< 2 Bassekabaka 19 >

1 Kabaka Keezeekiya olwawulira ebyo byonna, n’ayuza ebyambalo bye, n’ayambala ebibukutu, n’alaga mu yeekaalu ya Mukama.
希則克雅王一聽這話,就撕破了自己的衣服,穿上苦衣,走進了上主的殿;
2 N’atuma Eriyakimu eyali ssabakaaki, ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona ab’oku ntikko, nga bonna bambadde ebibukutu, okugenda eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi.
然後打發厄里雅金家宰,舍布納書記和幾位老司祭,穿著苦衣,去見阿摩茲的兒子依撒意亞先知,
3 Ne bamugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Keezeekiya nti Leero lunaku lwa buyinike, era lwa kunenyezebwa, era lwa kuswazibwa, ng’abaana bwe batuuka okuzaalibwa, naye ne wataba maanyi ga ku bazaala.
對他說:「希則克雅這樣說:今天是受苦難,受責罰,受侮辱的日子。因為嬰兒到了要出生的時候,卻沒有產生的力量。
4 Kiyinzika okuba nga Mukama Katonda wo yawulidde obubaka bwonna obwa Labusake, mukama we kabaka w’e Bwasuli bwe yaweereza ng’anyooma Katonda omulamu, era nti amunenye olw’ebigambo byonna Mukama Katonda wo by’awulidde. Noolwekyo ssabira ekitundu ekikyasigaddewo.”
但願上主你的天主聽到那大將軍的一切話,就是他的主上亞述王打發他來,辱罵永生的天主所說的話! 願上主你的天主聽了那些話而加以懲罰! 所以請你為剩下的遺民舉行祈禱罷! 」
5 Awo abakungu ba Kabaka Keezeekiya bwe baatuuka eri Isaaya,
希則克雅王的臣僕來到了依撒意亞前,
6 Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ebigambo by’owulidde, abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa.
依撒意亞就對他們說:「你們要這樣對你們的主上說:上主這樣說:你聽到亞述王的僕人們辱罵我的話,不要害怕!
7 Wuliriza! Nzija kumuteekamu omwoyo, awulire olugambo ku bikwata ku nsi ye addeyo mu nsi ye, era gye ndimuzikiririza n’ekitala.’”
我必叫他感到一種怕情,使他一聽到某種消息,就返回本國;我要使他在本國內喪身刀下。」
8 Labusake bwe yawulira nti kabaka w’e Bwasuli avudde mu Lakisi, n’avaayo, n’asanga kabaka ng’alwana ne Libuna.
大將軍回去時,正遇見亞述王去攻打里貝納。原來他已聽說君王離開了拉基士。
9 Awo Sennakeribu n’afuna obubaka obukwata ku Tiraka kabaka w’e Esiyopya nti, “Laba amaliridde okulwana naawe,” era n’addamu n’atuma ababaka eri Keezeekiya ng’agamba nti,
那時,散乃黑黎布聽人說:雇士王提爾哈卡出來攻打他,就再派使者去見希則克雅,並吩咐說:「
10 “Bwe muti bwe munagamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nti, ‘Tokkiriza Katonda wo gwe weesiga kukulimbalimba ng’akusuubiza nti Yerusaalemi teriweebwayo mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’
你們要這樣對猶大王希則克雅說:不要讓你所依靠的天主哄騙了你說:耶路撒冷決不會落在亞述王手中!
11 Ekyamazima wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye bakoze amawanga gonna, nga bagasaanyizaawo ddala. Olowooza nti olirokolebwa?
你必聽說過亞述的列王對各國所行的事,將各國完全消滅了。你還能有救嗎﹖
12 Bakatonda baamawanga ag’e Gozani, n’e Kalani, n’e Lezefu, n’abantu ba Adeni abaali mu Terasali, abasaanyizibwawo bajjajjange, babalokola?
我的祖先所消滅的各民族,如哥倉、哈郎、勒責夫、以及在特拉撒爾的厄登子民,他們的神又何曾救了他們﹖
13 Kabaka w’e Kamasi, kabaka w’e Alupadi, kabaka w’ekibuga kya Sefavayimu, oba kabaka w’e Kena oba kabaka w’e Yiva, bali ludda wa?”
