< 2 Bassekabaka 21 >
1 Manase yatandika okufuga ng’alina emyaka kkumi n’ebiri, era n’afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Kefuziba.
默納舍登極時才十二歲,在耶咯撒冷做王五十五年,他的母親名叫赫斐漆巴。
2 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu makubo amabi ag’amawanga Mukama ge yali agobye mu maaso g’Abayisirayiri.
他行了上主視為惡的事,仿效上主從以色列子民前所驅逐的異民所行的可恥之事,
3 Yaddamu n’azimba ebifo ebigulumivu eby’okusamira, Keezeekiya kitaawe bye yali amenye: era yazimba n’ebyoto ebya Baali, n’asimba n’empagi kya Asera, nga Akabu kabaka wa Isirayiri bwe yakola, n’okusinza n’asinza eggye ery’omu ggulu.
重建了他父親希則克雅所拆毀的高丘,為巴耳建立了祭壇,製造了木偶,像以色列王阿哈布所作的一樣,且崇拜敬奉天上的萬象,
4 Yazimba n’ebyoto mu yeekaalu ya Mukama, Mukama gye yali ayogeddeko nti, “Mu Yerusaalemi mwe mulibeera Erinnya lyange.”
雖然上主曾指著聖殿說過:「我要將我的名建立在耶路撒冷。」但他仍在上主的殿內建立了一些祭壇,
5 Era yazimbira eggye lyonna ery’omu ggulu ebyoto mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama.
又在上主殿宇的兩庭院內,為天上萬像建立了祭壇;
6 N’awaayo mutabani we okuba ekyokebwa, ng’akola eby’obufumu n’eby’obulogo, ate ng’alagulwa n’abaliko emizimu, n’abalogo. N’akola ebibi bingi mu maaso ga Mukama, era n’amusunguwaza.
使自己的兒子經火獻神,行占卜邪術,立招魂師和術士,不斷行上主視為惡的事,惹上主發怒。
7 Yaddira ekifaananyi ekyole ekya Asera n’akiteeka mu yeekaalu, Mukama gye yali ayogeddeko ng’agamba Dawudi ne mutabani we Sulemaani nti, “Mu Yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi, bye nneeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga erinnya lyange emirembe gyonna.
他又將自己製造的阿舍辣雕像,安放在上主的殿內,雖然上主論及這殿曾對達味的兒子撒羅滿說:「我要在這殿內,和我在以色列各支派所選出的耶路撒冷立我的名,直到永遠;
8 Siriddayo nate kujja bigere eby’Abayisirayiri mu nsi gye nawa bajjajjaabwe, bwe baneekuumanga okukola bye nabalagira byonna wamu n’amateeka omuddu wange Musa ge yabawa.”
只要以色列謹守遵行我所吩咐他們的一切,及我僕人梅瑟所吩咐他們的一切法律,我決不再使以色列人的腳,離開我賜與他們祖先的土地。」
9 Naye abantu tebaawuliriza, era Manase n’abasendasenda okukola ebibi okusinga n’ebyo amawanga Mukama ge yazikiririza mu maaso g’Abayisirayiri bye gaakola.
但是,他們卻不聽從,甚至默納舍誘惑他們行惡,甚於上主由以色列子民前所消滅的那些民族。
10 Awo Mukama n’ayogerera mu baddu be bannabbi
為此,上主藉他的僕人先知警告說:「
11 nti, “Olw’emizizo gino Manase kabaka wa Yuda gy’akoze, ng’ayonoona okusinga Abamoli abaamusooka bye baakola, n’ayonoonyesa Yuda n’ebifaananyi bye,
因為猶太王默納舍行了這些可恥的事,甚於他以前的阿摩黎人所行的,以自己的神像引猶太犯罪。
12 bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ndireeta ku Yerusaalemi ne ku Yuda obubi obusingirayo ddala, era na buli muntu alikiwulira, alisasamala.
