaka 25 >