< 2 Bassekabaka 2 >

1 Awo Mukama bwe yali ng’anaatera okutwala Eriya mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi, nga Eriya ne Erisa bava e Girugaali,
上主要用旋風接厄里亞升天的時候,厄里亞和厄里叟正離開基耳加耳;
2 Eriya n’agamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e BeseriMukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.” Awo ne baserengeta bonna e Beseri.
厄里亞對厄里叟說:「請你劉在這裏,因為上主派我到貝特耳去。」厄里叟卻回答說:「我指著永生的上主和你的性命起誓:我決不離開你。」於是二人到貝特耳。
3 Ekibiina ekya bannabbi abaali e Beseri ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?” Erisa n’abaddamu nti, “Nkimanyi, naye temukyogerako.”
在貝特耳的先知弟子們出來見厄里叟說:「上主今天要接你的師傅離開你,你知道嗎﹖」他回答說:「是,我知道,你們不要作聲。」
4 Eriya n’addamu omulundi ogwokubiri n’agamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e Yeriko Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.” Awo ne bagenda bonna e Yeriko.
厄里亞對厄里叟說:「厄里叟,請你留在這裏,因為上主派我到耶里哥去。」他回答說:「我指著永生的上主和你的性命起誓:我決不離開你。」於是二人往耶里哥去了。
5 Awo ekibiina ekya bannabbi abaali e Yeriko ne batuukirira Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?” Erisa n’abaddamu nti, “Weewaawo nkimanyi, naye temukyogerako.”
在耶里哥的先知弟子們前來,對厄里叟說: 「上主今天要接你的師傅離開你,你知道嗎﹖」他回答說:「是的,我知道,你們不要作聲。」
6 Eriya n’addamu nate n’amugamba nti, “Sigala wano, nserengete ku Yoludaani Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.” Awo ne batambula bombi.
厄里亞又對厄里叟說:「請你留在這裏,因為上主派我到約但河去。」厄里叟回答說:「我指著永生的上主和你的性命起誓:我決不離開你。」二人於是繼續前行。
7 Ne waba ekibiina kya bannabbi amakumi ataano abaali bayimiridde akabanga okuva Eriya ne Erisa we baali ku lubalama lw’omugga Yoludaani.
先知弟子中有五十個人同去,遠遠站在他們對面,他們二人立在約旦河邊,
8 Awo Eriya n’addira omunagiro gwe n’aguzinga wamu n’akuba amazzi ne gaawulibwamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, bombi ne bayita ku lukalu.
厄里亞將自己的外衣捲起,擊打河水,即左右分開,他們二人從乾地上走了過去。
9 Awo bwe baamala okusomoka, Eriya n’abuuza Erisa nti, “Kiki ky’oyagala nkukolere nga sinnaba kukuggyibwako?” Erisa n’amuddamu nti, “Nkusaba, nsikire emigabo ebiri egy’Omwoyo akuliko.”
過去以後,厄里亞對厄里叟說:「在我被接去離開你以前,我應該為你作什麼,你儘管求罷! 」厄里叟答說:「求你把你的精神給我兩分。」
10 N’amugamba nti, “Ky’osabye kigambo kizibu, naye bw’onondaba nga ntwalibwa, kale kinaaba nga bw’osabye, naye bw’otondabe tekiibe bwe kityo.”
厄里亞說:「你求了一件難事;不過當我被接去離開你的時候,你若能看見我,你就可以得到;否則,你就不能得到。」
11 Awo bwe baali batambula nga bwe banyumya bokka na bokka, ne walabika eggaali ey’omuliro n’embalaasi ez’omuliro ne zibaawula, era mu kiseera kye kimu Eriya n’atwalibwa mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi.
他們正邊走邊談的時候,忽然有一輛火馬拉的火車出現,把他們二人分開;厄里亞便乘著旋風升天去了。
12 Awo Erisa bwe yalaba ekyo, n’ayogerera waggulu nti, “Kitange, Kitange, amagaali n’abeebagala embalaasi aba Isirayiri!” Erisa n’ataddamu kumulaba nate. N’addira engoye ze yali ayambadde, n’aziyuzaayuza.
厄里叟一見,就呼喊說:「我父,我父! 以色列的戰車,以色列的駿馬! 」隨後就再看不見他了;厄里叟遂抓住自己的衣服,撕成兩半,
13 Waaliwo omunagiro ogwali gusuulibbwa Eriya ng’atwalibwa mu ggulu, era ogwo Erisa gwe yalonda n’addayo ku mugga Yoludaani n’ayimirira ku lubalama lw’omugga.