哈瑪特王,阿帕得王,色法瓦因城的王,赫納王和依瓦王,他們現今都在那裡﹖」
14 Keezeekiya n’afuna ebbaluwa eyaleetebwa ababaka, n’agisoma. N’ayambuka n’agenda mu yeekaalu ya Mukama, n’agyanjuluza mu maaso ga Mukama.
希則克雅從使者中接過信來,念了以後,就走進上主的殿,將那信在上主面前展開,
15 Keezeekiya n’asaba eri Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, atuula waggulu ku bakerubi, ggwe wekka, ggwe Katonda ow’obwakabaka bwonna obw’ensi, era ggwe wakola eggulu n’ensi.
然後,希則克雅懇求上主說:「上主,坐在革魯賓上面的以色列的天主! 惟獨你是地上萬國的天主,你創造了天地。
16 Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire; ozibule amaaso go Ayi Mukama, olabe; owulire ebigambo bya Sennakeribu, byayogedde ng’avvoola Katonda omulamu.
上主,請你側耳傾聽! 上主,求你睜眼垂視,細聽那打發使者辱罵永生天主的散乃黑黎布的話。
17 “Kya mazima, Ayi Mukama, nti bakabaka b’e Bwasuli baazikiriza amawanga n’ensi zaabwe,
上主,的確,亞述王曾毀滅了所有的民族和他們的國家,
18 ne basuula bakatonda baabwe mu muliro. Naye abo tebaali Katonda, baali mirimu gy’emikono gy’abantu, nga mbaawo n’amayinja, era kyebaava bazikirizibwa.
將他們的神像投入火中,因為它們不是神,只是人手造成的木石的作品,所以能被消滅。
19 Kaakano, Ayi Mukama, Katonda waffe, tukwegayiridde, otulokole mu mukono gwe, amawanga gonna ku nsi gamanye nga ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wekka.”
但是現今,上主我們的天主,求你拯救我們脫離他的手,使地上萬國都知道:惟獨你是上主,天主! 」
20 Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’aweereza Keezeekiya obubaka nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mpulidde okusaba kwo ku bikwata ku Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli.
那時,阿摩茲的兒子依撒意亞打發人去見希則克雅說:「上主以色列的天主這樣說:你既然論亞述王散乃黑黎布向我懇求,我已經俯聽了你。
21 Kino kye kigambo Mukama ky’ayogedde ku bimukwatako: “‘Omuwala wa Sayuuni embeerera akunyooma era akusekerera. Omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyeza omutwe gwe nga bw’odduka.
這就是上主論他所說的話:熙雍的貞女輕視你,嘲笑你;耶路撒冷的女子在你背後搖頭。
22 Ani gw’ovumye era n’ovvoola? Ani gw’okandulidde eddoboozi lyo, era ani gw’oyimusirizza amaaso go n’amalala? Obikoze Omutukuvu wa Isirayiri!
你所辱罵,所詛咒的是誰﹖你提高聲音,仰起眼睛攻擊的是誰﹖是攻擊以色列的聖者。
23 Ojereze Mukama ng’oyita mu babaka bo. Era ogambye nti, “Nninye ku ntikko z’ensozi n’amagaali gange amangi, ku ntikko ezisingirayo ddala obuwanvu eza Lebanooni. Ntemye emivule egisingirayo ddala obuwanvu n’emiberosi gyayo egisingirayo ddala obulungi. Ntuuse ne mu bifo ebisingirayo ddala okuba ebikusike ne mu bibira ebisingirayo ddala okuba ebirungi.
你藉你的使者辱罵了吾主,你說:我用我大批的車輛,登上了叢山的極峰,到黎巴嫩的絕頂,砍伐了其中最高的香柏,最好的青松;衝入了它的最深處,走進了果木的林園。
24 Nsimye enzizi mu bannamawanga, n’enywa amazzi gaamu. Nkazizza emigga egy’e Misiri gyonna, nga ngirinnyirira n’ebisinziiro by’ebigere byange.”
