< 2 Bassekabaka 17 >
1 Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri ogw’obufuzi bwa Akazi kabaka wa Yuda, Koseya mutabani wa Era n’afuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, n’afugira emyaka mwenda.
Uti tolfte årena Ahas, Juda Konungs, vardt Hosea, Ela son, Konung öfver Israel i Samarien, i nio år;
2 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, naye tebyenkana nga bassekabaka ba Isirayiri bye baakola.
Och gjorde det ondt var för Herranom, dock icke såsom de Israels Konungar, som för honom voro.
3 Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n’amulumba, Koseya n’afuuka muddu we era n’amuwanga obusuulu.
Emot honom drog upp Salmanasser, Konungen i Assyrien och Hosea vardt honom undergifven, så att han gaf honom skänker.
4 Naye oluvannyuma kabaka w’e Bwasuli n’akizuula nga Koseya yali amuliddemu olukwe, kubanga yali atumye ababaka ewa So kabaka w’e Misiri, ate nga takyaweereza busuulu ewa kabaka w’e Bwasuli, nga bwe yakolanga buli mwaka. Salumaneseri kyeyava amukwata n’amuteeka mu kkomera.
Då Konungen i Assyrien fick veta, att Hosea hade ett förbund för händer, och hade sändt båd till So, Konungen i Egypten, och icke utgifva ville årliga skänkerna Konungenom i Assyrien; belade han honom, och kastade honom i fängelse.
5 Awo kabaka w’e Bwasuli n’alumba ensi yonna, n’atuuka e Samaliya, n’akizingiriza emyaka esatu.
Och Konungen i Assyrien drog in i hela landet, och till Samarien, och belade det i tre år.
6 Mu mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya, kabaka w’e Bwasuli n’awamba Samaliya, n’atwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse e Bwasuli, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga ogw’e Gozani, ne mu bibuga eby’Abameedi.
Och uti nionde årena Hosea vann Konungen i Assyrien Samarien, och förde Israel bort i Assyrien, och satte dem i Halah, och i Habor vid den älfven Gosan, och uti de Meders städer.
7 Bino byonna byabaawo kubanga Abayisirayiri bayonoona mu maaso ga Mukama Katonda waabwe, eyali abaggye mu Misiri okuva mu mukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Baasinzanga bakatonda abalala,
Ty då Israels barn syndade emot Herran deras Gud, den dem utur Egypti land fört hade, utu Pharaos hand, Konungens i Egypten, och fruktade andra gudar;
8 ne bagobereranga empisa za baamawanga Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe. Era bagobereranga n’emizizo bassekabaka ba Isirayiri gye baali bataddewo.
Och vandrade efter Hedningarnas seder, hvilka Herren för Israels barn fördrifvit hade, och såsom Israels Konungar gjort hade;
9 Abayisirayiri ne bakolanga mu nkizo ebyo ebitaali birungi mu maaso ga Mukama. Ne bazimba ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna, okuviira ddala ku minaala omwabeeranga abakuumi okutuuka ku kibuga ekiriko bbugwe.
Och skickade sig icke tillbörliga för Herranom sinom Gud; och byggde sig höjder i alla städer, både på slott och i fasta städer;
10 Ne beesimbira empagi ez’amayinja n’eza Baasera, ku buli kasozi akawanvu, ne wansi wa buli muti.
Och uppreste stodar och lundar på alla backar, och under all grön trä;
11 Ne bookera obubaane ku buli kifo ekigulumivu ng’amawanga gali Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe bwe gaakolanga. Ne bakola ebintu eby’ekivve ne basunguwaza Mukama.
Och rökte der på alla höjder, lika såsom Hedningarna, hvilka Herren för dem fördrifvit hade; och bedrefvo slem stycke, dermed de förtörnade Herran;
12 Ne basinza ebifaananyi, ate nga Mukama yali abalagidde nti, “Temukolanga ekyo.”
Och tjente afgudar, om hvilka Herren dem sagt hade: Detta skolen I icke göra.