然後拾起厄里亞身上掉下來的外衣,回去站在約旦河邊,
14 N’addira omunagiro gwe yali alonze n’aguzinga n’akuba amazzi n’ayogera nti, “Kaakano Mukama, Katonda wa Eriya ali luuyi wa?” Bwe yakuba amazzi ne geeyawulamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, n’asomoka.
拿著從厄里亞身上掉下來的外衣擊打河水說:「上主,厄里亞的天主在那裏﹖」他一擊打河水,河水就左右分開,厄里叟走了過去。
15 Awo ekibiina ekya bannabbi abaali mu Yeriko ne bayogera nti, “Omwoyo wa Eriya ali ku Erisa.” Ne bagenda okumusisinkana ne bamuvuunamira.
耶里哥的先知弟子們從對面看見了他,就說:「厄里亞的精神已降在厄里叟的身上了。」他們便前來迎接,俯伏在地,叩拜他,
16 Ne bamugamba nti, “Laba, ffe abaddu bo tulina abasajja abazira amakumi ataano. Bagende banoonye mukama wo, osanga Omwoyo wa Mukama amututte n’amuteeka ku bumu ku busozi oba mu kiwonvu.” Erisa n’abaddamu nti, “Temutawaana, era temubatuma.”
對他說:「你僕人中有五十個強壯的人,請讓他們去尋找你的師傅,或者上主的神將他提去,丟在一座山上,或一個山谷裏。」他回答說:「不必派他們去。」
17 Naye bwe baamuwaliriza, n’atendewalirwa, n’abagamba nti, “Kale, mubatume.” Awo ne batuma abasajja amakumi ataano, ne banoonya okumala ennaku ssatu naye ne batamulaba.
但是他們逼得他不好意思,他這纔說:「你們派人去罷! 」他們於是派了五十個人去,尋找了三天,始終沒有找到,
18 Bwe bakomawo gy’ali mu Yeriko, n’abagamba nti, “Saabalabudde obutagenda?”
便回來見厄里叟,那時厄里叟還在耶里哥。厄里叟對他們說:「我不是對你們早說了,你們不必去嗎﹖」
19 Awo abasajja ab’omu kibuga ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, ekibuga kino kiri mu kifo kirungi, nga nawe bw’olaba, naye amazzi gaamu mabi, era n’ensi si njimu.”
城中的人對厄里叟說:「請看,本城的地勢很好,師傅也看見了,只是水不好,以致土產不熟即落。」
20 N’abagamba nti, “Mundeetere ebbakuli empya nga mutaddemu omunnyo.” Ne bagimuleetera.
厄里叟說:「給我拿一隻新碗來,裏面放上些鹽。」他們就給他拿了來;
21 N’aserengeta ku nsulo ey’amazzi, n’ayiwamu omunnyo, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nnoongosezza amazzi gano era tegakyaddamu kuleeta kufa wadde okufuula ensi obutaba njimu.’”
他遂出去到水泉旁,將鹽倒在水裏說:「上主這樣說:我已治好了這水,從此再也不會引起死亡和不熟早落的病。」
22 Amazzi ne galongooka, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Erisa bwe kyali, n’okutuusa ku lunaku lwa leero.
果然,照厄里叟所說的,那水直到今日常是好水。
23 Erisa bwe yava eyo n’akwata ekkubo erigenda e Beseri. Naye ng’ali mu kkubo, n’asisinkana abavubuka ab’omu kibuga ekyo ne bamusekerera nga bwe boogera nti, “Mulabe ow’ekiwalaata! Mulabe ow’ekiwalaata!”
厄里叟從那裏上貝特耳去,當他沿路上去的時候,從城中出來一些小孩,譏笑他說:「光頭,上來! 光頭,上來! 」
24 N’akyuka n’abatunuulira, n’abakolimira mu linnya lya Mukama. Awo ebisolo ebinene bibiri eby’ekika eky’eddubu ne biva mu kibira ne bitaagulataagula abavubuka amakumi ana mu babiri ku bo.
厄里叟回過頭去看他們,因上主的名詛咒了他們;立即有兩隻狗熊從林中出來,咬死了其中四十二個孩子。
25 Ne yeeyongerayo n’alaga ku Lusozi Kalumeeri, oluvannyuma n’addayo e Samaliya.
厄里叟從那裏去了加爾默耳山,然後又從那裏回了撒瑪黎雅。

< 2 Bassekabaka 2 >