我掘了井喝了外邦的水,用我的腳掌踏乾了埃及所有的河川。
25 “‘Tewawulira nga nakisalawo dda? Mu biro eby’edda nakiteekateeka, era kaakano nkituukirizza, olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe okuba ng’entuumo y’amayinja.
難道你沒有聽說嗎﹖很久以前我所計劃的,昔日我所決定的,現在我就在實現,叫你毀壞堅城,化為廢墟,
26 Ababituulamu tebakyalina buyinza, batekemuse era baswazibbwa. Bafaanana ng’ebimera eby’omu nnimiro, ng’omuddo omubisi, ng’omuddo ogusibuse mu busolya bw’ennyumba, ne gutugibwa nga tegunnakula.
使城中的居民軟弱無力,驚慌失措,有如田野的青草,有如青綠的嫩苗,有如屋頂被東風吹焦的小草。
27 “‘Naye mmanyi obutuuliro bwo era mmanyi okufuluma kwo n’okuyingira kwo n’obuswandi bw’ondaga.
但是,你或起或坐,或出或入,我都知道,
28 Kubanga ondaze obuswandi bwo, n’obujoozi bwo ne mbuwulira mu matu gange, kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo n’olukoba lwange mu mumwa gwo, era oliddirayo mu kkubo lye wajjiramu.’
因為你對我的暴怒,和你的狂囂已達到我的耳鼓,所以我要把環子穿在你的鼻子上,把轡頭套在你的嘴上,從你來的路上將你牽回去。
29 “Era kano ke kanaaba akabonero ko, ggwe Keezeekiya. “Omwaka guno olirya ekyo ekimera kyokka, ne mu mwaka ogwokubiri ekiriva mw’ekyo. Naye mu mwaka ogwokusatu siga era okungule; era simba ennimiro ez’emizabbibu, olye ku bibala bya kwo.
這是給你的記號:今年你們要吃自然所生的,明年仍要吃自然所生的,第三年你們就要播種收割,栽種葡萄園,吃園中的果實。
30 Ekitundu ekisigaddewo eky’ennyumba ya Isirayiri kyekiriva kiddamu ne kisimba emizi wansi, ne kibala ebibala waggulu.
猶大家的遺民,仍要向下生根,往上結實,
31 Mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifisseewo, ne mu Lusozi Sayuuni ne muva abo abaliwona. Obuggya bwa Mukama ow’Eggye bulikituukiriza.
因為剩餘的人將由耶路撒冷而出,逃脫的人將由熙雍山而來:萬軍上主的熱誠必要成就這事。
32 “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikwata ku kabaka w’e Bwasuli, nti, “‘Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino, wadde okulasayo akasaale. Talikisemberera n’engabo newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza.
為此,上主問亞述王這樣說:他決不會進入這城,決不會向這城放射一箭,決不會持盾臨於城下,也決不會起造土堆攻城。
33 Ekkubo lye yakwata ng’ajja, omwo mw’aliddira, naye taliyingira mu kibuga kino, bw’ayogera Mukama.
他必要由來路回去,決不能進入這城:上主的斷語。
34 Ndirwanirira ekibuga kino nkirokole, ku lwange, ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’”
為了我自己,為了我的僕人達味,我必要保護拯救這城。」
35 Ekiro ekyo malayika wa Mukama n’agenda mu nkambi ey’Abasuuli n’atta abasajja emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Ku makya abantu bwe baagolokoka, laba nga bonna mirambo.
當天夜裡,上主的使者出來,在亞述營裡殺了十八萬五千人。清晨人們起來,看見遍地都是死屍。
36 Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ava mu nkambi, n’addayo ewuwe, n’agenda n’abeera e Nineeve.
亞述王散乃黑黎布於是拔營,起程回國,住在尼尼微。
37 Awo bwe yali ng’asinziza mu ssabo lya katonda we Nisuloki Adulammereki ne Salezeri batabani be ne bamutta n’ekitala, ne baddukira mu nsi y’e Alalati. Esaladoni mutabani we n’amusikira.
一日,他在自己的神尼色洛客廟內叩拜的時候,他的兒子阿德辣默肋客和沙勒責爾用劍刺殺了他,然後逃往阿辣辣特地方去了;他的兒子厄撒哈冬繼位為王。

< 2 Bassekabaka 19 >