13 Mukama n’alabula Isirayiri ne Yuda ng’akozesa bannabbi n’abalabi nti, “Mukyuke muve mu bibi byammwe, mukuume amateeka gange n’ebiragiro byange, ng’etteeka bwe liri lye nalagira bajjajjammwe, lye nabaweereza nga nkozesa abaddu bange bannabbi.”
Och då Herren betygade i Israel och Juda, genom alla Propheter och Siare, och lät säga dem: Vänder om utaf edra onda vägar, och håller min bud och rätter, efter all de lag som jag edra fäder budit hafver, och jag genom mina tjenare Propheterna till eder sändt hafver.
14 Naye ne batawuliriza, ne baba bakakanyavu nga bajjajjaabwe bwe baali, abateesiga Mukama Katonda waabwe.
Men de lydde intet, utan gjorde sig hårdnackade, såsom ock deras fäder gjort hade, hvilke icke trodde på Herran deras Gud.
15 Ne banyooma ebiragiro n’endagaano gye yali akoze ne bajjajjaabwe, n’okulabula kwe yali abawadde. Ne bagoberera bakatonda abataliimu, ate nabo ne bafuuka ebitagasa. Ne bakola ng’amawanga agaali gabeetoolodde bwe gaakolanga, newaakubadde nga Mukama yali abalabudde nti, “Temukolanga ebyo bye bakola.” Ne bakola byonna Mukama bye yali abagaanye okukola.
Dertill föraktade de hans bud, och hans förbund som han med deras fäder gjort hade, och hans vittnesbörd som han ibland dem gjort hade, och vandrade efter deras fåfängelighet, och vordo fåfängelige såsom Hedningarna, som omkring dem voro, om hvilka Herren dem budit hade, att de icke skulle göra såsom de.
16 Ne bava ku mateeka ga Mukama Katonda waabwe gonna, ne baweesa ebifaananyi by’ennyana bibiri, n’empagi ey’Asera, ne basinza n’eggye lyonna ery’omu ggulu era ne basinzanga ne Baali.
Men de öfvergåfvo all Herrans deras Guds bud, och gjorde sig två gjutna kalfvar, och lundar; och tillbådo allan himmelens här, och tjente Baal;
17 Ne bawaayo abaana baabwe aboobulenzi n’aboobuwala ng’ebiweebwayo mu muliro, ne bakola eby’obufumu n’eby’obulogo, ne beetunda okukola ebibi mu maaso ga Mukama, okumusunguwaza.
Och läto sina söner och döttrar gå igenom eld, och foro med spådom och trolldom; och gåfvo sig till att göra det ondt var för Herranom, till att förtörna honom.
18 Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isirayiri, n’abagoba mu maaso ge, n’alekawo ekika kya Yuda kyokka.
Så vardt Herren ganska vred på Israel, och kastade dem bort ifrå sitt ansigte; så att intet blef qvart, utan Juda slägt allena.
19 Kyokka ne Yuda ne batakuuma mateeka ga Mukama Katonda waabwe, naye ne bagoberera empisa za Isirayiri.
Dertill höll icke heller Juda Herrans sins Guds bud, utan vandrade efter Israels seder, som de gjort hade.
20 Mukama kyeyava aleka ezzadde lyonna erya Isirayiri, n’ababonereza, n’abawaayo mu mikono gy’abanyazi, n’okubagoba n’abagobera ddala okuva mu maaso ge.
Derföre förkastade Herren all Israels säd, och plågade dem; och gaf dem i röfvarehänder, tilldess han kastade dem ifrå sitt ansigte.
21 Bwe yayawula Isirayiri ku nnyumba ya Dawudi, ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati kabaka waabwe. Yerobowaamu n’aleetera Isirayiri okuviira ddala ku mukama, n’abayonoonyesa n’okusingawo.