所以上主以色列的天主這樣說:看,我要使這樣的災禍降在耶路撒冷和猶太,使聽見的人兩耳都要齊鳴。
13 Ndigolola omuguwa ogwakozesebwa ku Samaliya n’ejjinja erigera eryakozesebwa ku nnyumba ya Akabu eri Yerusaalemi, era ne mmalirawo ddala Yerusaalemi ng’omuntu bw’akomba esowaani okumalirako ddala emmere, n’okugifuula n’agifuula.
我要用測量撒瑪黎雅的繩索,和測量阿哈布家的鉛錘,來測量耶路撒冷,要擦淨耶路撒冷如同人擦淨盤子一樣,擦淨之後,就翻過來;
14 Era ndyabulira ekitundu ekyafikkawo eky’obusika bwange, ne nkigabula mu mukono gw’abalabe baabwe, ne bababbako buli kantu,
我要拋棄作我產業的遺民,將他們交於敵人手中,使他們成為一切敵人的掠物與勝利品。
15 kubanga baakola ebibi mu maaso gange, ne bansunguwaza nnyo okuviira ddala ku lunaku bajjajjaabwe kwe baaviirako mu Misiri n’okutuusa ku lunaku lwa leero.’”
因為他們自從他們的祖先出離埃及那一天,直到今日,行了我視為惡的事,使我發怒。」
16 Ate, era Manase yayiwa omusaayi mungi gw’abo abataaliko musango, n’agujjuza Yerusaalemi, obutasaako ebibi ebirala bye yayonoonyesa Yuda, ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama.
默納舍除了使猶大陷於罪惡,行了上主視為惡的事以外,還流了許多無辜者的血,使耶路撒冷流成河,從這邊流到那邊。
17 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Manase, ne byonna bye yakola, okwo nga kwe kuli n’ebibi bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
默納舍其餘的事蹟,他行的一切,所犯的罪惡,都記載在猶大列王實錄上。
18 Awo Manase n’afa, n’aziikibwa mu nnimiro ey’olubiri lwe, ye nnimiro ya Uzza, ne mutabani we Amoni n’amusikira okuba kabaka.
默納舍與他的列祖同眠,埋葬在王宮花園,即烏匝花園裏;他的兒子阿孟繼位為王。
19 Amoni lwe yatandika okufuga, yali awezezza emyaka amakumi abiri mu ebiri, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka ebiri. Nnyina ye yali Mesullemesi muwala wa Kaluzi ow’e Yotuba.
阿孟登極時,年二十二歲,在耶路撒冷作王兩年;他的母親名叫默叔肋默,是約特巴人哈魯茲的女兒。
20 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe bwe yakola.
他行了上主認為視為惡的事。全像他父親所行的一樣;
21 N’atambulira mu ngeri za kitaawe, n’asinzanga ebifaananyi kitaawe bye yasinzanga.
走了他父親所走的的路,事奉敬拜了他父親所事奉的偶像,
22 Yava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe, n’atatambulira mu kkubo lya Mukama.
離棄了上主他祖先的天主,未隨上主的道路。
23 Awo abakungu ba Amoni ne bamusalira olukwe, ne bamuttira mu lubiri lwe.
阿孟臣僕共謀造反,在宮內將君王殺了;
24 Awo olwatuuka, abantu mu nsi ne beekobaana, ne batta abo bonna abaali mu lukwe olw’okumutta, era ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka.
但地方的人民起來,殺了所有反叛阿孟王的人,立了他的兒子約史雅繼位為王。
25 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Amoni, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
阿孟所作的其它事蹟,都記載在猶大列王實錄上。
26 Kabaka n’aziikibwa mu ntaana ye mu nnimiro ya Uzza, mutabani we Yosiya n’amusikira okuba kabaka.
他也葬在烏匝花園內自己的墳墓裏;他的兒子約史雅繼位為王。