< 2 Yokaana 1 >

1 Nze omukadde mpandiikira omukyala omulonde awamu n’abaana be, be njagalira ddala mu mazima, si nze mbaagala nzekka, wabula n’abo bonna abategeera amazima.
Starješina izabranoj Gospođi i djeci njezinoj koju ja ljubim u Istini - a ne samo ja nego i svi koji upoznaše Istinu -
2 Amazima ago gabeera mu ffe, era gajjanga kubeera mu ffe emirembe gyonna. (aiōn g165)
radi Istine koja ostaje u nama i bit će s nama dovijeka. (aiōn g165)
3 Ekisa, n’okusaasira n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe bijjanga kubeera naffe mu mazima ne mu kwagala.
Bila s nama milost, milosrđe i mir od Boga Oca i od Sina Očeva Isusa Krista u istini i ljubavi!
4 Nnasanyuka nnyo, bwe nnasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima nga bwe twalagirwa Kitaffe.
Obradovah se veoma što sam među tvojom djecom našao takve koji hode u istini, kao što primismo zapovijed od Oca.
5 Naye nnyabo kaakano nkusaba nga siri ng’akuwa ekiragiro ekiggya, naye nkujjukiza ekiragiro ekyo Katonda kye yatuwa okuva ku lubereberye nti, “Twagalanenga.”
I sada te molim, Gospođo, ne kao da ti novu zapovijed pišem, nego onu koju smo imali od početka: da ljubimo jedni druge.
6 Era kuno kwe kwagalana nti tugonderenga ebiragiro bya Katonda. Kubanga okuva ku lubereberye twategeezebwa nga bwe tuteekwa okutambula.
A ovo je ta ljubav: da živimo po zapovijedima njegovim. To je zapovijed, kao što čuste od početka, da u njoj živite.
7 Mwekuume, abalimba bangi mu nsi abatakkiriza nti Yesu yayambala omubiri. Buli muntu ayogera bw’atyo mulimba era mulabe wa Kristo.
Jer iziđoše na svijet mnogi zavodnici koji ne ispovijedaju Isusa Krista koji dolazi u tijelu. To je zavodnik i Antikrist.
8 Mwekuume, muleme okufiirwa kye twakolerera, wabula mukikuume kubanga mulifuna empeera yammwe yonna.
Čuvajte se da ne izgubite što ste stekli, nego da primite potpunu plaću.
9 Buli asukka ku ebyo Kristo by’ayigiriza n’atabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe n’Omwana.
Tko god pretjera i ne ostane u nauku Kristovu, nema Boga. Tko ostaje u nauku, ima i Oca i Sina.
10 Omuntu yenna bw’ajja gye muli, n’atayigiriza bw’atyo, temumwanirizanga mu nnyumba yammwe, n’okulamusa temumulamusanga.
Ako tko dolazi k vama i ne donosi tog nauka, ne primajte ga u kuću i ne pozdravljajte ga.
11 Kubanga buli amusembeza aba yeenyigidde mu bikolwa ebyo ebibi.
Jer tko ga pozdravlja, sudjeluje u njegovim zlim djelima.
12 Mbadde na bingi eby’okubawandiikira, kyokka saagala byonna kubibawandiikira buwandiikizi, wabula nsuubira okubakyalira tulyoke twogeraganye nga tulabagana amaaso n’amaaso, essanyu lyaffe liryoke lituukirire.
Mnogo bih vam imao pisati, ali ne htjedoh na papiru i crnilom, nego se nadam da ću doći k vama i iz usta u usta govoriti da radost vaša bude potpuna.
13 Abaana ba mwannyoko omulonde bakulamusizza.
Pozdravljaju te djeca tvoje izabrane sestre.

< 2 Yokaana 1 >