Förty Israel vardt söndrad ifrå Davids hus, och hade gjort sig Jerobeam, Nebats son, till Konung. Han vände Israel ifrå Herranom, och gjorde det så, att de svårliga syndade.
22 Abaana ba Isirayiri ne batambulira mu bibi byonna Yerobowaamu bye yakola, ne batabirekaayo,
Alltså vandrade Israels barn uti alla Jerobeams synder, som han hade åstadkommit, och icke återvände deraf;
23 okutuusa Mukama lwe yabaggyira ddala okuva mu maaso ge, nga bwe yali abalabudde ng’ayita mu baddu be bannabbi. Awo Abayisirayiri ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse mu nsi eya Bwasuli, gye bali ne kaakano.
Intilldess Herren kastade Israel ifrå sitt ansigte, såsom han igenom alla sina tjenare Propheterna sagt hade. Så vardt då Israel bortförd utu sitt land in uti Assyrien, allt intill denna dag.
24 Awo kabaka w’e Bwasuli n’akuŋŋaanya abantu okuva e Babulooni, Kusa, Ava, Kamasi ne Sefavayimu, n’abaleeta mu bibuga bya Samaliya, Abayisirayiri mwe baabeeranga, Samaliya ne bakitwalira ddala era ne babeera mu bibuga byakyo.
Och Konungen af Assyrien lät komma folk af Babel, af Cutha, af Ava, af Hamath och Sepharvaim, och besatte de städer i Samarien uti Israels barnas stad; och de togo Samarien in, och bodde uti dess städer.
25 Ku ntandikwa bwe babeeramu ne batasinza Mukama, kyeyava abasindikira empologoma ne zitta abamu ku bo.
Men som de då begynte att bo der, och fruktade intet Herran, sände Herren lejon ibland dem, som slogo dem ihjäl.
26 Kabaka w’e Bwasuli n’ategeezebwa nti, “Amawanga ge watwala n’obateeka mu bibuga bya Samaliya tebamanyi tteeka lya Katonda w’ensi eyo, kyeyavudde abasindikira empologoma okubatta, kubanga tebamanyi Katonda w’ensi kye yeetaaga.”
Och de läto säga Konungenom i Assyrien: De Hedningar, som du hafver låtit komma hit, och besatt med de städer i Samarien, veta intet af landsens Guds seder; derföre hafver han sändt lejon ibland dem, och si, de dräpa dem, efter de icke veta utaf landsens Guds seder.
27 Amangwago kabaka w’e Bwasuli n’alagira nti, “Mutumeyo omu ku bakabona be mwawamba okuva mu Samaliya agende abeere eyo, ayigirize abantu amateeka ga Katonda w’ensi eyo.”
Konungen i Assyrien böd, och sade: Förer dit en af Presterna, som dädan bortförde äro; han fare dit, och bo der; och han läre dem landsens Guds seder.
28 Awo omu ku bakabona eyali awaŋŋangusibbwa okuva mu Samaliya n’agenda n’abeera e Beseri, n’abayigiriza bwe kibagwanira okusinza Mukama.
Så kom en af Presterna, som af Samarien bortförde voro, och satte sig i BethEl, och lärde dem, huru de skulle frukta Herran.
29 Newaakubadde nga kabona yagendayo, buli ggwanga beekolera bakatonda baabwe, ne babateeka mu masabo Abasamaliya ge baali bazimbye ku bifo ebigulumivu mu bibuga byabwe.
Men hvart och ett folk gjorde sig sin gud, och satte dem uti de höjders hus, som de Samariter gjorde, hvart och ett folk uti sina städer, der de bodde.
