< 2 Bassekabaka 24 >

1 Mu biro ebyo, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alumba, era n’afuula Yekoyakimu omuddu we okumala emyaka esatu. Naye Yekoyakimu oluvannyuma n’ajeema, n’akola olutalo ku Nebukadduneeza.
約雅金年間,巴比倫王拿步高進犯,約雅金臣服了他三年,以後又背叛了他。
2 Awo Mukama n’asindikira Yekoyakimu ebibinja by’Abakaludaaya, n’Abasuuli, n’Abamowaabu, n’Abamoni, n’abatuma okulumba Yuda, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu baweereza be bannabbi bwe kyali.
上主派加色丁、阿蘭、摩阿布和阿孟人的雜軍來,不斷侵犯約雅金;上主派這些人來進攻消滅猶大,正如上主藉他的僕人先知們所說的話。
3 Era ddala ebyo by’atuukirira ku Yuda ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali, okubaggya mu maaso ge olw’ebibi bya Manase n’ebirala byonna bye yakola,
猶大遭遇這件事,確是由上主的命令,因為衪要由自己面前拋棄猶大:這是為了默納舍所犯的一切罪患,
4 ng’okwo kwe kuli okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango. Yajjuza Yerusaalemi n’omusaayi ogutaliiko musango, Mukama kye yali tagenda kusonyiwa.
也是因了他所流的無辜者的血,他使無辜者的血流滿了耶路撒冷,上主不肯寬恕。
5 Ebyafaayo ebirala ebyaliwo ku mulembe gwa Yekoyakimu ne byonna bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
約雅金其餘的事蹟,他行的一切,都記載在猶大列王的實錄上。
6 Awo Yekoyakimu n’afa, mutabani we Yekoyakini n’amusikira okuba kabaka.
約雅金與祖先同眼,他的兒子耶苛尼雅繼位為王。
7 Kabaka w’e Misiri teyava nate mu nsi ye, kubanga kabaka w’e Babulooni yali awambye ebibye byonna okuviira ddala ku mukutu gw’Omugga ogw’e Misiri oguyiwa ku Nnyanja Ennene okutuuka ku Mugga Fulaati.
從此埃及王不敢再離開本國出征,因為巴比倫王征服了從埃及河直到幼發拉的河屬於埃及的領土。
8 Yekoyakini we yafuukira kabaka yalina emyaka kkumi na munaana, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Nekusita muwala wa Erunasani ow’e Yerusaalemi.
耶苛尼雅登極時年十八歲,在耶路撒冷作王三個月;他的母親名叫胡市達,是耶路撒冷人厄耳納堂的女兒。
9 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe bwe yakola.
他行了上主視為惡的事,像他父親所行的一樣。
10 Mu biro ebyo eggye lya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ne lirumba ekibuga ky’e Yerusaalemi, ne kizingizibwa.
那時巴比倫王拿步高的臣僕前來圍攻耶路撒冷。
11 Nebukadduneeza yennyini n’ajja mu kibuga, ng’eggye lye likyakizingizza.
當他的臣僕圍攻耶路撒冷時,巴比倫王拿步高親自來督戰攻城。
12 Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda, ne nnyina, n’abaddu ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami be bonna ne beewaayo eri kabaka w’e Babulooni mu mwaka gwe ogw’omunaana bukya alya bwakabaka, era Yekoyakini n’atwalibwa nga musibe.
耶苛尼雅和他的母親臣僕、公卿以及太監,都出來投降巴比倫王;巴比倫王將他們擄去,時在巴比倫王在位第八年。
13 Era mu kiseera kye kimu, Nebukadduneeza n’atwala eby’obugagga byonna okuva mu yeekaalu ya Mukama, n’okuva mu lubiri lwa kabaka, era n’atemaatema ebibya byonna ebya zaabu, Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yali akoze ng’abitadde mu yeekaalu ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira.
巴比倫王且搶去了上主殿內的一切寶藏,和王宮中的寶藏,打碎了以色列王撒羅滿為上主聖殿所製的一切金器,正如上主所預言的;
14 N’atwala Yerusaalemi kyonna, n’abakungu bonna, n’abasajja abalwanyi bonna, ne baffundi bonna n’abaweesi bonna mu buwaŋŋanguse, awamu ne bawera abantu ng’omutwalo gumu. Abasemberayo ddala obwavu be yalekamu bokka.
也擄去了耶路撒冷的民眾,所有的官紳和勇士,共一萬人,以及所有的工匠和鐵匠,只留下了地方上最窮苦的平民。
15 Nebukadduneeza n’atwala Yekoyakini e Babulooni nga musibe okuva mu Yerusaalemi, era n’atwala ne nnyina, ne bakyala ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami abaali ab’ekitiibwa mu nsi.
他將耶苛尼雅擄到巴比倫去,也將太后、后妃、君王的內侍,以及地方上的王公大人,都從耶路撒冷擄到巴比倫去。
16 Ate era yawamba abasajja ab’amaanyi kasanvu, ne baffundi n’abaweesi lukumi, bonna n’abatwala e Babulooni nga basibe.
一切有氣力的人,人數約七千,工匠和鐵匠,人數約一千,都是能打仗的勇士,巴比倫王都擄到巴比倫去。
17 Nebukadduneeza n’addira Mataniya kitaawe wa Yekoyakini omuto, n’amufuula kabaka, era n’amukyusa n’erinnya n’amutuuma Zeddekiya.
巴比倫王立了耶苛尼雅的叔父瑪塔尼雅代他為王,給他改名叫漆德克雅。
18 Zeddekiya we yafuukira kabaka yalina emyaka amakumi abiri mu gumu, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna.
漆德克雅登極時年二十一歲,在耶路撒冷為王十一年;他的母親始叫哈慕塔耳,是里貝納人耶勒米雅的女兒。
19 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga Yekoyakini bwe yakola.
他行了上主視為惡的事,伓像約雅金所行的一樣;
20 Ebyo byonna ebyatuuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, byabaawo olw’obusungu bwa Mukama obwababubuukirako, era n’oluvannyuma n’abagoba mu maaso ge. Naye oluvannyuma Zeddekiya y’ajeemera kabaka w’e Babulooni.
因此,上主向耶路撒冷和猶大大發憤怒,由自己面前將他們拋棄。以後漆德克雅背叛了巴比倫王。

< 2 Bassekabaka 24 >