< 2 Bassekabaka 15 >
1 Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri, Azaliya mutabani wa ssekabaka Amaziya n’alya obwakabaka bwa Yuda.
2 Yalina emyaka kkumi na mukaaga bwe yatandika okufuga, n’afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina ye yali Yekoliya ow’e Yerusaalemi.
3 Yakola ebyali ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Amaziya bwe yali akoze.
4 Wabula ebifo ebigulumivu gye baweeranga ssaddaaka tebyaggibwawo, era abantu beeyongeranga okuweerangayo ssaddaaka n’okwoterezangayo obubaane.
5 Awo Mukama n’aleetera kabaka obulwadde n’agengewala, ennaku ze zonna okutuusa bwe yafa, era n’aggyibwako emirimu egy’obuvunaanyizibwa n’ateekebwa mu nnyumba ey’enjawulo. Azaliya n’asigira Yosamu mutabani we okuvunaanyizibwanga ensonga zonna ez’omu lubiri, era n’afuganga n’abantu ab’omu nsi.
6 Ebyafaayo ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Azaliya, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
7 Awo Azaliya n’afa, n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi, Yosamu mutabani we n’amusikira okuba kabaka.
8 Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omunaana ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Zekkaliya mutabani wa Yerobowaamu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, n’afugira emyezi mukaaga.
9 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga bajjajjaabe bwe baakola, n’atakyuka okuva mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
10 Awo Sallumu mutabani wa Yabesi, n’asala olukwe n’amuttira mu lujjudde lw’abantu, era n’alya obwakabaka.
11 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Zekkaliya, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.
12 Awo ekigambo Mukama kye yagamba Yeeku ne kituukirira, era kyali kigamba nti, “Bazzukulu bo balirya obwakabaka bwa Isirayiri okutuusa ku muzzukulu owookuna.”
13 Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n’atandika okufuga mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwa Uzziya kabaka wa Yuda, era n’afugira omwezi gumu mu Samaliya.
14 Menakemu mutabani wa Gaadi n’ava e Tiruza n’agenda okulumba Sallumu mutabani wa Yabesi e Samaliya, era n’amutta. Ye n’afuuka kabaka mu kifo kye.
15 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Sallumu, n’olukwe lwe yasala, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.
16 Mu kiseera ekyo Menakemu n’alumba Tifusa n’azikiriza buli muntu eyalimu, na buli kintu ekyali kikirinaanye ng’atandikira ku nsalo yaakyo ne Tiruza, kubanga tebaamwaniriza. Abakyala abaali embuto nabo n’abatta ng’ababaaga.
17 Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Menakemu mutabani wa Gaadi n’alya obwakabaka bwa Isirayiri, era n’afugira emyaka kkumi mu Samaliya.
18 Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, era ebbanga lyonna we yabeerera kabaka, n’atakyuka kuleka bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
19 Awo Puli kabaka w’e Bwasuli n’alumba Isirayiri, naye Menakemu n’amusuubiza okumuwa ttani amakumi asatu mu nnya eza ffeeza ng’amusaba okumuwanirira n’okumunyweza ku ntebe ey’obwakabaka.
20 Menakemu n’asoloozanga ensimbi ku Bayisirayiri, buli musajja omugagga ng’awaayo gulaamu desimoolo mukaaga eza ffeeza, okuwa kabaka w’e Bwasuli. Awo kabaka w’e Bwasuli n’abaviira mu nsi yaabwe.
21 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Menakemu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
22 Menakemu n’afa, Pekakiya mutabani we n’amusikira okuba kabaka.
23 Mu mwaka ogw’amakumi ataano ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Pekakiya mutabani wa Menakemu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka ebiri.
24 Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, n’atakyuka kuleka bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
25 Awo omu ku baserikale be abakulu nga mukulu wa kibinja erinnya lye Peka mutabani wa Lemaliya, ne yeekobaana n’abasajja abalala amakumi ataano Abagireyaadi ne battira Pekakiya wamu ne Alugobu, ne Aliye mu kigo eky’omu lubiri e Samaliya. Peka n’atta Pekakiya, n’alya obwakabaka.
26 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Pekakiya, ne bye yakola byonna, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.
27 Mu mwaka ogw’amakumi ataano mu ebiri ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Peka mutabani wa Lemaliya n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka amakumi abiri.
28 Yakola ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
29 Mu biro bya Peka kabaka wa Isirayiri, Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli n’alumba ebibuga: by’e Iyoni, n’e Aberubesumaaka, n’e Yanoa, n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Gireyaadi n’e Ggaliraaya, n’ensi yonna eya Nafutaali, abantu baayo n’abatwala nga basibe e Bwasuli.
30 Awo Koseya mutabani wa Era n’asala olukwe okutta Peka mutabani wa Lemaliya, n’amulumba era n’amutta, n’alya obwakabaka mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obwakabaka bwa Yosamu mutabani wa Uzziya.
31 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Peka, ne bye yakola byonna byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.
32 Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Peka mutabani wa Lemaliya, Yosamu mutabani wa Uzziya n’alya obwakabaka bwa Yuda.
33 Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yatandikira okufuga, era n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi, ne nnyina erinnya lye nga ye Yerusa muwala wa Zadooki.
34 N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Uzziya bwe yakola.
35 Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo, era abantu ne beeyongeranga okuweerangayo ssaddaaka n’okwoterezangako obubaane. Yaddaabiriza n’Omulyango ogw’ekyengulu ogwa yeekaalu ya Mukama.
36 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yosamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
37 Mu biro ebyo Mukama n’atandika okusindikira Yuda abalabe nga Lezini kabaka w’e Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya.
38 Yosamu n’afa, n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe, Akazi mutabani we n’amusikira okuba kabaka.