30 Abasajja ab’e Babulooni ne bakola Sukkosubenosi, abasajja ab’e Kuusi ne bakola Nengali, abasajja ab’e Kamasi ne bakola Asima:
De af Babel gjorde SuccothBenoth; de af Cuth gjorde Nergal; de af Hamath gjorde Asima;
31 Abavi ne bakola Nibukazi ne Talutaki, Abasefavayimu ne bookera abaana baabwe mu muliro, nga babawaayo ng’ebiweebwayo eri Adulammereki ne Anammereki, bakatonda ba Sefavayimu.
De af Ava gjorde Nibhas och Thartak; de af Sepharvaim brände upp sina söner Adrammelech och Anammelech, Sepharvaims gudom.
32 Baasinzanga Mukama, naye ne balonda n’abantu ab’engeri zonna okuva mu bokka ne bokka okuba bakabona, ab’ebifo ebigulumivu, abaabaweerangayo ssaddaaka mu masabo ag’ebifo ebigulumivu.
Och efter de ock fruktade Herran, gjorde de honom Prester på höjderna utaf de ringesta ibland dem, och satte dem i höjdernas hus.
33 Ne basinzanga Mukama, naye nga bwe baweereza ne bakatonda baabwe, ng’empisa ez’amawanga gye baali bavudde bwe zalinga.
Alltså fruktade de Herran, och tjente likväl af gudomen, efter hvars folkens sed, dädan de förde voro.
34 Ne leero bakyeyisa mu ngeri y’emu. Tebasinza Mukama so tebagoberera biragiro n’amateeka Mukama bye yalagira bazzukulu ba Yakobo, gwe yatuuma Isirayiri.
Och intill denna dag göra de efter det gamla sättet, att de hvarken frukta Herran, eller göra hans seder och rätter, efter de lag och bud, som Herren Jacobs barn budit hafver, hvilkom han det namnet Israel gaf.
35 Mukama bwe yakola endagaano n’Abayisirayiri, yabalagira nti, “Temusinzanga bakatonda balala, so temubavuunamiranga so temubaweerezanga, wadde okuwaayo ssaddaaka gye bali.
Och gjorde Herren ett förbund med dem, och böd dem, och sade: Frukter inga andra gudar, och tillbeder dem icke, och tjener dem icke, och offrer dem icke;
36 Mwekuumenga okugobereranga ebiragiro n’amateeka, n’etteeka, n’ekiragiro bye yabawandiikira. Temusinzanga bakatonda abalala.
Utan Herranom, som eder utur Egypti land fört hafver, med stora magt och uträcktom arm, honom frukter, honom tillbeder, och offrer honom;
37 Naye musinzanga Mukama eyabaggya mu Misiri n’amaanyi amangi n’omukono gwe, gwe yagolola. Oyo ggwe munavuunamiranga era ne muwaayo ssaddaaka eri ye.
Och håller de seder, rätter, lag och bud, som han eder hafver skrifva låtit; att I alltid gören derefter, och icke frukten andra gudar;
38 Temwerabiranga endagaano gye nakola nammwe, era temusinzanga bakatonda abalala.
Och förgäter icke det förbund, som han med eder gjort hafver, att I icke frukten andra gudar;
39 Wabula musinzanga Mukama Katonda wammwe, kubanga y’anaabalokolanga mu mukono gw’abalabe bammwe bonna.”
Utan frukter Herran edar Gud; han varder eder hjelpandes ifrån alla edra fiendar.
40 Naye ne batawuliriza, ne beeyongeranga mu mpisa zaabwe ez’edda.
Men desse lydde icke, utan gjorde efter sin förra sed.
41 Newaakubadde ng’amawanga ago baasinzanga Mukama, kyokka beeyongeranga okusinza bakatonda baabwe. Ne leero abaana baabwe ne bazzukulu baabwe bakola nga bajjajjaabwe bwe baakolanga.
Alltså fruktade desse Hedningarna Herran, och tjente likväl sina gudar. Sammalunda gjorde ock deras barn och barnabarn, såsom deras fäder gjort hade, allt intill denna dag.