< 2 Abakkolinso 9 >

1 Mmanyi bulungi nga tekinneetaagisa kubawandiikira ku nsonga y’okuweereza abatukuvu;
Jer za takovu porezu koja se kupi svetima nije mi trijebe pisati vam;
2 kubanga mmanyi nga bwe mwagala ennyo okuyamba, ne mikwano gyaffe wano mu Makedoniya nabategeezaako nga nnenyumiriza ku lwammwe nti ab’omu Akaya babadde beetegefu okuviira ddala mu mwaka ogwayita, era obumalirivu bwammwe bwakubiriza bangi.
Jer poznajem vašu dobru volju, za koju se o vama hvalim Maæedoncima da se Ahaja prigotovi od lanjske godine, i vaša revnost razdraži mnoge.
3 Nabatumira abooluganda okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme kuba kwa bwereere mu nsonga eyo, mube beetegefu nga bwe nagamba.
A braæu poslah da se hvala naša vama ne isprazni u ovoj stvari, nego da budete prigotovljeni, kao što sam govorio;
4 Si kulwa ng’ab’e Makedoniya bajja nange ne babasanga nga temwetegese, ne tuswala, ne bwe tutaboogerako nti ye mmwe, mu kubeesiga mmwe.
Da se, ako doðu sa mnom Maæedonci i naðu vas neprigotovljene, ne osramotimo mi da ne reèem vi) u toj hvali.
5 Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okubagumya abooluganda, bano babasookeyo, bateeketeeke ekirabo kye mwasuubiza, ekirabo ekyo kitegekebwe kibeere omukisa so si ekintu eky’okuwalirizibwa.
Tako naðoh da je potrebno umoliti braæu da naprijed idu k vama, i da priprave ovaj naprijed obreèeni vaš blagoslov da bude gotov tako kakono ti blagoslov, a ne kao lakomstvo.
6 Naye mujjukire nti, “Asiga ekitono alikungula kitono, naye asiga ekinene alikungula kinene.”
Ovo pak velim: koji s tvrðom sije, s tvrðom æe i požnjeti; a koji blagoslov sije, blagoslov æe i požnjeti.
7 Buli omu akola nga bw’asazeewo mu mutima gwe, si lwa nnaku, newaakubadde olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.
Svaki po volji svojega srca, a ne sa žalošæu ili od nevolje; jer Bog ljubi onoga koji dragovoljno daje.
8 Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga n’ebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi,
A Bog je kadar uèiniti da je meðu vama izobilna svaka blagodat, da u svemu svagda svako dovoljstvo imajuæi izobilujete za svako dobro djelo;
9 nga bwe kyawandiikibwa nti, “Yasaasaanya, yagabira abaavu. Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.” (aiōn g165)
Kao što je pisano: prosu, dade siromasima; pravda njegova ostaje vavijek. (aiōn g165)
10 Kubanga oyo awa omulimi ensigo okusiga, ate n’amuwa n’emmere ey’okulya, anaayazanga ensigo yammwe era n’agyongerako, era anaayongeranga ebibala eby’obutuukirivu.
A koji daje sjeme sijaèu, daæe i hljeb za jelo: i umnožiæe sjeme vaše, i daæe da uzrastu žita pravde vaše;
11 Anaabagaggawazanga mu buli kintu, ekyebazisa Katonda mu ffe.
Da se u svemu obogatite za svaku prostotu koja kroz nas èini hvalu Bogu.
12 Kubanga omulimu gw’obuweereza buno tegukoma ku kuyamba batukuvu abali mu kwetaaga kyokka, kusukkirira mu kwebaza okungi eri Katonda.
Jer služba ove poreze ne ispunjuje samo nedostatak svetijeh, nego èini te se i mnoge hvale daju Bogu,
13 Olw’obukakafu obuvudde mu buweereza obwo, Katonda agulumizibwa olw’okugonda okw’okwatula kwammwe eri Enjiri ya Kristo, ne mu kugaba kwe mwalaga mu bye mwabawa, n’eri abantu bonna,
Ogledom poreze ove hvaleæi Boga za vaše pokorno priznanje jevanðelja Hristova, i za prostotu podjele k njima i k svima,
14 era n’okubasabira kwe babasabira kubanga babaagala nnyo olw’ekisa kya Katonda eky’ekitalo kye mulina;
I da se mole Bogu za vas i da èeznu za vama za premnogu blagodat Božiju na vama.
15 Katonda yeebazibwe olw’ekirabo ekitayogerekeka.
A hvala Bogu na njegovu neiskazanome daru.

< 2 Abakkolinso 9 >